启示录 16 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 16:1-21

1我听见殿中有宏亮的声音对七位天使说:“去将那盛满上帝烈怒的七个碗倾倒在地上。”

2第一位天使离去,将碗倒在了地上,那些有怪兽的印记、敬拜兽像的人身上长出奇痛无比的毒疮。

3第二位天使将碗倒在了海洋里,海水变得像死人的血,海中的活物都死光了。

4第三位天使将碗倒在了江河与水泉里,水就变成了血。 5我听见掌管各水源的天使说:

“昔在今在的圣者啊!

你是公义的,

因为你施行了审判。

6由于他们流了众圣徒和先知们的血,

现在你使他们喝血,

这正是他们应得的报应。”

7我又听见从祭坛发出的声音说:

“是的,全能的主上帝,

你的判决真实公义。”

8第四位天使将碗倒在太阳上,太阳就变得炙热如火,可以灼伤人。 9人们被炙热灼伤,就亵渎掌管这些灾祸的上帝的名,他们毫无悔意,不肯归荣耀给上帝。

10第五位天使将碗倒在那海中怪兽的座位上,它的国便被黑暗笼罩,它的国民痛苦难当,咬自己的舌头。 11他们因为痛苦和毒疮就亵渎天上的上帝,不肯为自己的所作所为悔改。

12第六位天使将碗倒在幼发拉底大河上,河水立刻干了,为东方各国的王预备了道路。 13我又看见三个像青蛙一样的污鬼分别从巨龙、怪兽和假先知的口里跳出来。 14其实它们都是鬼魔的灵,能行奇迹。它们到普天下召集各王,预备在全能上帝的大日子来临时聚集争战。

15“看啊!我要像贼一样出其不意地来到。那警醒等候,看守自己衣裳,不致赤身行走蒙受羞辱的人有福了。”

16鬼魔把众王召集到一个希伯来话叫哈米吉多顿的地方。

17第七位天使将碗倒在空中时,从殿里的宝座上传出响亮的声音说:“成了!” 18随后雷电交加,伴随着巨响,还有空前剧烈的大地震。 19巴比伦大城裂作三段,其他各国的城邑也都倒塌了。上帝并没有忘记巴比伦大城的罪恶,要把那杯盛满祂烈怒的酒给她喝。 20海岛都沉没了,山岭也都不见了, 21又有重达三十四公斤16:21 三十四公斤”希腊文是“一他连得”。的巨型冰雹从天而降,打在世人身上。世人无法忍受这极大的灾祸,就亵渎上帝。

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 16:1-21

Ebibya Omusanvu ebirimu Obusungu bwa Katonda

116:1 Kub 15:1Awo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.” 216:2 a Kub 8:7 b Kuv 9:9-11 c Kub 13:15-17Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

316:3 Kuv 7:17-21Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

416:4 a Kub 8:10 b Kuv 7:17-21Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi. 516:5 a Kub 15:3 b Kub 15:4 c Kub 1:4Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti,

“Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu,

aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.

616:6 Is 49:26Olw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi,

ogwo gwe musaayi gw’obawadde okunywa.”

716:7 a Kub 6:9 b Kub 15:3; 19:2Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti,

“Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna,

ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”

816:8 a Kub 8:12 b Kub 14:18Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu. 916:9 a nny 11, 21 b Kub 2:21 c Kub 11:13Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

1016:10 a Kub 13:2 b Kub 9:2Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, 1116:11 a nny 9, 21 b Kub 11:13 c Kub 11:2 d Kub 2:21ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

1216:12 a Kub 9:14 b Is 41:2Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe. 1316:13 a Kub 12:3 b Kub 13:1 c Kub 19:20Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 1416:14 a 1Ti 4:1 b Kub 17:14Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.

1516:15 Luk 12:37“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”

1616:16 a Kub 9:11 b 2Bk 23:29, 30Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

1716:17 a Bef 2:2 b Kub 14:15 c Kub 11:15 d Kub 21:6Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” 1816:18 a Kub 4:5 b Kub 6:12 c Dan 12:1Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi. 1916:19 a Kub 17:18 b Kub 18:5 c Kub 14:8 d Kub 14:10Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda. 2016:20 Kub 6:14Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. 2116:21 a Kub 11:19 b Kuv 9:23-25N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.