民数记 22 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 22:1-41

摩押王召巴兰

1以色列人继续前行,抵达约旦河东岸的摩押平原,在耶利哥对面安营。 2西拨的儿子摩押巴勒及其人民得知以色列人杀败了亚摩利人, 3又见他们人多势众,都惊恐万状, 4米甸的长老说:“这群人将吞掉我们周围的一切,如同牛吃光田间的草一样。”那时,西拨的儿子巴勒摩押王。 5他差遣使者到幼发拉底河附近的毗夺——比珥的儿子巴兰的家乡,去召巴兰。他让使者带去的信息是:“有一个民族从埃及铺天盖地而来,就住在我对面。 6他们比我强大,求你为我咒诅他们。这样,我也许就能击败他们,把他们赶走。我知道你祝福谁,谁就蒙福;你咒诅谁,谁就遭祸。”

7摩押米甸的长老们带着占卜的礼金去见巴兰,把巴勒的话转告他。 8巴兰说:“你们今夜住在这里,我必照耶和华的旨意回复你们。”摩押的使臣就在巴兰那里住下。 9晚上,上帝来问巴兰:“住在你这里的是谁?” 10巴兰回答说:“他们是摩押西拨的儿子巴勒派来的使臣, 11前来告诉我说,‘有一个民族从埃及铺天盖地而来。请你去咒诅那民族,这样巴勒王或许能击败他们,把他们赶走。’” 12上帝对巴兰说:“你不可跟他们去,也不可咒诅那民族,因为那民族是蒙福的。”

13第二天清早,巴兰巴勒的使臣说:“你们回去吧,耶和华不准我跟你们去。” 14摩押的使臣回去对巴勒说:“巴兰不肯跟我们来。” 15巴勒又派去更多、更尊贵的使臣。 16他们到了巴兰那里,对他说:“西拨的儿子巴勒请你务必去一趟, 17他必有重赏。你要什么都可以,只求你去为他咒诅那民族。” 18巴兰回答说:“巴勒就是把他满屋的金银都给我,我也不能在任何事上违背我的上帝耶和华的命令。 19你们可以在这里过夜,看看耶和华对我还有什么吩咐。” 20当夜,上帝来对巴兰说:“这些人既然来请你,你就跟他们去吧,但你只可照我说的做。” 21巴兰清早起来,备好驴,跟摩押的使臣去了。

上帝拦阻巴兰

22巴兰这一去,激怒了上帝。巴兰骑着驴,带着两个仆人正走在途中,耶和华的天使拦住他的去路。 23驴看见耶和华的天使持刀拦在路上,就离开大路,跑进田间。巴兰鞭打它,要它回到路上。 24耶和华的天使又站在葡萄园之间的一条窄路上,两边都是墙。 25驴看见耶和华的天使,就靠着墙边走,将巴兰的脚挤伤了。巴兰又鞭打它。 26耶和华的天使又走到前面,站在狭窄之处,两边都无侧身通过的余地。 27驴看见耶和华的天使,就卧在地上,巴兰大怒,便用杖打它。 28耶和华使驴开口对巴兰说:“我做错了什么,你竟打我三次!” 29巴兰说:“因为你戏弄我。如果我手中有刀,早就把你宰了!” 30驴对巴兰说:“我是你从小就骑的驴,我可曾这样对你?”巴兰说:“没有。”

31那时,耶和华开了巴兰的眼,他才看见耶和华的天使持刀拦在路上,便俯伏在地。 32耶和华的天使对他说:“你为何三次打你的驴?我特意来阻挡你,因为你走的路在我眼中是邪路。 33你的驴看见我,一连躲避了三次,驴若没有躲开,我早已杀了你,只放过驴。” 34巴兰对耶和华的天使说:“我有罪了,我不知道是你拦在路上。如果你反对我去,我就回去。” 35耶和华的天使说:“跟这些人去吧,但你只许按我的指示说话。”于是,巴兰巴勒的使臣去了。

36巴勒听见巴兰来了,就来到边界尽头、亚嫩河边的摩押城迎接他。 37巴勒巴兰说:“上次派人请你,你为何不肯来?难道我不能给你重赏吗?” 38巴兰说:“现在我已经来了,但我不能随便发言,只能按上帝的指示说话。” 39巴兰巴勒一同来到基列·胡琐40巴勒宰牛杀羊赏给巴兰和随行的臣仆。 41次日清晨,巴勒巴兰上到巴力巴末22:41 巴力巴末”希伯来文是“巴力的高岗”之意。,从那里可以看到一部分以色列人。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 22:1-41

Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki

122:1 Kbl 33:48Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.

222:2 Bal 11:25Balaki mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abamoli. 322:3 Kuv 15:15Mowaabu n’atya nnyo kubanga abantu abo baali bangi nnyo. Mowaabu okutya abaana ba Isirayiri ne kumusukkirira.

4Awo Mowaabu n’agamba abakulembeze ba Midiyaani nti, “Ogubiina gw’abantu bano bajja kulya byonna bye tuli nabyo ebitwetoolodde ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli, eyali kabaka wa Mowaabu mu biseera ebyo, 522:5 Ma 23:4; Yos 13:22; 24:9; Nek 13:2; Mi 6:5; 2Pe 2:15n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli, eyali mu Pesoli, ekiriraanye Omugga, mu nsi y’ewaabwe, okumuyita ng’amugamba nti,

“Abantu bali wano, baavudde mu Misiri, basaanikidde ensi yonna we batudde; basiisidde wano okunninaana. 622:6 nny 12, 17; Kbl 23:7, 11, 13Kale nno, nkusaba ojje onkolimirire abantu bano, kubanga bampitiridde amaanyi. Oboolyawo lwe ndisobola okubawangula ne mbagoba mu nsi yange. Kubanga mmanyi nga gw’okolimira akolimirwa, ne gw’osabira omukisa aweebwa omukisa.”

722:7 Kbl 23:23; 24:1Awo ababaka abaatumibwa, abaali abakulembeze ba Mowaabu n’abakulembeze ba Midiyaani, ne basitula nga batutte n’ensimbi ez’okumusasula. Bwe baatuuka eri Balamu ne bamutegeeza obubaka Balaki bwe yabatuma.

822:8 nny 19Balamu n’abagamba nti, “Musule wano leero, nange nnaabatuusaako ekigambo Mukama ky’anaaba aŋŋambye.” Bwe batyo abakungu abaava mu Mowaabu ne basula ewa Balamu.

922:9 a Lub 20:3 b nny 20Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti, “Bantu ki bano abali naawe?” 10Balamu n’addamu Katonda nti, “Balaki mutabani wa Zipoli, Kabaka wa Mowaabu ye yampeereza obubaka buno ng’agamba nti, 11‘Abantu abavudde mu Misiri basaanikidde ensi we batudde. Kale nno jjangu obankolimirire. Oboolyawo ekyo kiyinza okunsobozesa okubalwanyisa ne mbagoba mu nsi yange.’ ”

1222:12 Lub 12:2; 22:17; Kbl 23:20Naye Katonda n’agamba Balamu nti, “Togenda na bantu abo. Abantu bali tekikugwanidde kubakolimira, kubanga baaweebwa omukisa.”

13Enkeera mu makya Balamu n’azuukuka, n’agamba abakungu abaatumibwa Balaki nti, “Muddeeyo mu nsi yammwe, kubanga Mukama Katonda aŋŋaanye okugenda nammwe.”

14Abakungu aba Mowaabu ne bakomawo eri Balaki ne bamugamba nti, “Balamu yagaanye okujja naffe.”

Katonda Akkiriza Balamu Okugenda

15Balaki ne yeeyongera okutuma abakungu abalala, nga baabitiibwa binene era nga bangi okusingako ku bali abaasooka. 16Ne bajja eri Balamu ne bamugamba nti,

“Bw’ati bw’ayogera Balaki mutabani wa Zipoli nti, ‘Nkwegayiridde, tokkiriza kintu kyonna kukuziyiza kujja gye ndi; 1722:17 a nny 37; Kbl 24:11 b Kbl 24:6kubanga nzija kutumbula nnyo ekitiibwa kyo, era ŋŋenda kukukolera kyonna ky’ononsaba. Jjangu onkoliimiririre abantu bano.’ ”

1822:18 nny 38; Kbl 23:12, 26; 24:13; 1Bk 22:14; 2By 18:13; Yer 42:4Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange. 1922:19 nny 8Kale nno musule wano olwa leero, nga bannammwe bwe baakola, nange mpulire Mukama Katonda ky’anaayongera okuŋŋamba.”

2022:20 a Lub 20:3 b nny 35, 38; Kbl 23:5, 12, 16, 26; 24:13; 2By 18:13Mu kiro ekyo Katonda n’ajja eri Balamu n’amugamba nti, “Obanga abantu abo bakuddukidde, genda nabo, naye okole ekyo kyokka kye nnaakulagira okukola.”

Endogoyi ya Balamu Eyogera

21Balamu n’agolokoka mu makya, n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye, n’agenda n’abakungu ba Mowaabu. 2222:22 a Kuv 4:14 b Lub 16:7; Kuv 23:20; Bal 13:3, 6, 13Naye Katonda n’asunguwala nnyo kubanga Balamu yagenda, malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, abaweereza be babiri nabo baali naye. 2322:23 a Yos 5:13 b nny 25, 27Endogoyi n’eraba malayika wa Mukama Katonda ng’ayimiridde mu kkubo, n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe; endogoyi n’ekyama n’eva mu kkubo n’eraga mu nnimiro. Balamu n’agikuba agizze mu kkubo.

24Malayika wa Mukama Katonda n’ayimirira mu kakubo akafunda akayita wakati w’ennimiro z’emizabbibu nga ziriko ekisenge ku buli luuyi. 25Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda ne yeenyigiriza ku kisenge, n’ebetenterako ekigere kya Balamu. N’ayongera okugikuba.

26Malayika wa Mukama Katonda ne yeeyongerayo mu maaso, n’ayimirira mu kakubo akafunda ennyo, awataali kabanga ka kwekyusizaamu kulaga ku mukono ogwa ddyo wadde ku gwa kkono. 2722:27 Kbl 11:1; Yak 1:19Endogoyi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda n’egalamira wansi, nga Balamu ye agituddeko; obusungu bwa Balamu ne bubuubuuka, n’akuba endogoyi n’omuggo gwe. 2822:28 a 2Pe 2:16 b nny 32Awo Mukama Katonda n’ayasamya akamwa k’endogoyi, n’egamba Balamu nti, “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino gyonsatule?”

2922:29 Ma 25:4; Nge 12:10; 27:23-27; Mat 15:19Balamu n’agamba endogoyi nti, “Kubanga onfudde atategeera! Singa mbadde n’ekitala mu mukono gwange nandikuttiddewo kaakano.”

30Endogoyi n’egamba Balamu nti, “Siri ndogoyi yo gye weebagadde ebbanga lyonna n’okutuusa ku lunaku lwa leero? Ebadde mpisa yange okukukola bwe nti?” Balamu n’addamu nti, “Nedda.”

Malayika Alabula Balamu

3122:31 Lub 21:19Awo Mukama Katonda n’alyoka azibula amaaso ga Balamu, n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde wakati mu kkubo n’ekitala ekisowoddwa nga kiri mu mukono gwe. N’awunzika omutwe gwe, ne yeevuunika wansi n’avuunama.

32Malayika wa Mukama Katonda n’amugamba nti, “Lwaki endogoyi ogikubye emirundi egyo gyonsatule? Laba, nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte terinsanyusa. 3322:33 nny 29Endogoyi yandabye n’enneebalama emirundi egyo esatu. Singa teyanneebalamye, nandibadde ggwe nkusse, naye yo nga ngirese.”

3422:34 Lub 39:9; Kbl 14:40; 1Sa 15:24, 30; 2Sa 12:13; 24:10; Yob 33:27; Zab 51:4Balamu n’agamba malayika wa Mukama Katonda nti, “Nnyonoonye. Saategedde nti ggwe oyimiridde mu kkubo okunziyiza. Kale nno nga kye nkoze bwe kitakusanyusizza, ka nzireyo eka.”

35Malayika wa Mukama Katonda n’agamba Balamu nti, “Genda n’abasajja abo, naye ebigambo bye nnaakulagira bye byokka by’oba oyogera.” Bw’atyo Balamu n’agenda n’abakungu ba Balaki.

Balamu Akyalira Balaki

3622:36 Kbl 21:13Balaki bwe yawulira nga Balamu ajja, n’afuluma okugenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku nsalo ya Alumoni, ku nkomerero y’amatwale ge. 37Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”

3822:38 Kbl 23:5, 16, 26Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.” 39Bw’atyo Balamu n’agenda ne Balaki ne bajja e Kiriasikuzosi. 4022:40 Kbl 23:1, 14, 29; Ez 45:23Balaki n’awaayo ekiweebwayo eky’ente n’endiga, n’aweerezaako ne ku Balamu n’abakungu abaali naye. 4122:41 a Kbl 21:28 b Kbl 23:13Enkeera Balaki n’atwala Balamu n’amulinnyisa ku bifo bya Bamosi Baali22:41 Bamosi Baali Kitegeeza omununuzi. Ye yali lubaale wa laddu mu bantu abaabeeranga mu Busuuli ne mu Kanani., n’asinziira awo okulengera ku kitundu eky’abantu ba Isirayiri abaali okumpi.