申命记 18 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 18:1-22

利未人的产业

1利未祭司及其他利未支派的人在以色列不可拥有土地。他们吃的是献给耶和华的火祭,那是他们的产业。 2他们在众支派中没有自己的产业,因为耶和华是他们的产业,这是祂的应许。 3众人所献的牛羊的前腿、腮颊和胃应归祭司。 4你们要给祭司初收的五谷、新酒、新油和初剪的羊毛。 5因为你们的上帝耶和华从各支派中拣选了利未人,让他们世代奉祂的名事奉。

6以色列境内任何地方的利未人若愿意离开自己所住的城,去耶和华选定的地方, 7他可以像在耶和华面前事奉的其他利未人一样,在那里事奉他的上帝耶和华。 8除了变卖产业所得之外,他还可以分到与其他祭司同等分量的祭物。

不可随从外族风俗

9“你们进入你们的上帝耶和华将要赐给你们的土地后,不可仿效当地民族的可憎行径。 10你们当中不可有人焚烧自己的子女作祭物,不可有人占卜、算命、作法、行邪术、 11念咒、做灵媒、行巫术或求问亡灵。 12凡做这些事的人都是耶和华所憎恶的。正是因为当地的民族做这些可憎之事,你们的上帝耶和华才要当着你们的面把他们赶走。 13你们要在你们的上帝耶和华面前纯全无过。

耶和华使一位先知兴起

14“你们将要赶走的那些民族听信术士和巫师,但你们的上帝耶和华不准你们仿效他们。 15你们的上帝耶和华要在你们中间选立一位像我一样的先知,你们要听从他。 16这正是你们在何烈山聚会时向你们的上帝耶和华所求的,当时你们说,‘不要让我们再听见我们上帝耶和华的声音,也不要让我们再看见这烈火,免得我们死亡。’ 17于是,耶和华对我说,‘他们说的对。 18我要在他们当中选立一位像你一样的先知,我会告诉他该说的话,他要把我的一切吩咐告诉他们。 19如果有人不听从他奉我的名所说的话,我必亲自惩罚那人。 20若有先知冒我的名说我未曾吩咐他的话,或以其他神明的名义说话,必须处死他。’ 21你们也许心里会问,‘我们如何知道是否是耶和华说的话呢?’ 22如果先知奉耶和华的名说的话没有应验,他的话就不是耶和华说的。他是妄自说预言,你们不用怕他。

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 18:1-22

Abaleevi Bakabona

118:1 Ma 10:9; 1Ko 9:13Bakabona, Abaleevi n’ekika kyonna ekya Leevi, tebaafunenga mugabo oba bya busika mu Isirayiri. Banaaweebwanga ku biweebwayo ebyokebwa ebinaaleetebwanga eri Mukama Katonda; ogwo gwe gunaabanga omugabo ogw’obusika bwabwe. 2Tebaabeerenga na mugabo gwa busika nga bannaabwe abalala bonna mu Isirayiri, kubanga Mukama Katonda yabasuubiza nga y’anaabanga obusika bwabwe.

318:3 Lv 7:28-34Bino bakabona bye banaagabananga ku biweebwayo eby’ente za sseddume n’endiga abantu bye banaabanga baleese: bakabona banaafunangako omukono n’emba zombi, n’eby’omu lubuto. 418:4 Kuv 22:29; Kbl 18:12Era onoobawanga ebibala byo ebibereberye eby’emmere ey’empeke, n’ebya wayini wo, n’amafuta go, n’ebyoya ebisooka eby’endiga zo. 518:5 a Kuv 28:1 b Ma 10:8Kubanga Mukama Katonda wo yeeroboza Leevi n’ezzadde lye mu bika byo byonna okuweerezanga mu linnya lya Mukama emirembe n’emirembe. 618:6 Kbl 35:2-3Omuleevi bw’anaavanga mu kimu ku bibuga byo ebiri mu Isirayiri gy’abadde atuula, n’ajja nga bw’anaabanga yeeteeserezza, n’ajja mu kifo Mukama Katonda ky’aneeronderanga, 7anaayinzanga okuweereza mu linnya lya Mukama Katonda we okufaanana nga Abaleevi banne abalala aba buli kiseera abanaabanga baweereza mu linnya lya Mukama Katonda mu kifo ekyo. 818:8 2By 31:4; Nek 12:44, 47Anaagabananga kyenkanyi ne banne abaabulijjo, ne bw’anaabanga ng’alina ensimbi ezize ku bubwe z’anaabanga aggye mu by’omu maka ge by’atunze.

Okuwera Empisa ez’Obulogo n’Obusamize

918:9 Ma 12:29-31Bw’onooyingira mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, weekuume obutayiga kukopperera mpisa embi ez’abantu ab’omu mawanga g’olisanga mu nsi omwo. 1018:10 a Ma 12:31 b Lv 19:31Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja, 11oba asuula abantu eddalu, oba emmandwa, oba omusamize, oba omulubaale, oba ayogera n’emizimu, oba eyeebuuza ku baafa. 1218:12 Lv 18:24; Ma 9:4Omuntu yenna anaakolanga ebintu ng’ebyo, anaabanga kivume era ekyomuzizo eri Mukama. Era olwokubanga ab’omu mawanga ago bakola ebyomuzizo ebyo, Mukama Katonda wo kyanaava abagoba mu nsi omwo ng’ogiyingira. 13Kikugwanira obenga muwulize nnyo, atuukiridde mu maaso ga Mukama Katonda wo. 14Newaakubadde ng’abantu ab’omu mawanga ago b’ogenda okulyako ensi yaabwe, bagondera nnyo abalaguzi n’abasamize, naye ebyo Mukama Katonda wo, ggwe, takukkiriza kubikola.

Okusuubizibwa Nnabbi Omuggya

1518:15 Yk 1:21; Bik 3:22*; 7:37*Mukama Katonda wo agenda kukuyimusiza Nnabbi ali nga nze, ng’amuggya mu bantu bo. Nnabbi oyo mumuwulirizanga era mumugonderanga. 1618:16 Kuv 20:19; Ma 5:23-27Kubanga ekyo kye wasaba Mukama Katonda wo ku lunaku olw’okukuŋŋaana ku lusozi Kolebu ng’ogamba nti, “Sisaanidde kuddayo nate kuwulira ddoboozi lya Mukama Katonda wange wadde okuddayo okulaba omuliro guno omungi, nneme okufa.”

17Mukama Katonda kwe kunnyanukula nti, “Kye bagambye kirungi era kituufu. 1818:18 a Is 51:16; Yk 17:8 b Yk 4:25-26; 8:28; 12:49-50Nzija kubayimusiza Nnabbi ali nga ggwe okuva wakati mu bo; Nze nnaasanga ebigambo byange mu kammwe ke, ye n’abategeezanga bye nnaamulagiranga. 1918:19 Bik 3:23*Omuntu yenna ataagonderenga bigambo Nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lyange, Nze kennyini, Nze nnaamwekolerangako. 2018:20 a Yer 14:14 b Ma 13:1-5Naye nnabbi anaayogeranga mu linnya lya bakatonda abalala, oba aneetulinkirizanga nti ayogera mu linnya lyange, songa si Nze mmulagidde okubyogera, nnabbi oyo wa kufa.”

21Oyinza okwebuuza nti, “Tunaamanyanga tutya ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’anaabanga abyogedde?” 2218:22 a Yer 28:9 b nny 20Ebigambo nnabbi by’anaayogeranga mu linnya lya Mukama bwe bitaatuukirirenga oba bwe bitaabenga bya mazima, ng’ebigambo ebyo Mukama Katonda si y’abyogedde. Nnabbi oyo by’anaabanga ayogedde anaabanga abiyiiyizza buyiiya. Ebyo tebibatiisanga.