申命记 23 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 23:1-25

会众的资格

1“凡睪丸受损或被阉割的,不可加入耶和华的会众。

2“私生子及其十代以内的子孙都不可加入耶和华的会众。

3亚扪人或摩押人及其十代以内的子孙都不可加入耶和华的会众。 4因为在你们离开埃及的途中,他们没有用水和食物款待你们,还雇用美索不达米亚毗夺人——比珥的儿子巴兰咒诅你们。 5但你们的上帝耶和华不听巴兰的话,反而把咒诅变为祝福,因为祂爱你们。 6你们一生一世永不可为他们谋求平安和好处。

7“不可憎恶以东人,因为他们是你们的弟兄;也不可憎恶埃及人,因为你们曾经在埃及寄居。 8他们的第三代子孙可以加入耶和华的会众。

保持军营圣洁的条例

9“你们出兵征战时,一定要远离恶事。 10如果有人因梦遗而不洁净,他就要离开营地住在营外。 11傍晚他要沐浴,日落才可以回营。 12要在营外指定一个地方作方便之处。 13你们每人都要有一把铲子,便溺时要挖个洞,事后要掩埋。 14因为你们的上帝耶和华常在营中巡视,要保护你们,击败你们的仇敌。军营必须保持圣洁,免得祂在你们中间看到任何污秽之事,便离开你们。

其他条例

15“如果有奴隶逃到你们那里避难,不可把逃亡的奴隶送交他们的主人。 16要让他们在你们当中选择他们喜欢的城邑与你们同住,不可压迫他们。

17“任何以色列人,不论男女,都不可做庙妓。 18不可把男女庙妓的收入带到你们上帝耶和华的殿还愿,因为你们的上帝耶和华憎恶他们。

19“你们借给同胞钱、粮食或其他任何东西,都不可收取利息。 20你们可以向外族人收取利息,但不可向同胞收取。这样,在你们将要占领的土地上,你们的上帝耶和华必使你们凡事蒙福。

21“如果你们向你们的上帝耶和华许愿,不可迟迟不还愿,因为你们的上帝耶和华必追讨许愿不还的罪。 22如果你们不许愿,反倒无罪; 23但如果你们亲口许了愿,一定要向你们的上帝耶和华信守诺言。

24“如果你们进了邻居的葡萄园,可以随意吃,但不可把葡萄放在篮子里带走。 25如果你们进了邻居的麦田,可以用手摘麦穗,但不可用镰刀割麦子。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 23:1-25

Abatakkirizibwenga mu Kuŋŋaaniro lya Mukama

1“Omuntu yenna ng’ebitundu by’omubiri gwe eby’ekyama byabetentebwa oba nga byasalibwako, taayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

2“Abantu bonna abanaazaalibwanga mu bufumbo obutaabenga butukuvu tebaayingirenga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. Bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi, nabo tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

323:3 Nek 13:2“Abamoni n’Abamowaabu ne bazzukulu baabwe okutuusa ku mulembe ogw’ekkumi tebayingiranga mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda. 423:4 Kbl 22:5-6; 23:7; 2Pe 2:15Kubanga bwe mwali muva mu nsi y’e Misiri, tebajja kubaaniriza n’okubaleetera ku mmere ne ku mazzi; ate ne bapangisa Balamu mutabani wa Byoli nga bamuggya e Pesoli eky’omu Mesopotamiya, okubakolimira. 523:5 Nge 26:2Kyokka Mukama Katonda wo n’alemesa Balamu; ekikolimo n’akikufuuliramu omukisa, kubanga Mukama Katonda wo akwagala nnyo. 623:6 Ezr 9:12Tokolanga nabo endagaano ey’omukwano n’okubayamba mu mbeera yaabwe ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu.

723:7 a Lub 25:26; Ob 10, 12 b Kuv 22:21; 23:9; Lv 19:34; Ma 10:19“Omwedomu tomukyawanga kubanga omulinako oluganda. Tokyawanga Mumisiri n’omu kubanga wali mugenyi mu nsi yaabwe. 8Abaana baabwe ab’omulembe ogwokusatu banaakkirizibwanga okuyingira mu kuŋŋaaniro lya Mukama Katonda.

Obutali Bulongoofu mu Lusiisira

9“Bw’onoogendanga okutabaala abalabe bo weewalenga obutali bulongoofu mu lusiisira lwammwe. 1023:10 Lv 15:16Bwe wanaabangawo omusajja mu mmwe eyeeroteredde ekiro, bw’atyo n’aba atali mulongoofu, anaafulumanga mu lusiisira n’abeera ebweru. 11Naye obudde bwe bunaawungeeranga anaanaabanga n’amazzi; enjuba bw’eneemalanga okugwa anaayinzanga okukomawo mu lusiisira.

12“Onootegekanga ekifo ebweru w’olusiisira ky’onoolagangamu okweteewuluza. 13Onoogendangayo n’eby’okukozesa. Onootwalanga ekifumu, bw’onoomalanga okweteewuluza onoosimanga ekinnya n’oziikamu ebyo ebivudde mu nda yo. 1423:14 a Lv 26:12 b Kuv 3:5Kubanga Mukama Katonda wo anaatambulanga naawe, mu lusiisira lwo ng’akulabirira n’okukuyamba okuwangula abalabe bammwe. Noolwekyo olusiisira lwo kirusaanira lubeerenga lutukuvu, Mukama alemenga kusangamu kintu kyonna ekitali kirongoofu mu ggwe ne kimuleeteranga okukuvaako.

Amateeka Agatali Gamu

1523:15 1Sa 30:15“Omuddu omugule bw’anaabombanga n’ava ku mukama we mu nsi endala, n’ajja ne yeekweka gy’oli, tomuzzangayo wa mukama we. 1623:16 Kuv 22:21Omulekanga n’abeera naawe wakati mu mmwe, mu kimu ku bibuga byo ky’aneerobozanga. Tomujooganga.

1723:17 a Lub 19:25; 2Bk 23:7 b Lv 19:29; Ma 22:21“Mu bawala ba Isirayiri temukkirizibwenga kubeerangamu bamalaaya ab’omu masabo, n’abasajja abalya ebisiyaga nabo tebakkirizibwenga mu Isirayiri. 18Toleetanga nsimbi, bamalaaya ze banaabanga bafunye mu bwamalaaya, mu nnyumba ya Mukama Katonda wo okusasulira obweyamo, wadde ensimbi z’abasajja abalya ebisiyaga; kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala ebikolwa ebyo byombi.

1923:19 Kuv 22:25; Lv 25:35-37“Omuyisirayiri bw’anaawolanga Muyisirayiri munne ensimbi, oba emmere, oba ebintu ebirala byonna, bw’anaabanga asasulwa tasabirangako magoba gaabyo. 2023:20 Ma 15:10; 28:12Bw’onoowolanga bannaggwanga onoobasabirangako amagoba gaako; Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa ku buli ky’onookwatangako engalo ng’otuuse mu nsi gy’oli okumpi okuyingira n’okugyefunira.

2123:21 Kbl 30:1-2; Mub 5:4-5; Mat 5:33“Bw’oneeyamanga obweyamo eri Mukama tolwangawo kubutuukiriza, kubanga ddala ddala Mukama Katonda wo agenda kukikulagira olyoke weewonye omusango olw’ekibi ekyo. 22Naye bw’oteeyamanga bweyamo toobeerengako musango. 23Ebyo byonna akamwa ko bye kanaayogeranga kikugwanira okubikolanga, mu ngeri y’emu nga bw’onoobanga weeyamye obweyamo eri Mukama Katonda wo n’akamwa ko.

24“Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emizabbibu, onooyinzanga okwenogeranga ku birimba by’emizabbibu n’olya nga bw’oneetaaganga n’okkuta, naye tossangako mu kibbo okwetwalirako eka. 2523:25 Mat 12:1; Mak 2:23; Luk 6:1Bw’onooyingiranga mu nnimiro ya munno ey’emmere ey’empeke, onooyinzanga okwekungulirangako n’engalo zo, naye toddiranga kambe n’osala emmere y’empeke eyo eneebanga tennaba kusalibwa.”