列王纪上 9 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 9:1-28

耶和华再次向所罗门显现

1所罗门建完耶和华的殿、自己的王宫和所有要建的建筑后, 2耶和华像在基遍一样再次向他显现, 3对他说:“我听了你的祷告和祈求。我已使你建的殿成为圣洁之地,让我的名永在其中,我会一直眷顾这殿。 4如果你像你父亲大卫一样存诚实正直的心事奉我,遵行我的一切吩咐,谨守我的律例和典章, 5我必使你的王位在以色列永远稳固,正如我曾向你父亲大卫应许要使他的王朝永不中断。

6“然而,如果你们及你们的子孙离弃我,不守我的诫命和律例,去供奉、祭拜别的神明, 7我必把以色列人从我赐给他们的土地上铲除,并离弃我为自己的名而使之圣洁的这殿,使以色列人在万民中成为笑柄,被人嘲讽。 8这殿虽然宏伟,但将来经过的人必惊讶,讥笑说,‘耶和华为什么这样对待这地方和这殿呢?’ 9人们会回答,‘因为他们背弃曾领他们祖先离开埃及的耶和华——他们的上帝,去追随、祭拜、供奉别的神明,所以耶和华把这一切灾祸降在他们身上。’”

所罗门的事迹

10所罗门用二十年的时间兴建了耶和华的殿和自己的王宫。 11泰尔希兰供应了所罗门所需要的一切香柏木、松木和黄金,所罗门王就把加利利一带的二十座城送给他。 12希兰泰尔去视察这些城,然后满心不悦地对所罗门说: 13“兄弟啊,你送给我的是什么城邑呀?”因此,他称这个地区为迦步勒9:13 迦步勒”希伯来文的意思为“没有价值”。,沿用至今。 14希兰供应了所罗门王约四吨金子。

15所罗门征召劳役兴建耶和华的殿、自己的王宫、米罗堡和耶路撒冷的城墙以及夏琐米吉多基色16从前埃及王法老攻陷基色,火烧全城,杀了城内的迦南人,把基色赐予女儿,即所罗门之妻作嫁妆。 17所罗门现在重建基色、下伯·和仑18巴拉和境内沙漠地区的达莫19他还建造了所有的储货城、屯车城、养马城和计划在耶路撒冷黎巴嫩及全国兴建的城邑。

20当时国中有亚摩利人、人、比利洗人、希未人和耶布斯人的后裔, 21以色列人没能灭绝这些外族人,所罗门让他们服劳役,至今如此。 22所罗门王没有让以色列人服劳役,而是让他们做战士、官长、统帅、将领、战车长和骑兵长。 23他还任命五百五十名监工负责监管工人。

24法老的女儿从大卫城迁到为她建造的宫殿以后,所罗门动工兴建米罗堡。 25耶和华的殿落成以后,所罗门每年三次在他为耶和华筑的坛上献燔祭、平安祭并在耶和华面前烧香。

26所罗门王在以东境内的红海边、靠近以禄以旬·迦别制造船只。 27希兰派有经验的水手与所罗门的水手一起出海, 28俄斐所罗门王运回了十四吨黄金。

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 9:1-28

Mukama Alabikira Sulemaani

19:1 1Bk 7:1; 2By 8:6Awo Sulemaani bwe yamala okuzimba yeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, n’okuzimba ebyo byonna bye yasiima, 29:2 1Bk 3:5Mukama n’amulabikira omulundi ogwokubiri, nga bwe yamulabikira e Gibyoni. 39:3 a 2Bk 20:5; Zab 10:17 b Ma 11:12; 1Bk 8:29Mukama n’amugamba nti,

“Mpulidde okusaba n’okwegayirira kw’owaddeyo gye ndi; ntukuzizza yeekaalu eno gy’ozimbye, n’erinnya lyange, emirembe gyonna. Amaaso gange n’omutima gwange binaabeeranga omwo.

49:4 a Lub 17:1 b 1Bk 15:5“Naawe bw’onootambuliranga mu maaso gange n’omutima ogw’amazima n’obugolokofu, nga Dawudi kitaawo bwe yakola, era n’okolanga bye nkulagira byonna, n’okwatanga amateeka gange, 59:5 a 1By 22:10 b 2Sa 7:15; 1Bk 2:4nnaanyweza entebe yo ey’obwakabaka mu Isirayiri emirembe gyonna, nga bwe nasuubiza Dawudi kitaawo bwe n’ayogera nti, ‘Tolirema kuba na musajja ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri.’

69:6 2Sa 7:14“Naye ggwe oba batabani bo bwe munanjeemeranga ne mutakwatanga biragiro byange n’amateeka ge mbawadde, ne mutanula okuweereza bakatonda abalala, 79:7 a 2Bk 17:23; 25:21 b Yer 7:14 c Zab 44:14 d Ma 28:37kale ndiggya ku Isirayiri ensi gye mbawadde era ne yeekaalu gye ntukuzizza n’erinnya lyange ndigireka. Olwo Isirayiri erifuuka eky’okunyoomoolwa n’ekyokusekererwa mu mawanga gonna. 89:8 Ma 29:24; Yer 22:8-9Newaakubadde nga yeekaalu eno eyatiikirira kaakano, buli anaayitangawo aneewunyanga n’aŋŋoola ng’agamba nti, ‘Kiki ekireetedde Mukama okukola ekintu bwe kiti ku nsi eno ne ku yeekaalu eno?’ 9Abantu baliddamu nti, ‘Kubanga baava ku Mukama Katonda waabwe, eyaggya bajjajjaabwe mu Misiri, ne basembeza bakatonda abalala, n’okubasinza ne babasinza era n’okubaweereza ne babaweereza. Mukama kyavudde ababonereza mu ngeri eyo.’ ”

Ebintu Ebirala Sulemaani bye Yakola

10Ku nkomerero y’emyaka amakumi abiri, mu kiseera Sulemaani mwe yazimbira ebizimbe byombi, eyeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe olw’obwakabaka, 119:11 2By 8:2Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani. 12Naye Kiramu bwe yava e Ttuulo n’agenda okulambula ebibuga Sulemaani bye yamugabira, ne bitamusanyusa. 139:13 Yos 19:27N’amubuuza nti, “Bino bibuga bya ngeri ki by’ompadde muganda wange?” N’abituuma erinnya Kabuli, era bwe biyitibwa n’okutuusa olunaku lwa leero. 14Kiramu yali aweerezza kabaka ttani nnya eza zaabu.

159:15 a Yos 16:10; 1Bk 5:13 b nny 24; 2Sa 5:9 c Yos 19:36 d Yos 17:11Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri. 16Falaawo, ye kabaka w’e Misiri yali atabadde, n’okuwamba n’awamba Gezeri, n’akireka ng’akikumyeko omuliro, ng’asse Abakanani abaakibeerangamu. Ekifo ekyo n’akigabira muwala we, muka Sulemaani ng’ekirabo ku mbaga yaabwe. 179:17 Yos 16:3; 2By 8:5Awo Sulemaani n’akizimba buggya; n’azimba ne Besukolooni ekya wansi, 189:18 Yos 19:44Baalasi ne Tamali mu ddungu, 199:19 a nny 1 b 1Bk 4:26n’ebibuga eby’amawanika, n’omwakuumirwanga amagaali, n’abeebagala embalaasi ze, ne byonna bye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, ne mu Lebanooni ne mu bitundu byonna bye yafuganga.

20Abantu bonna abaasigalawo ku Bamoli, n’Abakiiti, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi, abataali Bayisirayiri, 219:21 a Lub 9:25-26 b Yos 15:63; 17:12; Bal 1:21, 27, 29 c Ezr 2:55, 58Abayisirayiri be bataayinza kuzikiririza ddala, Sulemaani n’abafuula baddu, n’okutuusa leero. 229:22 Lv 25:39Naye teyafuula Muyisirayiri n’omu muddu, wabula bo baali nga balwanyi be, na bakungu be, na baami be, na baduumizi b’amagaali na beebagazi ba mbalaasi ze. 239:23 1Bk 5:16Era be baali nga abakungu abaavunaanyizibwanga emirimu gye gyonna, era abo bonna abaavunaanyizibwanga emirimu egyo, awamu nga bawera abakungu ebikumi bitaano mu ataano.

249:24 a 1Bk 3:1; 7:8 b 2Sa 5:9; 1Bk 11:27; 2By 32:5Awo muwala wa Falaawo bwe yava mu kibuga kya Dawudi n’agenda mu lubiri Sulemaani lwe yamuzimbira, Sulemaani n’azimba obusenge obuwagika bbugwe.

259:25 Kuv 23:14; 2By 8:12-13, 16Sulemaani yawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emirembe ku kyoto kye yazimbira Mukama, emirundi esatu9:25 Emirundi esatu mu mwaka, z’embaga ssatu enkulu: Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, n’Embaga eya Wiiki, n’Embaga ey’Ensiisira (Kuv 23:14-17; Ma 16:16; 2By 8:13) mu mwaka, ng’ayotereza obubaane mu maaso ga Mukama, ng’atuukiriza obulombolombo bwa yeekaalu.

269:26 a 1Bk 22:48 b Kbl 33:35; Ma 2:8Kabaka Sulemaani yazimba n’ebyombo mu Eziyonigeba9:26 Eziyonigeba Sulemaani bwe yawamba omwalo gw’omu Eziyonigeba, ekyali mu Edomu, kyamusobozesa okusuubuliranga ku Nnyanja Emyufu ne ku Guyanja ogunene ogwa Buyindi okuliraana Erosi mu Edomu, ku lubalama lw’ennyanja Emyufu. 279:27 1Bk 10:11; Ez 27:8Kiramu n’aweereza abasajja be abalunnyanja okukoleranga awamu n’aba Sulemaani. 289:28 1By 29:4Ne baseeyeeya okutuuka mu Ofiri9:28 Ofiri Bangi bagamba Ofiri kyali kibuga ku myalo gya Buwalabu oba ku mwalo gwa Somaliya, oba Buyindi oba Zimbabwe. Tekimanyiddwa bulungi., ne baleeta ttani kkumi na nnya eza zaabu eri Sulemaani.