哥林多后书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多后书 3:1-18

保罗的荐信

1难道我们又是在称赞自己吗?难道我们像别人一样,需要拿着推荐信去见你们,或拿着你们的推荐信去见别人吗? 2你们自己就是我们的推荐信,写在了我们心坎上,众所周知,人人可读。 3显然,你们是从基督而来的一封信,是我们工作的成果。这信不是用笔墨写成的,乃是借着永活上帝的灵写成的;不是写在石版上的,而是刻在心版上的。

4我们靠着基督在上帝面前有这样的确信。 5我们并不认为自己能够承担什么,我们能够承担全是靠上帝。 6祂使我们能够担任新约的执事。这新约不是用律法条文立的,而是圣灵的工作,因为律法条文带给人死亡,但圣灵赐给人生命。

新约的荣耀

7这最终带来死亡、刻在石版上的律法条文的事工尚且有荣耀,甚至使摩西的脸上发出荣光,尽管很快就消逝了,以色列人仍然无法定睛看他, 8那么圣灵的事工岂不更有荣耀吗? 9那定人罪的事工尚且有荣耀,这使人被称为义人的事工岂不更有荣耀吗? 10其实先前的荣耀和现今的大荣耀相比,就黯然失色了。 11那渐渐消逝的尚且有荣耀,这永远长存的更是荣耀无比。

12我们因为有这极大的盼望,就放胆无惧, 13不像摩西将帕子蒙在脸上,以免以色列人看见那渐渐消逝的荣光。 14以色列人的心刚硬,直到今日,他们每逢读旧约的时候,同样的帕子还在那里,没有揭去。因为只有在基督里,那帕子才能被除去。 15时至今日,每逢他们读摩西律法的时候,帕子仍然蒙在他们心上。 16然而,他们一旦归向基督,那帕子就被除去了。 17主就是那灵,主的灵在哪里,哪里就有自由。 18我们这些脸上不再蒙着帕子的人,可以像镜子一样反映主的荣光,渐渐变成主的样式,荣上加荣。这都是主的作为,主就是那灵。

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 3:1-18

13:1 a 2Ko 5:12; 12:11 b Bik 18:27Tutandike okwetendereza? Oba twetaaga ebbaluwa ez’okutusemba gye muli mmwe oba okuva gye muli ng’abalala? 23:2 1Ko 9:2Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe, emanyiddwa era esomebwa abantu bonna, 3ekiraga nti muli bbaluwa eva eri Kristo, enywezeddwa ffe, etaawandiikibwa na bwino, wabula na Mwoyo wa Katonda omulamu, si ku bipande eby’amayinja naye ku bipande by’emitima egy’omubiri.

43:4 Bef 3:12Obwo bwe bwesige bwe tulina eri Katonda nga tuyita mu Kristo. 53:5 1Ko 15:10Si lwa kubanga obwesige obwo buva mu ffe ku lwaffe, naye obwesige bwaffe buva eri Katonda, 63:6 a Luk 22:20 b Yk 6:63oyo ye yatusaanyiza okuba abaweereza b’endagaano empya etali ya nnukuta wabula ey’omwoyo. Kubanga ennukuta etta, naye omwoyo aleeta obulamu.

Ekitiibwa ekiri mu ndagaano empya

73:7 Kuv 34:29-35Kale obanga obuweereza bw’amateeka agaleeta okufa agaayolebwa ku mayinja bwaleetebwa n’ekitiibwa kingi, eri abaana ba Isirayiri, abantu ne batasobola na kutunula mu maaso ga Musa, olw’ekitiibwa ekyali kiva ku maaso ge, ekyali kigenda okuggwaako, 8kale obuweereza obw’omwoyo tebulisinga nnyo okuba obw’ekitiibwa? 93:9 a nny 7 b Bar 1:17; 3:21, 22Kuba obanga obuweereza bw’okusalirwa omusango bwa kitiibwa, obuweereza bw’obutuukirivu businga nnyo ekitiibwa. 10Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiweebwa mu kigambo kino. 11Kale obanga ekyo ekiggwaawo kaakano kyajja n’ekitiibwa, ekyo ekitaggwaawo kisinga nnyo ekitiibwa kya kiri ekyasooka.

123:12 Bef 6:19Olw’okuba n’essuubi eringi bwe lityo, kyetuva tuweereza n’obuvumu bungi, 133:13 nny 7; Kuv 34:33so si nga Musa eyeebikkanga ku maaso ge, abaana ba Isirayiri baleme okulaba ekitiibwa bwe kiggwaako. 143:14 a Bar 11:7, 8 b Bik 13:15 c nny 6Naye ebirowoozo byabwe byakkakkanyizibwa kubanga n’okutuusa leero ekibikka ku maaso ekyo kikyali kye kimu kye beebikkanga nga basoma endagaano enkadde, kye bakyebikako nga bagisoma, tekyababikkulirwa, kubanga kiggyibwawo mu Kristo. 15Naye n’okutuusa leero, Musa bye yawandiika bwe bisomebwa, emitima gyabwe giba gibikiddwako essuuka. 163:16 a Bar 11:23 b Kuv 34:34Naye buli muntu akyuka n’adda eri Mukama, abikkulwako essuuka eyo. 173:17 a Is 61:1, 2 b Yk 8:32Kale nno Mukama ye Mwoyo, era buli Omwoyo wa Mukama w’abeera, wabaawo eddembe. 183:18 a 1Ko 13:12 b 2Ko 4:4, 6 c Bar 8:29Kaakano ffe ffenna, amaaso gaffe nga gabikuddwa, ekitiibwa kya Katonda kyakaayakana mu ffe ng’endabirwamu emulisa ekitiibwa kye ne tukyusiibwa okumufaanana okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, ekiva eri Mukama waffe, Mwoyo.