提摩太前书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

提摩太前书 3:1-16

监督与执事的资格

1“人若渴望做教会的监督,他是在爱慕尊贵的工作。”这句话千真万确。 2做监督的人必须无可指责,只有一位妻子,为人节制自律、通情达理、受人尊敬、乐于接待客旅、善于教导, 3不酗酒、不好斗、要温和、不争吵、不贪财, 4善于管理自己的家,受儿女的敬重和孝顺。 5一个人要是不懂得管理自己的家,又怎能照顾上帝的教会呢? 6初信主的人不可做监督,免得他自高自大,遭受魔鬼所受的惩罚。 7做监督的在教会以外也必须有好名声,以免被人指责,陷入魔鬼的圈套。

8同样,做执事的也要品行端正,说话诚实,不好酒,不贪财, 9要存着清洁的良心持守奥妙的真道。 10他们要先接受考验,倘若无可指责,就可以立他们为执事。 11执事的妻子3:11 执事的妻子”或译“女执事”。也要品行端正,不搬弄是非,为人节制,做事忠心。 12执事只能有一位妻子,他要管好自己的儿女和自己的家。 13尽忠职守的执事能得到好声誉,也会对基督耶稣有坚定的信心。

奥妙无比的信仰

14我希望能尽快去你那里,但还是写信告诉你这些事。 15这样,如果我行期延误,你也可以知道在上帝的家中该怎么做。这家是永活上帝的教会,是真理的柱石和根基。 16毫无疑问,我们伟大的信仰奥妙无比:

祂以肉身显现,

被圣灵证明为义,

被天使看见,

被传扬到列邦,

被世人信奉,

被接到天上的荣耀中。

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 3:1-16

Abalabirizi b’Ekkanisa

13:1 a 1Ti 1:15 b Bik 20:28Ekigambo kyesigwa. Omuntu yenna bw’ayagalanga okuba Omulabirizi aba yeegombye omulimu omulungi. 23:2 a Tit 1:6-8 b Bar 12:13 c 2Ti 2:24Noolwekyo Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja wa mukazi omu, nga muntu eyeefuga, nga mwegendereza, nga mukwata mpola, ayaniriza abagenyi, era ng’amanyi okuyigiriza. 33:3 a 2Ti 2:24 b Beb 13:5; 1Pe 5:2Tateekwa kuba mutamiivu, era nga si mukambwe, wabula omuwombeefu, nga si muyombi era nga talulunkanira nsimbi. 43:4 Tit 1:6Ateekwa kuba ng’afuga bulungi amaka ge, abaana be nga bamuwulira, era nga bamussaamu ekitiibwa. 53:5 1Ko 10:32Kubanga omuntu atasobola kufuga maka ge, alisobola atya okulabirira ekkanisa ya Katonda? 63:6 1Ti 6:4Omulabirizi tateekwa kuba muntu eyaakakkiriza Kristo, si kulwa nga yeekuluntaza, n’asalirwa omusango nga Setaani bwe yagusalirwa. 73:7 2Ti 2:26Asaanira okuba ng’assibwamu ekitiibwa abo abatali ba Kkanisa, si kulwa nga yeereetako ekivume.

Abadiikoni

83:8 a Baf 1:1 b Tit 2:3Abadiikoni nabo kibagwanira okuba abantu abassibwamu ekitiibwa abatataaganaaga mu bigambo byabwe, abatatamiira, era abatalulunkanira bintu, 93:9 1Ti 1:19nga bakuuma ekyama ky’okukkiriza n’omutima omulongoofu. 10Basookanga kugezesebwa balyoke baweereze mu budiikooni nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 113:11 2Ti 3:3; Tit 2:3N’abakazi Abadiikoni bwe batyo nabo kibagwanidde okubeeranga abassibwamu ekitiibwa, abatawaayiriza, abeegendereza, era abeesigwa mu buli kintu. 123:12 nny 4Omudiikoni ateekwa okuba n’omukazi omu yekka, era ng’asobola okufuga obulungi abaana be, n’amaka ge. 13Kubanga abaweereza obulungi bafuna ekifo ekya waggulu era baba n’obuvumu bungi mu kukkiriza okuli mu Kristo.

Ekyama Ekikulu

14Nkuwandiikidde ebintu ebyo nga nsuubira okujja gy’oli mangu; 153:15 nny 5; Bef 2:21kyokka bwe ndirwa omanye by’osaana okukola mu nnyumba ya Katonda, ye Ekkanisa ya Katonda omulamu, empagi n’omusingi eby’amazima. 163:16 a Bar 16:25 b Yk 1:14 c Bak 1:23 d Mak 16:19Tewali kubuusabuusa ekyama ky’okutya Katonda kikulu ddala, era kigamba nti:

“Yalabisibwa mu mubiri,

n’akakasibwa Omwoyo nga bw’atuukiridde,

n’alabibwa bamalayika,

n’alangibwa mu mawanga,

n’akkirizibwa mu nsi,

era n’atwalibwa n’ekitiibwa mu ggulu.”