创世记 44 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 44:1-34

约瑟试验弟兄

1约瑟吩咐管家说:“给他们的口袋装满粮食,他们能带多少就装多少,把各人的钱放回他们的口袋中, 2再把我的银杯和买粮的钱一起放在最小的兄弟的口袋中。”管家一一办妥了。

3第二天清早,他们就牵着驴离开了。 4他们出城不久,约瑟对管家说:“你快去追他们,追上了就对他们说,‘你们为什么以恶报善? 5为什么偷我主人用来喝酒和占卜的银杯?你们这是作恶!’”

6于是,管家追上他们,按约瑟的话问他们。 7他们回答说:“我主为什么这样说?我们绝不会做这种事。 8你看,我们把上次在口袋里发现的钱都从迦南带回来还你了,又怎么会偷你主人家的金银呢? 9你若在仆人中任何人身上搜到银杯,他就要死!我们也要做我主的奴仆。”

10管家说:“好,就照你们的话做吧!银杯从谁那里搜出来,谁就做我的奴仆,其他人都没有罪。” 11于是,他们急忙把口袋卸到地上打开。 12管家就从最年长的开始搜查,最后在便雅悯的口袋里搜出了银杯。 13他们伤心地撕裂衣服,把东西放回驴背上,返回城里。

14犹大和他兄弟们回到约瑟家时,约瑟还在那里,他们就俯伏在他面前。 15约瑟对他们说:“你们做的是什么事?难道你们不知道像我这样的人是懂得占卜的吗?” 16犹大说:“我们能对我主说什么呢?我们还有什么话可说呢?我们如何洗脱罪名呢?上帝既然查出你仆人们的罪,我们跟那个被发现有银杯的弟弟一起做我主的奴仆吧!” 17约瑟回答说:“不!我决不会这样做。从谁那里搜出了银杯,谁就做我的奴仆,其他人平安地回去见你们的父亲吧。”

犹大求情

18犹大近前来对他说:“我主啊,你就像法老一样,求你容仆人说一句话,不要向仆人发怒。 19我主曾经问仆人们是否有父亲和弟兄, 20我们对我主说,‘我们有年迈的老父,他在晚年得了一个儿子,这孩子的哥哥已经死了,他母亲只剩下他这一个儿子,他父亲很疼爱他。’ 21你吩咐仆人们把弟弟带来给你亲眼看看, 22我们对我主说,‘这孩子不能离开他父亲,他若离开,他父亲一定会死。’ 23可是,你说如果仆人们不把弟弟带来,就不得再见你。 24我们回到你仆人——我们的父亲那里,把我主的话告诉了他。

25“后来,他又吩咐仆人们回来买粮, 26我们告诉他,我们不能来,只有我们的弟弟同来,我们才能来。否则,我们不能见你的面。 27我父亲就对我们说,‘你们应该知道,我妻子给我生了两个儿子。 28其中一个离开了我,我想他一定被野兽撕碎了,我再没有见过他。 29要是你们把他的弟弟也带走,遇上什么意外的话,你们会使我这白发苍苍的老人凄凄惨惨地进坟墓。’

30“我们父亲的命与这孩子的命紧密相连,倘若我没有把这孩子带回到你仆人——我父亲身边, 31他一看这孩子不在,一定会死。仆人们会使自己白发苍苍的父亲凄凄惨惨地进坟墓。 32仆人曾经向父亲保证这孩子的安全,说我若不把这孩子带回他身边,情愿一生担罪。 33现在求你准许仆人代替这孩子做你的奴仆,让他跟他哥哥们回去吧。 34这孩子不和我一同回去,我如何见我父亲呢?我不愿看到灾难临到我父亲。”

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 44:1-34

Ekikopo kya Ffeeza Kibula

144:1 Lub 42:25Awo Yusufu n’alagira omuweereza mu nnyumba ye nti, “Jjuza ensawo z’abasajja emmere nga bwe basobola okugyetikka, era oteeke ensimbi za buli omu mu nsawo ye. 2Era oteeke ekikopo kyange, ekya ffeeza, mu kamwa k’ensawo ya muto waabwe, wamu n’ensimbi ze ez’okugula emmere.” N’akola nga Yusufu bwe yamugamba.

3Emmambya eba evaayo abasajja ne basiibulwa n’endogoyi zaabwe. 444:4 Zab 35:12Bwe baali baakava mu kibuga Yusufu n’agamba omuweereza we nti, “Golokoka obagoberere bw’obatuukako obabuuze nti, ‘Lwaki musasudde ekibi olw’ebirungi? Lwaki mubbye ekikopo kyange ekya ffeeza? 544:5 Lub 30:27; Ma 18:10-14Mu kino mukama wange si mwanywera, era si kyalaguza? Mu ekyo mukoze bubi.’ ”

6Bwe yabatuukako n’abategeeza ebigambo ebyo. 7Ne bamugamba nti, “Mukama waffe lwaki ayogedde ebigambo ebyo? Olowooza tuli bantu ba ngeri ki abayinza okukola ekintu ng’ekyo? 844:8 Lub 42:25; 43:21Laba, ensimbi ze twasanga ku mimwa gy’ensawo zaffe twazikuddiza okuva mu nsi ya Kanani, kale twandisobodde tutya okubba ffeeza oba zaabu okuva mu nnyumba ya mukama wo? 944:9 Lub 31:32Oyo gw’onookisanga nakyo mu ffe abaddu bo, afe, era naffe tuliba baddu ba mukama wange.”

10N’abaddamu nti, “Kale kibeere nga bwe mwogedde, oyo anaasangibwa nakyo abeere muddu wange, naye abalala mu mmwe tewaabe abaako ky’avunaanwa.” 11Amangwago buli omu nassa ensawo ye wansi n’agisumulula. 1244:12 nny 2N’alyoka abaaza ng’asookera ku asinga obukulu okutuuka ku asembayo obuto; ekikopo ne kisangibwa mu nsawo ya Benyamini. 1344:13 Lub 37:29; Kbl 14:6; 2Sa 1:11Awo ne bayuza engoye zaabwe, buli omu n’atikka endogoyi ye, ne baddayo mu kibuga.

Baganda ba Yusufu Bamuvuunamira

1444:14 Lub 37:7, 10Yusufu yali akyali mu nju, Yuda ne baganda be bwe baatuuka gy’ali, ne bagwa mu maaso ge ne bamuvuunamira. 1544:15 nny 5; Lub 30:27Yusufu n’abagamba nti, “Kiki kino kye mukoze? Temumanyi nti omuntu ali nga nze asobola okuvumbula kye mukoze?”

1644:16 a nny 9; Lub 43:18 b Lub 43:2Yuda n’addamu nti, “Tunaddamu ki mukama wange? Tunaayogera ki? Oba tuneggyako tutya omusango? Katonda avumbudde obwonoonyi bw’abaddu bo, laba tuli baddu ba mukama wange, ffenna, ffe n’oyo asangiddwa n’ekikopo.” 17Yusufu n’addamu nti, “Ekyo sijja kukikola, wabula oyo asangiddwa n’ekikopo, y’anaaba omuddu wange, naye mmwe mwambuke mirembe, mutuuke eri kitammwe.”

Yuda Yeegayirira olwa Benyamini

1844:18 Lub 18:30; Kuv 32:22Awo Yuda n’alaga eri Yusufu n’agamba nti, “Ayi mukama wange nkusaba omuddu wo abeeko kyayogera gy’oli, n’obusungu bwo buleme kubuubuuka eri omuddu wo; kubanga oli nga Falaawo yennyini. 1944:19 Lub 43:7Mukama wange yabuuza abaweereza be nti, ‘Mulina kitammwe oba muganda wammwe?’ 2044:20 a Lub 37:3 b Lub 37:33 c Lub 42:13Ne tuddamu mukama wange nti, ‘Tulina kitaffe, musajja mukulu, ne muganda waffe atusinga obuto, omwana gwe yazaala mu bukadde bwe, ne muganda wa muto waffe, yafa; muto waffe yekka y’aliwo, eyasigalawo yekka ku baana ba nnyina; era kitaawe amwagala nnyo.’

2144:21 Lub 42:15“N’olyoka ogamba abaddu bo nti, ‘Mumundeetere, mmulabeko.’ 2244:22 Lub 37:35Twategeeza mukama wange nti, ‘Omulenzi tayinza kuva ku kitaawe, kubanga bw’amuvaako, kitaawe alifa bufi!’ 2344:23 Lub 43:5N’oddamu abaddu bo nti, ‘Muto wammwe bw’ataliserengeta nammwe, temugenda kulaba maaso gange.’ 24Bwe twaddayo eri omuddu wo kitaffe, twamutegeeza ebigambo ebyo, mukama wange. 2544:25 Lub 43:2Kale kitaffe bwe yagamba nti, ‘Muddeeyo mutugulire ku mmere,’ 26ne tumuddamu nti, ‘Tetusobola kuserengeta. Muto waffe bw’atagenda naffe tetujja kugenda kubanga tetusobola kulaba maaso ga musajja oli nga muto waffe tali naffe.’

2744:27 Lub 46:19“Awo omuddu wo, kitaffe n’atugamba nti, ‘Mumanyi, mukazi wange yanzaalira abaana abalenzi babiri; 2844:28 Lub 37:33omu yambulako, ne njogera nti mazima yataagulwataagulwa; era siddangayo kumulaba. 2944:29 Lub 42:38Bwe muntwalako n’ono, akabi ne kamutuukako, muliserengesa envi zange emagombe nga nkungubaga.’

3044:30 1Sa 18:1“Kale kaakano, bwe nzirayo eri omuddu wo kitange ng’omulenzi tali naffe, obulamu bwe nga bwe bunyweredde ku bw’omulenzi, 31bw’anaalaba ng’omulenzi tali naffe, ajja kufa, n’abaddu bo baliserengesa envi z’omuddu wo kitaffe emagombe ng’akyakungubagira omwana we. 3244:32 Lub 43:9Kubanga omuweereza wo yeeyimirira omulenzi eri kitange; nga ŋŋamba nti, ‘Bwe sirimuzza gy’oli ndiba n’obuvunaanyizibwa n’okunenyezebwa ennaku zonna ez’obulamu bwange.’

3344:33 a Lub 43:18 b Yk 15:13“Kale kaakano nkwegayirira, omuddu wo nsigale ng’omuddu wa mukama wange, mu kifo ky’omulenzi; omulenzi omuleke addeyo ne baganda be. 3444:34 Es 8:6Kale n’addayo ntya eri kitange ng’omulenzi tali nange? Ntya okulaba akabi akayinza okutuuka ku kitange.”