民数记 19 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 19:1-22

红母牛的灰

1耶和华对摩西亚伦说: 2“要吩咐以色列人遵行我颁布的以下律法条例。

以色列人要牵来一头毫无残疾、从未负过轭的红母牛。 3你们要把牛交给以利亚撒祭司,然后牵到营外,当着他的面把牛宰了。 4以利亚撒祭司要用指头蘸牛血,向会幕前面弹七次。 5然后,要当着他的面焚烧红母牛,牛的皮、肉、血和粪都要烧掉。 6祭司要把香柏木、牛膝草、朱红色线扔进烧牛的火里。 7之后,祭司要洗衣沐浴,才能回营,但要等到傍晚才能洁净。 8负责烧牛的人也要洗衣、沐浴,并且要等到傍晚才能洁净。 9要由洁净的人把红母牛灰收起来,放在营外洁净的地方,用于给以色列会众制作除秽水,作除罪之用。 10收起牛灰的人也要洗净衣服,等到傍晚才能洁净。以色列人和寄居的外族人都要永远遵行这定例。

11“碰过尸体的人,七天不洁净。 12他要在第三天和第七天用除秽水自洁,才能洁净,否则就不能洁净。 13若有人碰过尸体却不自洁,他就玷污了耶和华的圣幕,要将他从以色列人中铲除,因为除秽水没有洒在他身上,污秽还留在他身上。 14若有人死在帐篷里,当时走进帐篷的或在场的人都七天不洁净。 15帐篷里没有盖的敞口器皿都不洁净。 16人若在野外碰过被杀或自然死亡之人的尸体,或碰过死人的骸骨或坟墓,就七天不洁净。 17要拿些除罪用的红母牛灰,放在器皿里,倒上清水, 18然后由洁净的人拿牛膝草蘸这水洒在帐篷及里面所有的人和器具上,也要洒在碰过骸骨、坟墓、被杀者尸体或自然死亡者尸体的人身上。 19要由洁净的人在第三天和第七天把水洒在不洁净的人身上。到第七天,接受洁净礼的人要洗衣、沐浴,等到傍晚才能洁净。 20若有人沾了污秽却没有用除秽水自洁,他就不洁净,要将他从会众中铲除,因为他玷污了耶和华的圣所。 21你们要永远遵行这定例。洒除秽水的人要洗净衣服。碰过除秽水的人要等到傍晚才能洁净。 22不洁净的人碰过的东西都不洁净,碰过这些东西的人傍晚之前都不洁净。”

Luganda Contemporary Bible

Okubala 19:1-22

Okutukuza Atali Mulongoofu

1Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 219:2 a Lub 15:9; Beb 9:13 b Lv 22:19-25 c Ma 21:3; 1Sa 6:7“Kino kye kiragiro eky’etteeka Mukama ky’alagidde: Gamba abaana ba Isirayiri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko kamogo wadde ekikyamu kyonna, era nga tesibibwangamu kikoligo. 319:3 a Kbl 3:4 b Lv 4:12, 21; Beb 13:11Ogiwanga Eriyazaali kabona; eneetwalibwanga ebweru w’olusiisira n’ettirwa mu maaso ge. 419:4 Lv 4:17Eriyazaali anaddiranga ku musaayi gwayo n’olunwe lwe n’agumansira okwolekera obwenyi bwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu emirundi musanvu. 519:5 Kuv 29:14Ente eyo eneeyokerwanga mu maaso ge; ne bookya eddiba lyayo, n’ennyama yaayo, n’omusaayi gwayo n’obusa bwayo. 619:6 a nny 18; Zab 51:7 b Lv 14:4Kabona anaddiranga omuti omwerezi, n’ezobu n’olugoye olumyufu n’abisuula wakati mu nte eyokebwa. 719:7 Lv 11:25; 16:26, 28; 22:6Ebyo nga biwedde kabona anaayozanga ebyambalo bye n’anaaba omubiri gwe n’amazzi. Anaddangayo mu lusiisira, naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 8N’omusajja anaayokyanga ente eyo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi, era naye anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.

919:9 a Beb 9:13 b nny 13; Kbl 8:7“Omusajja omulongoofu anaayoolanga evvu ly’ente, anaaliteekanga mu kifo ekirongoofu ebweru w’olusiisira. Linaalabirirwanga abaana ba Isirayiri ne balikozesanga mu mazzi ag’okwerongoosa; kwe kulongoosebwa okw’okuggibwako ekibi. 10Omuntu oyo anaayoolanga evvu ly’ente, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Eryo linaabanga etteeka ery’emirembe n’emirembe eri abaana ba Isirayiri n’eri bannamawanga abanaatuulanga mu bo.

1119:11 a Lv 21:1; Kbl 5:2 b Kbl 31:19“Buli anaakwatanga ku mulambo ogw’omuntu yenna, anaabanga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu. 1219:12 nny 19; Kbl 31:19Kinaamusaaniranga okwerongoosa n’amazzi ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, olwo n’alyoka abeera omulongoofu. Naye bw’ateerongoosenga ku lunaku olwokusatu ne ku lunaku olw’omusanvu, taabenga mulongoofu. 1319:13 a Lv 20:3 b Lv 15:31; 2By 36:14 c Lv 7:20; 22:3 d Kag 2:13Buli anaakwatanga ku mulambo gw’omuntu n’ateelongoosa, anaabanga ayonoonye ennyumba ya Mukama Katonda. Omuntu oyo anaagobwanga mu Isirayiri. Kubanga teyamansirwako mazzi agalongoosa, anaabeeranga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe bunaamusigalangako.

14“Lino lye tteeka erikwata ku muntu anaafiiranga mu weema: Buli anaayingiranga mu weema omwo n’oyo anaabanga agirimu banaabanga abatali balongoofu okumala ennaku musanvu. 15Buli kintu ekiterekwamu ekyasaamiridde ekitaliiko kisaanikira tekiibenga kirongoofu.

1619:16 a Kbl 31:19 b Mat 23:27“Omuntu yenna ng’abadde ali ebweru mu kyererezi, n’akwata ku muntu attiddwa n’ekitala oba olumbe gwe lusse, oba omuntu yenna anaakwatanga ku ggumba ly’omuntu oba ku malaalo, anaabeeranga atali mulongoofu okumala ennaku musanvu.

1719:17 nny 9“Nga mukola ku muntu atali mulongoofu, munaatoolanga ku vvu ery’oku kiweebwayo olw’ekibi ne muliteeka mu bbakuli ne muliyiwako amazzi amalungi. 1819:18 nny 6Omusajja omulongoofu anaddiranga ezobu n’aginnyika mu mazzi, n’agamansira ku weema ne ku bintu byamu byonna ne ku bantu bonna abanaabanga balimu. Era anaamansiranga ne ku muntu anaabanga akutte ku ggumba ery’omuntu, ne ku malaalo, ne ku muntu attiddwa, ne ku oyo afudde olumbe. 1919:19 Ez 36:25; Beb 10:22Omusajja omulongoofu anaamansiranga ku oyo atali mulongoofu ku lunaku olwokusatu ne ku lw’omusanvu, ne ku lunaku olw’omusanvu anaabanga amulongoosezza. Omuntu oyo alongoosebwa anaayozanga engoye ze mu mazzi, n’okunaaba n’anaaba yenna; era akawungeezi ako anaabeeranga mulongoofu.

Ekibonerezo eky’Obuteerongoosa

20“Naye omuntu atali mulongoofu bw’ateerongoosenga anaagobwanga mu banne bonna, n’asalibwa ku kibiina kyabwe, kubanga anaabeeranga ayonoonye awatukuvu wa Mukama Katonda. Amazzi agalongoosa nga tegamumansiddwako, taabeerenga mulongoofu. 21Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya mirembe gyonna. Oyo anaamansiranga amazzi ag’obulongoofu, naye anaayozanga engoye ze, n’oyo anaakwatanga ku mazzi ag’okulongoosa anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 2219:22 Lv 5:2; Kag 2:13, 14Buli kintu atali mulongoofu ky’akwatako, kinaabanga ekitali kirongoofu; na buli anaakikwatangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.”