利未记 10 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 10:1-20

拿答和亚比户之死

1亚伦的儿子拿答亚比户各拿自己的香炉,点火加香,在耶和华面前献上凡火。他们这样做不合耶和华的吩咐。 2于是,有火从耶和华面前出来吞噬了他们,他们就死在耶和华面前。 3摩西告诉亚伦:“耶和华曾说过,‘我要在事奉我的人10:3 事奉我的人”希伯来文是“靠近我的人”。中显明我的圣洁,在所有子民面前彰显我的荣耀。’”亚伦默默无言。 4摩西叫来亚伦的叔父乌薛的儿子米沙利以利撒反,对他们说:“过来,把你们弟兄的尸体从圣所前抬到营外去。” 5他们就遵照摩西的吩咐,把仍穿着内袍的尸体抬到营外。 6摩西亚伦和他剩下的两个儿子以利亚撒以他玛说:“你们不要蓬头散发,也不要撕裂衣服,免得你们死亡,也免得耶和华向全体会众发怒。不过,你们的所有以色列同胞都可以为耶和华用火烧死的人哀伤。 7你们不可走出会幕门口,否则你们都会死,因为耶和华的膏油在你们身上。”他们就遵照摩西的话去做。

有关祭司的条例

8耶和华对亚伦说: 9“你和你儿子们进会幕前,淡酒烈酒都不可喝,否则你们都会死。你们世世代代都要遵守这永远的条例。 10你们必须明辨什么是圣洁的、什么是世俗的,什么是洁净的、什么是不洁净的。 11你们必须将我借摩西赐给以色列人的一切律例教导他们。”

12摩西亚伦及其两个儿子以利亚撒以他玛说:“你们要把献给耶和华的火祭中剩下的素祭做成无酵饼,在坛边吃,因为这是至圣之物。 13你们要在圣洁之处吃,因为在献给耶和华的火祭中,这是你们和你们的子孙应得之份。这是耶和华对我的吩咐。 14至于作摇祭的胸肉和作举祭的腿肉,你们和你们的子孙可以在洁净的地方吃。因为在以色列人所献的平安祭中,这是你们应得之份。 15在献火祭的脂肪时,要把作举祭的腿肉和作摇祭的胸肉一起带到耶和华面前,这些永远是你们和你们的子孙应得之份,正如耶和华的吩咐。”

16摩西到处寻找那只作赎罪祭的公山羊,却发现那只羊已经被焚烧了。他愤怒地对亚伦剩下的两个儿子以利亚撒以他玛说: 17“你们为什么不在圣洁之处吃这赎罪祭?这是至圣之物,耶和华赐给你们是要叫你们为会众担罪,在耶和华面前为他们赎罪。 18既然这祭牲的血没有被带进圣所,你们本应按照我的吩咐在圣洁之处吃这祭肉。” 19亚伦摩西说:“看啊,他们今天向耶和华献赎罪祭和燔祭,却有这样的灾祸发生在我身上。今天我如果吃了这赎罪祭的祭肉,耶和华会悦纳吗?” 20摩西亚伦的回答感到满意。

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 10:1-20

Okufa kwa Nadabu ne Abiku

110:1 a Kuv 24:1; Kbl 3:2-4; 26:61 b Lv 16:12 c Kuv 30:9Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye. 210:2 Kbl 3:4; 16:35; 26:61Omuliro ne guva eri Mukama ne gubookya, ne bafiira awo mu maaso ga Mukama Katonda. 310:3 a Kuv 19:22 b Kuv 30:29; Lv 21:6; Ez 28:22 c Is 49:3Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti,

“ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu

eri abo abansemberera,

era nassibwangamu ekitiibwa

abantu bonna.’ ”

Alooni n’asirika busirisi.

410:4 a Kuv 6:22 b Kuv 6:18 c Bik 5:6, 9, 10Awo Musa n’ayita Misayeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kitaawe omuto owa Alooni, n’abagamba nti, “Mujje wano musitule emirambo gya baganda bammwe mugiggye wano awatukuvu mugitwale ebweru w’olusiisira.” 510:5 Lv 8:13Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba.

610:6 a Lv 21:10 b Kbl 1:53; 16:22; Yos 7:1; 22:18Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro. 710:7 Kuv 28:41; Lv 21:12Era temuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.

Bakabona bye Basaana Okwegendereza

8Awo Mukama Katonda n’agamba Alooni nti, 910:9 a Kos 4:11 b Nge 20:1; Is 28:7; Ez 44:21; Luk 1:15; Bef 5:18; 1Ti 3:3; Tit 1:7“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja. 1010:10 Lv 11:47; 20:25; Ez 22:26Mwawulengamu ebitukuvu n’ebyabulijjo, ebirongoofu n’ebitali birongoofu; 1110:11 a Mal 2:7 b Ma 24:8era kibasaanidde okuyigirizanga abaana ba Isirayiri amateeka gonna Mukama Katonda g’abawadde ng’agayisa mu Musa.”

Etteeka ery’Okulya Emmere Entukuvu

1210:12 Lv 6:14-18; 21:22Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo. 13Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa. 1410:14 Kuv 29:24, 26-27; Lv 7:31, 34; Kbl 18:11Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri. 1510:15 Lv 7:34Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.”

1610:16 Lv 9:3Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti, 1710:17 Lv 6:24-30“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda. 1810:18 Lv 6:26, 30Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”

1910:19 Lv 9:12Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?” 20Awo Musa bwe yawulira ebigambo ebyo n’amatira.