民数记 18 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 18:1-32

祭司和利未人的职责

1耶和华对亚伦说:“你和你的儿子及亲族要承担触犯圣所的罪责;你和你儿子也要承担触犯祭司职务的罪责。 2你和你儿子在安放约柜的圣幕供职时,要把你们利未支派的亲族也一同带去,让他们协助你。 3他们要遵守你的吩咐,看守整个圣幕,但不可接近圣所的器具和祭坛,以免他们和你们都死亡。 4他们要协助你,负责看守圣幕,办理圣幕的一切事务。外人不可靠近。 5你们要看守圣所和祭坛,以免我的愤怒再临到以色列人。 6我已从以色列人中选出你们的利未亲族归给我,协助你们在会幕中司职。 7你和你儿子要尽祭司的本分,负责祭坛和至圣所的一切事务。祭司的职分是我赏赐给你们的,外人若近前来,必被处死。”

祭司当得之物

8耶和华对亚伦说:“你看!我让你照管以色列人献给我的礼物,把举祭等一切圣物赐给你和你的子孙,作为你们应得之份。此律永远不变。 9以色列人献给我的至圣之物——素祭、赎罪祭和赎过祭中留下不烧的部分都归你和你的子孙。 10你们男子都可以吃这些圣物,要在极其圣洁的地方吃。要把这些视为圣物。 11以色列人献的举祭和摇祭都归你,我已把它们赐给你和你的儿女,这是永远的定例。你家中所有洁净的人都可以吃。 12我把以色列人献给耶和华的初熟之物——最好的新油、新酒和五谷都赐给你。 13他们献给耶和华的一切初熟之物都归你,你家中洁净的人都可以吃。 14以色列人永远献上的一切18:14 永远献上的一切”指彻底奉献给耶和华的人或物,要么被毁灭,要么被献为供物。都要归你。 15奉献给耶和华的长子和头生的牲畜都归你,但要赎出长子和不洁净的头生牲畜。 16他们要在满月的时候被赎回,以圣所的秤为准,即一舍客勒是二十季拉,赎价是五十五克银子。 17头生的牛、绵羊和山羊不用赎出来,它们都是圣物。你要把它们的血洒在祭坛上,把脂肪烧掉,作为献给耶和华的馨香火祭; 18它们的肉要归你,正如摇祭的胸肉和举祭的右腿肉一样。 19以色列人献给耶和华的圣物中,我把举祭赐给你和你的儿女,这是永远的定例,是我与你及你的后代所立的永世之约。”

20耶和华对亚伦说:“你在以色列人将得之地不可有产业,不可有份于他们的财产,因为我是你在以色列人中的所得之份,是你的产业。

利未人应得之物

21“我要把以色列人出产的十分之一赐给利未人作产业,作为他们在会幕司职的酬劳。 22今后以色列人不可走近会幕,以免因犯罪而死。 23只有利未人可在会幕司职,他们要担负触犯圣幕的罪责,这是你们世世代代要遵守的条例。利未人在以色列人中不可有产业, 24因为我已经把以色列人给耶和华的十分之一出产赐给他们作产业。因此,我吩咐他们不可在以色列人中有产业。”

利未人应纳的十分之一

25耶和华对摩西说: 26“你把以下条例告诉利未人。

“你们从以色列人手中得到我赐给你们作产业的十分之一后,要从中取出十分之一作为举祭献给耶和华, 27这就算作你们献上了麦场的五谷和榨酒池的酒。 28这样,你们要从以色列人给你们的十分之一中,拿出一部分献给耶和华作举祭,将这举祭归给亚伦祭司。 29你们要把所得之物中至圣至好的献给耶和华作举祭。

30“你要告诉利未人,‘你们奉献了最好的以后,其余的算作你们麦场上的五谷和榨酒池的酒, 31你们和家人可以在任何地方吃,因为这些是你们在会幕司职的酬劳。 32你们献上最好的以后,就不会获罪了。你们不可亵渎以色列人献上的圣物,免得死亡。’”

Luganda Contemporary Bible

Okubala 18:1-32

Emirimu gya Bakabona n’egy’Abaleevi

118:1 Kuv 28:38Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Ggwe, ne batabani bo, n’ab’omu kika kyo bonna, mmwe munaavunaanyizibwanga olw’emisango eginazzibwanga ku watukuvu; era ggwe ne batabani bo mwekka mmwe muneetikkanga obuvunaanyizibwa ku misango eginazzibwanga ku bwakabona. 218:2 Kbl 3:10Onooleetanga Abaleevi banno ab’omu kika kyo eky’obujjajja ne babeegattako, ggwe ne batabani bo, okubayambanga bwe munaabanga muweereza mu Weema ya Mukama omuli Essanduuko ey’Endagaano. 318:3 a Kbl 1:51 b nny 7; Kbl 4:15Banaaweererezanga wansi wo nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema ya Mukama; naye beekuumenga balemenga okusemberera ekyoto wadde eby’omu watukuvu byonna; bwe balikikola, bo naawe mugenda kufa. 4Bagenda kukwegattako, balabirirenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakola emirimu gyonna egy’omu Weema, era tewaabenga mugwira n’omu anaasemberanga we muli.

518:5 Kbl 16:46“Mmwe munaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’emirimu gyonna egy’awatukuvu n’egy’Ekyoto, olwo obusungu buleme kuddamu kubuubuukiranga ku baana ba Isirayiri. 618:6 Kbl 3:9Kale weeteegereze: nziridde ab’omu lulyo lwo olw’Abaleevi nga mbalonze mu baana ba Isirayiri, ne mbakukwasa ng’ekirabo ekiweereddwayo eri Mukama Katonda okukolanga emirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 718:7 a Beb 9:3, 6 b nny 20; Kuv 29:9 c Kbl 3:10Naye ggwe ne batabani bo mwekka mmwe munaakolanga emirimu gyonna egy’obwakabona bwammwe egikwata ku kyoto n’egy’omunda w’eggigi. Obuweereza obw’Obwakabona mbubawadde ng’ekirabo. Omuntu yenna omulala anaasemberanga okumpi n’awatukuvu, anaafanga.”

Omugabo gwa Bakabona n’ogw’Abaleevi

818:8 Lv 6:16; 7:6, 31-34, 36Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Laba, Nze kennyini nkukwasizza ebiweebwayo byonna ebireetebwa gye ndi; ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga mbikuwadde ggwe ne batabani bo nga gwe mugabo gwammwe ogw’olubeerera18:8 Abaleevi tebaalina mugabo gwonna mu Isirayiri. Abaleevi baalina ebibuga bitono n’ebifo mwe baalundiranga nga bitono. Kyokka bakabona bo tebaalina kintu. Abaleevi baafunanga empeera yaabwe okuva mu kimu eky’ekkumi ekyaweebwangayo Abayisirayiri (nny. 25-32). Abaleevi baafunanga ne ku ssaddaaka ezaweebwangayo abantu. Era ssaddaaka ezo baaziryanga n’ab’omu maka gaabwe ebweru w’awatukuvu (nny. 11).. 918:9 a Lv 2:1 b Lv 6:25 c Lv 5:15; 7:7Ku biweebwayo byonna ebitukuvu ennyo ebitayokeddwa mu muliro kunaabangako ebibyo. Omugabo gwo ne batabani bo gunaavanga ku birabo ebitukuvu ennyo abaana ba Isirayiri bye banandeeteranga: ebiweebwayo eby’emmere y’empeke oba ebiweebwayo olw’ekibi, oba ebiweebwayo olw’omusango. 1018:10 Lv 6:16Omugabo ogwo onooguliiranga mu kifo ekitukuvu ennyo, era buli musajja anaagulyangako. Osaana okitegeere ng’ebyo bitukuvu nnyo.

1118:11 a Kuv 29:26 b Lv 22:1-16“Bino nabyo binaabanga bibyo: ku birabo bye banandeeteranga, n’ebiweebwayo ebiwuubibwawuubibwa eby’abaana ba Isirayiri. Ebyo mbikuwadde ne batabani bo ne bawala bo okuba omugabo gwo ogw’olubeerera. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.

1218:12 Kuv 23:19; Nek 10:35“Nkuwadde ku mafuta ag’omuzeeyituuni agasinga obulungi ne ku wayini omusu, ne ku mmere y’empeke embereberye bye baleetera Mukama eby’amakungula gaabwe. 1318:13 Kuv 22:29; 23:19Ebibala ebinaasookanga okwengera mu nnimiro zaabwe, bye banaaleeteranga Mukama Katonda, binaabanga bibyo. Buli muntu yenna ow’omu maka go omulongoofu anaalyangako.

1418:14 Lv 27:28“Buli kintu kyonna mu Isirayiri ekiweereddwayo ddala ne kiwongebwa eri Mukama kinaabanga kikyo. 1518:15 a Kuv 13:2 b Kbl 3:46 c Kuv 13:13Buli ekinaggulangawo enda y’omuntu oba ey’ekisolo, nga kyakuwaayo eri Mukama Katonda, kinaabanga kikyo. Naye omwana omubereberye ow’omuntu onoomununulanga, era n’embereberye ez’ensolo ezitali nnongoofu nazo onoozinunulanga. 1618:16 a Lv 27:6 b Kuv 30:13Ebyo eby’okununula onoobinunulanga bimaze okuweza omwezi gumu ogw’obukulu. Onoobinunuliranga ku muwendo ogwagerekebwa ogwa gulaamu amakumi ataano mu ttaano, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri.

1718:17 a Ma 15:19 b Lv 3:2“Naye embereberye ey’ente, oba embereberye ey’endiga oba ey’embuzi, ezo toozinunulenga, kubanga zo ntukuvu. Onoomansiranga omusaayi gwazo ku kyoto, n’oyokya amasavu gaazo mu muliro ng’ekiweebwayo ekyokebwa ekivaamu akawoowo akasanyusa Mukama Katonda. 1818:18 Lv 7:30Ennyama yaazo eneebanga yiyo ng’ekiweebwayo ky’ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi ekya ddyo bwe kiri ekikyo. 1918:19 Lv 2:13; 2By 13:5Ebiweebwayo byonna ebitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaaleeteranga Mukama, mbikuwadde, ggwe ne batabani bo, ne bawala bo, okubeeranga omugabo gwo ogw’olubeerera. Eneebeeranga endagaano ey’omunnyo eya Mukama wakati we naawe n’ezzadde lyo emirembe gyonna.”

2018:20 a Ma 12:12 b Ma 10:9; 14:27; 18:1-2; Yos 13:33; Ez 44:28Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, “Toobenga na byabusika mu nsi yaabwe, so toobenga na mugabo gwonna mu bo; Nze mugabo gwo era Nze busika bwo mu baana ba Isirayiri.

Ekitundu eky’ekkumi Okukiwa Abaleevi

2118:21 a Ma 14:22; Mal 3:8 b Lv 27:30-33; Beb 7:5“Ebitundu eby’ekkumi byonna abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga, mbiwadde Abaleevi okubeeranga omugabo gwabwe nga ye mpeera yaabwe olw’omulimu gwe bakola nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 2218:22 Lv 22:9; Kbl 1:51Era okuva leero abaana ba Isirayiri tebaasembererenga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, si kulwa nga bakolerayo ebibi, ne bafa. 2318:23 nny 20Abaleevi be banaakolanga emirimu egy’omu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, era be baneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe banaakolerangayo ebibi. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Tebaafunenga byabusika mu baana ba Isirayiri. 24Kubanga ebitundu eby’ekkumi abaana ba Isirayiri bye banaaleetanga ng’ekiweebwayo eri Mukama, mbiwadde Abaleevi okubeera omugabo gwabwe. Noolwekyo tebaabenga na byabusika mu baana ba Isirayiri.”

Ekitundu eky’Ekkumi Abaleevi kye baawangayo

25Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2618:26 a nny 21 b Nek 10:38“Yogera n’Abaleevi obagambe nti, ‘Bwe munaafunanga ebitundu eby’ekkumi, bye mbawadde ng’omugabo gwammwe, nga mubiggya ku baana ba Isirayiri, munaggyangako ekitundu eky’ekkumi ne mukireeta nga kye kiweebwayo kyammwe eri Mukama Katonda. 27Ekiweebwayo kyammwe kinaabalibwanga ng’emmere y’empeke ey’omu gguuliro oba ng’omubisi ogw’omu ssogolero. 2818:28 Mal 3:8Mu ngeri eyo nammwe munaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga mukiggya ku bitundu eby’ekkumi bye munaafunanga ku baana ba Isirayiri. Ku bitundu ebyo eby’ekkumi kwe munaggyanga ekiweebwayo kya Mukama ne mukikwasa Alooni kabona. 29Mu birabo ebyo byonna bye banaabawanga munaggyangako ekisingira ddala obulungi era ekitukuvu ennyo ne mukireeta nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda.’

3018:30 nny 27“Abaleevi bagambe nti, ‘Bwe munaawangayo ebitundu ebisinga obulungi, binaababalirwangako ng’ebivudde mu gguuliro n’ebivudde mu ssogolero. 31Mmwe n’ab’omu maka gammwe munaayinzanga okubiriira wonna we munaayagalanga, kubanga eneebeeranga mpeera yammwe olw’omulimu gwe munaakolanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 3218:32 a Lv 22:15 b Lv 19:8Bwe munaawangayo ebisingira ddala obulungi, tewaabengawo musango gwonna gwe munaabanga muzzizza; bwe mutyo ebiweebwayo ebitukuvu eby’abaana ba Isirayiri munaabanga temubivumisizza, muleme okufa.’ ”