历代志下 32 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志下 32:1-33

希西迦加强防御

1希西迦忠心地办好这些事以后,亚述西拿基立起兵入侵犹大,围攻各坚城,企图攻占这些城。 2希西迦西拿基立定意要攻打耶路撒冷3就与众官员和将领商议,决定截断城外的水源,众人也都赞成。 4于是,他们召集大批民众,截断所有的水源和过境的溪流,不让亚述王得到充足的水。 5希西迦发愤图强,修筑所有被毁坏的城墙,在上面建造城楼,在城外加建一道墙,并在大卫城的米罗加强防御,制造许多兵器和盾牌。 6他委任将领管理民众,将他们全部召集在城门的广场上,训勉他们说: 7“你们要刚强勇敢,不要在亚述王和他的大军面前恐惧惊慌,因为与我们同在的比与他同在的更有能力。 8那与他同在的只是血肉之躯,与我们同在的却是我们的上帝耶和华,祂必帮助我们,为我们作战。”众人因犹大希西迦的这番话而得到鼓舞。

亚述恐吓耶路撒冷

9之后,亚述西拿基立率领全军围攻拉吉,同时派遣使者到耶路撒冷城,对犹大希西迦和城中所有的犹大人说: 10亚述西拿基立这样说,‘你们仍然留在被困的耶路撒冷,究竟倚仗什么呢? 11希西迦说你们的上帝耶和华会从亚述王手中拯救你们,难道你们不知道这是哄骗你们的话,是要叫你们留在这里饥渴至死吗? 12希西迦不是曾经废掉耶和华的丘坛和祭坛,吩咐犹大人和耶路撒冷人只在一个祭坛前敬拜,在祭坛上烧香吗? 13难道你们不知道我和我的祖先怎样对付列国吗?列国的神明哪个能从我手中救自己的国家呢? 14我祖先所灭的列国中,有哪国的神明能从我手中救自己的国民呢?难道你们的上帝能从我手中救你们吗? 15所以,不要让希西迦欺骗、迷惑你们,也不要相信他!任何民族或国家的神明都不能从我和我祖先手中救他的人民,何况你们的上帝呢?’”

16亚述王的使者还用别的话毁谤耶和华上帝和祂的仆人希西迦17西拿基立还写信侮辱以色列的上帝耶和华说:“既然列邦的神明都不能从我手中救自己的人民,希西迦的上帝也不例外。” 18亚述王的使者用希伯来语大声向城墙上的耶路撒冷人喊话,威吓他们,使他们惧怕,以便攻取城。 19他把耶路撒冷的上帝与世间人手所造的神像相提并论。

耶和华拯救耶路撒冷

20于是,希西迦王和亚摩斯的儿子以赛亚先知向天上的上帝呼求祷告。 21耶和华就差遣一个天使进入亚述王营中,毁灭了所有的勇士、官长和将领。西拿基立只好满脸羞愧地返回自己的国家。趁他去他神明的庙里时,他的几个亲生儿子用刀杀了他。 22这样,耶和华从亚述西拿基立及一切仇敌手中拯救了希西迦耶路撒冷的居民,使他们四境平安。 23许多人带着祭物到耶路撒冷献给耶和华,也带许多名贵的礼物送给犹大希西迦。此后,希西迦受到各国的敬重。

希西迦的疾病和骄傲

24那时,希西迦病危,他向耶和华祈求。耶和华应允了他,赐给他一个征兆。 25希西迦却没有为他所蒙的恩典而感谢上帝,因为他心中骄傲。因此,上帝的烈怒临到他、犹大耶路撒冷26后来希西迦耶路撒冷的居民发觉自己心里骄傲,就谦卑下来。因此,在希西迦有生之年,耶和华的烈怒没有临到他们。

希西迦的财富和尊荣

27希西迦极有财富和尊荣。他建造库房来存放他的金、银、宝石、香料、盾牌和各种珍宝, 28又建造仓库来贮藏谷物、新酒和新油,并为各类牲畜盖棚立圏。 29他为自己建造城邑,并且拥有大批的牛羊,因为上帝赐他极多的财富。 30他截断基训的上泉,将水引到大卫城的西边。希西迦凡事亨通。 31然而,当巴比伦的使者来见他,询问他有关这地方发生的奇迹时,上帝就让希西迦自行处理,为要试验他,好知道他内心如何。

希西迦逝世

32希西迦其他的事迹和他对耶和华的忠诚都记在亚摩斯的儿子以赛亚先知的《启示书》上,以及《犹大和以色列的列王史》上。 33希西迦与祖先同眠后,葬在大卫子孙墓地的高处。所有犹大人和耶路撒冷的居民都向他致哀。他儿子玛拿西继位。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 32:1-33

Sennakeribu Atiisatiisa Okulumba Yerusaalemi

132:1 2Bk 18:13-19; Is 36:1; 37:9, 17, 37Oluvannyuma lw’ebyo byonna Keezeekiya bye yakola n’obwesigwa, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’alumba Yuda, n’asiisira ebweru w’ebibuga ebiriko bbugwe, n’alowooza mu mutima gwe okubyetwalira. 232:2 Is 22:7; Yer 1:15Awo Keezeekiya bwe yalaba nga Sennakeribu azze, era ng’amaliridde okulwana ne Yerusaalemi, 3n’ateesa n’abakungu be n’abasajja be abalwanyi abazira, ku ky’okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga, era ne bakikola. 432:4 2Bk 18:17; 20:20; Is 22:9, 11; Nak 3:14Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?” 532:5 a 2By 25:23; Is 22:10 b 1Bk 9:24; 1By 11:8 c Is 22:8N’afuba nnyo n’addaabiriza ebitundu byonna ebya bbugwe ebyali bimenyese, n’azimba n’eminaala ku bbugwe, n’anyweza n’ebigulumu ebyanywezanga ekibuga kya Dawudi. N’akozesa n’ebyokulwanyisa bingi n’engabo nnyingi.

6N’alonda abaduumizi b’eggye okukulembera abantu, ne babakuŋŋaanyiza gy’ali mu kifo ekigazi awali wankaaki w’ekibuga; n’abagumya ng’agamba nti, 732:7 a Ma 31:6; 1By 22:13 b 2By 20:15 c Kbl 14:9; 2Bk 6:16“Mube n’amaanyi, mugume omwoyo. Temutya so temwelariikirira olwa kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye eddene, kubanga waliwo eggye eririsinga eriri awamu naffe. 832:8 a Yob 40:9; Is 52:10; Yer 17:5; 32:21 b Ma 3:22; 1Sa 17:45; 2By 13:12 c 1By 5:22; 2By 20:17; Zab 20:7; Is 28:6Sennakeribu akozesa omukono ogw’omubiri, naye ffe tulina Mukama Katonda waffe atulwanirira mu ntalo zaffe.” Abantu ne baguma omwoyo olw’ebigambo Keezeekiya kabaka wa Yuda bye yayogera.

932:9 Yos 10:3, 31Awo Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’eggye lye lyonna bwe baali bakyali e Lakisi kye baali bazingizza, n’atuma abakungu be e Yerusaalemi eri Keezeekiya kabaka wa Yuda, n’eri abantu bonna aba Yuda abaaliyo, ng’agamba nti,

1032:10 Ez 29:16“Bw’ati bw’ayogera Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mwesiga ki okusigala mu Yerusaalemi nga kizingiziddwa? 1132:11 Is 37:10Mulowooza nga Keezeekiya bw’ayogera nti, “Mukama Katonda waffe alitulokola mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli,” abatalimba, n’okwagala okubassa enjala n’ennyonta? 1232:12 2By 31:1Keezeekiya si ye yaggyawo ebifo ebigulumivu n’ebyoto, n’alagira Yuda ne Yerusaalemi ng’agamba nti, “Munaasinzizanga mu maaso g’ekyoto kimu, era okwo kwe munaayoterezanga obubaane”?

1332:13 nny 15“ ‘Temumanyi, nze ne bajjajjange bye twakola amawanga gonna ag’omu nsi endala? Bakatonda abamawanga ago, baayinza okubawonya mu mukono gwange? 14Ani ku bakatonda abamawanga ago bajjajjange ge baazikiriza, eyayinza okubalokola mu mukono gwange? Katonda wammwe anaabawonya atya mu mukono gwange? 1532:15 a Is 37:10 b Dan 3:15 c Kuv 5:2Kale nno, Keezeekiya aleme kubalimbalimba newaakubadde okubasendasenda mu nsonga eyo. Temumukkiriza, kubanga tewali katonda ow’eggwanga lyonna oba bwakabaka, eyayinza okulokola abantu be mu mukono gwange newaakubadde eyayinza okubalokola mu mukono gwa bajjajjange. Kale Katonda wammwe alibawonya atya mu mukono gwange?’ ”

16Abakungu ba Sennakeribu ne boogera bingi nnyo n’okusingawo ku Mukama Katonda ne ku muddu we Keezeekiya. 1732:17 a Is 37:14 b Zab 74:22; Is 37:4, 17 c 2Bk 19:12Kabaka oyo n’awandiika n’amabaluwa agavuma Mukama Katonda wa Isirayiri, ng’agamba nti, “Nga bakatonda abamawanga ag’ensi bwe bataabawonya mu mukono gwange, bw’atyo ne Katonda wa Keezeekiya bw’ataliwonya bantu be mu mukono gwange.” 18Ne bakoowoola abantu ba Yerusaalemi abaali ku bbugwe mu lw’Ebbulaniya, nga babatiisatiisa baggweemu amaanyi, balyoke bawambe ekibuga. 1932:19 2Bk 19:18; Zab 115:4-8; Is 2:8; 17:8Ne boogera ku Katonda wa Yerusaalemi nga bwe baayogeranga ku bakatonda abamawanga amalala ag’omu nsi endala, abakolebwa abantu.

20Awo Kabaka Keezeekiya ne nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi ne basaba nga bakaabira eri eggulu ku nsonga eyo. 2132:21 a Lub 19:13 b 2Bk 19:7Mukama n’atuma malayika, n’atemaatema abasajja abalwanyi abazira ab’amaanyi bonna n’abaduumizi, n’abakungu mu nkambi ya kabaka w’e Bwasuli. Sennakeribu n’addayo mu nsi ye ng’ensonyi zimukutte. Bwe yayingira mu yeekaalu ya katonda we, abamu ku batabani be ne bamutta n’ekitala.

22Awo Mukama n’alokola Keezeekiya n’abantu ba Yerusaalemi mu mukono gwa Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli ne mu mukono gw’abalabe baabwe bonna abalala. N’abaakuumanga enjuuyi zonna. 2332:23 2By 9:24; 17:5; Is 45:14; Zek 14:16-17Bangi ne baleetera Mukama ebirabo e Yerusaalemi, ne Keezeekiya kabaka wa Yuda n’afuna ebirabo eby’omuwendo omungi. N’okuva ku lunaku olwo n’aweebwa ekitiibwa kinene mu mawanga gonna.

Amalala ga Keezeekiya, Obuwanguzi bwe, n’Okufa kwe

24Mu biro ebyo, Keezeekiya n’alwala nnyo kumpi n’okufa. N’asaba Mukama amuwonye, n’amuddamu n’akabonero. 2532:25 a 2Bk 14:10; 2By 26:16 b 2By 19:2; 24:18Naye Keezeekiya n’ateebaza ebyekisa ekya mukolerwa, olw’amalala agaali mu ye. Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuukira ku ye ne ku Yuda ne ku Yerusaalemi. 2632:26 a Yer 26:18-19 b 2By 34:27, 28; Is 39:8Oluvannyuma, Keezeekiya ne yeenenya amalala agaali mu ye, ku lulwe ne ku lw’abantu ab’omu Yerusaalemi, ekiruyi kya Mukama ne butababuubuukirako mu mirembe gya Keezeekiya.

2732:27 1By 29:12Keezeekiya yalina eby’obugagga bingi nnyo n’ekitiibwa, ne yeezimbira n’amawanika ag’okukuumirangamu effeeza, ne zaabu, n’amayinja ag’omuwendo omungi, n’ebyakaloosa, n’engabo, n’ebintu eby’engeri zonna eby’omuwendo. 28N’azimba n’amaterekero ag’eŋŋaano, ne wayini, n’amafuta; n’azimba n’ebiraalo eby’ebika by’ente byonna, n’ebifo eby’ebisibo by’endiga. 2932:29 1By 29:12Ne yeezimbira ebibuga, ne yeefunira n’ebisibo n’amagana mangi, kubanga Katonda yali amuwadde eby’obugagga bingi nnyo nnyini.

3032:30 a 2Bk 18:17 b 1Bk 1:33Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga. 3132:31 a Is 39:1 b nny 24; Is 38:7 c Lub 22:1; Ma 8:16Naye mu bigambo eby’ababaka abaatumibwa abakungu b’e Babulooni okumubuuza ku byamagero ebyakolebwa mu nsi ye, Katonda n’amugeza alyoke ategeere byonna ebyali mu mutima gwe.

32Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya, n’ebikolwa bye ebirungi eby’obunyiikivu, byawandiikibwa mu kwolesebwa kwa Isaaya nnabbi mutabani wa Amozi, mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isirayiri. 33Keezeekiya ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe, n’aziikibwa mu masiro g’abazzukulu ba Dawudi, era Yuda yonna, n’abatuuze bonna aba Yerusaalemi ne bamukungubagira ne bamuwa ekitiibwa ne mu kufa kwe. Manase mutabani we n’amusikira.