创世记 32 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 32:1-32

雅各预备见以扫

1雅各继续前行,遇见了上帝的天使。 2雅各看见他们,就说:“这是上帝的军队!”于是称那地方为玛哈念32:2 玛哈念”意思是“两营军队”。

3雅各先派人到西珥,就是以东,去见他哥哥以扫4并吩咐他们:“你们要这样对我主以扫说,‘你仆人雅各一直寄居在拉班家里, 5现在他带了牛羊、驴和仆婢回来见你,派我们来报信,希望得到你的恩待。’”

6报信的人回到雅各那里,说:“我们到了你哥哥以扫那里,他正带着四百人前来见你。” 7雅各听了非常害怕,便把随从、牛群、羊群和骆驼分成两队, 8心想:“如果以扫来攻击一队,另一队还可以逃生。”

9他祷告说:“耶和华,我祖父亚伯拉罕和我父亲以撒的上帝啊!你吩咐我回到家乡和亲族那里,答应厚待我。 10我不配蒙你以慈爱和信实相待,我先前过约旦河的时候,手上只有一根杖,现在却有两队人丁家畜。 11求你救我脱离我哥哥以扫的手,我怕他会来杀我和我的妻儿。 12然而,你曾说,‘我必厚待你,使你的后代多如海沙,不可胜数。’”

13那天晚上,雅各就在那里过夜,又挑选牲畜送给哥哥以扫作礼物: 14母山羊二百只、公山羊二十只、母绵羊二百只、公绵羊二十只、 15哺乳的骆驼三十头及其小骆驼、母牛四十头、公牛十头、母驴二十头、驴驹十头。 16雅各把牲畜每类分成一群,交给仆人看管,对他们说:“你们走在前头,每群牲畜之间要保持一段距离!” 17又吩咐走在最前面的仆人说:“我哥哥以扫遇到你的时候,如果问你是谁家的人?要到哪里去?前头这些牲畜是谁的? 18你就说,‘是仆人雅各要送给他主人以扫的礼物,他自己就跟在后面。’” 19雅各又吩咐看管第二群、第三群及其余牲畜的仆人遇见以扫时也要这样回答, 20并且一定要说:“你仆人雅各就在后面。”雅各想先用礼物去化解以扫的怨恨,或许见面时以扫会善待他。 21于是,他派人先把礼物送过去,自己则留在营里过夜。

雅各遇见上帝

22那天晚上,雅各起来带着两个妻子、两个婢女和十一个儿子渡过雅博渡口。 23雅各把他们连同一切所有都送过河以后, 24自己独自留下。这时,有一个人来和他摔跤,直到黎明。 25那人见胜不过雅各,就在他的大腿窝摸了一下,他大腿的关节就脱了臼。 26那人说:“天亮了,让我走吧!”但雅各说:“你不祝福我,我就不让你走。” 27那人问道:“你叫什么名字?”他说:“我叫雅各。” 28那人说:“你以后不要再叫雅各了,你要叫以色列,因为你跟上帝和人角力都得胜了。”

29雅各说:“请你告诉我你的名字。”那人说:“你为什么问我的名字?”他就在那里给雅各祝福。 30雅各称那地方为毗努伊勒,因为他说:“我当面见过上帝,竟能活命。” 31雅各经过毗努伊勒的时候,太阳出来了,那时他的大腿瘸了。 32以色列人至今都不吃大腿窝的筋,因为那人摸过雅各大腿窝的筋。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 32:1-32

Yakobo Yeeteekateeka Okusisinkana Esawu

132:1 Lub 16:11; 2Bk 6:16-17; Zab 34:7; 91:11; Beb 1:14Awo Yakobo n’akwata ekkubo lye, bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 232:2 a Lub 28:17 b 2Sa 2:8, 29Yakobo bwe yabalaba n’agamba nti, “Lino ggye lya Katonda.” Ekifo ekyo n’alyoka akituuma Makanayimu.

332:3 a Lub 27:41-42 b Lub 25:30; 36:8, 9Awo Yakobo n’atuma ababaka eri Esawu muganda we, mu kitundu kya Seyiri32:3 Seyiri gye bujja kijja kufuuka ekifo ekikulu mu biro bya Dawudi ne Sulemaani. mu nsi ya Edomu. 4N’abagamba nti, “Mugambe mukama wange Esawu nti, ‘Omuddu wo Yakobo abadde ne Labbaani okutuusa kaakano, 532:5 a Lub 12:16; 30:43 b Lub 33:8, 10, 15alina ente, n’endogoyi, n’endiga era n’embuzi, abaweereza abakazi era n’abasajja. Kaakano aweerezza mukama we Esawu obubaka buno afune okusaasirwa mu maaso ge.’ ”

632:6 Lub 33:1Ababaka bwe baakomawo eri Yakobo ne bamugamba nti, “Twatuuka ewa muganda wo Esawu era ajja okukusisinkana ng’alina abasajja ebikumi bina.” 732:7 nny 11Olwo Yakobo n’atandika okutiira ddala, n’asoberwa. N’ayawulamu abantu be yali nabo, n’ayawulamu n’endiga, ebisibo bye yalina ne mu ŋŋamira, ebibinja bibiri, 8ng’alowooza nti, “Esawu bw’anaatuuka ku kibinja ekisooka n’akizikiriza, kale ekibinja ekisigaddewo kinadduka.”

932:9 a Lub 28:13; 31:42 b Lub 31:13Awo Yakobo n’agamba nti, “Ayi Katonda wa jjajjange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, Ayi Mukama eyaŋŋamba nti, ‘Ddayo mu nsi yammwe, mu bantu bo, nange nnaakugaggawazanga,’ 1032:10 Lub 24:27sisaanira wadde akatundu akatono ak’okwagala kwo okutaggwaawo, wadde obwesigwa bwonna bw’olaze omuddu wo. Kubanga nasomoka omugga guno Yoludaani nga nnina muggobuggo; naye kaakano nfuuse ebibinja bibiri. 1132:11 a Zab 59:2 b Lub 27:41Nkusaba omponye mu mukono gwa muganda wange, Esawu, kubanga mmutya, talwa kujja n’atutta ffenna awamu n’abakazi n’abaana. 1232:12 a Lub 22:17 b Lub 28:13-15; Kos 1:10; Bar 9:27Naye waŋŋamba nti, ‘Nnaakugaggawazanga, era abalikuvaamu baliba ng’omusenyu gw’ennyanja, ogutabalika obungi bwabwe.’ ”

Ekirabo kya Yakobo eri Esawu

1332:13 Lub 43:11, 15, 25, 26; Nge 18:16N’alyoka asula eyo ekiro ekyo, n’aggya ekirabo kya muganda we Esawu ku ebyo bye yalina: 14embuzi enkazi ebikumi bibiri, embuzi ennume amakumi abiri, endiga enkazi ebikumi bibiri, endiga ennume amakumi abiri, 15eŋŋamira enkazi amakumi asatu n’obwana bwazo, ente enkazi amakumi ana n’ennume kkumi, n’endogoyi enkazi amakumi abiri, n’endogoyi ennume kkumi. 16N’azikwasa abaddu be, buli kisibo ng’akyawudde, n’agamba abaddu be nti, “Kale munkulemberemu, mulekeewo ebbanga wakati wa buli kisibo.”

17N’alagira eyakulembera nti, “Esawu, muganda wange bw’anaakusisinkana n’akubuuza nti, ‘Oli muntu w’ani? Ogenda wa? Na bino by’olina by’ani?’ 1832:18 Lub 18:3N’olyoka omuddamu nti, ‘Bya muddu wo Yakobo, birabo by’aweerezza mukama wange Esawu, era tali wala naffe.’ ” 19Bw’atyo era n’alagira n’owokubiri n’owookusatu ne bonna abaagobereranga ebisibo nti, “Nammwe mwogere ebigambo bye bimu bwe musisinkana Esawu, 2032:20 Lub 33:10; Nge 21:14era mugambe nti, ‘Omuddu wo Yakobo tali wala naffe.’ ” Kubanga Yakobo yalowooza nti, “Nnaamuwooyawooya n’ekirabo ekinkulembedde, n’oluvannyuma nnaalaba amaaso ge, osanga tankole kabi.” 21Ekirabo kyekyava kimukulemberamu, ye n’asula mu kifo we yali ekiro ekyo.

Yakobo Amegganira e Penieri

2232:22 Ma 2:37; 3:16; Yos 12:2Mu kiro ekyo Yakobo n’agolokoka n’atwala bakazi be bombi, n’abaweereza be abakazi ababiri, n’abaana be ekkumi n’omu n’asomokera e Yaboki. 23N’abatwala ne byonna bye yalina n’abasomosa omugga. 2432:24 Lub 18:2Ye Yakobo n’asigala yekka, omusajja n’ameggana naye okutuusa obudde okukya. 2532:25 nny 32Omusajja bwe yalaba nga taasobole Yakobo, n’akoma ku kinywa ky’ekisambi kye. Yakobo n’atandika okuwenyera nga bw’ameggana n’omusajja. 2632:26 Kos 12:4Omusajja n’alyoka agamba Yakobo nti, “Ndeka ŋŋende kubanga obudde bugenda kukya.”

Naye Yakobo n’ayogera nti, “Sijja kukuta nga tompadde mukisa.” 27Omusajja n’amubuuza nti, “Erinnya lyo gw’ani?” N’amuddamu nti, “Yakobo.”

2832:28 Lub 17:5; 35:10; 1Bk 18:31Awo n’amugamba nti, “Tokyaddayo kuyitibwa Yakobo. Wabula onooyitibwanga Isirayiri, kubanga omegganye ne Katonda, awamu n’abantu n’owangula.”

2932:29 a Bal 13:17 b Bal 13:18 c Lub 35:9Awo ne Yakobo n’amugamba nti, “Mbuulira erinnya lyo.” Naye ye n’amuddamu nti, “Lwaki ombuuza erinnya lyange?” Awo n’amuwa omukisa.

3032:30 Lub 16:13; Kuv 24:11; Kbl 12:8; Bal 6:22; 13:22Yakobo ekifo ekyo kyeyava akiyita Penieri, ng’agamba nti, “Kubanga ndabaganye ne Katonda, kyokka obulamu bwange ne busigalawo.”

31Enjuba n’evaayo ne mwakako nga bw’asala Penieri, ng’awenyera olw’obuvune mu kisambi kye. 32Abayisirayiri kyebava batalya kinywa ky’ekisambi na buli kati, kubanga ekyo omusajja wa Katonda kye yakomako.