哥林多前书 4 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

哥林多前书 4:1-21

基督的使徒

1因此,人应该把我们当作是基督的仆人,是上帝奥秘之事的管家。 2对管家的要求是忠心。 3我对你们或别人给我的评价毫不介意,我也不评价我自己。 4就算我今日问心无愧,也不能自以为义,因为评价我的是主。 5所以,时候未到,不可妄下断语。到主耶稣再来的时候,祂会揭开暗中的隐情,使人心里的动机显露。到时候上帝会给各人应得的称赞。

6弟兄姊妹,为了你们的益处,我以亚波罗和自己作例子,好让你们效法我们不越过圣经的准则,免得有人自高自大、厚此薄彼。 7谁使你与众不同呢?你有哪一样不是领受的呢?既然一切都是领受的,你为什么还自夸,好像不是领受的? 8你们已经饱足了,富有了,不需要我们,自己已经做王了。我倒希望你们真的能做王,好让我们也和你们一同做王。 9我想,上帝把我们使徒排在队伍的末尾,好像被判了死罪的囚犯,让我们成了一台戏,给全宇宙看,就是给世人和天使观看。

10我们为了基督的缘故被人看为愚昧,你们在基督里倒成了聪明人;我们软弱,你们倒强壮;你们受人尊敬,我们倒被人藐视。 11我们至今还是又饥又渴,衣不蔽体,遭受毒打,居无定所, 12还要亲手劳作。我们被人咒骂,就为对方祝福;受人迫害,就逆来顺受; 13被人毁谤,就好言相劝。人们至今仍将我们看作世上的废物,万物中的渣滓。

14我之所以写这些事,并非是叫你们羞愧,而是像劝诫我亲爱的儿女一样劝诫你们。 15虽然有千万老师将基督的事教导你们,但父亲并不多,因为我借着福音在基督耶稣里成为你们的父亲。 16所以,我劝你们效法我。 17正因如此,我派了提摩太去你们那里。他在主里忠心耿耿,是我所爱的孩子。他会提醒你们我在基督里如何行事为人,在各地、各教会如何教导人。

18你们当中有些人以为我不会再去你们那里,就傲慢自大起来。 19但主若许可,我会很快去你们那里。那时我要看看这些骄傲的人究竟是只会空谈,还是真有上帝的权能。 20因为上帝的国不在于空谈,而在于权能。 21到底你们要什么呢?要我带着刑杖去呢?还是要我带着温柔慈爱的心去呢?

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 4:1-21

Abatume ba Kristo

14:1 a 1Ko 9:17; Tit 1:7 b Bar 16:25Omuntu asaanidde atulabe ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda. 2Ate era omuwanika kimugwanira okuba omuntu omwesigwa. 3Naye gye ndi ekyo kintu kitono nnyo mmwe okunsalira omusango oba omuntu yenna ku lunaku olw’okusalirako omusango; nange sseesalira musango. 44:4 Bar 2:13Kubanga nze seemanyiiko nsonga yonna, wabula ekyo tekimpeesa butuukirivu, naye ansalira omusango ye Mukama waffe. 54:5 a Mat 7:1, 2; Bar 2:1 b Bar 2:29Noolwekyo temusalanga musango ekiseera nga tekinnatuuka okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebyakwekebwa eby’ekizikiza, n’ayolesa n’ebigendererwa by’omutima, buli muntu n’alyoka atendebwa Katonda.

64:6 a 1Ko 1:19, 31; 3:19, 20 b 1Ko 1:12Kaakano abooluganda ebintu ebyo mbigeredde ku nze ne ku Apolo ku lwammwe, mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa, omuntu omu alemenga okwegulumiza ng’anyooma omulala. 74:7 Yk 3:27; Bar 12:3, 6Kubanga ani akwawula? Era mulina kye mutaaweebwa? Kale obanga ddala mwaweebwa, kiki ate ekibenyumirizisa ng’abataakifuna? 84:8 Kub 3:17, 18Mwakkuta dda n’okugaggawala ne mugaggawala, era ne mufuuka bakabaka awatali ffe; naye nandyagadde mufuuke bakabaka, naffe tulyoke tufuukire wamu bakabaka nammwe. 94:9 a Bar 8:36 b Beb 10:33Kubanga ndowooza nga ffe abatume, Katonda yatuteeka ku nkomerero ng’abasibe abalindirira okuttibwa, kubanga twafuulibwa ekyerolerwa eri ensi, eri bamalayika n’eri abantu. 104:10 a 1Ko 1:18; Bik 17:18 b 1Ko 3:18 c 1Ko 2:3Tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezi mu Kristo; Ffe tuli banafu naye mmwe muli ba maanyi! Mmwe muli ba kitiibwa naye ffe tunyoomebwa. 114:11 Bar 8:35; 2Ko 11:23-27Era ne mu kiseera kino tulumwa enjala n’ennyonta nga tetulina na kyakwambala, tukubibwa era tubungeeta bubungeesi. 124:12 a Bik 18:3 b 1Pe 3:9Tutegana nga tukola emirimu n’emikono gyaffe; tusabira emikisa abo abatukolimira; bwe tuyigganyizibwa tugumiikiriza; 134:13 Kgb 3:45abo abatuvuma tubaddamu ne gonjebwa. Era n’okutuusa kaakano tuli ng’ebisooto mu bigere era tuli ng’ebisaaniiko.

144:14 1Bs 2:11Siwandiika bintu bino lwa kubaswaza naye lwa kubabuulirira ng’abaana bange abaagalwa. 154:15 1Ko 9:12, 14, 18, 23Kubanga newaakubadde mulina abalala nkumi na nkumi ababayigiriza ebya Kristo, naye mujjukirenga nga mulina bakitammwe batono. Kubanga nze mbazaala mu Kristo olw’enjiri. 164:16 1Ko 11:1; Baf 3:17; 1Bs 1:6; 2Bs 3:7, 9Noolwekyo mbongeramu amaanyi mulabire ku nze. 174:17 a 1Ti 1:2 b 1Ko 7:17Kyennava mbatumira Timoseewo omwana wange omwesigwa era omwagalwa mu Mukama waffe, anaabajjukizanga ebyo bye ngoberera mu Kristo Yesu nga bwe njigiriza wonna wonna mu buli Kkanisa.

18Naye waliwo abamu mu mmwe abeekuluntaza nga balowooza nti sigenda kujja gye muli. 194:19 a 2Ko 1:15, 16 b Bik 18:21Naye nzija mangu, Mukama bw’anaasiima ndyoke mmanye amaanyi g’abo abeekuluntaza so si mu bigambo obugambo. 20Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kwogera bwogezi, wabula mu maanyi. 214:21 2Ko 1:23; 13:2, 10Kiruwa kye mwagala? Nzije n’omuggo, oba nzije na kwagala n’omwoyo ogw’obuwombeefu?