利未记 12 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 12:1-8

产妇洁净的条例

1耶和华对摩西说: 2“你把以下条例告诉以色列人。

“如果有妇人生了男婴,她就要不洁净七天,像在经期内不洁净一样。 3第八天,婴儿要接受割礼。 4妇人因产后流血,要等三十三天才能洁净。其间,不可接触任何圣物,也不可进入圣所。 5如果妇人生的是女婴,她就要不洁净十四天,像在经期内不洁净一样。她因产后流血,要等六十六天才能洁净。 6不论她生男生女,洁净期满后,都要预备一只一岁的羊羔作燔祭、一只雏鸽或斑鸠作赎罪祭,带到会幕门口交给祭司。 7祭司要在耶和华面前献祭,为她赎罪,她就洁净了。这是有关产妇的条例。 8她若负担不起一只羊羔,可以带两只斑鸠或雏鸽来,一只作燔祭,一只作赎罪祭。祭司为她赎罪后,她就洁净了。”

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 12:1-8

Okutukuzibwa Oluvannyuma lw’Okuzaala

1Mukama n’agamba Musa nti, 212:2 Lv 15:19; 18:19“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. 312:3 Lub 17:12; Luk 1:59; 2:21Ku lunaku olw’omunaana omwana oyo omulenzi anaakomolebwanga. 4Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko. 5Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.

612:6 a Luk 2:22 b Kuv 29:38; Lv 23:12; Kbl 6:12, 14; 7:15 c Lv 5:7“ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi. 7Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala.

“ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala. 812:8 a Lub 15:9; Lv 14:22 b Lv 5:7; Luk 2:22-24* c Lv 4:26Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”