尼希米记 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

尼希米记 6:1-19

敌人阴谋阻挠重建

1参巴拉多比雅阿拉伯基善和我们其余的敌人听说我已修完城墙,没有留下任何缺口——那时我还没有为城门安上门扇—— 2参巴拉基善就派人告诉我说:“来,我们在阿挪平原的一个村庄见面吧。”其实他们想要害我。 3我派人回复他们说:“我正在做一件大工程,不能下去见你们。我怎能停止工作下去见你们呢?” 4他们四次派人来告诉我,每次我都这样拒绝了。 5参巴拉第五次派人送来一封未封口的信, 6上面写着:“各国都在谣传,基善也说,你和犹太人计划谋反,因而才修建城墙,据说你要做他们的王。 7你还派先知在耶路撒冷指着你预言说,‘犹大有王了。’如今王必听到这些传闻。所以你还是来与我们一同商议吧。” 8我就派人答复他说:“你所说的并非事实,是你心里捏造的。” 9因为他们想恐吓我们,以为我们会吓得手发软,无法完成工程。但上帝啊,求你使我的手有力量!

10我到米希达别的孙子、第来雅的儿子示玛雅的家中,那时他正闭门不出。他对我说:“我们在上帝的殿里会面,要关上殿门,因为他们要来杀你,要在夜间杀你。” 11但我回答说:“像我这样的人岂能逃跑?岂能进入殿里保命?我决不进去。” 12我察觉上帝并没有差派他,他是被多比雅参巴拉收买才说预言攻击我的。 13他们收买他是为了恐吓我,使我依从他去犯罪,好毁坏我的名声、羞辱我。 14我的上帝啊,求你按照他们的行为报应多比雅参巴拉、女先知挪亚底及其他恐吓我的先知。

工程竣工

15以禄月6:15 以禄月”即希伯来历的六月,阳历是八月中旬到九月中旬。二十五日城墙竣工,前后用了五十二天。 16我们的敌人和周围各国听说后,都感到惧怕和气馁,因为他们知道这工作是在上帝的帮助下完成的。 17在那些日子,多比雅犹大贵族之间多有书信来往。 18犹大有很多人与多比雅结盟,因为他是亚拉的儿子示迦尼的女婿,他儿子约哈难又娶了比利迦的儿子米书兰的女儿为妻。 19他们常告诉我有关多比雅的善行,并把我的话告诉他。多比雅不断写信恐吓我。

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 6:1-19

Okuwakanya Okuzimba Bbugwe Kweyongera

16:1 a Nek 2:10 b Nek 2:19Awo Sanubalaati, ne Tobiya ne Gesemu Omuwalabu n’abalabe baffe abalala bwe baawulira nga nzimbye bbugwe era nga tewali mabanga gaasigalamu, newaakubadde nga twali tetunateekamu nzigi mu miryango, 26:2 1By 8:12Sanubalaati ne Gesemu ne bampeereza obubaka nti, “Jjangu tusisinkane mu kyalo ekimu eky’omu lusenyi lwa Ono.”

Naye ekigendererwa kyabwe kyali kundeetako kabi. 3Kyennava mbatumira ababaka okubategeeza nti, “Nnina omulimu munene, siisobole kuserengeta gye muli. Lwaki ndeka omulimu ne nzija okubasisinkana?” 4Ne baweereza obubaka bwe bumu emirundi ena, buli mulundi ne mbaddangamu mu ngeri y’emu.

56:5 Nek 2:10Awo Sanubalaati n’antumira omuddu we omulundi ogwokutaano n’ebbaluwa etaali nsibe mu mukono gwe, 66:6 Nek 2:19ng’erimu ebigambo bino nti,

“Tuwulidde mu mawanga, era ne Gesemu akirinako obukakafu, nga ggwe n’Abayudaaya, mweteeseteese okujeema era kyemuvudde muzimba bbugwe, era n’olugambo luyitayita nga ggwe olina enteekateeka ey’okufuuka kabaka waabwe. 7Kigambibwa nga walonda bannabbi mu Yerusaalemi okukulangiririra nti, ‘Mu Yuda mulimu kabaka.’ Noolwekyo obubaka obwo nga tebunatwalibwa eri kabaka, jjangu tukkiriziganye ku nsonga eyo.”

8Ne muweereza obubaka nga ŋŋamba nti, “Tewabanga kigambo bwe kityo ku byoyogedde; ogunja bigunje okuva mu mutima gwo.”

9Bonna baali bagezaako okututiisatiisa, nga balowooza nti, “Emikono gyabwe girinafuwa omulimu ne gulema okuggwa.” Naye ne nsaba nti, “Ayi Katonda, nyweza emikono gyaffe.”

106:10 Kbl 18:7Olunaku olumu ne ŋŋenda mu nnyumba ya Semaaya mutabani wa Deraaya, muzzukulu wa Meketaberi; yali yeesibidde mu nnyumba, n’aŋŋamba nti, “Tusisinkane mu nnyumba ya Katonda, mu yeekaalu munda, tuggalewo enzigi za yeekaalu, kubanga bajja okukutta, ekiro kino bajja kukutta.”

11Naye ne nziramu nti, “Omusajja nga nze nnyinza okudduka? Kiki ekitwala omusajja afaanana nga nze6:11 Abantu abaabulijjo abataali bakabona baali tebakkirizibwa kuyingira mu Watukuvu w’Awatukuvu mu Yeekaalu. mu yeekaalu okuwonya obulamu bwange? Sijja kugenda yo.” 126:12 a Ez 13:22-23 b Nek 2:10Ne nkizuula nga Katonda yali tamutumye, naye yali antegeeza ebigambo ebyo kubanga Tobiya ne Sanubalaati baamugulirira. 136:13 Yer 20:10Bamugulirira okuntiisatiisa n’okunkozesa ekyo nnyonoone, balyoke boonoone erinnya lyange nga banjogerako ebigambo ebya swakaba.

146:14 a Nek 1:8 b Nek 2:10 c Kuv 15:20; Ez 13:17-23; Bik 21:9; Kub 2:20 d Nek 13:29; Yer 23:9-40; Zek 13:2-3Ayi Katonda wange ojjukire Tobiya ne Sanubalaati olw’ebikolwa ebyo, era ojjukire ne Nowadiya nnabbi omukazi ne bannabbi abalala abaagezaako okuntiisatiisa.

Bbugwe Amalirizibwa

15Bbugwe n’aggwa okukola ku lunaku olw’amakumi abiri mu etaano mu mwezi ogwa Eruli, mu nnaku amakumi ataano mu bbiri. 16Abalabe baffe bonna bwe baakiwulira, amawanga gonna agaali gatwetoolodde ne bamulaba, ne batya era ne baggwaamu omwoyo, kubanga baalaba ng’omulimu gwakolebwa olw’okubeerwa kwa Katonda waffe.

17Ate era mu biro ebyo abakungu ba Yuda baaweerezanga ebbaluwa eri Tobiya. Tobiya n’aziddangamu. 18Bangi ku bo mu Yuda abaamulayirira, kubanga yali mukoddomi wa Sekaniya mutabani wa Ala, ate nga ne mutabani we Yekokanani yali awasizza muwala wa Mesullamu mutabani wa Berekiya. 19Baamuwaanawaananga mu maaso gange, n’oluvannyuma ne bamutegeeza bye nayogeranga. Tobiya n’aweerezanga ebbaluwa okuntiisatiisa.