士师记 12 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 12:1-15

耶弗他打败以法莲人

1后来,以法莲人召集军队,渡过约旦河来到撒分。他们对耶弗他说:“你为什么不召我们一起去攻打亚扪人呢?我们要把你和你的房子一起烧掉。” 2耶弗他说:“我和我的人民与亚扪人激战时,我曾召你们参战,你们却不肯来援救我们。 3我见你们不来援救,只好冒死去迎战亚扪人,耶和华把敌人交在了我手中。你们今天为什么来攻打我呢?” 4以法莲人说:“你们这些在以法莲玛拿西境内的基列人不过是以法莲的逃亡者。”于是,耶弗他号召基列人起来迎战以法莲人,打败了他们。 5基列人占据约旦河各渡口,不让以法莲人过去。如果有以法莲的逃兵请求过河,基列人便问他:“你是以法莲人吗?”如果他否认, 6他们就让他说“示播列”。因为以法莲人咬字不清,如果有人把“示播列”说成“西播列”,基列人便抓住他,在那里处死他。那时,有四万二千名以法莲人被杀。

7耶弗他以色列的士师六年,死后葬在基列的一座城里。

以比赞、以伦、押顿

8耶弗他死后,伯利恒以比赞以色列的士师。 9他有三十个儿子、三十个女儿,他从别的宗族给儿子们娶来三十个媳妇,又把女儿都嫁到别的宗族。他做以色列的士师七年, 10死后葬在伯利恒11以比赞死后,西布伦以伦以色列的士师十年。 12他死后葬在西布伦亚雅仑13以伦死后,比拉顿希列的儿子押顿以色列的士师。 14他有四十个儿子、三十个孙子,他的儿孙每人骑一头驴。押顿以色列的士师八年, 15死后葬在以法莲比拉顿,在亚玛力人的山区。

Luganda Contemporary Bible

Balam 12:1-15

112:1 Bal 8:1Abasajja ba Efulayimu ne bayitibwa okusomoka okulaga mu Zafoni. Ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wagenda okulwanyisa abaana ba Amoni, n’otatuyita kugenda naawe? Tugenda kukwokera mu nnyumba yo.”

2Yefusa n’abaddamu nti, “Nze n’abantu bange twatawaana nnyo okulwanyisa abaana ba Amoni, era nabakoowoola mujje mutubeere, naye temwajja kutubeera kuva mu mukono gwabwe. 312:3 1Sa 19:5; 28:21; Yob 13:14Bwe nalaba nga temuzze kutubeera, ne nteeka obulamu bwange mu ngalo zange, ne nsomoka okulwana n’abaana ba Amoni, era Mukama Katonda n’abagabula mu mukono gwange. Kaakano kiki ekibaleeta gye ndi okulwana nange leero?”

4Awo Yefusa n’akuŋŋaanya abantu b’e Gireyaadi bonna, ne balwanyisa Efulayimu. Abasajja ab’e Gireyaadi baabalwanyisa kubanga Efulayimu baayogera nti, “Mmwe muli bakyewaggula ba Efulayimu ab’e Gireyaadi, wakati mu Efulayimu ne mu Manase.” 512:5 Yos 22:11; Bal 3:28Ab’e Gireyaadi ne bawamba ebifo bya Yoludaani okusomokerwa okutuuka mu Efulayimu, era bwe waabangawo ku bakomawo aba Efulayimu eyayagalanga okusomoka, abasajja ab’e Gireyaadi nga bamubuuza nti, “Oli Mwefulayimu?” 6Bwe yeegananga, nga bamugamba ayogere nti, “Shibbolesi.” Bwe yayogeranga nti, “Sibbolesi,” kubanga teyayinzanga kukyogera bulungi, ng’akwatibwa era ng’attibwa awo awasomokerwa ku Yoludaani. Mu biro ebyo, mu Efulayimu ne mufaamu abantu emitwalo ena mu enkumi bbiri.

7Awo Yefusa n’alamula Isirayiri okumala emyaka mukaaga. Yefusa Omugireyaadi n’afa, n’aziikibwa mu kimu ku kibuga bya Gireyaadi.

Okufuga kwa Ibuzaani ne Eroni ne Abudoni

8Oluvannyuma lwa Yefusa, Ibuzaani ow’e Besirekemu12:8 Besirekemu oyo si ye Besirekemu wa Yuda. Ekibuga ekyo kyali mu kitundu eky’e Zebbulooni. n’alamula Isirayiri. 9Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu, n’abaana aboobuwala amakumi asatu. Bawala be n’abafumbiza abantu abataali ba kika kye, ne batabani be n’abawasiza abawala abataali ba kika kye. N’akulembera Isirayiri okumala emyaka musanvu. 10Ibuzaani n’afa, n’aziikibwa mu Besirekemu.

11Oluvannyuma lwa Ibuzaani, Eroni Omuzebbulooni, n’alamula Isirayiri okumala emyaka kkumi. 12Eroni Omuzebbulooni n’afa, n’aziikibwa mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.

13Awo oluvannyuma lwa Eroni, Abudoni mutabani wa Kereri Omupirasoni n’alamula Isirayiri. 1412:14 a Bal 10:4 b Bal 5:10Yalina abaana aboobulenzi amakumi ana, n’abazzukulu amakumi asatu abeebagalanga endogoyi nsanvu. Yalamula Isirayiri okumala emyaka munaana. 1512:15 Bal 5:14Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n’afa, n’aziikibwa mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu nsi ey’Abamaleki ey’ensozi.