尼希米记 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

尼希米记 5:1-19

尼希米帮助穷苦人

1那时,民众和他们的妻子都抱怨他们的犹太同胞。 2有的说:“我们和我们的儿女人口众多,需要粮食来活命。” 3有的说:“因为饥荒的缘故,我们要将田地、葡萄园和房屋作抵押来获取粮食。” 4有的说:“我们要借钱才能缴纳王对我们的田地和葡萄园征收的税。 5我们和他们是同胞,我们的孩子就像他们的孩子。但现在我们的儿女要被迫成为仆婢,甚至我们的女儿有些已经沦为奴婢。我们却无能为力,因为我们的田地和葡萄园已经归别人了。”

6听到他们的抱怨后,我非常愤怒。 7经过深思熟虑后,我便斥责这些贵族和官员,说:“你们竟然向同胞放高利贷!”于是我召开大会处理他们的问题。 8我对他们说:“我们在尽力赎回那些被卖到外邦的犹太同胞,你们却要卖他们为奴,好让我们再赎回他们吗?”他们都沉默不语,无言以对。 9我继续说:“你们的所作所为实在不对。难道你们不应该敬畏上帝,以免我们的仇敌凌辱我们吗? 10我和我的兄弟及仆人都借钱、借粮给民众,现在我们要停止放高利贷。 11你们今天就要归还他们的田地、葡萄园、橄榄园和房屋,以及你们向他们所收的五谷、新酒和油的利息。”

12他们说:“我们会照你的话去做,把东西还给他们,不再向他们索债。”于是,我召来祭司,让这些人起誓遵守自己的诺言。 13我抖着衣服说:“如果你们不守誓言,愿上帝也这样抖掉你们的家园和你们劳碌得来的,使你们一无所有。”全体会众都说:“阿们!”他们赞美耶和华,民众都遵照誓言去行。

尼希米大公无私

14亚达薛西王二十年至三十二年,也就是我奉派为犹大省长的十二年间,我和我的弟兄都没有吃省长的俸禄。 15在我之前的省长使民众负担沉重,天天索取食物、酒及五百克银子。他们的仆人也欺压民众,但我因敬畏上帝而没有这样做。 16我全心修筑城墙,没有购置田产,我的仆人也都参与修建城墙的工作。 17除了从周围外邦来到我们这里的人之外,还有一百五十名犹太人和官员与我一同吃饭。 18我每天需要预备一头公牛、六只肥羊和飞禽;每十天还要大量供应各样酒品。即使这样,我仍然没有吃省长的俸禄,因为民众已经负担沉重。 19我的上帝啊,求你记念我为这些民众所做的一切,施恩于我。

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 5:1-19

Nekkemiya Ayamba Abaavu

1Awo ekibinja ky’abasajja ne bakazi baabwe ne bakaayana nnyo olwa baganda baabwe Abayudaaya. 2Abamu ku bo ne boogera nti, “Ffe, ne batabani baffe ne bawala baffe tuli bangi nnyo, tulina okufuna eŋŋaano ey’okulya okutubeezaawo nga tuli balamu.”

35:3 a Zab 109:11 b Lub 47:23Abamu ne boogera nti, “Twasingawo ebibanja byaffe, n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu n’amaka gaffe tuleme okufa enjala mu kyeya.” 45:4 Ezr 4:13N’abalala ne boogera nti, “Twewola sente okusobola okusasula omusolo gwa kabaka ku bibanja byaffe ne ku nnimiro zaffe ez’emizabbibu. 55:5 a Lub 29:14 b Lv 25:39-43, 47; 2Bk 4:1; Is 50:1 c Ma 15:7-11; 2Bk 4:1Newaakubadde nga tuli omusaayi gumu ne baganda baffe, n’abaana baffe baana baabwe, kyatuleetera okuwaliriza batabani baffe ne bawala baffe okubawaayo mu buddu. Abamu ku bawala baffe twali twabawaayo dda mu busibe; kaakano tetusobola kununula bibanja byaffe ebyo kubanga abantu abalala baabitwala awamu n’ennimiro zaffe ez’emizabbibu.”

6Bwe nawulira okukaaba kwabwe n’ebigambo ebyo ne nsunguwala nnyo. 75:7 Kuv 22:25-27; Lv 25:35-37; Ma 23:19-20; 24:10-13Ne mbirowoozaako, ne nnenya abakungu n’abafuzi. Ne mbagamba nti, “Muggya omusolo ku baganda bammwe ne mukola amagoba!” Kyennava mpita olukuŋŋaana olunene okugonjoola ensonga ezo, 85:8 a Lv 25:47 b Yer 34:8ne mbagamba nti, “Twakola kye tusobola okununula baganda baffe Abayudaaya abaatundibwa mu bannamawanga, naye mmwe mutunda baganda bammwe, ffe ne tubagula okuva ku be mubaguzizza!” Ne basiriikirira, kubanga tebaalina kyakuddamu.

95:9 Is 52:5Ne nyongera okubagamba nti, “Kye mukola si kirungi. Tekibagwanidde okutambula nga mutya Katonda waffe, okwewala okuswala mu maaso g’abalabe baffe, bannamawanga? 105:10 Kuv 22:25Nze, baganda bange ne basajja bange, tuwola abantu ensimbi n’emmere ey’empeke, naye ekigambo ky’okuggya omusolo ku bantu nga kuliko amagoba kikome. 115:11 Is 58:6Mubaddize leero ebibanja byabwe, n’ennimiro zaabwe ez’emizabbibu, n’ez’emizeeyituuni, n’ennyumba zaabwe, ne ku misolo gye mu bawooza, mubaddize kimu kya kikumi ku nsimbi, ne ku mmere ey’empeke ne ku wayini omuggya ne ku mafuta.”

125:12 Ezr 10:5Awo ne baddamu nti, “Tulibibaddiza, so tetuliddayo kubasaba kintu kyonna. Tunaakola nga bw’olagidde.”

Kyennava mpita bakabona ne ndayiza abakungu n’abakulembeze okukola ebyo bye baasuubiza. 135:13 a Mat 10:14; Bik 18:6 b Ma 27:15-26Ne nkunkumula ne nsawo ez’ekyambalo kyange ne njogera nti, “Mukama Katonda akole bw’atyo ennyumba y’omuntu oyo, n’eby’obugagga bwe abimuggyeko, ataakole nga bw’asuubizza. Omuntu oyo akunkumulibwe bw’atyo aleme okusigaza ekintu!”

Olukuŋŋaana lwonna ne baddamu nti, “Amiina, era Mukama yeebazibwe.” Abantu ne bakola nga bwe baasuubiza.

145:14 a Nek 2:6; 13:6 b Lub 42:6; Ezr 6:7; Yer 40:7; Kag 1:1Ate era okuva mu kiseera mwe nalondebwa okuba owessaza w’ensi ya Yuda, mu mwaka ogw’amakumi abiri ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi okutuuka ku mwaka ogw’amakumi asatu mu ebiri, gy’emyaka ekkumi n’ebiri, nze newaakubadde baganda bange tetwalya ku mmere eyatugerekebwa, eyali eteekwa okuba ey’owessaza. 155:15 Lub 20:11Naye abessaza abansooka baazitoowerezanga abantu, nga babawooza ekitundu kya kilo eya ffeeza, ne bagattako emmere ne wayini. Naye nze si bwe nakolanga, olw’okutya Katonda. 165:16 2Bs 3:7-10Ne mmalirira okukola omulimu ku bbugwe oyo, nze n’abasajja bange bonna ne twewaayo okukola ne tutadda mu kululunkanira ttaka.

17Abantu kikumi mu ataano, Abayudaaya abaabulijjo n’abakulu, be baaliranga awamu nange ku mmeeza, okwo nga kw’otadde n’abaava mu mawanga agaatuliraananga. 185:18 1Bk 4:23Buli lunaku ente emu, n’endiga ensava mukaaga n’enkoko nga tezibuzeeko bye byantegekerwanga, ne buli nnaku kkumi ne nfunanga wayini owa buli kika. Wakati mu ebyo byonna saasaba mmere eyali eteekwa okuweebwa owessaza, kubanga abantu baandizitoowereddwa nnyo.

195:19 Lub 8:1; 2Bk 20:3; Nek 1:8; 13:14, 22, 31Nzijukira Ayi Katonda wange, olw’ebyo byonna bye nkoledde abantu bano.