历代志上 27 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 27:1-34

以色列的军队

1以色列人的族长、千夫长、百夫长及其他官长都分定班次,每班两万四千人,每年按月轮流服侍王。

2撒巴第业的儿子雅朔班负责第一班,在一月当值,他班内有两万四千人。 3他是法勒斯的子孙,统管一月当值的所有将领。 4亚哈希朵代负责二月的班次,他的副官是密基罗,他班内有两万四千人。 5祭司耶何耶大的儿子比拿雅负责第三班,在三月当值,他班内有两万四千人。 6比拿雅是当时的三十位勇士之一,也是三十位勇士之首。他儿子暗米萨拔在他班内做统领。 7约押的兄弟亚撒黑负责第四班,在四月当值,他班内有两万四千人,他儿子西巴第雅后来接替了他。 8伊斯拉珊合负责第五班,在五月当值,他班内有两万四千人。 9提哥亚益吉的儿子以拉负责第六班,在六月当值,他班内有两万四千人。 10以法莲的子孙比伦希利斯负责第七班,在七月当值,他班内有两万四千人。 11谢拉族的户沙西比该负责第八班,在八月当值,他班内有两万四千人。 12便雅悯的子孙亚拿突亚比以谢负责第九班,在九月当值,他班内有两万四千人。 13谢拉族的尼陀法玛哈莱负责第十班,在十月当值,他班内有两万四千人。 14以法莲的子孙比拉顿比拿雅负责第十一班,在十一月当值,他班内有两万四千人。 15俄陀聂族的尼陀法黑玳负责第十二班,在十二月当值,他班内有两万四千人。

以色列各支派的官长

16以下是以色列各支派的首领:吕便支派的首领是细基利的儿子以利以谢西缅支派的首领是玛迦的儿子示法提雅17利未支派的首领是基姆利的儿子哈沙比雅亚伦子孙的首领是撒督18犹大支派的首领是大卫的哥哥以利户以萨迦支派的首领是米迦勒的儿子暗利19西布伦支派的首领是俄巴第雅的儿子伊施玛雅拿弗他利支派的首领是亚斯列的儿子耶利摩20以法莲支派的首领是阿撒细雅的儿子何细亚玛拿西半个支派的首领是毗大雅的儿子约珥21基列玛拿西另半个支派的首领是撒迦利亚的儿子易多便雅悯支派的首领是押尼珥的儿子雅西业22支派的首领是耶罗罕的儿子亚萨列。以上这些人是以色列各支派的首领。 23大卫没有统计二十岁以下的以色列人,因为耶和华曾经应许要使以色列的人数像天上的星那样多。 24洗鲁雅的儿子约押开始统计人数,但没有完成,因为耶和华因此事而向以色列人发烈怒,因此统计的数目没有收录在大卫王记上。

王室产业的主管

25亚叠的儿子押斯马威管理王室的库房。乌西雅的儿子约拿单管理城邑、村庄和堡垒的库房。 26基绿的儿子以斯利管理耕田种地的人。 27拉玛示每管理葡萄园。实弗米撒巴底管理葡萄园的酒窖。 28基第利巴勒·哈南管理丘陵的橄榄树和无花果树。约阿施管理油仓。 29沙仑施提莱管理沙仑的牛群。亚第莱的儿子沙法管理山谷中的牛群。 30以实玛利阿比勒管理骆驼群。米仑耶希底亚管理驴群。 31夏甲雅悉管理羊群。以上这些人都是替大卫王管理产业的。

32大卫的叔叔约拿单很精明,任谋士和书记。哈摩尼的儿子耶歇做众王子的老师。 33亚希多弗也是王的谋士。亚基户筛是王的朋友。 34后来,比拿雅的儿子耶何耶大亚比亚他接替亚希多弗做谋士。约押在王的军队中做元帅。

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 27:1-34

Ebibinja eby’Eggye

1Luno lwe lukalala lw’Abayisirayiri emitwe gy’ennyumba, abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi abaaweerezanga kabaka nga bamutegeeza buli nsonga eyakwatanga ku bibinja eby’eggye, ebyabeeranga ku mpalo buli mwezi mu mwaka. Buli kibinja kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

227:2 2Sa 23:8; 1By 11:11Yasobeyamu mutabani wa Zabudyeri ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekisooka, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 3Yali muzzukulu wa Perezi, ate nga mukulu w’abaami b’eggye mu mwezi ogwasooka

427:4 2Sa 23:9Dodayi Omwakowa ye yavunaanyizibwanga ekibinja eky’omwezi ogwokubiri nga Mikuloosi ye mukulu ow’ekibinja ekyo. Mwalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya mu kibinja ekyo.

527:5 2Sa 23:20Benaya mutabani wa Yekoyaada kabona ye yali omuduumizi ow’eggye owookusatu mu mwezi gwokusatu, era yali mwami. Kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya. 6Oyo ye Benaya eyali omusajja ow’amaanyi mu bali amakumi asatu, era nga ye mukulu mu bo. Mutabani we Ammizabaadi yavunaanyizibwanga ekibinja ekyo.

727:7 2Sa 2:18; 1By 11:26Asakeri muganda wa Yowaabu ye yavunaanyizibwanga ekibinja ekyokuna mu mwezi ogwokuna, era mutabani we Zebadiya ye yamusikira. Ekibinja ekyo kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

827:8 1By 11:27Samukusi Omuyizula ye yali omuduumizi ow’ekibinja ekyokutaano mu mwezi ogwokutaano, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

927:9 2Sa 23:26; 1By 11:28Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omukaaga mu mwezi ogw’omukaaga, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1027:10 2Sa 23:26; 1By 11:27Kerezi Omuperoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omusanvu mu mwezi ogw’omusanvu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1127:11 2Sa 21:18Seibbekayi Omukusasi, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omunaana mu mwezi ogw’omunaana, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1227:12 2Sa 23:27; 1By 11:28Abiyezeeri Omwanasosi, ate nga wa ku Babenyamini ye yali omukulu ow’ekibinja eky’omwenda mu mwezi ogw’omwenda, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1327:13 2Sa 23:28; 1By 11:30Makalayi Omunetofa, ate nga wa ku Bazera ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi mu mwezi ogw’ekkumi, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1427:14 1By 11:31Benaya Omupirasoni, ate nga muzzukulu wa Efulayimu ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’omu mu mwezi ogw’ekkumi n’ogumu, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

1527:15 a 2Sa 23:29 b Yos 15:17Kerudayi Omwetofa, ow’omu nnyumba ya Osuniyeri, ye yali omukulu ow’ekibinja eky’ekkumi n’ababiri mu mwezi ogw’ekkumi n’ebiri, era kyalimu abasajja emitwalo ebiri mu enkumi nnya.

Abataka ab’Ebika

16Abataka ab’ebika bya Isirayiri baali:

eyafuganga Abalewubeeni yali Eryeza mutabani wa Zikuli;

eyafuganga Abasimyoni yali Sefatiya mutabani wa Maaka;

1727:17 a 1By 26:30 b 2Sa 8:17; 1By 12:28eyafuganga Leevi yali Kasabiya mutabani wa Kemweri;

eyafuganga Alooni yali Zadooki;

18eyafuganga Yuda yali Eriku, omu ku baganda ba Dawudi;

eyafuganga Isakaali yali Omuli mutabani wa Mikayiri;

19eyafuganga Zebbulooni yali Isumaaya mutabani wa Obadiya;

eyafuganga Nafutaali yali Yeremozi mutabani wa Azulyeri;

20eyafuganga Abefulayimu yali Koseya mutabani wa Azaziya;

eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase yali Yoweeri mutabani wa Pedaya;

21eyafuganga ekitundu ky’ekika kya Manase ekirala ekyabeeranga mu Gireyaadi yali Iddo mutabani wa Zekkaliya;

eyafuganga Benyamini yali Yaasiyeri mutabani wa abuneeri;

22n’eyafuganga Ddaani yali Azaleri mutabani wa Yerokamu.

Abo be baali abataka abaakuliranga ebika bya Isirayiri.

2327:23 a 1By 21:2-5 b Lub 15:5Dawudi teyabala muwendo ogw’abasajja abaali abaakamaze emyaka abiri n’abaali tebanaba kugituusa, kubanga Mukama yali asuubiza okufuula Abayisirayiri abangi ng’emmunyeenye ez’omu ggulu. 2427:24 2Sa 24:15; 1By 21:7Naye Yowaabu mutabani wa Zeruyiya n’atandika okubala abasajja, n’atamaliriza. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri olw’okubala okwo, so n’omuwendo ogwo tegwawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya kabaka Dawudi.

Abalabirizi ba Kabaka

25Azumavesi mutabani wa Adyeri yavunaanyizibwanga amawanika ga kabaka,

ne Yonasaani mutabani wa Uzziya n’avunaanyizibwanga amawanika ag’amasaza n’ag’ebibuga, ag’ebyalo, n’ag’ebigo.

26Ezuli mutabani wa Kerubu ye yavunaanyizibwanga abalimi ab’omu nnimiro.

27Simeeyi Omulaama ye yavunaanyizibwanga ennimiro z’emizabbibu,

ne Zabudi Omusifumu ye n’avunaanyizibwanga ebibala eby’ennimiro olw’amasenero ag’omwenge.

2827:28 1Bk 10:27; 2By 1:15Baalukanani Omugedera ye yavunaanyizibwanga emizeeyituuni n’emisukomooli egyali mu nsenyi ez’ebugwanjuba;

ne Yowaasi ye n’avunaanyizibwanga amawanika g’amafuta.

29Situlayi Omusaloni ye yavunaanyizibwanga ebisibo mu Saloni,

ne Safati mutabani wa Adulayi n’avunaanyizibwanga ebisibo ebyali mu biwonvu.

30Obiri Omuyisimayiri ye yavunaanyizibwanga eŋŋamira,

ne Yedeya Omumeronoosi ye n’avunaanyizibwanga endogoyi.

3127:31 1By 5:10Yazizi Omukaguli ye yavunaanyizibwanga ebisibo eby’endiga.

Abo bonna be baali abakungu ba kabaka Dawudi abaavunaanyizibwanga ebintu bye.

32Yonasaani, kitaawe wa Dawudi omuto yali muteesa wa bigambo, era nga musajja mutegeevu omuwandiisi,

ne Yekyeri mutabani wa Kakumoni ye yali mukuza w’abalangira.

3327:33 a 2Sa 15:12 b 2Sa 15:37Akisoferi naye yali muteesa wa kabaka,

ate nga Kusaayi Omwaluki ye mukwano gwa kabaka nnyo.

3427:34 a 1Bk 1:7 b 1By 11:6Yekoyaada mutabani wa Benaya ne Abiyasaali be badda mu bigere bya Akisoferi.

Yowaabu ye yali muduumizi w’eggye lya kabaka.