创世记 43 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 43:1-34

约瑟的哥哥们再下埃及

1那地方的饥荒仍然非常严重, 2他们从埃及带回来的粮食吃完了,他们的父亲对他们说:“你们再去买些粮食吧。” 3犹大说:“那人严厉地警告我们,‘不把你们的弟弟带来,你们就不要再来见我。’ 4你若让便雅悯跟我们同去,我们就去给你买粮。 5你若不让便雅悯跟我们同去,我们就不去给你买粮。因为那人说,‘你们不把弟弟带来,就不要再来见我。’”

6以色列说:“你们为什么告诉他你们还有一个弟弟,给我惹麻烦呢?” 7他们回答说:“那人详细询问我们和我们家人的情况,问我们的父亲是否在世,还有没有弟兄。我们如实回答,怎会想到他非要我们把弟弟带去呢?”

8犹大对父亲以色列说:“你就让便雅悯跟我同去吧,我们好立刻动身,这样我们一家老小才能保住性命,不致饿死。 9我亲自保证便雅悯的安全,你可以向我要人。我若不把他带回来见你,情愿一生担罪。 10我们若是没有耽搁的话,现在已经往返两趟了。”

11他们的父亲以色列说:“事到如今,只好这样了。你们带一些上好的乳香、蜂蜜、香料、没药、榧子和杏仁等土产,去送给那人作礼物吧。 12你们还要带双倍的钱,好归还上次留在你们口袋中的钱,那可能是弄错了。 13带你们的弟弟去见那人吧! 14愿全能的上帝叫那人怜悯你们,让西缅便雅悯回来。我若丧子就丧子吧!”

15于是,他们就带着便雅悯、礼物和双倍的钱去埃及约瑟16约瑟看见便雅悯和他们同来,就对管家说:“你带他们到我家里去,宰杀牲畜,预备宴席,中午他们要跟我一起吃饭。” 17管家照约瑟的吩咐,带他们到约瑟家里。 18他们被带到约瑟家后非常害怕,说:“他把我们带到这里来,一定跟上次放在我们口袋中的钱有关。他想害我们,强迫我们做他的奴仆,抢我们的驴。”

19他们走到约瑟的管家跟前,在房门口对他说: 20“先生,我们上次曾来这里买粮。 21但在回家的途中住宿时,我们打开口袋,发现我们带来买粮的钱分毫不少地放在那里。我们把这些钱带回来了, 22又另外带了一些钱来买粮。我们不知道谁把买粮的钱放进了我们的口袋。”

23管家说:“你们放心,不要害怕,你们口袋里那些钱是你们的上帝,你们父亲的上帝赐给你们的。我已经收了你们买粮的钱。”说完就把西缅带出来和他们见面, 24接着带他们进约瑟的家,给他们水洗脚,给他们的驴喂草料。 25他们知道要在那里吃午餐,就预备好礼物,等约瑟中午回来。

26约瑟来了,他们就把带来的礼物献给他,向他俯伏下拜。 27约瑟向他们问好,然后说:“你们提起过你们的老父亲,他还健在、安康吗?” 28他们回答说:“你仆人——我们的父亲仍然健在、安康。”说完了,又向他下拜。 29约瑟抬头看见了自己的同胞弟弟便雅悯,就问道:“这就是你们所说那位最小的弟弟吗?”他又对便雅悯说:“孩子,愿上帝施恩给你。” 30约瑟爱弟之心油然而生,急忙出去找哭的地方。他到自己的房间里哭了一场。

31他洗过脸出来,控制着自己的感情,吩咐人摆饭。 32约瑟自己一桌,他的弟兄们一桌,那些和他们一起吃饭的埃及人一桌,因为埃及人厌恶和希伯来人同席。 33约瑟让他的弟兄们在他对面按照长幼次序坐,他们面面相觑,非常惊讶。 34约瑟吩咐人把自己面前的菜肴分给他们,便雅悯得的那份比其他弟兄多五倍。他们尽情地和约瑟一同吃喝。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 43:1-34

Olugendo lw’e Misiri Olwokubiri

143:1 Lub 12:10; 41:56-57Awo enjala bwe yayinga obungi mu nsi, 2era nga ne mmere gye baggya e Misiri yonna eriiriddwa, kitaabwe n’abagamba nti mugende mutugulire emmere.

343:3 Lub 42:15; 44:23Naye Yuda n’amuddamu nti, “Omusajja yatukuutirira ddala ng’agamba nti, ‘Temulinyanga ekigere mu maaso gange nga temuzze na muganda wammwe.’ 4Bw’onokkiriza tuserengete ne muganda waffe okugula emmere, olwo tunaagenda. 543:5 Lub 42:15; 2Sa 3:13Naye bw’otomukkirize kugenda naffe, tetujja kuserengeta, kubanga omusajja yatugamba nti, ‘Temugenda kulaba maaso gange nga muganda wammwe tali nammwe.’ ”

6Isirayiri kwe kubaddamu nti, “Mwankola ki kino eky’obubalagaze ne mugamba omusajja nti mulina muganda wammwe omulala.” 743:7 a nny 27 b Lub 42:13Ne bagamba nti, “Omusajja yatubuuza nnyo ebitufaako awamu n’ebifa ku lulyo lwaffe, ng’abuuza nti, ‘Kitammwe gyali mulamu? Mulina muganda wammwe omulala?’ Kye twamutegeeza nga kiddamu buzzi ebibuuzo bye yatubuuzanga. Tetwamanya ng’anaatugamba okuserengesa muganda waffe.”

843:8 Lub 42:2; Zab 33:18-19Era Yuda n’agamba Isirayiri kitaawe nti, “Mpa omulenzi tulyoke tugende tube balamu, tuleme okufa enjala, ffe naawe n’abaana baffe. 943:9 Lub 42:37; 44:32; Fir 18-19Nze newaddeyo okumukuuma, olimubuuza nze. Bwe sirikumuddiza, ne mussa mu maaso go mbeereko omusango ennaku zonna. 10Kubanga singa tetwalwa twandibadde tukomyewo omulundi ogwokubiri.”

1143:11 a Lub 32:20; Nge 18:16 b Lub 37:25; Yer 8:22 c 1Bk 10:2Awo Isirayiri kitaabwe n’abagamba nti, “Bwe kinaaba bwe kityo, kale mukole bwe muti: mutwale ebimu ku bibala bya muno mu nsawo zammwe, mutwalire omusajja ekirabo: envumbo ntono, n’omubisi, n’omugavu, n’obubaane ne mooli n’ebinyeebwa ne Alumoni. 1243:12 Lub 42:25Mutwale n’ensimbi za mirundi ebiri nga mutwala na ziri ezaali ku mimwa gye nsawo zammwe, osanga omuntu yakola nsobi. 13Mutwale ne muganda wammwe, musituke muddeyo eri omusajja. 1443:14 a Lub 17:1; 28:3; 35:11 b Lub 42:24 c Es 4:16Katonda Ayinzabyonna abawe omukisa mu maaso g’omusajja, alyoke aleke muganda wammwe oli awamu ne Benyamini bakomewo. Obanga obulumi bw’okufa kw’abaana bange bulintuukako, kale.”

Baganda ba Yusufu Baddayo e Misiri

1543:15 a Lub 45:9, 13 b Lub 47:2, 7Awo ne batwala ebirabo n’ensimbi za mirundi ebiri, ne Benyamini ne baserengeta naye e Misiri ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 1643:16 a Lub 44:1, 4, 12 b nny 31; Luk 15:23Awo Yusufu bwe yalaba nga bali ne Benyamini n’agamba omuweereza we nti, “Bayingize mu nnyumba, otte ensolo ofumbe ekijjulo, kubanga abasajja abo baakulya nange ekyemisana.”

17Omusajja n’akola nga Yusufu bwe yamulagira, n’ayingiza abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 1843:18 Lub 42:35Abasajja ne batya olw’okutwalibwa mu nnyumba ya Yusufu, ne bagamba nti kino kizze lwa nsimbi ezatuddizibwa ne ziteekebwa mu nsawo zaffe omulundi guli, kyetuvudde tuleetebwa wano, anoonye ensonga ku ffe atuvunaane, atufuule abaddu awambe n’endogoyi zaffe.

19Awo ne bambuka n’omuweereza mu nnyumba ya Yusufu, 2043:20 Lub 42:3ne bagamba nti Ayi mukama waffe, twajja omulundi ogwasooka okugula emmere, 2143:21 nny 15; Lub 42:27, 35bwe twatuuka mu kifo we twasula, ne tusumulula ensawo zaffe, nga mu buli kamwa k’ensawo ya buli omu mulimu ensimbi ze ezaali ez’okugula emmere, kyetuvudde tuzizza, 22era tuleese n’endala olw’okugula emmere. Tetumanyi yateeka nsimbi mu nsawo zaffe. 2343:23 a Lub 42:28 b Lub 42:24Ye n’abaddamu nti, “Mubeere bagumu temutya. Katonda wammwe era Katonda wa kitammwe ye yabateekera obugagga mu nsawo zammwe; ensimbi zammwe nazifuna.” Awo kwe kubaleetera Simyoni.

2443:24 a nny 16 b Lub 18:4; 24:32Omusajja bwe yamala okuyingiza abasajja abo mu nnyumba ya Yusufu, nga bamaze n’okunaaba ebigere, ng’amaze n’okuliisa endogoyi zaabwe, 25ne bateekateeka ekirabo kya Yusufu bakimuwe mu ttuntu, kubanga baamanya nga bajja kuliira eyo.

Yusufu Alya ne Baganda be

2643:26 a Mat 2:11 b Lub 37:7, 10Yusufu bwe yakomawo eka ne bamuleetera ekirabo kye baalina ne bamuvuunamira. 2743:27 nny 7N’ababuuza bwe bali, n’ababuuza nti, “Kitammwe akyali mulamu bulungi?” 2843:28 Lub 37:7Ne bamuddamu nti, “Ssebo, kitaffe akyali mulamu era ali bulungi.” Ne bavuunama mu bukkakkamu.

2943:29 a Lub 42:13 b Kbl 6:25; Zab 67:1Yusufu bwe yayimusa amaaso, n’alaba Benyamini muganda we, mutabani wa nnyina. N’ababuuza nti, “Ono ye muto wammwe gwe mwantegeezako? Katonda akuwe omukisa mwana wange.”

3043:30 a Yk 11:33, 38 b Lub 42:24; 45:2, 14, 15; 46:29Awo Yusufu n’ayanguwa okuva mu maaso gaabwe, kubanga omutima gwe gwalumwa olwa muganda we, n’anoonya ekifo w’anaakabira. N’alinnya mu kisenge kye n’akaabira eyo. 3143:31 Lub 45:1N’anaaba amaziga n’afuluma, n’aguma n’alagira emmere egabwe. 3243:32 a Bag 2:12 b Lub 46:34; Kuv 8:26Ye ne bamuwa eyiye yekka, ne baganda be bokka, n’Abamisiri abalya naye nabo ne bagabulwa bokka, kubanga Abamisiri tebalyanga n’Abaebulaniya, kubanga kyali kivve eri Abamisiri. 33Awo baganda ba Yusufu ne batuula mu maaso ge nga baddiriŋŋana okuva ku mukulu mu buzaale bwabwe okutuuka ku muto; ne batunulaganako nga beewuunya. 3443:34 Lub 37:3; 45:22Yusufu n’abakoleza ebitole okuva ku mmeeza ye, naye ekitole kya Benyamini ne kisinga ekya baganda be emirundi etaano. Bwe batyo ne balya ne basanyukira wamu ne Yusufu.