提摩太后书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

提摩太后书 3:1-17

末世的情形

1你要知道,末世必有艰难的日子, 2因为那时的人都自私自利、贪爱钱财、狂妄自夸、骄傲自负、说毁谤话、违背父母、忘恩负义、心不圣洁、 3冷漠无情、不愿和解、好说谗言、毫无节制、蛮横凶暴、不爱良善、 4出卖朋友、任意妄为、自高自大、沉溺享乐、不爱上帝, 5虚有敬虔的外表,却无敬虔的实质。你要避开这样的人。

6这些人溜进别人家里,哄骗那些意志薄弱的妇女。那些妇女心中充满罪恶,受各种邪情私欲的驱使, 7虽然常常学习,却不能明白真理。 8现在这些人敌对真理,就像从前雅尼佯庇反对摩西一样,他们的心思坏透了,他们的信仰是虚假的。 9不过,他们猖狂不了多久,因为他们的愚昧行径必暴露在众人面前,就像雅尼佯庇的下场一样。

圣经的益处

10但你熟知我的教导、言行、志向、信心、忍耐、爱心、毅力, 11也知道我在安提阿以哥念路司得遭遇了何等的迫害和苦难。但主从这一切患难中救了我。 12其实凡立志在基督耶稣里过敬虔生活的人都会受到迫害。 13而恶人和骗子会变本加厉地迷惑人,也被人迷惑。

14但你要把自己所学的、所笃信的记在心里,因为你知道是跟谁学的, 15并且你从小就熟悉圣经。圣经能给你智慧,使你借着信基督耶稣得到拯救。 16圣经全部是上帝启示的,有益于教导、督责、使人归正、培养人行义, 17使属上帝的人得到充分的装备,去行各种善事。

Luganda Contemporary Bible

2 Timoseewo 3:1-17

Ennaku ez’Oluvannyuma

13:1 1Ti 4:1Naye tegeera kino nga mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo ebiseera ebizibu. 23:2 a 1Ti 3:3 b Bar 1:30 c Bar 1:30Kubanga abantu baliba nga beefaako bokka, nga balulunkanira ensimbi, nga beepanka, nga beekuluntaza, nga boogera ebibi, era nga tebawulira bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga tebatya Katonda, 3nga tebaagalana era nga tebatabagana, nga bawaayiriza, nga tebeegendereza, nga bakambwe, nga tebaagala birungi, 43:4 1Ti 3:6nga ba nkwe, nga baagala eby’amasanyu okusinga bwe baagala Katonda; 5nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda so nga tebakkiriza maanyi gaakyo. Abantu ab’engeri eyo obeewalanga.

63:6 Yud 4Mu abo mulimu abasensera mu mayumba ne bawamba abakazi abanafu mu mwoyo abazitoowereddwa ebibi, era abawalulwa okwegomba okubi okwa buli ngeri, 7abayiga bulijjo, kyokka ne batatuuka ku kutegeerera ddala amazima, 83:8 a Kuv 7:11 b Bik 13:8 c 1Ti 6:5nga Yane ne Yambere abaawakanya Musa, ne bano bwe batyo bawakanya amazima. Be bantu abaayonooneka ebirowoozo, abatakyalina kukkiriza kutuufu. 93:9 Kuv 7:12Kyokka tebaliiko gye balaga, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kumanyibwa abantu bonna, ng’obwa abasajja abo bwe bwamanyibwa.

103:10 1Ti 4:6Naye ggwe wagoberera nnyo okuyigiriza kwange, n’empisa zange, ne kye nduubirira, n’okukkiriza kwange n’okubonaabona kwange n’okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange, 113:11 a Bik 13:14, 50 b 2Ko 11:23-27 c Zab 34:19n’okuyigganyizibwa n’okubonyaabonyezebwa ebyantukako mu Antiyokiya, ne mu Ikoniya ne mu Lisitula, okuyigganyizibwa kwe nayigganyizibwa, kyokka Mukama n’amponya mu byonna. 123:12 Bik 14:22Era bonna abaagala okuba mu bulamu obutya Katonda mu Kristo Yesu, banaayigganyizibwanga. 133:13 2Ti 2:16Naye abakozi b’ebibi n’abalimba abeefuula okuba ekyo kye batali balyeyongera okuba ababi, ne babuzaabuza abalala, era nabo ne babula. 143:14 2Ti 1:13Kyokka ggwe nywereranga mu ebyo bye wayiga era n’obikkiririza ddala, ng’omanyi abaabikuyigiriza bwe bali. 153:15 2Ti 1:5Kubanga okuva mu buto bwo wamanya Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebiyinza okukufuula ow’amagezi, n’olokolebwa olw’okukkiriza Kristo Yesu. 163:16 2Pe 1:20, 21Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byonna, Katonda ye yabiruŋŋamya nga biwandiikibwa, era bigasa mu kuyigiriza, mu kunenya, mu kuluŋŋamya ne mu kubuuliranga omuntu abe omutuukirivu, 173:17 1Ti 6:11omuntu wa Katonda alyoke abe ng’atuukiridde, ng’alina byonna ebyetaagibwa okukola buli mulimu omulungi.