创世记 13 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 13:1-18

亚伯兰与罗得分道扬镳

1亚伯兰带着妻子、侄儿罗得和所有的一切离开埃及去南地。 2这时候亚伯兰已经拥有很多牲畜和金银。 3-4他从南地渐渐迁移到伯特利,到了他从前在伯特利中间搭帐篷和筑坛的地方。他又在那里求告耶和华。 5亚伯兰同行的罗得也有牛群、羊群和帐篷。 6他们的牲畜很多,那地方容纳不下,他们无法住在一起。 7亚伯兰的牧人和罗得的牧人彼此争执。那时,迦南人和比利洗人也住在那里。

8亚伯兰罗得说:“我们不该彼此争执,我们的牧人也不该互相争执,因为我们是骨肉至亲。 9整片土地不就在你面前吗?我们分开吧。如果你往左边去,我就往右边走;如果你往右边去,我就往左边走。” 10罗得举目眺望,看见整个约旦河平原,远至琐珥,水源充足。在耶和华还没有毁灭所多玛蛾摩拉之前,那地方就好像耶和华的伊甸园,又像埃及11于是,罗得选了整个约旦河平原,向东迁移,他们便分开了。 12亚伯兰住在迦南罗得则住在平原的城邑里,并渐渐把帐篷迁移到所多玛附近。 13所多玛人极其邪恶,在耶和华眼中罪恶滔天。

14罗得离开后,耶和华对亚伯兰说:“从你站的地方向东西南北眺望, 15你所能看见的地方,我都要赐给你和你的后代,直到永远。 16我要使你的后代多如地上的尘土,人若能数算地上的尘土,才能数算你的后代。 17你起来走遍这片土地,因为我要把这片土地赐给你。” 18亚伯兰就把帐篷迁移到希伯仑幔利的橡树那里居住,在那里为耶和华筑了一座祭坛。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 13:1-18

113:1 Lub 12:9Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.

Ibulaamu ne Lutti Baawukana

2Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. 313:3 Lub 12:8N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, 413:4 Lub 12:7mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.

5Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, 613:6 Lub 36:7ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, 713:7 a Lub 26:20, 21 b Lub 12:6ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.

813:8 a Nge 15:18; 20:3 b Zab 133:1Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. 9Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”

1013:10 a Lub 19:22, 30 b Lub 2:8-10; Is 51:3 c Lub 14:8; 19:17-29Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 1213:12 a Lub 19:17, 25, 29 b Lub 14:12Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 1313:13 Lub 18:20; Ez 16:49-50; 2Pe 2:8Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.

1413:14 Lub 28:14; Ma 3:27Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 1513:15 Lub 12:7; Bag 3:16*kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 1713:17 nny 15; Kbl 13:17-25Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”

1813:18 a Lub 14:13, 24; 18:1 b Lub 35:27 c Lub 8:20Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.