历代志下 35 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 35:1-27

约西亚守逾越节

1约西亚耶路撒冷为耶和华守逾越节。一月十四日,众人宰杀逾越节的祭牲。 2他指派祭司各尽其职,鼓励他们在耶和华的殿里事奉, 3又对将自己献给耶和华、负责教导以色列人的利未人说:“你们把圣约柜放在以色列大卫的儿子所罗门建的殿里,不用再扛在肩上。现在你们去事奉你们的上帝耶和华和祂的以色列子民吧。 4你们要按宗族和班次,依照以色列大卫和他儿子所罗门所写的指示,预备自己。 5你们要按你们弟兄所在宗族的班次,侍立在圣所,每个班次中要有几个利未宗族的人。 6你们要宰杀逾越节的羊羔,洁净自己,为你们的弟兄做好准备,依照耶和华借摩西所吩咐的去行。”

7约西亚从自己的产业中,捐出三万只绵羊羔和山羊羔,以及三千头公牛,赐给所有在场的人做逾越节的祭牲。 8他的众官员也自愿为民众、祭司和利未人捐献。管理上帝殿的希勒迦撒迦利亚耶歇献出两千六百只羊羔和三百头牛,给祭司做逾越节的祭牲。 9利未人的首领歌楠雅和他的两个兄弟示玛雅拿坦业,及哈沙比雅耶利约撒拔献出五千只羊羔和五百头牛,给利未人做逾越节的祭牲。

10一切都准备好后,依照王的吩咐,祭司站在自己的地方,利未人按照班次侍立。 11利未人宰杀逾越节的羊羔,祭司从他们手中接过血,洒在坛上,又剥去祭牲的皮。 12他们按照宗族把燔祭分给众人,好使他们按照摩西书上所写的,把祭物献给耶和华。献牛也是这样。 13他们按规定用火烤逾越节的羊羔,在锅里、罐里和盆里煮圣物,然后迅速分给民众。 14之后,利未人为自己和祭司预备祭物,因为做祭司的亚伦子孙要继续献燔祭和脂肪一直到晚上。 15负责歌乐的亚萨子孙依照大卫亚萨希幔和王的先见耶杜顿的吩咐,站在自己的岗位上;殿门守卫都看守各门,不必离开工作岗位,因为他们的弟兄利未人为他们预备了祭物。

16当天,一切事奉的事都办好了,他们就按约西亚王的命令守逾越节,又在耶和华的坛上献燔祭。 17所有在场的以色列人都在那时守逾越节,又守除酵节七天。 18撒母耳先知以来,在以色列从来没有守过这样的逾越节,以色列从没有君王像约西亚、祭司、利未人、所有在场的犹大人和以色列人,以及耶路撒冷的居民这样守过逾越节。 19这次逾越节是在约西亚执政第十八年庆祝的。

约西亚逝世

20约西亚办理完殿里的事后,埃及尼哥上来,要攻打幼发拉底河附近的迦基米施约西亚出兵拦阻。 21尼哥派使者对约西亚说:“犹大王啊,我与你没有恩怨。我今天来不是要攻击你,乃是要攻击与我作战的那一家。上帝吩咐我要速速完成,你不要与上帝作对,免得祂毁灭你,因为上帝与我同在。” 22约西亚却不听上帝借尼哥说的话。他没有退兵,反而乔装上阵,与尼哥会战于米吉多平原。 23约西亚王在战场上中箭受伤,就对仆人说:“我受了重伤,带我离开吧。” 24他的仆人就扶他下战车,上另一辆战车,送到耶路撒冷约西亚死在那里,葬在他祖先的坟墓里。所有犹大耶路撒冷的人都为他哀悼。 25耶利米约西亚作了哀歌,所有的男女歌乐手至今仍用这些哀歌纪念约西亚,成了以色列的传统。这些哀歌都记在《哀歌书》上。

26约西亚其他的事迹和他怎样忠心地遵行耶和华的律法, 27自始至终都记在《以色列和犹大的列王史》上。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 35:1-27

Yosiya Akwata Embaga ey’Embaga ey’Okuyitako

135:1 Kuv 12:1-30; Kbl 9:3; 28:16Awo Yosiya n’akwata Embaga ey’Okuyitako mu Yerusaalemi, era ne batta omwana gw’endiga, ogw’Embaga ey’Okuyitako ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. 2N’alonda bakabona mu bifo eby’obuvunaanyizibwa bwabwe, n’abakuutira mu kuweereza kwabwe mu yeekaalu ya Mukama. 335:3 Ma 33:10; 1By 23:26; 2By 5:7; 17:7N’agamba Abaleevi abaayigirizanga Isirayiri yenna, era abaali abawonge eri Mukama nti, “Muteeke essanduuko entukuvu mu yeekaalu ya Sulemaani mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri, gye yazimba. Si yaakwetikkanga ku bibegabega byammwe. Kaakano muweereze Mukama Katonda wammwe n’abantu be Isirayiri, 435:4 nny 10; 1By 9:10-13; 24:1; 2By 8:14; Ezr 6:18mweteeketeeke ng’ennyumba za bajjajjammwe bwe ziri mu masiga gammwe, nga mugoberera ebiragiro Dawudi kabaka wa Isirayiri ne Sulemaani mutabani we bye yawandiika.

5“Muyimirire awatukuvu mu bibinja eby’Abaleevi eby’ennyumba za bajjajjammwe eza baganda bammwe abantu abaabulijjo. 635:6 Lv 11:44; 2By 29:5, 15Mutte ennyana n’abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, mwetukuze, muteekereteekere baganda bammwe, nga mugoberera ebyo Mukama bye yalagira ng’ayita mu Musa.”

735:7 a 2By 30:24 b 2By 31:3Yosiya n’agabira abantu abaabulijjo bonna abaaliwo endiga n’embuzi emitwalo esatu okuba ebiweebwayo olw’Embaga ey’Okuyitako, n’ente enkumi ssatu okuva mu byobugagga bwe.

835:8 a 1By 29:3; 2By 29:31-36 b 1By 6:13Abakungu be nabo, ku bwabwe ne bagabira abantu ne bakabona n’abaleevi ebintu. Kirukiya, ne Zekkaliya ne Yekyeri abaddukanyanga emirimu gya yeekaalu ya Mukama ne bawa bakabona abaana b’endiga n’ab’embuzi enkumi bbiri mu lukaaga, n’ente ebikumi bisatu. 935:9 a 2By 31:12 b 2By 31:13Konaniya, ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b’Abaleevi, nabo ne bawa Abaleevi abaana b’endiga n’ente enkumi ttaano nga by’ebiweebwayo eby’Embaga ey’Okuyitako.

1035:10 a nny 4; Ezr 6:18 b 2By 30:16Ne bateekateeka eby’okusinza, bakabona ne bayimirira mu bifo byabwe n’Abaleevi mu bibinja byabwe nga kabaka bwe yalagira. 1135:11 2By 29:22, 34; 30:17Ne batta abaana b’endiga ab’Embaga ey’Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baggyanga mu bisolo, Abaleevi bye baabaaganga. 12Ne baawuula ebiweebwayo ebyokebwa balyoke babigabire abantu abaabulijjo mu bibinja byabwe mu nnyumba za bajjajjaabwe, babiweeyo eri Mukama, nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Bwe batyo bwe baakola n’ente. 1335:13 Kuv 12:2-11; Lv 6:25; 1Sa 2:13-15Ne bookya ensolo ez’Embaga ey’Okuyitako mu muliro nga bwe kyawandiikibwa, ne bafumba ebiweebwayo ebitukuvu mu ntamu, ne mu sefuliya ne mu nsaka, n’oluvannyuma ne babigabira mangu buli muntu owabulijjo. 1435:14 Kuv 29:13Oluvannyuma lw’ebyo Abaleevi ne bakabona ne beeteekerateekera bo ne bakabona kubanga bakabona bazzukulu ba Alooni tebaalina bbanga olw’omulimu ogw’okuwaayo ebiweebwayo n’amasavu gwe baakola okuzibya obudde. Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bo ne bakabona batabani ba Alooni.

1535:15 1By 25:1; 26:12-19; 2By 29:30; Nek 12:46; Zab 68:25N’abayimbi bazzukulu ba Asafu baali mu bifo byabwe nga Dawudi, ne Asafu, ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka, bwe baalagira. N’abaggazi baali ku buli luggi, nga tebava ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.

16Bwe kutyo okuweereza kwonna okw’Embaga ey’Okuyitako n’okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama bwe kwali, Kabaka Yosiya kwe yalagira. 17Abayisirayiri abaaliwo mu kiseera ekyo, ne bakwata Embaga ey’Okuyitako, ne bafumba n’embaga ey’Emigaati egitali mizimbulukuse, okumala ennaku musanvu. 18Waali tewabangawo Mbaga ya Kuyitako ng’eyo mu Isirayiri okuva mu nnaku za Samwiri nnabbi, nga eyaliwo mu kiseera kya Yosiya, ne bakabona n’Abaleevi, ne Yuda yonna ne Isirayiri abaaliwo, n’abatuuze ba Yerusaalemi. 19Embaga ey’Okuyitako eyo yakwatibwa mu mwaka gwa kkumi na munaana ogw’okufuga kwa Yosiya.

Okufa kwa Yosiya

2035:20 a Is 10:9; Yer 46:2 b Lub 2:14Oluvannyuma lw’ebyo byonna, Yosiya ng’amaze okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n’atabaala Kalukemisi ku mugga Fulaati, ne Yosiya n’agenda amutabaale. 2135:21 1Bk 13:18; 2Bk 18:25Naye Neeko n’amutumira ababaka ng’amugamba nti, “Onvunaana ki gwe kabaka wa Yuda? Sitabaala gwe leero, wabula Kalukemisi ggwe nnwana naye, kubanga Katonda andagidde okwanguwa. Noolwekyo toziyiza Katonda, kubanga ali wamu nange. Bw’otoobeerwe anaakuzikiriza.”

2235:22 Bal 5:19; 1Sa 28:8; 2By 18:29Naye Yosiya n’atamuwuliriza, ne yeebulizabuliza mu ggye n’agenda okumutabaala. N’atawuliriza bigambo bya Neeko ebyava eri Katonda, naye n’agenda okumulwanyisa mu lusenyi lwa Megiddo.

2335:23 1Bk 22:34Abalasi ne balasa kabaka Yosiya n’agamba abaserikale be nti, “Munziggyeewo kubanga nfumitiddwa nnyo.” 24Awo ne bamuggya mu ggaali lye ne bamuteeka mu ggaali eddala lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira. N’aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yonna ne Yerusaalemi ne bamukungubagira.

2535:25 Yer 22:10, 15-16Yeremiya n’ayiiya ennyimba ez’okukungubagira Yosiya, era ne leero abayimbi bonna abasajja n’abakazi bayimba nga bamujjukira mu nnyimba ez’okukungubaga. Ennyimba ezo zaafuuka kijjukizo mu Isirayiri era zawandiikibwa mu kungubaga.

26Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mirembe gya Yosiya, n’ebikolwa bye ebirungi, nga bwe byawandiikibwa mu tteeka lya Mukama, 27ne byonna okuva ku ntandikwa ye okutuuka ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isirayiri ne Yuda.