撒迦利亚书 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒迦利亚书 5:1-11

飞行的书卷

1我又举目观看,见有书卷在飞。 2天使问我:“你看见什么?”我说:“我看见飞行的书卷,长十米,宽五米。” 3他说:“这是临到全天下的咒诅,因为书卷一面写着‘凡偷盗的必被清除’,另一面写着‘凡起假誓的必被清除’。” 4万军之耶和华说:“我要使这咒诅进入盗贼和奉我的名起假誓者的家,住在他们家里,毁灭他们的家,不留一木一石。”

量器中的女子

5与我说话的天使又来对我说:“你举目观看,看看出现了什么?” 6我问道:“这是什么?”他说:“这是一个量器。”接着他又说:“里面盛着世人的罪。” 7只见量器的铅盖打开了,里面坐着一个女子。 8天使说:“这是罪恶。”他把女子推回量器中,盖上铅盖。 9我又举目观看,见有两个女子展翅飞来,她们的翅膀像鹳鸟的翅膀。她们把量器提到空中。 10我问与我说话的天使:“她们要把量器带到哪里?” 11他说:“要带到示拿5:11 示拿”巴比伦的别名。,在那里为它建造房屋,建好后就把它安置在底座上。”

Luganda Contemporary Bible

Zekkaliya 5:1-11

Okwolesebwa kw’Omuzingo Ogubuuka

15:1 Ez 2:9; Kub 5:1Awo ne nnyimusa amaaso gange era laba ne ndaba, omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga.

2N’ambuuza nti, “Kiki ky’olaba?”

Ne nziramu nti, “Ndaba omuzingo gw’ekitabo ogutambulira mu bbanga, obuwanvu bwagwo buli mita mwenda n’obugazi bwagwo buli mita nnya ne desimoolo ttaano.”

35:3 a Is 24:6; 43:28; Mal 3:9; 4:6 b Kuv 20:15; Mal 3:8 c Is 48:1Awo n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekyo ky’ekikolimo ekizze okubuna ensi yonna, kubanga buli muntu yenna abba aliggyibwawo era buli muntu yenna alayiririra obwereere aliggyibwawo, bamutwale ku luuyi olulala. 45:4 Lv 14:34-45; Kbk 2:9-11; Mal 3:5Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, ‘Ndikifulumya, era ndikiyingiza mu nnyumba y’omubbi ne mu nnyumba y’oyo alayiririra obwereere erinnya lyange. Era kirisigala mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza yonna, emiti gyayo n’amayinja gaayo.’ ”

Okwolesebwa kw’Omukazi mu Kisero

5Malayika eyali ayogera nange n’akomawo n’aŋŋamba nti, “Yimusa amaaso go olabe, waliwo ekintu ekirala ekizze.”

6Ne mubuuza nti, “Kiki ekyo?”

N’anziramu nti, “Ekyo kisero, kye kifuluma.” Era n’ayongerako nti, “Ekyo kye kifaananyi ekiraga ekibi ekibunye ensi yonna.”

7Awo ekibikka kyakyo, ekyuma eky’essasi ne kibikkulwa era ne ndaba omukazi ng’akituddemu. 85:8 Mi 6:11Malayika n’aŋŋamba nti, “Buno bwe bwonoonyi.” N’amusindika n’amuzza munda mu kisero, n’aggalawo omumwa gwakyo n’ekisaanikira eky’ekyuma eky’essasi.

95:9 Lv 11:19Ne ndyoka nnyimusa amaaso gange, era laba, abakazi babiri nga bajja gye ndi, baali batambulira mu bbanga nga bakozesa empewo mu biwaawaatiro byabwe. Era ebiwaawaatiro byabwe nga biri ng’ebya kalooli, ne basitula ekisero mu bbanga wakati w’ensi n’eggulu.

10Ne mbuuza malayika eyali ayogera nange nti, “Abo ekisero bakitwala wa?”

115:11 a Lub 10:10 b Yer 29:5, 28 c Dan 1:2N’anziramu nti, “Mu nsi ya Sinaali ey’e Babulooni, okuzimba ennyumba y’omukazi ali mu kisero, era ennyumba ye bw’eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye.”