撒母耳记上 28 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 28:1-25

扫罗求问巫婆

1非利士人召集大军与以色列人交战。亚吉大卫说:“你应该明白,你和部下要随我一起出战。” 2大卫答道:“仆人愿意效劳。”亚吉说:“很好!你就终生做我的护卫吧。” 3那时撒母耳已经死了,以色列举国都为他哀悼,把他葬在他的家乡拉玛。当时,扫罗把所有占卜和行巫术的都逐出了以色列4非利士人集合起来,在书念扎营,扫罗率领以色列军队在基利波扎营。 5扫罗看见非利士军队声势浩大,感到胆战心惊, 6就求问耶和华,但耶和华没有借着梦、乌陵或先知回答他。 7于是,扫罗命令臣仆找一个巫婆来,好求问她。臣仆在隐·多珥找到一个巫婆。

8扫罗乔装打扮,由两个人陪同乘夜赶到那妇人家里,说:“请你用法术把我要求问的亡灵招上来吧。” 9妇人对他说:“你知道扫罗铲除了国内占卜的和行巫术的,你为何来陷害我,置我于死地?” 10扫罗凭耶和华向妇人起誓,说:“我凭永活的耶和华起誓,你必不会因为此事而受到惩罚。” 11妇人问道:“你想让我招谁上来呢?”扫罗答道:“招撒母耳上来。” 12妇人看见了撒母耳,就惊叫起来,对扫罗说:“你是扫罗,你为什么骗我呢?” 13扫罗对她说:“不用害怕,你看见什么了?”妇人说:“我看见一个灵从地里上来。” 14扫罗说:“他是什么模样?”妇人说:“是个身披长袍的老人。”扫罗知道是撒母耳,便俯伏在地,向他下拜。 15撒母耳扫罗说:“你为什么打扰我,招我上来呢?”扫罗答道:“我深陷困境,非利士人与我们交战,上帝也撇弃了我,不再借着先知或梦来回答我。因此,我只好招你上来,好告诉我该怎么办。” 16撒母耳说:“既然耶和华已经离弃了你,与你为敌,你为什么还来问我? 17耶和华应验了祂借着我所说的预言,祂已把你的国权夺去,交给了你的同胞大卫18耶和华今天这样对待你,是因为你没有听从祂的吩咐,没有把祂憎恶的亚玛力人灭绝。 19耶和华必把你和以色列人交在非利士人手里,明天你和你的儿子们必跟我在一起了。耶和华必把以色列的军队交在非利士人手里。”

20扫罗听了撒母耳的话,顿时吓得浑身僵直,倒在地上,一天一夜没有进食,毫无力气。 21妇人到扫罗跟前,看见他惊恐万分,就对他说:“婢女冒着生命危险服从你的命令,照你的吩咐做了。 22现在,请你听婢女的话,让我给你一些食物吃,你好有体力赶路。” 23扫罗不肯,说:“我不吃。”他的随从和妇人再三劝告,他才同意了,从地上起来坐到床上。 24妇人连忙宰了家中一只小肥牛,又和面烤了无酵饼, 25摆在扫罗和他的随从面前,他们吃完后,当天晚上就离开了。

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 28:1-25

Sawulo n’Omulabi w’e Endoli

128:1 1Sa 29:1Mu biro ebyo Abafirisuuti ne bakuŋŋaanya amaggye gaabwe okulwana ne Isirayiri. Akisi n’agamba Dawudi nti, “Kimanye nga ggwe ne basajja bo munaneegattako, tugende mu lutalo.” 2Dawudi n’ayogera nti, “Olwo nno ojja kwerabirako omuweereza wo kyayinza okukola.” Akisi n’addamu nti, “Weewaawo, nzija kukufuula omukuumi wange ow’oku lusegere ennaku zonna ez’obulamu bwange.”

328:3 a 1Sa 25:1 b 1Sa 7:17 c Kuv 22:18; Lv 19:31; 20:27; Ma 18:10-11; 1Sa 15:23Mu biro ebyo Samwiri yali amaze okufa, nga ne Isirayiri yenna bamukungubagidde, era nga yaggwa n’okuziikibwa mu kibuga ky’e Laama. Era Sawulo yali agobye abafumu n’abalogo okuva mu nsi.

428:4 a Yos 19:18; 2Bk 4:8 b 1Sa 31:1, 3Awo Abafirisuuti ne bakuŋŋaana, ne basiisira e Sunemu, ate Sawulo ye n’akuŋŋaanya Abayisirayiri bonna ne basiisira e Girubowa. 5Awo Sawulo bwe yalaba eggye ery’Abafirisuuti, n’atya, emmeeme n’emutyemuka. 628:6 a 1Sa 14:37; 1By 10:13-14; Nge 1:28 b Kbl 12:6 c Kuv 28:30; Kbl 27:21Ne yeebuuza ku Mukama, naye Mukama n’atamwanukula mu birooto, newaakubadde mu kwolesebwa kwa Katonda eri bakabona oba okuyita mu bannabbi. 728:7 a Bik 16:16 b Yos 17:11Awo Sawulo n’agamba abaweereza be nti, “Munnoonyezeeyo omukazi omufumu, ŋŋende mmwebuuzeeko.”

Ne bamugamba nti, “Waliwo ali Endoli.”

828:8 a 2By 18:29; 35:22 b Ma 18:10-11; 1By 10:13; Is 8:19Awo Sawulo n’ayambala engoye ezitali za bwakabaka ne yeebuzaabuza n’alaga ew’omukazi, ye n’abasajja abalala babiri. N’ayogera nti, “Ndagula, ombuulize omwoyo era onyimusize gwe nnaayogera erinnya.”

928:9 nny 3Naye omukazi n’amugamba nti, “Omanyi bulungi Sawulo kye yakola, bwe yazikiriza era n’agoba abafumu n’abalogo mu nsi. Kale lwaki oteeka obulamu bwange mu katego n’oyagala okunzisa?”

10Sawulo n’amulayirira eri Mukama ng’agamba nti, “Amazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu, tolibonerezebwa olwa kino.”

11Awo omukazi n’amubuuza nti, “Ani gwe mba nkuyimusiza?” N’addamu nti, “Nyimusiza Samwiri.”

12Omukazi bwe yalaba Samwiri, n’ayogerera waggulu, n’agamba Sawulo nti, “Lwaki onimbye? Ggwe Sawulo!”

13Awo kabaka n’amugamba nti, “Totya. Kiki ky’olaba?” Omukazi n’addamu nti, “Ndaba omwoyo nga guyimuka okuva mu ttaka.” 1428:14 1Sa 15:27; 24:8Sawulo n’amubuuza nti, “Gufaanana ani?” N’addamu nti, “Omusajja omukadde nga yeebisseeko omunagiro y’avaayo.” Awo Sawulo n’ategeera nga ye Samwiri, n’avuunama amaaso ge, ne yeeyala ku ttaka.

1528:15 nny 6; 1Sa 18:12Awo Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Lwaki ontawanyizza n’onnyimusa?”

Sawulo n’addamu nti, “Nnina ennaku nnyingi nnyo, kubanga Abafirisuuti bannwanyisa, ate Katonda anvuddeko. Takyanziramu ng’ayita mu bannabbi newaakubadde mu birooto. Kyenvudde nkukoowoola ombuulire eky’okukola.”

16Samwiri n’amubuuza nti, “Ombuuliza ki, Mukama ng’amaze okukuvaako n’okufuuka omulabe wo? 1728:17 1Sa 15:28Mukama atuukirizza kye yayogera ng’ayita mu nze. Mukama akuggyeeko obwakabaka bwo, n’abuwa omu ku baliraanwa bo, Dawudi. 1828:18 a 1Sa 15:20 b 1Bk 20:42Kubanga tewagondera Mukama newaakubadde okutuukiriza bye yakulagira okukola Amaleki ng’amusunguwalidde, Mukama kyavudde akukola kino leero. 1928:19 1Sa 31:2Mukama alikuwaayo gwe n’Abayisirayiri eri Abafirisuuti, era enkya ggwe ne batabani bo munaaba nange eno gye ndi. Era Mukama anaawaayo eggye lya Isirayiri mu mukono gw’Abafirisuuti.”

20Awo Sawulo n’agwira ddala wansi ekigwo kya bugazi, ng’ajjudde okutya olw’ebigambo Samwiri bye yayogera. N’ataba na maanyi kubanga yali talina ky’alidde olunaku olwo lwonna n’ekiro ekyakeesa olunaku olwo.

2128:21 Bal 12:3; 1Sa 19:5; Yob 13:14Awo omukazi n’asembera okumpi ne Sawulo, n’alaba ng’atidde, n’amugamba nti, “Laba, omuweereza wo akugondedde, ne mpaayo obulamu bwange, ne nkola kye wansabye. 22Kaakano nkwegayiridde owulirize omuweereza wo, okkirize nkuwe ku mmere olyeko ofune amaanyi okukwata olugendo lwo.”

2328:23 2Bk 5:13N’agaana n’ayogera nti, “Sijja kulya.”

Naye abasajja be ne bayamba omukazi mu kukubiriza Sawulo okulya, n’abawuliriza. N’ayimuka mu ttaka n’atuula ku kitanda.

24Omukazi yalinawo ennyana ensava, n’agiteekateeka mu bwangu. N’ateekateeka n’eŋŋaano, n’akanda obuwunga, n’afumba emigaati egitali mizimbulukuse. 25N’alyoka abiteeka mu maaso ga Sawulo ne basajja be, ne balya. N’oluvannyuma ekiro ekyo ne bagolokoka ne beetambulira.