历代志上 25 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

历代志上 25:1-31

圣殿的歌乐手

1大卫和众首领派亚萨希幔耶杜顿的后代伴着琴、瑟和钹宣讲上帝的话。以下是担当这职务的人:

2撒刻约瑟尼探雅亚萨利拉受他们的父亲亚萨指挥,照王的旨意宣讲上帝的话。 3基大利西利耶筛亚示每哈沙比雅玛他提雅六人受他们的父亲耶杜顿的指挥,伴着琴声称谢、颂赞耶和华,宣讲祂的话。 4希幔的儿子是布基雅玛探雅乌薛细布业耶利摩哈拿尼雅哈拿尼以利亚他基大利提罗幔提·以谢约施比加沙玛罗提何提玛哈秀5希幔是王的先见,上帝恩宠他,按应许赐给他十四个儿子、三个女儿。 6这些人由他们的父亲指挥,在耶和华的殿唱歌、敲钹、弹琴、鼓瑟,事奉耶和华。亚萨耶杜顿希幔听命于王。 7他们和其他训练有素、负责歌颂耶和华的亲族共有二百八十八人。 8这些人不分长幼、师徒,都抽签分班。

9第一签抽出来的是亚萨的儿子约瑟。第二签是基大利及其亲族和儿子共十二人。 10第三签是撒刻及其儿子和亲族共十二人。 11第四签是伊洗利和他儿子及亲族共十二人。 12第五签是尼探雅及其众子和亲族共十二人。 13第六签是布基雅及其众子和亲族共十二人。 14第七签是耶萨利拉及其众子和亲族共十二人。 15第八签是耶筛亚及其众子和亲族共十二人。 16第九签是玛探雅及其众子和亲族共十二人。 17第十签是示每及其众子和亲族共十二人。 18第十一签是亚萨烈及其众子和亲族共十二人。 19第十二签是哈沙比雅及其众子和亲族共十二人。 20第十三签是书巴业及其众子和亲族共十二人。 21第十四签是玛他提雅及其众子和亲族共十二人。 22第十五签是耶利摩及其众子和亲族共十二人。 23第十六签是哈拿尼雅及其众子和亲族共十二人。 24第十七签是约施比加沙及其众子和亲族共十二人。 25第十八签是哈拿尼及其众子和亲族共十二人。 26第十九签是玛罗提及其众子和亲族共十二人。 27第二十签是以利亚他及其众子和亲族共十二人。 28第二十一签是何提及其众子和亲族共十二人。 29第二十二签是基大利提及其众子和亲族共十二人。 30第二十三签是玛哈秀及其众子和亲族共十二人。 31第二十四签是罗幔提·以谢及其众子和亲族共十二人。

Luganda Contemporary Bible

1 Ebyomumirembe 25:1-31

Abayimbi

125:1 a 1By 6:39 b 1By 6:33 c 1By 16:41, 42; Nek 11:17 d 1Sa 10:5; 2Bk 3:15 e 1By 15:16 f 1By 6:31 g 2By 5:12; 8:14; 34:12; 35:15; Ezr 3:10Awo Dawudi n’abaduumizi b’eggye, ne baawula abamu ku batabani ba Asafu, n’aba Kemani, n’aba Yedusuni okuweereza, n’okukola obunnabbi, nga bwe bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa. Olukalala lw’abasajja abaakolanga omulimu ogw’okuweereza okwo, lwali:

2Ku batabani ba Asafu:

Zakkuli, ne Yusufu, ne Nesaniya ne Asalera, era abo nga bakulirwa Asafu, eyakolanga ogw’obunnabbi, ate ye ng’akulirwa kabaka.

325:3 a 1By 16:41-42 b Lub 4:21; Zab 33:2Ku batabani ba Yedusuni:

Gedaliya, ne Zeri, ne Yesaya, ne Simeeyi, ne Kasabiya ne Mattisiya, be mukaaga awamu, nga bakulirwa kitaabwe Yedusuni, eyakolanga ogw’obunnabbi, nga bw’akuba n’ennanga nga beebaza n’okutendereza Mukama.

4Ku batabani ba Kemani kabona wa kabaka:

Bukkiya, ne Mattaniya, ne Wuziyeeri, ne Sebuweri, ne Yerimosi, ne Kananiya, ne Kanani, ne Eriyaasa, ne Giddaluti, ne Lomamutyezeri, ne Yosubekasa, ne Mallosi, ne Kosiri, ne Makaziyoosi. 5Abo bonna baali baana ba Kemani nnabbi aweereza kabaka, abaamuweebwa olw’okusuubiza kwa Katonda, okuyimusanga erinnya lye. Katonda yamuwa abaana aboobulenzi kkumi na bana, n’aboobuwala basatu.

625:6 a 1By 15:16 b 1By 15:19 c 2By 23:18; 29:25Abo bonna baavunaanyizibwanga ba kitaabwe, olw’okuyimba mu yeekaalu ya Mukama, nga bakuba ebitaasa, n’entongooli, n’ennanga, olw’okuweerezanga okw’omu nnyumba ya Katonda. Asafu, ne Yedusuni, ne Kemani baali bakolera wansi kabaka. 7Omuwendo gw’abo n’eŋŋanda zaabwe abatendekebwa ne bakuguka mu by’okuyimbira Mukama baali ebikumi bibiri mu kinaana mu munaana. 825:8 1By 26:13Bonna baakubira obululu emirimu gye baaweebwa, abato n’abakulu, omutendesi ne gwe batendeka.

925:9 1By 6:39Akalulu akaasooka akaali aka Asafu kagwa ku Yusufu, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

akookubiri kagwa ku Gedaliya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

10akookusatu kagwa ku Zakkuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

11akookuna kagwa ku Izuli, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

12akookutaano kagwa ku Nesaniya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

13ak’omukaaga kagwa ku Bukkiya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

14ak’omusanvu kagwa ku Yesalera, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

15ak’omunaana kagwa ku Yesaya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

16ak’omwenda kagwa ku Mattaniya, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

17ak’ekkumi kagwa ku Simeeyi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

18ak’ekkumi n’akamu kagwa ku Azaleri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

19ak’ekkumi noobubiri kagwa ku Kasabiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

20ak’ekkumi noobusatu kagwa ku Subayeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

21ak’ekkumi noobuna kagwa ku Mattisiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

22ak’ekkumi noobutaano kagwa ku Yeremosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

23ak’ekkumi n’omukaaga kagwa ku Kananiya, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

24ak’ekkumi n’omusanvu kagwa ku Yosubekasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

25ak’ekkumi n’omunaana kagwa ku Kanani, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

26ak’ekkumi n’omwenda kagwa ku Mallosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

27ak’amakumi abiri kagwa ku Eriyaasa, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

28ak’amakumi abiri mu akamu kagwa ku Kosiri, batabani be, n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

29ak’amakumi abiri mu bubiri kagwa ku Giddaluti, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

30ak’amakumi abiri mu busatu, kagwa ku Makaziyoosi, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri;

3125:31 1By 9:33ak’amakumi abiri mu buna kagwa ku Lomamutyezeri, batabani be n’ab’eŋŋanda ze, kkumi na babiri.