约书亚记 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

约书亚记 5:1-15

在吉甲行割礼

1约旦河西岸一带的亚摩利众王和沿海一带的迦南众王,听说耶和华为了让以色列人过河而使约旦河成为干地,都吓得胆战心惊,勇气尽失。

2那时,耶和华对约书亚说:“你用火石做成刀子,再次给以色列人行割礼。” 3约书亚便用火石做成刀子,在割礼山给以色列人行了割礼。 4约书亚给他们举行割礼,是因为所有从埃及出来、能够作战的男子都死在旷野的路上。 5埃及出来的男子都受过割礼,而后来在旷野出生的以色列人都没有受过割礼。 6以色列人在旷野飘泊了四十年,直到从埃及出来可以作战的男子都死了为止,因为他们不听从耶和华的话。耶和华向他们起誓,不让他们看见那奶蜜之乡,衪曾应许他们祖先要把那个地方赐给他们。 7耶和华立他们的子孙代替他们。这新一代的以色列人没有受过割礼,因为在路上没有为他们行过割礼。于是,约书亚为他们行了割礼。

8全体民众受了割礼后,都留在自己的营内,直到康复为止。 9耶和华对约书亚说:“今天我除去了你们在埃及受的羞辱。”因此,那地方叫吉甲5:9 吉甲”意思是“除去”。,沿用至今。

在迦南守逾越节

10以色列人都在耶利哥平原上的吉甲扎营,并于一月十四日傍晚在那里守逾越节。 11第二天他们就吃当地的谷物,吃无酵饼和烤麦穗。 12他们吃了当地出产后的第二天,吗哪便不再降下,以色列人再没有吗哪吃了。那一年他们开始吃迦南的出产。

耶和华军队的元帅

13约书亚走近耶利哥,举目看见一个人手里拿着拔出来的剑站在他面前。约书亚上前去问道:“你是来帮助我们的,还是来帮助我们敌人的?” 14那人答道:“都不是,我来是做耶和华军队的统帅。”约书亚就俯伏下拜说:“我主,有什么话要吩咐仆人?” 15耶和华军队的统帅对约书亚说:“把你脚上的鞋脱下!因为你站的地方是圣洁的。”约书亚便把鞋脱下来。

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 5:1-15

15:1 a Kbl 13:29 b Yos 2:9-11Awo bakabaka ba ab’Amoli abaali emitala ebugwanjuba bw’omugga Yoludaani, ne bakabaka b’Abakanani abaliraanye ennyanja bwe baawulira nga Mukama yakaliza amazzi g’omugga Yoludaani Abayisirayiri basobole okusomoka, ne batekemuka omwoyo olw’Abayisirayiri.

Yoswa akomola Abayisirayiri

25:2 Kuv 4:25Mu kiseera ekyo Mukama n’agamba Yoswa nti, “Weekolere obwambe obw’amayinja amoogi, okomole abasajja bonna Abayisirayiri abatakomolwanga.” 3Bw’atyo Yoswa n’akola obwambe mu mayinja amoogi n’akomolera abasajja Abayisirayiri ku lusozi oluyitibwa Gibeyakalaloosi. 45:4 Ma 2:14Ensonga Yoswa kyeyava abakomola y’eno: abasajja Abayisirayiri abaava e Misiri nga mwe muli n’abalwanyi bonna, baafiira mu ddungu. 5Abaava e Misiri bonna baali bamaze okukomolebwa, kyokka abaana baabwe abaazaalirwa mu ddungu tebaali bakomole. 65:6 a Ma 2:7 b Kbl 14:23, 29-35; Ma 2:14 c Kuv 3:8Abayisirayiri baamala emyaka amakumi ana nga batambula mu ddungu okutuusa bonna, nga mwe muli n’abalwanyi, lwe baafa ne baggwaawo, kubanga baagaana okugondera eddoboozi lya Mukama era kyeyava abalayirira nti talibaganya kutuuka mu nsi eyo gye yasuubiza bajjajjaabwe, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki. 7Kale mu bifo byabwe Mukama yazzaawo baana baabwe era abo Yoswa be yakomola kubanga tebaakomolerwa mu kkubo. 85:8 Lub 34:25Bonna nga bamaze okukomolwa tebaava mu weema zaabwe mu lusiisira, okutuusa nga bamaze okuwona. 9Mukama n’agamba Yoswa nti, “Okuva olwa leero mbaggyeeko ekivume ky’e Misiri.” Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Girugaali n’okutuusa kaakano.

Abayisirayiri bakwata Okuyitako e Girugaali

105:10 Kuv 12:6Awo Abayisirayiri bwe baali bakyasiisidde e Girugaali embaga ey’Okuyitako n’etuuka era ne bagirya akawungeezi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, mu lusenyi lw’e Yeriko. 115:11 a Kbl 15:19 b Lv 23:14Enkeera ne balya emmere ey’omu nsi y’e Kanani: emigaati egitali mizimbulukuse n’empeke ensiike. 125:12 Kuv 16:35Okuva ku lunaku olwo lwe baalya ku mmere y’omu Kanani tebaddamu kufuna Maanu; olwo ne batandika kulyanga mmere ya mu nsi eyo.

Yoswa Asisinkana Omukulu w’Eggye lya Mukama

135:13 a Lub 18:2; 32:24 b Kbl 22:23Awo Yoswa bwe yali anaatera okutuuka e Yeriko bwe yayimusa amaaso n’alaba omusajja akutte ekitala ekisowole ng’amwolekedde. Yoswa kyeyava amusemberera n’amubuuza nti, “Oli ku ludda lwaffe oba ku lwa balabe baffe?” Ye n’amuddamu nti, 145:14 Lub 17:3“Siriiko ludda. Nze mukulu w’eggye lya Mukama era ntuuse.” Yoswa n’agwa wansi, n’avuunama n’amusinza era n’amubuuza nti, “Mukama wange, oŋŋamba ki omuddu wo?” 155:15 Kuv 3:5; Bik 7:33Naye omukulu w’eggye lya Mukama n’amuddamu nti, “Yambulamu engatto zo kubanga ekifo kino mw’oli kitukuvu.” Ne Yoswa naye n’akola nga bwe yalagirwa.