士师记 17 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 17:1-13

米迦的神像

1以法莲山区住了一个名叫米迦的人。 2他对母亲说:“你那一千一百块银子丢了,我还听见你咒诅小偷。看啊,银子在我这里,是我拿去的。”他母亲说:“我儿啊,愿耶和华赐福给你!” 3米迦把一千一百块银子还给母亲。他母亲说:“我要为你把这些银子献给耶和华,用来雕刻、铸造神像。现在这银子还是你的。” 4米迦把银子还给母亲后,他母亲拿出二百块银子交给银匠雕刻、铸造神像,放在米迦的房子里。 5米迦有一个神庙,他制造了一件以弗得和一些家庭神像,并指派他的一个儿子做祭司。 6那时,以色列没有王,人人各行其是。

7犹大伯利恒住着一个年轻的利未人。 8他离开伯利恒想到别的地方居住,一路走到以法莲山区米迦的家。 9米迦问他:“你从哪里来?”他回答说:“我是从犹大伯利恒来的利未人,我要找一个住的地方。” 10米迦说:“你就住在我这里吧,做我的师父和祭司。我每年给你十块银子,还为你提供衣服和膳食。”利未人就进了米迦的家, 11住了下来。米迦待他就像待自己的儿子一样。 12这样,米迦派他做祭司,让他住在自己家里。 13米迦说:“现在我有一个利未人做我的祭司,耶和华一定会赐福给我。”

Luganda Contemporary Bible

Balam 17:1-13

Mikka n’Ebifaananyi bye Ebyole

117:1 Bal 18:2, 13Waaliwo omusajja eyabeeranga mu nsi ey’ensozi Efulayimu, erinnya lye Mikka. 217:2 Lus 2:20; 1Sa 15:13; 2Sa 2:5N’agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza olukumi mu ekikumi17:2 ze kilo nga kkumi na ssatu ebyakubulako, n’okukolima n’okolima, nga mpulira, laba, effeeza eyo nze njirina. Nze nagitwala.”

Awo nnyina n’amugamba nti, “Mwana wange, Mukama Katonda akuwe omukisa.”

317:3 Kuv 20:4, 23; 34:17; Lv 19:4Awo bwe yakomyawo ebitundu bya ffeeza ebyo olukumi mu ekikumi, eri nnyina, nnyina n’amugamba nti, “Mpaayo effeeza eno eri Mukama Katonda, okuva mu mukono gwange ku lw’omwana wange, ekolebwemu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse, era ndimuzza gy’oli.”

417:4 Kuv 32:4; Is 17:8Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza17:4 ze kilo nga bbiri ne desimoolo ssatu, n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.

517:5 a Is 44:13; Ez 8:10 b Bal 8:27 c Lub 31:19; Bal 18:14 d Kbl 16:10 e Kuv 29:9; Bal 18:24Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we. 617:6 a Bal 18:1; 19:1; 21:25 b Ma 12:8Mu biro ebyo tewaaliwo kabaka mu Isirayiri, era buli muntu yakolanga nga bw’alaba.

717:7 Bal 19:1; Lus 1:1-2; Mi 5:2; Mat 2:1Ne wabaawo omuvubuka ow’omu kika kya Yuda nga Muleevi, eyabeeranga mu Besirekemuyuda. 8N’ava mu kibuga kya Besirekemuyuda n’atandika okunoonya gy’anaabera, n’atuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka. Wabula yali akyali ku lugendo ng’akyanoonya aw’okubeera.

9Mikka n’amubuuza nti, “Ova wa?”

Omuleevi n’amuddamu nti, “Nva mu Besirekemuyuda, era nnoonya we nnyinza okubeera.”

1017:10 Bal 18:19Mikka n’amugamba nti, “Beera nange, obeere kitange era kabona, nange ndikuwa ebitundu bya ffeeza kkumi17:10 ze gulaamu nga kikumi mu kkumi ng’empeera, era ne nkuwa n’engoye n’emmere.” Omuleevi n’abeera naye. 11Awo Omuleevi n’akkiriza okubeera n’omusajja oyo, era omuvubuka n’aba gy’ali ng’omu ku batabani be. 1217:12 Kbl 16:10Awo Mikka n’ayawula Omuleevi, era omuvubuka oyo n’abeera kabona we n’abeera mu nnyumba ya Mikka. 13Mikka n’ayogera nti, “Kaakano mmanyi nga Mukama Katonda anankoleranga ebirungi, kubanga nnina Omuleevi nga kabona wange.”