申命记 27 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 27:1-26

以巴路山上的律法

1摩西以色列众长老吩咐民众说:“你们要遵守我今天吩咐你们的一切诫命。 2你们渡过约旦河、进入你们的上帝耶和华应许给你们的土地那天,要竖立几块大石,涂上石灰。 3你们渡过约旦河、进入你们祖先的上帝耶和华应许要赐给你们的奶蜜之乡后,要把这律法一字不漏地写在大石上。 4你们渡过约旦河后,要照我今日的吩咐在以巴路山上竖立这些石头,涂上石灰。 5要在那里为你们的上帝耶和华筑一座石坛,不要用铁器凿刻石头。 6要用未凿过的石头为你们的上帝耶和华筑一座坛,在上面献燔祭给祂; 7又要献上平安祭,在祂面前吃喝快乐。 8你们要把这律法一字不漏、清清楚楚地写在那几块大石上。”

9摩西利未祭司对全体以色列人说:“以色列人啊,要肃静聆听!你们今天已成为你们上帝耶和华的子民。 10你们要听从祂,遵守祂今天借我吩咐你们的诫命和律例。”

违命必受咒诅

11那天,摩西吩咐民众说: 12“你们渡过约旦河后,西缅利未犹大以萨迦约瑟便雅悯支派要站在基利心山上为民众祝福; 13吕便迦得亚设西布伦拿弗他利支派要站在以巴路山上宣告咒诅。 14利未人要对所有以色列人高声说,

15‘凡雕刻或铸造耶和华所憎恶的神像,并偷偷供奉的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

16‘凡不尊敬父母的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

17‘凡挪移邻居界石的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

18‘凡故意带领盲人走错路的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

19‘不公正地对待寄居者和孤儿寡妇的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

20‘凡与父亲的妻妾乱伦,使父亲蒙羞的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

21‘凡与兽交合的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

22‘凡与同父或同母姊妹乱伦的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

23‘凡与岳母乱伦的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

24‘凡暗杀邻居的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

25‘凡因收受贿赂而杀害无辜的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

26‘凡不遵行这律法的必受咒诅!’

全体民众要回答说,‘阿们!’

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 27:1-26

Ekyoto ku Lusozi Ebali

1Awo Musa ng’ali n’abakulu abakulembeze ba Isirayiri n’alagira abantu nti, “Ebiragiro byonna bye mbategeeza leero mubikuumenga. 227:2 Yos 8:31Bwe mumalanga okusomoka omugga Yoludaani n’oyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, oddiranga amayinja amanene n’ogategeka n’ogakubako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. 327:3 Ma 26:9Ogawandiikangako ebigambo bino byonna eby’amateeka, ng’omaze okusomoka, ng’oyingidde mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, y’ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza. 427:4 Ma 11:29Bw’otyo, bw’olimala okusomoka omugga Yoludaani, otegekanga amayinja ago ku Lusozi Ebali nga bwe mbalagira kaakano, era ogakubangako omuyiko ogw’ennoni ng’etabuddwamu omusenyu. 527:5 a Yos 8:31 b Kuv 20:25Era Mukama Katonda wo olimuzimbira eyo ekyoto n’amayinja amalamba agatali matemeko na kyuma. 6Olizimbira eyo Mukama Katonda wo ekyoto n’amayinja amalamba n’oweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wo. 7Oliwaayo ebiweebwayo olw’emirembe, n’obiriira eyo ng’osanyukira mu maaso ga Mukama Katonda wo. 8Era ku mayinja ago g’oliba otegese oliwandiikako n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano.”

927:9 Ma 26:18Awo Musa ng’ali n’Abaleevi, bakabona, n’agamba Abayisirayiri bonna nti, “Sirika owulire ggwe Isirayiri! Ku lunaku lwa leero lwennyini ofuuse eggwanga lya Mukama Katonda wo. 10Noolwekyo ogonderanga Mukama Katonda wo n’okwatanga amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero.”

Ebikolimo Ekkumi n’Ebibiri

11Ku lunaku lwe lumu Musa yakuutira abantu bw’ati nti, 1227:12 a Ma 11:29 b Yos 8:35Bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Gerizimu ne basabira abantu omukisa: Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Yusufu, ne Benyamini. 13Ate ab’omu bika bino baliyimirira ku Lusozi Ebali ne balangirira ebikolimo: Lewubeeni, ne Gaadi, ne Aseri, ne Zebbulooni, ne Ddaani, ne Nafutaali. 14Awo Abaleevi balirangirira n’eddoboozi ddene eri abantu bonna Abayisirayiri nti:

1527:15 Kuv 20:4; 34:17; Lv 19:4; 26:1; Ma 4:16, 23; 5:8; Is 44:9“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

1627:16 Kuv 20:12; 21:17; Lv 19:3; 20:9“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

1727:17 Ma 19:14; Nge 22:28“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

1827:18 Lv 19:14“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

1927:19 a Kuv 22:21; Ma 24:19 b Ma 10:18“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2027:20 Lv 18:7; Ma 22:30“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2127:21 Lv 18:23“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2227:22 Lv 18:9; 20:17“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2327:23 Lv 20:14“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2427:24 Lv 24:17; Kbl 35:31“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2527:25 Kuv 23:7-8; Ma 10:17; Ez 22:12“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

2627:26 Yer 11:3; Bag 3:10*“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”