启示录 4 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 4:1-11

天上的敬拜

1此后,我再观看,见天上有一扇门开了,又听见刚才那个像号角般响亮的声音对我说:“你上这里来,我要把以后必发生的事指示给你看。” 2我便立刻被圣灵感动,看见天上安设着一个宝座,有一位坐在宝座上, 3闪耀着碧玉和红宝石般的光彩。有一道翡翠般的彩虹围绕着宝座。 4宝座的周围设有二十四个座位,有二十四位长老坐在上面,他们身穿白袍,头戴金冠。 5从宝座中有闪电、响声、雷鸣发出,宝座前面燃烧着七把火炬,代表4:5 代表”希腊文是“就是”。上帝的七灵。 6宝座前还有一个水晶般的玻璃海,宝座的四周有四个活物,他们前后都长满了眼睛。 7第一个活物像狮子,第二个像牛犊,第三个有人的面孔,第四个像飞鹰。 8这四个活物各有三对翅膀,翅膀内外都长满眼睛。他们昼夜不停地说:

“圣哉!圣哉!圣哉!

主上帝是昔在、今在、

以后永在的全能者。”

9每逢这些活物将荣耀、尊贵、感谢献给坐在宝座上、活到永永远远的那位时, 10二十四位长老就俯伏在坐宝座的那位面前,敬拜那位永活者,又摘下他们头上的冠冕,放在宝座前,说:

11“我们的主,我们的上帝,

你配得荣耀、尊贵和权能,

因你创造了万物,

万物都因你的旨意被创造而存在。”

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 4:1-11

Entebe ey’Obwakabaka mu Ggulu

14:1 a Kub 1:10 b Kub 11:12 c Kub 1:19Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” 24:2 a Kub 1:10 b Is 6:1; Ez 1:26-28; Dan 7:9Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. 34:3 Ez 1:28Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi. 44:4 a Kub 11:16 b Kub 3:4, 5Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. 54:5 a Kub 8:5; 16:18 b Zek 4:2 c Kub 1:4Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda. 64:6 a Kub 15:2 b Ez 1:5Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.

74:7 Ez 1:10; 10:14Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. 84:8 a Is 6:2 b Is 6:3; Kub 1:8 c Kub 1:4Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,

“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,

Mukama Katonda Ayinzabyonna,

Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”

94:9 Zab 47:8Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, 104:10 a nny 4 b Kub 5:8, 14 c Kub 5:2abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti,

114:11 a Kub 5:12 b Kub 10:6“Mukama waffe era Katonda waffe,

osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,

kubanga gwe watonda ebintu byonna

era byonna byatondebwa ku lulwo

era gwe wasiima okubiteekawo.”