撒母耳记下 14 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记下 14:1-33

押沙龙回耶路撒冷

1洗鲁雅的儿子约押知道王想念押沙龙2就派人到提哥亚去召来一个聪明的妇人,对她说:“你假扮哀悼的人,穿上丧服,不要用油抹身,要装成哀悼很久的妇人, 3然后到王那里,对他这样这样说。”约押把应该说的话都告诉妇人。

4提哥亚妇人来到王面前,俯伏在地上说:“王啊,求你救救我吧!” 5王问她:“你有什么事?”妇人说:“婢女是个寡妇,丈夫死了。 6我本来有两个儿子,有一次他们在田间发生争执,当时没有人劝解,其中一个儿子被打死了。 7现在整个家族都起来反对婢女,说,‘把那打死亲兄弟的凶手交出来,我们要他以命偿命,除掉这个继承人。’他们要断了我家的香火,使婢女的丈夫既不能留名,也不能留后。” 8王说:“你回家去吧!我会为你作主。” 9提哥亚妇人说:“我主我王,愿罪过14:9 罪过”可能指违背摩西律法杀人偿命的规定。都落在婢女和婢女家族,一切都与我王和王的王位无关。” 10王说:“若有人为难你,你就把他带来,他必不敢再找你的麻烦。” 11妇人说:“求王凭你的上帝耶和华起誓,不许报仇者杀人,留我儿一命。”王说:“我凭永活的耶和华起誓,你的儿子必毫发无损。”

12妇人说:“求我主我王再容婢女说一句。”王说:“说吧!” 13妇人说:“为什么王蓄意对上帝的子民行这样的事呢?王刚才所说的话正表明王的不是了,因为王不让被流放的儿子回来。 14人都难免一死,就像覆水难收。然而,上帝不是要夺取人的性命,而是要设法使流亡的人重新回来。 15我向我主我王说出这番话,是因为人们恐吓我。我想,不如向王请命,也许王会成全婢女的心愿。 16有人要害我和我儿子的性命,叫我们不得承受上帝所赐的产业,也许王能从这人手中救我们。 17婢女想,我主我王的话必能安慰我,因为我主我王就像上帝的天使一样能明辨是非。愿王的上帝耶和华常与王同在!”

18王对妇人说:“我有一件事要问你,你要实实在在地回答我。”妇人说:“我主我王请说。” 19王说:“这是不是约押的主意?”妇人说:“我敢在我主我王面前发誓,王所说的一点不错,这些话是你臣仆约押吩咐婢女说的。 20他这样做是希望扭转局面。我主如上帝的天使一样有智慧,洞悉天下之事。”

21于是,王对约押说:“我答应你的请求,你去把年轻的押沙龙带回来吧。” 22约押俯伏在地,叩谢王恩,说:“今天仆人在我主我王面前蒙了恩,因为王应允了仆人的请求。” 23约押便到基述押沙龙接回耶路撒冷24王说:“让押沙龙回自己的家,不要让他来见我!”押沙龙便返回自己家中,没有朝见王。

25在整个以色列,没有人像押沙龙那样因相貌英俊而为人称道,他从头到脚毫无瑕疵。 26他的头发浓密,每年年终会很沉重,需要剪发,剪下的头发按王的重量标准约重两公斤。 27押沙龙有三儿一女,女儿名叫她玛,长得非常美丽。

28押沙龙耶路撒冷住了两年,没有跟王见过面。 29他派人去请约押来,托他去求见王,但约押不肯来。第二次再请,他还是不肯来。 30押沙龙就吩咐仆人:“你们看,约押的田就在我的田旁边,他种了大麦,你们去放火把它烧了。”押沙龙的仆人便把麦田烧了。 31约押便来到押沙龙家里,问他:“你为什么叫仆人放火烧我的田?” 32押沙龙答道:“我派人请你来,希望你替我去问王,‘我为什么要从基述回来呢?倒不如仍然留在那里。’现在我要见王,如果我有什么罪过,就让他杀了我吧!” 33约押就去见王,把押沙龙的话告诉他,王便召见押沙龙押沙龙来到王面前俯首叩拜,王就亲吻他。

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 14:1-33

Abusaalomu Akomawo e Yerusaalemi

114:1 2Sa 2:18Awo Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’ategeera nga omutima gwa kabaka gulumirwa Abusaalomu. 214:2 a 2By 11:6; Nek 3:5; Yer 6:1; Am 1:1 b 2Sa 20:16 c Lus 3:3; 2Sa 12:20; Is 1:6Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu. 314:3 nny 19Genda eri kabaka, omugambe ebigambo bino.” Yowaabu n’amuwa ebigambo eby’okwogera.

4Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.” 5Kabaka n’amubuuza nti, “Nkubeere mu ki?” N’addamu nti, “Ndi nnamwandu baze yafa. 6Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne. 714:7 a Kbl 35:19 b Mat 21:38 c Ma 19:10-13Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”

814:8 1Sa 25:35Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.” 914:9 a 1Sa 25:24 b Mat 27:25 c 1Sa 25:28; 1Bk 2:33Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”

10Kabaka n’addamu nti, “Bwe wanaabeerawo omuntu yenna abaako kya kugamba, mundeetere, taddeyo nate kukutawanya.”

1114:11 a Kbl 35:12, 21 b Mat 10:30 c 1Sa 14:45Omukazi n’ayogera nti, “Nkwegayiridde, kabaka, ondayirire eri Mukama Katonda wo, awalana eggwanga olw’omusaayi era aziyiza obubi okweyongera ku bubi, mutabani wange aleme okuzikirizibwa.” N’amuddamu nti, “Mukama nga bw’ali omulamu, tewaliba luviiri olwa mutabani wo olulimuva ku mutwe.”

12Awo omukazi n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, ka mbeeko ekigambo kye ŋŋamba mukama wange kabaka.” N’amuddamu nti, “Yogera.”

1314:13 a 2Sa 12:7; 1Bk 20:40 b 2Sa 13:38-39Omukazi n’ayogera nti, “Kiki ekikukoza ekigambo bwe kityo abantu ba Katonda? Kabaka aba teyeesalira yekka omusango kubanga takomezaawo omwana we eyagobebwa? 1414:14 a Yob 14:11; Zab 58:7; Is 19:5 b Yob 10:8; 17:13; 30:23; Zab 22:15; Beb 9:27 c Kbl 35:15, 25-28; Yob 34:15Ffenna tuli baakufa, ng’amazzi bwe gayiibwa ku ttaka, ne gatayinzika kuyooleka nate. Naye Katonda taggyawo bulamu, anoonya engeri gy’anaayinza okukomyawo omuntu abuze.

15“Kale nno ekyo kye kyandeese eri kabaka, kubanga abantu bantiisizza, ne baleetera omuweereza wo okulowooza nti, ‘Bwe nnaayogera ne kabaka, mpozzi aliddamu omuweereza we ky’amusaba. 1614:16 Kuv 34:9; 1Sa 26:19Oboolyawo kabaka anaawulira ensonga yange, n’alokola omuzaana we mu mukono gw’omusajja agezaako okunzikiriza nze n’omwana wange okutuggyako obusika Katonda bwe yatuwa.’

1714:17 a nny 20; 1Sa 29:9; 2Sa 19:27 b 1Bk 3:9; Dan 2:21“Era omuweereza wo yayogedde mu mutima gwe nti, ‘Ekigambo kya mukama wange kabaka kye kirimpummuza, kubanga mukama wange kabaka ali nga malayika wa Katonda mu kwawulamu ebirungi n’ebibi. Mukama Katonda wo abeere naawe.’ ”

18Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Tobaako n’ekimu ky’onkisa ku bye nnaakubuuza.” Omukazi n’addamu nti, “Mukama wange kabaka ambuuze.”

1914:19 nny 3Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?”

Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna. 2014:20 a 1Bk 3:12, 28; Is 28:6 b nny 17; 2Sa 18:13; 19:27Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”

21Awo kabaka n’agamba Yowaabu nti, “Kale, nzija kukikola. Genda okime omuvubuka Abusaalomu.”

2214:22 Lub 47:7Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”

23Yowaabu n’agenda e Gesuli n’akima Abusaalomu n’amukomyawo e Yerusaalemi. 24Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.

25Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo. 2614:26 2Sa 18:9; Ez 44:20Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.

2714:27 a 2Sa 18:18 b 2Sa 13:1Abusaalomu n’azaalirwa abaana basatu aboobulenzi n’owoobuwala omu. Omuwala ye yali Tamali nga mukyala mulungi nnyo ku maaso.

28Abusaalomu n’abeera mu Yerusaalemi okumala emyaka ebiri nga talaba maaso ga kabaka. 29Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo. 3014:30 Kuv 9:31Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.

3114:31 Bal 15:5Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?” 3214:32 a 2Sa 3:3 b 1Sa 20:8Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”

3314:33 Lub 33:4; Luk 15:20Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.