箴言 16 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 16:1-33

1心中的策划在于人,

应对之言来自耶和华。

2人看自己的行为都纯全,

但是耶和华却衡量人心。

3把你的事交托耶和华,

你的计划必实现。

4耶和华所造的万物各有其用,

连恶人也是为灾难之日所造。

5耶和华厌恶心骄气傲者,

他们必逃不过祂的责罚。

6慈爱和忠信可让罪恶得赎,

敬畏耶和华使人远离罪恶。

7人所行的若蒙耶和华喜悦,

耶和华必使仇敌与他和好。

8财物虽少但行事公义,

胜过家财万贯却不公义。

9人心中筹划自己的道路,

但耶和华决定他的脚步。

10王口中有上帝的话,

断案时必无差错。

11公道的秤与天平属于耶和华,

袋中一切的砝码由祂制定。

12君王憎恨恶行,

因王位靠公义而立。

13王喜爱公义的言词,

器重说话正直的人。

14王的烈怒如死亡使者,

然而智者能平息王怒。

15王的笑容带给人生命,

他的恩惠像春雨之云。

16得智慧胜过得黄金,

获悟性胜过获白银。

17正直人的大道远离罪恶,

坚守正道的保全性命。

18骄横是沦亡的前奏,

狂傲是败落的预兆。

19宁可谦卑地与贫寒人相处,

也不跟狂傲人共享战利品。

20听从训言的人受益匪浅,

信靠耶和华的人蒙祝福。

21智者以明辨著称,

甜言能说服人心。

22智慧是智者的生命泉,

愚昧为愚人带来惩罚。

23智者三思而后言,

其言使人长见识。

24良言如蜜,

使人心灵甘甜、身体康健。

25有一条路看似正确,

最终却通向死亡。

26工人的胃口促他工作,

口腹之需是他的动力。

27不务正业的人图谋恶事,

他的口舌如烈焰般危险。

28邪僻的人散播纷争,

造谣的人破坏友情。

29残暴之徒引诱邻舍走入歧途。

30恶人眯起眼睛图谋不轨,

歹徒咬着嘴唇策划恶事。

31白发是荣耀的冠冕,

行为公义方能得到。

32不轻易发怒者胜过勇士,

能自我控制胜过攻陷城池。

33人可以摇签求问,

但耶和华决定一切。

Luganda Contemporary Bible

Engero 16:1-33

Mukama Agera Ekkubo ly’Omuntu

116:1 Nge 19:21Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe,

Naye okuddamu kuva eri Mukama.

216:2 Nge 21:2Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye,

naye Mukama y’apima ebigendererwa.

316:3 Zab 37:5-6; Nge 3:5-6Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama,

naye anaatuukirizanga entegeka zo.

416:4 a Is 43:7 b Bar 9:22Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa,

n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.

516:5 a Nge 6:16 b Nge 11:20-21Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama;

weewaawo talirema kubonerezebwa.

616:6 Nge 14:16Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa,

n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.

7Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama,

aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.

816:8 Zab 37:16Akatono akafune mu butuukirivu,

kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.

916:9 Yer 10:23Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye,

naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.

10Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda,

n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.

1116:11 Nge 11:1Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama,

ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.

1216:12 Nge 25:5Kya muzizo bakabaka okukola ebibi,

kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.

1316:13 Nge 14:35Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira,

era baagala oyo ayogera amazima.

1416:14 Nge 19:12Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa,

omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.

1516:15 Yob 29:24Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu;

n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba16:15 Ekire ky’enkuba mu biseera ebya ttoggo etegeeza kujimuka, era kabonero ka kukulaakulana na ssanyu mu biseera ebya ttoggo.

1616:16 Nge 8:10, 19Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu,

era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!

17Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi,

n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.

1816:18 Nge 11:2; 18:12Amalala gakulembera okuzikirira,

n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.

19Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu,

kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.

2016:20 Zab 2:12; 34:8; Nge 19:8; Yer 17:7Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana,

era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.

2116:21 nny 23Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu,

n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.

2216:22 Nge 13:14Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina,

naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.

23Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi,

era akamwa ke kayigiriza abalala.

2416:24 Nge 24:13-14Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki,

biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.

2516:25 a Nge 12:15 b Nge 14:12Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu,

naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.

26Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi,

kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.

2716:27 Yak 3:6Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu,

era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.

2816:28 a Nge 15:18 b Nge 17:9Omuntu omubambaavu asiikuula entalo,

n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.

2916:29 Nge 1:10; 12:26Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we

n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.

30Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona,

n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.

3116:31 Nge 20:29Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa,

gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.

32Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi,

n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.

3316:33 Nge 18:18; 29:26Akalulu kayinza okukubibwa,

naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.