民数记 16 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 16:1-50

可拉之乱

1可拉利未的曾孙、哥辖的孙子、以斯哈的儿子。他跟吕便支派以利押的两个儿子大坍亚比兰以及比勒的儿子心中狂妄, 2联合二百五十名在以色列会众中有声望的首领反叛摩西3一起攻击摩西亚伦,说:“你们太过分了!全体会众都是圣洁的,有耶和华住在他们当中,你们凭什么将自己置于耶和华的会众之上?” 4摩西听了这话,就俯伏在地, 5可拉一伙人说:“到了明天早上,耶和华必显明谁是属于祂的,谁是圣洁的。祂必让祂所拣选的人到祂面前。 6可拉啊,你们要这样做,你和你的同伙明天带香炉来, 7在耶和华面前点火添香。耶和华拣选谁,谁就是圣洁的。你们利未人太过分了!” 8摩西又对可拉说:“利未人啊,你们听我说! 9以色列的上帝把你们从以色列会众中分别出来,使你们可以到祂面前,在祂的圣幕里司职,替会众办事,你们还不满足吗? 10可拉啊,耶和华使你和其他利未人事奉祂,你们还不满足,还要贪求祭司的职分吗? 11其实你和你的同伙合谋反叛的是耶和华,而不是亚伦。” 12摩西派人去召以利押的儿子大坍亚比兰,他们却说:“我们不去! 13你带我们离开奶蜜之乡,要让我们死在旷野,这还不够吗?你还想自立为王管辖我们吗? 14你并没有领我们到奶蜜之乡,也没有给我们田地和葡萄园作产业,你还想继续蒙骗我们吗?我们不去!”

15摩西非常愤怒,就对耶和华说:“求你不要接纳他们的祭物。我没有取过他们一头驴,也没有害过他们任何人。” 16摩西可拉说:“明天你和你的同伙要跟亚伦一起站在耶和华面前。 17每人要拿一个香炉,放上香,带到耶和华面前,共二百五十个。你和亚伦也要各拿一个香炉。” 18于是,他们都拿着香炉,盛着火和香,跟摩西亚伦一起站在会幕门口。 19可拉把全体会众招聚到会幕门口,要对付摩西亚伦。这时,耶和华的荣光向会众显现。

20耶和华对摩西亚伦说: 21“你们离开这些会众,我好在顷刻之间消灭他们。” 22摩西亚伦就伏在地上说:“上帝啊,赐人生命的上帝啊!一人犯罪,你就要向全体会众发怒吗?” 23耶和华对摩西说: 24“你叫会众离可拉大坍亚比兰的帐篷远一点。”

25于是,摩西起来去大坍亚比兰那里,以色列的长老也跟着他。 26他对会众说:“你们离这些恶人的帐篷远一点,不要碰他们的任何东西,免得你们因他们的罪而受牵连,同遭毁灭。” 27会众便离开可拉大坍亚比兰的帐篷。大坍亚比兰带着妻小出来,站在自己的帐篷门口。 28摩西对会众说:“你们很快就知道,我所做的事都是奉耶和华之命而行,并非出于私意。 29如果这些人像常人一样死去,遭遇跟世人无异,我就不是耶和华派来的。 30但如果耶和华做一件前所未有的事,使地裂开,吞下他们和属于他们的一切,使他们活生生地坠入阴间,你们就知道这些人藐视耶和华了。”

31摩西的话刚说完,这些人脚下的地就裂开, 32吞下了他们和他们的家眷及所有可拉一伙的人和财物。 33他们和属于他们的一切就这样活活地坠入阴间,地在他们上面合拢起来,他们就从会众中灭亡了。 34他们四围的以色列人听到他们的喊叫声,纷纷逃跑,生怕自己也被吞下去。 35耶和华又降下烈火,烧死了那二百五十个献香的人。

36耶和华对摩西说: 37“你叫亚伦祭司的儿子以利亚撒去从火中把香炉捡起来,把炭火撒在远处,因为那些香炉是圣洁的。 38要把那些因犯罪而丧命之人的香炉打成薄片,用来包祭坛,因为那些香炉曾被献在耶和华面前,是圣洁的,并且可让以色列人引以为戒。” 39于是,以利亚撒祭司取来被烧死之人所献的铜香炉,叫人打成薄片用来包祭坛, 40以色列人引以为戒,使亚伦子孙以外的人不致到耶和华面前烧香,以免像可拉及其同伙一样灭亡。这是按照耶和华借摩西的吩咐做的。

41第二天,以色列全体会众都埋怨摩西亚伦说:“你们害死了耶和华的子民。” 42会众聚集起来反对摩西亚伦,他们向会幕观看,忽然有云彩遮盖了会幕,耶和华的荣光显现了。 43摩西亚伦来到会幕前, 44耶和华对摩西说: 45“你们离开这些会众,我好在顷刻之间消灭他们。”他们二人就俯伏在地。 46摩西亚伦说:“取香炉来,里面放些坛上的火,添上香,赶快带到会众那里为他们赎罪,因为耶和华发怒了,瘟疫已经开始。” 47亚伦就照着摩西的吩咐取来香炉,跑到会众当中。那时瘟疫已经在人群中蔓延起来。他就在炉中放上香为民众赎罪。 48他站在活人和死人中间,瘟疫就止住了。 49除了在可拉事件中死亡的人以外,当天有一万四千七百人死于瘟疫。 50瘟疫止住后,亚伦便回到在会幕门口的摩西那里。

Luganda Contemporary Bible

Okubala 16:1-50

Okwewaggula kwa Koola ne Dasani ne Abiraamu

116:1 a Yud 11 b Kbl 26:8; Ma 11:6Lwali lumu, Koola mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne bano abava mu Lewubeeni, Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu, awamu ne Oni mutabani wa Peresi, bonna ne beewaggula 216:2 Kbl 1:16; 26:9ne basituka ne boolekera Musa. Baali ne bannaabwe abasajja Abayisirayiri ebikumi bibiri mu ataano, abaali abamanyifu ennyo mu baana ba Isirayiri era nga bakiise mu Lukiiko Olukulu. 316:3 a nny 7; Zab 106:16 b Kuv 19:6 c Kbl 14:14 d Kbl 12:2Ne bajjira wamu nga beekobaanye okwolekera Musa ne Alooni ne babagamba nti, “Mwekulumbaza nnyo! Ekibiina kyonna, buli omu mu kyo mutukuvu, ne Mukama Katonda ali nabo. Kale, lwaki mwekulumbaliza ku kibiina ky’abantu ba Mukama?”

416:4 Kbl 14:5Musa bwe yakiwulira n’avuunama wansi. 516:5 a Lv 10:3; 2Ti 2:19* b Kbl 17:5; Zab 65:4N’alyoka agamba Koola ne bonna abaali naye nti, “Enkya Mukama Katonda anaalondamu ababe, n’oyo omutukuvu, era anaasembeza omuntu oyo gy’ali. Oyo gw’anaalonda gw’anaasembeza gy’ali. 6Gwe Koola n’abagoberezi bo bonna mukole bwe muti: Muddire ebyoterezo, 7enkya mubiteekemu omuliro n’obubaane awali Mukama, oyo Mukama Katonda gw’anaalondamu, nga ye mutukuvu. Mmwe batabani ba Leevi mwekulumbazizza nnyo!”

8Musa n’agamba Koola nti, “Muwulirize, mmwe batabani ba Leevi! 916:9 Kbl 3:6; Ma 10:8Mukiraba nga kitono nnyo tekibamala, Katonda wa Isirayiri okubaawulako n’abaggya ku kibiina ekinene eky’abaana ba Isirayiri n’abasembeza w’abeera okukolanga omulimu gwa Mukama mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’okuyimiriranga mu maaso g’ekibiina n’okubaweereza? 1016:10 Kbl 3:10; 18:7Mmwe ne Baleevi bannammwe Mukama Katonda yabasembeza gy’ali, kaakano mwagala n’obwakabona nabwo mubulye? 1116:11 a 1Ko 10:10 b Kuv 16:7Noolwekyo mmwe n’abagoberezi bammwe, mwesimbye ku Mukama Katonda, era gwe mwolekedde. Kale Alooni naye ye ani, mmwe okumwemulugunyiza?”

12Awo Musa n’atumya Dasani ne Abiraamu batabani ba Eriyaabu bayitibwe bajje. Naye ne bagamba nti, “Tetujja kujja! 1316:13 a Kbl 14:2 b Bik 7:27, 35Eky’okutuggya mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki okututtira mu ddungu, kyali kitono nga tekimala? Ne kaakano oyagala okutwefuulirako omulangira otufuge? 1416:14 a Lv 20:24 b Kuv 22:5; 23:11; Kbl 20:5 c Bal 16:21; 1Sa 11:2Ng’ebyo bikyali awo, totuleese mu nsi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, wadde okutusikiza amasamba n’ennimiro z’emizabbibu. Abasajja bano oyagala obasibe kantuntunu ku maaso obalimberimbe? Nedda, tetujja kujja.”

Musa Asabira Abantu

1516:15 1Sa 12:3Awo Musa n’asunguwala nnyo n’agamba Mukama Katonda nti, “Ekiweebwayo kyabwe tokikkiriza. Tewaliiwo gwe nnali ntutteko wadde akalogoyi akamu, so tewali n’omu ku bo gwe nnali mpisizza obubi.”

1616:16 nny 6Musa n’agamba Koola nti, “Ggwe n’abo bonna abakugoberera, enkya mujje awali Mukama Katonda, ggwe nabo ne Alooni. 17Buli musajja ajje n’ekyoterezo kye akiteekemu obubaane, ebyoterezo bijja kuwera ebikumi bibiri mu ataano, mubireete awali Mukama. Ggwe ne Alooni nammwe mujja kuleeta ebyoterezo byammwe.” 18Awo buli musajja n’addira ekyoterezo kye n’akissaamu obubaane n’omuliro, bonna ne bayimirira ne Musa ne Alooni ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 1916:19 a nny 42 b Kuv 16:7; Kbl 14:10; 20:6Koola bwe yamala okukuŋŋaanya abagoberezi be abavuganya, ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeraga eri ekibiina kyonna ekyali kikuŋŋaanye. 20Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 2116:21 Kuv 32:10“Mweyawuleko muve mu kibiina kino ndyoke nkizikirize embagirawo.”

2216:22 a Kbl 14:5 b Kbl 27:16; Yob 12:10; Beb 12:9 c Lub 18:23Naye Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe wansi ne bagamba nti, “Ayi Katonda, Katonda ow’emyoyo egy’abantu bonna, omuntu omu bw’ayonoona, osunguwalira ekibiina kyonna?”

23Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 24“Muve okumpi n’eweema eza Koola ne Dasani ne Abiraamu.”

Ekibonerezo ky’Abajeemu

25Awo Musa n’asituka n’agenda eri Dasani ne Abiraamu, n’abakulembeze ba Isirayiri ne bagenda naye nga bamugoberera. 2616:26 a Is 52:11 b Lub 19:15N’agamba ekibiina kyonna nti, “Musembereeyo muve okumpi n’eweema z’abasajja bano abakozi b’ebibi! Temukwata ku kintu kyabwe n’ekimu, sikulwa nga mwenna muzikirizibwa olw’ebibi byabwe.” 27Bwe batyo ne basemberayo ne bava okumpi n’eweema za Koola, ne Dasani, ne Abiraamu. Dasani ne Abiraamu baali nga bafulumye mu weema zaabwe nga bayimiridde mu miryango gyazo, nga bali ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’obwana bwabwe obuto. 2816:28 Kuv 3:12; Yk 5:36; 6:38Awo Musa n’agamba nti, “Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama Katonda y’antumye okukola ebintu bino byonna so tekubadde kutetenkanya kwange. 2916:29 Mub 3:19Singa abasajja bano bafa olumbe olwa bulijjo, oba kugwibwako ebyo ebya bulijjo ebigwa ku bantu bonna, kinaaba kitegeeza nti Mukama si y’antumye. 3016:30 nny 33; Zab 55:15Naye singa Mukama Katonda aleetawo ekintu ekiggya ddala ekitali kya bulijjo, ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira nga balamu n’ebintu byabwe byonna, ne bagwa wansi mu gunnya oguwanvu, kale nno munaategeera ng’abasajja abo banyoomodde Mukama Katonda.”

3116:31 Mi 1:3-4Awo bwe yali nga yakamala okwogera ebigambo ebyo, ettaka bali kwe baali bayimiridde ne lyabikamu wabiri, 3216:32 Kbl 26:11; Ma 11:6; Zab 106:17ensi n’eyasamya akamwa kaayo n’ebamira n’ebintu byabwe byonna eby’omu maka gaabwe, ne basajja ba Koola bonna n’ebintu byabwe byonna. 33Baagwayo wansi mu gunnya nga balamu, n’ebintu byabwe byonna bye baalina; ensi n’ebabuutikira, ne basaanirawo ddala okuva mu bannaabwe. 34Abayisirayiri bonna abaaliwo bwe baabawulira nga bakaaba ne badduka nga bwe bagamba nti, “Si kulwa nga naffe ensi etumira!”

3516:35 a Kbl 11:1-3; 26:10 b Lv 10:2Olwo omuliro ne gujja nga guva eri Mukama ne gwokera ddala abasajja ebikumi ebibiri mu ataano abaali bawaayo ekiweebwayo eky’obubaane.

36Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 37“Gamba Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona aggye ebyoterezo mu muliro, kubanga bitukuvu, amanda ag’omuliro agasaasaanyize wala. 3816:38 a Nge 20:2 b Kbl 26:10; Ez 14:8; 2Pe 2:6Ebyoterezo ebyo bya basajja abaayonoona era n’okufa ne bafa; noolwekyo biweesebwemu amasowaane gakozesebwenga ng’ebibikka ku kyoto kubanga baabiwaayo eri Mukama Katonda; noolwekyo bitukuvu. Kale binaabanga kabonero ka kijjukizo eri abaana ba Isirayiri.”

39Bw’atyo Eriyazaali kabona n’addira ebyoterezo eby’ekikomo, ebyali biweereddwayo bali abaayokebwa, ne biweesebwamu ebibikka ku kyoto, 4016:40 a Kuv 30:7-10; Kbl 1:51 b 2By 26:18 c Kbl 3:10kiyambe abaana ba Isirayiri okujjukiranga nti omuntu atali kabona, atava mu lulyo lwa Alooni, taasemberenga kumpi na kyoto okunyookeza obubaane eri Mukama, si kulwa ng’afuuka nga Koola n’ekibiina kye. Eriyazaali bw’atyo bwe yabikola byonna ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali kye yayisa mu Musa.

Kawumpuli mu Bantu

41Naye enkeera ekibiina kyonna eby’abaana ba Isirayiri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni, nga bagamba nti, “Musse abantu ba Mukama Katonda.” 4216:42 nny 19; Kbl 20:6Kyokka ekibiina ky’abantu bwe baakuŋŋaana okusoomooza Musa ne Alooni ne bakyuka okwolekera Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amangwago ekire ne kigibikka n’ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kyeyoleka. 43Musa ne Alooni ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44Mukama n’agamba Musa nti, 45“Muve mu bantu bano ndyoke mbazikirize embagirawo.” Ne bavuunama wansi.

4616:46 a Lv 10:6 b Kbl 18:5; 25:13; Ma 9:22 c Kbl 8:19; Zab 106:29Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Ddira ekyoterezo kyo okisseemu obubaane, n’omuliro ng’oguggya mu kyoto kya Mukama, oyanguwe ogende mu kibiina obatangiririre. Kubanga obusungu bubuubuuse okuva eri Mukama Katonda era kawumpuli atandise.” 4716:47 Kbl 25:6-8Alooni n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’adduka n’agenda wakati mu kibiina. Yasanga kawumpuli yatandise dda mu bantu, naye Alooni n’awaayo eri Mukama Katonda obubaane okubatangiririra; 4816:48 Kbl 25:8; Zab 106:30n’ayimirira wakati w’abafu n’abalamu, kawumpuli n’aziyizibwa. 4916:49 nny 32Bwe kityo abantu abaafa kawumpuli baawera omutwalo gumu mu enkumi nnya mu lusanvu, nga bali abaafa olw’emitawaana gya Koola tobataddeeko. 50Alooni n’akomawo eri Musa mu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga kawumpuli amaze okuziyizibwa.