利未记 7 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 7:1-38

祭司献赎过祭的条例

1“以下是献赎过祭的条例。

“赎过祭是至圣的。 2要在杀燔祭牲的地方宰赎过祭祭牲,祭牲的血要洒在祭坛周围。 3要献上祭牲的所有脂肪,包括肥尾巴、遮盖内脏的脂肪、 4两个肾脏和肾脏上靠近腰部的脂肪以及肝叶。 5祭司要在坛上焚烧这一切,作为献给耶和华的火祭。这是赎过祭。 6祭司家的任何男子都可以吃剩下的祭肉,但要在圣洁之处吃,因为这是至圣之物。 7祭物要归主持祭礼的祭司,这一条例也适用于赎罪祭。 8燔祭牲的皮要归主持祭礼的祭司。 9至于素祭,不论是用炉烤的,还是用平底锅或煎锅做的,都要归主持祭礼的祭司。 10但调油的或干的素祭要归亚伦的子孙,由他们均分。

献平安祭的条例

11“以下是向耶和华献平安祭的条例。

12“如果有人为感谢耶和华而献平安祭,除了献祭牲以外,要一同献上调油的无酵饼、涂油的无酵薄饼及调油的细面饼, 13也要一同献上有酵饼。 14他要从每种饼中各取一个,作为举祭献给耶和华。举祭归洒平安祭祭牲血的祭司。 15至于祭牲的肉,要在献祭的当天吃完,不可留到次日早晨。 16如果是自愿献的或为了还愿而献的祭物,要在当天吃祭肉,剩下的可以留到第二天吃。 17但到第三天,必须烧掉剩下的祭肉。 18如果第三天仍然吃,所献的祭便不蒙悦纳,毫无价值,是不洁净的。吃的人要自担罪责。

19“祭肉如果接触到任何不洁之物,就不可以吃,要烧掉。洁净的人都可以吃平安祭的祭肉。 20如果有人不洁净,却吃献给耶和华的平安祭祭肉,要将他从民中铲除。 21如果有人接触到人或兽的不洁之物,或任何不洁的可憎之物,又吃献给耶和华的平安祭祭肉,要将他从民中铲除。”

22耶和华对摩西说: 23“你把以下条例告诉以色列人。

“你们不可吃牛、绵羊或山羊的脂肪。 24自然死亡或被野兽咬死的动物的脂肪也不可吃,但可以作其他用途。 25无论谁吃了献给耶和华的火祭祭牲的脂肪,都要将他从民中铲除。 26你们无论住在哪里,都不可吃鸟和兽的血。 27凡吃血的,要将他从民中铲除。”

28耶和华对摩西说: 29“你把以下条例告诉以色列人。

“凡向耶和华献平安祭的,都要从平安祭中取出一份献给耶和华作礼物。 30他要亲手将这献给耶和华的火祭带来,将祭牲的脂肪和胸肉带来,在耶和华面前将胸肉摇一摇,当作摇祭献上。 31祭司要把脂肪放在坛上焚烧,胸肉归亚伦及其子孙。 32你们要把祭牲的右腿献为举祭,归给祭司。 33要把右腿归给亚伦子孙中献平安祭的血和脂肪的那位祭司。 34因为耶和华已经从以色列人献的平安祭中,把作摇祭的胸肉和作举祭的腿肉赐给祭司亚伦及其子孙。他们在以色列人中要永远享有这一份。 35亚伦及其子孙受膏为祭司事奉耶和华开始,在献给耶和华的火祭中,这是他们应得之份。 36祭司受膏之日,耶和华就命令以色列人把这部分祭肉分给他们,这是他们世世代代应得之份。”

37以上是献燔祭、素祭、赎罪祭、赎过祭、平安祭和授圣职时所献之祭的条例。 38这些条例是耶和华在西奈山上吩咐摩西的。同一天,摩西命令以色列人在西奈旷野向耶和华献祭。

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 7:1-38

Ebiweebwayo olw’Omusango

17:1 Lv 5:14–6:7“ ‘Bino bye biragiro eby’ekiweebwayo olw’omusango; kinaabanga kitukuvu nnyo. 2Ekiweebwayo olw’omusango kinattirwanga awo wennyini ekiweebwayo ekyokebwa we kittirwa, era omusaayi gwakyo gunaamansirwanga ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula. 37:3 Kuv 29:13; Lv 3:4, 9Amasavu gaakyo gonna ganaawebwangayo: omukira ogwa ssava, amasavu agabikka ku byenda, 4ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 5Kabona anaabyokeranga ku kyoto nga kye kiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro. Ekyo kye kiweebwayo olw’omusango. 67:6 a Lv 6:18; Kbl 18:9-10 b Lv 2:3Buli kabona omusajja anaayinzanga okukiryako; kyokka kinaalirwanga mu kifo ekitukuvu. Kiweebwayo kitukuvu nnyo. 77:7 Lv 6:17, 26; 1Ko 9:13Ebiragiro ebikwata ku kiweebwayo olw’omusango bye bimu n’ebikwata ku kiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaakozesanga ebiweebwayo ebyo olw’okutangiririra, y’anaabitwalanga. 8Kabona anaaweerangayo omuntu yenna ekiweebwayo kye ekyokebwa, y’aneesigalizanga eddiba ly’ekiweebwayo ekyo. 97:9 Lv 2:5Era buli kiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekinaafumbibwanga mu oveni n’ekyo kyonna ekinaateekerwateekerwanga ku fulampeni oba ku lukalango, kabona oyo akiwaddeyo y’anaakitwalanga. 10Era na buli kiweebwayo eky’empeke ekya buli ngeri, nga kitabuddwa mu mafuta ag’omuzeeyituuni oba nga kikalu kyereere, batabani ba Alooni be banaakitwalanga nga bakigabana kyenkanyi buli omu.

Ebiweebwayo olw’Emirembe

11“ ‘Bino by’ebiragiro eby’ekiweebwayo olw’emirembe omuntu ky’anaawangayo eri Mukama.

127:12 a nny 13, 15 b Lv 2:4; Kbl 6:15“ ‘Bw’anaakiwangayo olw’okwebaza, ekiweebwayo ekyo anaakigattirangako zikkeeke ezitabuliddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni kyokka nga temuli kizimbulukusa, n’obusukuuti obw’oluwewere nga busiigiddwako amafuta ag’omuzeeyituuni, ne zikkeeke ez’obuwunga obulungi ennyo nga zigoyeddwa bulungi mu mafuta. 137:13 Lv 23:17; Am 4:5Awamu n’ebiweebwayo bye olw’emirembe n’olw’okwebaza, anaaleeterangako emigaati emifumbe n’ekizimbulukusa. 14Ku buli kimu ku biweebwayo ebyo anaggyangako omugaati gumu n’aguwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; kabona anaamansiranga omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’emirembe y’anaatwalanga ekiweebwayo ekyo. 157:15 Lv 22:30Ennyama y’ebiweebwayo by’omuntu oyo by’aleese olw’emirembe olw’okwebaza eneeriibwanga ku lunaku olwo lwennyini olw’ebiweebwayo bye ebyo; tekubangako gy’asuzaawo.

167:16 Lv 19:5-8“ ‘Naye omuntu bw’anaawangayo ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo, oba olw’okweyagalira, kinaaliibwanga ku lunaku olwo lwennyini lw’akiwaddeyo; ekinaasigalangawo ku kiweebwayo ekyo kinaaliibwanga enkeera. 17Ennyama ey’ekiweebwayo eneefikkangawo n’etuusa ku lunaku olwokusatu eneeyokebwanga mu muliro. 187:18 a Lv 19:7 b Kbl 18:27Ennyama y’ekiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe bw’eneeriibwanga ku lunaku olwokusatu, ekiweebwayo ekyo Mukama taakikkirizenga, n’oyo akiwaddeyo tekiimubalirwengako kubanga tekiibenga kirongoofu, ne buli anaakiryangako anaabanga azzizza omusango.

19“ ‘Ennyama eneekoonanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teeriibwenga, wabula eneeyokebwanga mu muliro; naye ku nnyama endala omuntu yenna omulongoofu anaayinzanga okulyako. 207:20 Lv 22:3-7Naye omuntu atali mulongoofu bw’anaalyanga ku nnyama ey’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, anaaboolebwanga nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 217:21 Lv 5:2; 11:24, 28Era omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, obanga kivudde mu muntu oba mu nsolo, oba ekintu kyonna ekikyayibwa ekitali kirongoofu, ate n’alya ku nnyama y’ekiweebwayo eri Mukama olw’emirembe, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

Okulya Amasavu n’Omusaayi kugaanibwa

22Mukama n’agamba Musa nti, 237:23 Lv 3:17; 17:13-14“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Temulyanga ku masavu ga nte, oba ag’endiga, oba ag’embuzi. 247:24 Kuv 22:31Amasavu g’ensolo efudde obufi yokka, n’amasavu g’eyo etaaguddwataaguddwa ensolo endala munaagakozesanga ku bintu ebirala byonna eby’omugaso, naye tekabatandanga ne mugalyako. 25Kubanga buli muntu anaalyanga ku masavu ag’ensolo eneevangako ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro, anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama. 267:26 Lub 9:4Era buli kifo kyonna gye munaabeeranga, temuulyenga ku musaayi n’akatono, ne bwe gunaabanga ogw’ebinyonyi oba ogw’ensolo. 277:27 Lv 17:10-14; Bik 15:20, 29Omuntu yenna anaalyanga ku musaayi, omuntu oyo anaaboolebwanga, nga takyabalirwa mu bantu ba Mukama.’ ”

Omugabo gwa Bakabona

28Mukama n’agamba Musa nti, 29“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Omuntu anaaleetanga ekiweebwayo kye olw’emirembe eri Mukama, anaawangayo eri Mukama Katonda ekitundu kyakyo. 307:30 Kuv 29:24; Kbl 6:20Anaakisitulanga n’engalo ze n’akireeta eri Mukama Katonda nga kye kiweebwayo kye ekyokeddwa mu muliro. Amasavu n’ekifuba nabyo anaabireetanga, n’awuubawuuba ekifuba mu maaso ga Mukama, ng’ekyo kye kiweebwayo ekiwuubibwa. 317:31 nny 34Amasavu kabona anaagokyanga ku kyoto, naye ekifuba kinaabanga kya Alooni ne batabani be. 327:32 nny 34; Lv 9:21; Kbl 6:20Ekisambi ekya ddyo kinaawebwanga kabona nga gwe mugabo gwe oguvudde ku kiweebwayo ky’omuntu oyo olw’emirembe. 33Mutabani wa Alooni anaabanga awaddeyo omusaayi n’amasavu eby’ekiweebwayo olw’emirembe, y’anaafunanga ekisambi ekya ddyo nga gwe mugabo gwe. 347:34 a Lv 10:15 b Kuv 29:27; Kbl 18:18-19Ku kiweebwayo olw’emirembe eky’abaana ba Isirayiri, nzigyeko ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n’ekisambi, ne mbiwa kabona Alooni ne batabani be, nga gwe gunaabanga omugabo gwabwe ogunaavanga mu baana ba Isirayiri emirembe gyonna.”

35Guno gwe mugabo nga guva ku biweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ogwagerekerwa Alooni ne batabani be ku lunaku lwe baaleetebwa eri Mukama okumuweereza nga bakabona be. 367:36 Kuv 40:13, 15; Lv 8:12, 30Ku lunaku lwe baafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni, Mukama Katonda yalagira nti abaana ba Isirayiri babibawenga okubeeranga omugabo gwabwe, ogw’enkalakkalira emirembe gyonna.

377:37 a Lv 6:9 b Lv 6:14 c nny 1, 11Eryo lye tteeka n’ebiragiro ebifuga ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, n’ebiweebwayo olw’okwawulibwa, n’ebiweebwayo olw’emirembe, 387:38 Lv 1:2Mukama Katonda bye yawa Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku lwe yalagirirako abaana ba Isirayiri okuleeta ebiweebwayo byabwe eri Mukama Katonda, mu ddungu lya Sinaayi.