箴言 28 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 28:1-28

1恶人未被追赶也逃窜,

义人坦然无惧如雄狮。

2国中有罪,君王常换;

国有哲士,长治久安。

3穷人28:3 穷人”有些抄本作“暴君”。欺压贫民,

如暴雨冲毁粮食。

4背弃律法的称赞恶人,

遵守律法的抗拒恶人。

5邪恶之人不明白公义,

寻求耶和华的全然明白。

6行为正直的穷人,

胜过行事邪僻的富人。

7遵守律法的是智慧之子,

与贪食者为伍令父蒙羞。

8人放高利贷牟利,

等于为扶贫者积财。

9人若不听从律法,

他的祷告也可憎。

10引诱正直人走邪道,

必掉进自己设的陷阱;

但纯全无过的人必承受福分。

11富人自以为有智慧,

却被明智的穷人看透。

12义人得胜,遍地欢腾;

恶人当道,人人躲藏。

13自掩其罪,必不亨通;

痛改前非,必蒙怜悯。

14敬畏上帝必蒙福,

顽固不化必遭祸。

15暴虐的君王辖制穷人,

如咆哮的狮、觅食的熊。

16昏庸的君王残暴不仁,

恨不义之财的享长寿。

17背负血债者必终生逃亡,

谁也不要帮他。

18纯全无过的必蒙拯救,

行为邪僻的转眼灭亡。

19勤奋耕耘,丰衣足食;

追求虚荣,穷困潦倒。

20忠信的人必大蒙祝福,

急于发财的难免受罚。

21徇私偏袒实不可取,

人却为一饼而枉法。

22贪婪的人急于发财,

却不知贫穷即将临到。

23责备人的至终比谄媚者更受爱戴。

24窃取父母之财而不知罪者与匪类无异。

25贪得无厌的人挑起纷争,

信靠耶和华的富足昌盛。

26愚人心中自以为是,

凭智慧行事的平安稳妥。

27周济穷人的一无所缺,

视而不见的多受咒诅。

28恶人当道,人人躲藏;

恶人灭亡,义人增多。

Luganda Contemporary Bible

Engero 28:1-28

128:1 a 2Bk 7:7 b Lv 26:17; Zab 53:5 c Zab 138:3Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,

naye abatuukirivu babeera n’obuvumu ng’empologoma.

2Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,

naye olw’omuntu alina okutegeera n’okumanya obutebenkevu budda nate mu nsi.

3Omufuzi anyigiriza abaavu,

afaanana nga enkuba etonnya ezikiriza n’eterekaawo birime.

4Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,

naye abo abagakuuma babawakanya.

5Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,

naye abo abanoonya Mukama babutegeerera ddala bulungi.

628:6 Nge 19:1Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,

asinga omugagga ow’amakubo amakyamu.

728:7 Nge 23:19-21Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,

naye mukwano gw’ab’omululu akwasa kitaawe ensonyi.

828:8 a Kuv 18:21 b Yob 27:17; Nge 13:22 c Zab 112:9; Nge 14:31; Luk 14:12-14Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,

abukuŋŋaanyiza omulala anaayinza okuba ow’ekisa eri abaavu.

928:9 Zab 66:18; 109:7; Nge 15:8; Is 1:13Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,

n’okusaba kwe tekukkirizibwa.

1028:10 Nge 26:27Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,

aligwa mu katego ke ye,

naye abatuukirivu balisikira ebirungi.

11Omugagga alowooza nti mugezi,

naye omwavu alina okutegeera, amunyooma.

1228:12 a 2Bk 11:20 b Nge 11:10; 29:2Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,

naye abakakanyalira mu kukola ebikyamu bwe bafuna obuyinza abantu beekweka.

1328:13 a Yob 31:33 b Zab 32:1-5; 1Yk 1:9Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,

naye buli abyatula n’abireka, alisaasirwa.

14Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,

naye oyo akakanyaza omutima gwe abonaabona.

15Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,

bw’abeera omufuzi omubi atulugunya abateesobola.

16Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,

naye oyo akyawa amagoba agafuniddwa mu bukyamu alibeera n’essanyu ery’obulamu obuwangaazi.

1728:17 Lub 9:6Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,

alibeera mu kutegana okutuusa okufa,

tewabanga n’omu amuyamba.

1828:18 Nge 10:9Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,

naye oyo ow’amakubo amabi aligwa mbagirawo.

1928:19 Nge 12:11Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,

naye oyo ali mu birowoozo ebitaliimu alifa bwavu.

2028:20 nny 22; Nge 10:6; 1Ti 6:9Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,

naye oyo ayanguyiriza okugaggawala talirema kubonerezebwa.

2128:21 a Nge 18:5 b Ez 13:19Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,

naye ate olw’okunoonya akookulya omuntu ayinza okuzza omusango.

2228:22 nny 20; Nge 23:6Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,

naye nga tamanyi nti obwavu bumulindiridde.

2328:23 Nge 27:5-6Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,

okusinga oyo awaaniriza n’olulimi.

2428:24 a Nge 19:26 b Nge 18:9Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,

n’agamba nti, “Si nsonga,” afaanana n’oyo azikiriza.

2528:25 Nge 29:25Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,

naye oyo eyeesiga Mukama aligaggawazibwa.

2628:26 Zab 4:5; Nge 3:5Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,

naye oyo atambulira mu magezi alifuna emirembe.

2728:27 Ma 15:7; 24:19; Nge 19:17; 22:9Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,

naye abakodowalira anaabanga n’ebikolimo bingi.

2828:28 nny 12Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,

naye abakozi b’ebibi bwe bazikirira, abatuukirivu bakulaakulana.