历代志下 34 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 34:1-33

犹大王约西亚

1约西亚八岁登基,在耶路撒冷执政三十一年。 2他做耶和华视为正的事,效法他祖先大卫,不偏不离。

约西亚清除偶像

3他执政第八年,虽然还年幼,却开始寻求他祖先大卫的上帝。他执政第十二年,开始清除犹大耶路撒冷的丘坛、亚舍拉神像、雕刻和铸造的偶像。 4众人在他面前拆毁巴力的祭坛,他砍掉高高的香坛,又把亚舍拉神像及雕刻和铸造的偶像磨成粉末,撒在祭拜它们之人的坟墓上, 5把它们祭司的骸骨放在它们的坛上焚烧。这样,他洁净了犹大耶路撒冷6约西亚还在玛拿西以法莲西缅,远至拿弗他利的各城邑及其周围的荒废之地做了同样的事情。 7他拆毁祭坛和亚舍拉神像,把偶像磨成粉末,砍掉以色列境内所有的香坛,然后回到耶路撒冷

发现律法书

8约西亚执政第十八年,洁净国土和圣殿以后,就差遣亚萨利雅的儿子沙番耶路撒冷的总督玛西雅约哈斯的儿子约亚史官负责整修他的上帝耶和华的殿。 9他们到希勒迦大祭司那里,把献给上帝殿的银子交给他。这银子是守殿门的利未人从玛拿西人和以法莲人,所有剩下的以色列人,所有的犹大人和便雅悯人,以及耶路撒冷的居民那里收来的。 10他们把银子交给负责管理耶和华殿的督工,由他们转交给整修耶和华殿的工人, 11也就是木匠和石匠,让他们用来购买凿好的石头、木架和栋梁,整修犹大诸王毁坏的殿。 12工人都忠诚地工作。他们的督工是利未米拉利的子孙雅哈俄巴底哥辖的子孙撒迦利亚米书兰。其他精通乐器的利未13负责监督搬运工人,还有一些做书记、官员和殿门守卫。

14他们把奉献到耶和华殿里的银子拿出来的时候,希勒迦祭司发现了摩西所传的耶和华的律法书。 15希勒迦就对沙番书记说:“我在耶和华的殿里发现了律法书。”希勒迦就把书卷交给沙番16沙番把书卷带到王那里,向王禀告说:“凡交给仆人们办的事,都已办妥。 17耶和华殿里的银子已被取出来交给督工和工人。” 18沙番书记又对王说:“希勒迦祭司交给我一卷书。”沙番就在王面前诵读这书。 19王听了律法书上的话,就撕裂衣服, 20吩咐希勒迦沙番的儿子亚希甘米迦的儿子亚比顿沙番书记和王的臣仆亚撒雅21“你们去为我、为以色列犹大的余民求问耶和华有关这书卷上的话。耶和华的烈怒已经临到我们身上,因为我们的祖先没有遵守耶和华的话,没有遵行这书卷上的话。”

22于是,王派去的人跟着希勒迦去求问女先知户勒妲,她是负责管理礼服的沙龙之妻。沙龙哈斯拉的孙子、特瓦的儿子。户勒妲住在耶路撒冷第二区。他们向她说明来意, 23她对他们说:“以色列的上帝耶和华要你们回去告诉差你们来见我的人, 24耶和华说,‘我要照在犹大王面前所读的那书上的一切咒诅,降灾难给这地方及这里的居民。 25因为他们背弃我,给别的神明烧香,制造偶像惹我发怒,所以我的怒火要在这地方燃烧,绝不止息。’ 26你们告诉差你们来求问耶和华的犹大王,‘至于你所听见的那些话,以色列的上帝耶和华说, 27因为你听到我对这地方及这里居民的警告,便悔改,在我面前谦卑、撕裂衣服,向我哭泣,我垂听了你的祷告。这是我耶和华说的。 28我会让你平安入土,你不会看到我要降给这地方及这里居民的一切灾难。’”他们便回去禀告王。

约西亚立约顺服上帝

29于是,王召集犹大耶路撒冷的所有长老, 30犹大人和耶路撒冷的居民、祭司和利未人等全体民众,不论贵贱,一同上到耶和华的殿。王把在耶和华殿中发现的约书念给他们听。 31王站在自己的位置上,在耶和华面前立约,要全心全意地跟随耶和华,遵从祂的一切诫命、法度和律例,履行约书上的规定。 32他使耶路撒冷便雅悯的人都遵行这约。于是,耶路撒冷的居民都遵行他们祖先的上帝的约。 33约西亚除去以色列境内所有的可憎之物,又吩咐所有住在以色列的人都事奉他们的上帝耶和华。约西亚在世时,他们都没有偏离他们祖先的上帝耶和华。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 34:1-33

Enkyukakyuka Yosiya ze yaleeta

134:1 a 1By 3:14 b Zef 1:1Yosiya yali wa myaka munaana bwe yalya obwakabaka, era n’afugira emyaka amakumi asatu mu gumu mu Yerusaalemi. 234:2 2By 29:2N’akola ebirungi mu maaso ga Mukama, n’atambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe, n’akwata ekkubo lya Mukama eggolokofu.

334:3 1Bk 13:2; 1By 16:11; 2By 15:2; 33:17, 22Mu mwaka ogw’omunaana ogw’okufuga kwe, ng’akyali muto, n’atandika okunoonya Katonda wa Dawudi jjajjaawe, era mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri n’atandika okuggya ebifo ebigulumivu, ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse mu Yuda ne mu Yerusaalemi. 434:4 a Kuv 34:13 b Kuv 32:20; Lv 26:30; 2Bk 23:11; Mi 1:5N’alagira bamenyeemenye ebyoto bya Baali, n’atemaatema ebyoto kwe baayoterezanga obubaane ebyali waggulu waabyo, n’amenyaamenya ne Baasera, n’ebifaananyi ebyole, n’ebifaananyi ebisaanuuse; n’abisesebbula, enfuufu yaabyo n’agimansula ku malaalo g’abo abaaweerangayo ssaddaaka. 534:5 1Bk 13:2N’ayokera amagumba ga bakabona abaakolanga eby’ebivve ebyo ku byoto ebyo, n’atukuza Yuda ne Yerusaalemi. 6Ne mu bibuga bya Manase, ne Efulayimu, ne Simyoni, okutuukira ddala mu Nafutaali, ne mu matongo gaabyo okubyetooloola, 734:7 Kuv 32:20; 2By 31:1n’amenyaamenya ebyoto ne Baasera, n’asesebbula n’ebifaananyi ebyole, n’atemaatema ebyoto byonna kwe baayokeranga obubaane mu Isirayiri yonna, n’oluvannyuma n’addayo e Yerusaalemi.

8Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’okufuga kwe ng’amaze okulongoosa ensi ne yeekaalu, n’alonda Safani mutabani wa Azaliya, ne Maaseya omwami w’ekibuga, ne Yowa mutabani wa Yowakazi omujjukiza, okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama Katonda we. 934:9 1By 6:13; 2By 35:8Ne bagenda eri Kirukiya kabona asinga obukulu ne bawaayo ensimbi ezaaleetebwa mu yeekaalu ya Katonda, Abaleevi abaggazi ze baali basoloozezza mu bantu b’e Manase, ne Efulayimu, n’ekitundu kyonna ekyasigalawo, ne Yuda yonna, ne Benyamini, n’okuva eri abantu b’e Yerusaalemi. 10Ne bazikwasa abakozi abaalondebwa okulabirira omulimu gwa yeekaalu ya Mukama. Abo be basajja abaasasulanga abakozi abaddaabirizanga n’okulongoosa yeekaalu. 1134:11 a 2By 24:12 b 2By 33:4-7Ababazzi n’abazimbi nabo ne baweebwa ensimbi okugula amayinja amawoole, n’embaawo ez’ebizimbe bakabaka ba Yuda bye baalagajjalira okuddaabiriza.

1234:12 a 2Bk 12:15 b 1By 25:1Abasajja ne bakola omulimu n’obwesigwa. Abaabalabiriranga baali: Yakasi ne Obadiya Abaleevi ab’omu kika kya Merali, ne Zekkaliya ne Mesullamu ab’omu kika ky’Abakokasi. Abaleevi bonna abaakubanga ebivuga 1334:13 1By 23:4be baavunaanyizibwanga abapakasi, n’okulabirira abakozi bonna mu kuweereza okw’engeri zonna. Abamu ku Baleevi baali bawandiisi, n’abalala ng’abaami, n’abalala nga baggazi.

Ekitabo ky’Amateeka Kirabibwa

14Awo bwe baali bakuŋŋaanya ensimbi ze baggya mu yeekaalu ya Mukama, Kirukiya kabona, n’azuula ekitabo eky’amateeka ga Mukama agaaweebwa Musa. 1534:15 2Bk 22:8; Ezr 7:6; Nek 8:1Awo Kirukiya kabona n’agamba Safani omuwandiisi nti, “Nzudde ekitabo eky’amateeka mu yeekaalu ya Mukama.” N’akiwa Safani.

16Safani n’akitwalira kabaka, n’amutegeeza ne ku by’omulimu ng’agamba nti, “Byonna abaddu bo bye baalagirwa babikola. 17Ensimbi ezaali mu yeekaalu ya Mukama ziweereddwa abalabirira n’abakozi.” 18Safani omuwandiisi n’ategeeza kabaka nti, “Kirukiya kabona ampadde ekitabo.” Awo Safani n’akisomera kabaka. 1934:19 a Ma 28:3-68 b Yos 7:6; Is 36:22; 37:1Kabaka bwe yawulira ebigambo by’amateeka, n’ayuza ebyambalo bye. 2034:20 2Bk 22:3N’alagira Kirukiya ne Akikamu mutabani wa Safani, ne Abudoni mutabani wa Mikka, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuddu wa kabaka, ng’ayogera nti, 2134:21 2By 29:8; Kgb 2:4; 4:11; Ez 36:18“Mugende mumbulize ku Mukama, nze n’abasigadde mu Isirayiri ne mu Yuda, ku bikwata ku bigambo eby’omu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Mukama bungi nnyo nnyini era butubuubuukirako olwa bajjajjaffe abataagoberera kigambo kya Mukama okukikola nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kino.”

2234:22 Kuv 15:20; Nek 6:14Awo Kirukiya n’abo kabaka be yali atumye ne bagenda eri Kuluda nnabbi omukazi, muka Sallumu mutabani wa Tokasi muzzukulu wa Kasula omuwanika w’ebyambalo. Yabeeranga mu Yerusaalemi mu kitundu ekyokubiri. 23N’abagamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Mutegeeze omusajja abatumye nti, 2434:24 a Nge 16:4; Is 3:9; Yer 40:2; 42:10; 44:2, 11 b 2By 36:14-20 c Ma 28:15-68bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Laba ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu akabi, n’ebikolimo byonna ebyawandiikibwa mu kitabo, ekyasomeddwa mu maaso ga kabaka wa Yuda. 2534:25 2By 33:3-6; Yer 22:9Kubanga banvuddeko ne bookera bakatonda abalala obubaane, era bansunguwazizza n’emirimu gyonna egy’emikono gyabwe. Kyennaava mbasunguwalira ne wataba n’omu akkakkanya busungu bwange.” ’ 26Naye mugambe kabaka wa Yuda eyabatumye okujja okwebuuza ku Mukama nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, 2734:27 a 2By 12:7; 32:26 b Kuv 10:3; 2By 6:37“Kubanga omutima gwo gubadde mumenyefu ne weetoowaza mu maaso ga Katonda, bwe wawulidde ebigambo bye, ebikwata ku kifo kino n’abo abakibeeramu, ne weetoowaza mu maaso gange, n’oyuza ebyambalo byo, n’okaabira mu maaso gange, nkuwulidde. 2834:28 a 2By 35:20-25 b 2By 32:26Laba, ndikukuŋŋaanyiza eri bajjajjaabo, n’ofa mirembe, era amaaso go tegalirega ku kabi ke ndireeta ku kifo kino ne ku bantu baamu.” ’ ”

Ne bazaayo obubaka eri kabaka.

29Awo kabaka n’akuŋŋaanya abakadde bonna aba Yuda n’ab’omu Yerusaalemi. 3034:30 2Bk 23:2; Nek 8:1-3N’ayambuka mu yeekaalu ya Mukama, n’abantu bonna aba Yuda, n’abantu b’e Yerusaalemi, ne bakabona, n’abaleevi, n’abantu bonna ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa. N’asoma ebigambo byonna eby’omu kitabo eky’endagaano, ekyazuulibwa mu yeekaalu ya Mukama. 3134:31 a 1Bk 7:15; 2Bk 11:14 b 2Bk 11:17; 2By 23:16; 29:10 c Ma 13:4Kabaka n’ayimirira mu kifo kye, ne yeeyama mu maaso ga Mukama, okutambuliranga mu mpya za Mukama n’okukwatanga amateeka ge, n’ebyo bye yategeeza, n’ebiragiro bye, n’omutima gwe gwonna n’omwoyo gwe gwonna, okutuukirizanga ebigambo ebyawandiikibwa mu kitabo.

32Oluvannyuma n’alagira bonna abaali mu Yerusaalemi ne mu Benyamini okweyama. Abatuuze b’omu Yerusaalemi ne bakola ng’endagaano ya Katonda, Katonda wa bajjajjaabwe bw’egamba.

3334:33 nny 3-7; Ma 18:9Yosiya n’aggya eby’emizizo byonna ku butaka bwonna obw’Abayisirayiri, n’alagira bonna abaali mu Isirayiri okuweerezanga Mukama Katonda waabwe. Mu kufuga kwe kwonna, tebaava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.