列王纪上 19 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

列王纪上 19:1-21

以利亚逃亡

1亚哈以利亚做的一切事以及他怎样杀掉所有巴力先知的经过,都告诉了耶洗别2耶洗别就派人去告诉以利亚,说:“明天这个时候,我若不使你像那些人一样丧命,愿神明重重地惩罚我。”

3以利亚很害怕,连忙逃命,来到犹大别示巴。他让仆人留在那里, 4自己在旷野走了一天的路程,来到一棵罗腾树下,坐下来祷告求死,说:“耶和华啊,我受够了,求你取走我的性命吧,我不比我的祖先强。” 5他躺在树下睡着了。有一位天使拍醒他,说:“起来吃东西吧。” 6他睁开眼睛,见头边有用炭火烤好的饼和一瓶水。他吃喝完毕,又躺下来。 7耶和华的天使第二次来拍醒他,说:“起来吃东西吧,你还要走很远的路。” 8以利亚起来吃喝,就有了力气,走了四十昼夜,来到上帝的山——何烈山。

9他进了一个山洞,在里面过夜。耶和华就问他:“以利亚,你在这里做什么?” 10以利亚回答说:“我一向热心事奉万军之上帝耶和华。但以色列人背弃你的约,拆毁你的祭坛,残杀你的先知。现在只剩下我一个人,他们还要杀我。” 11耶和华说:“你出来站在山上,站在我面前。”耶和华从那里经过时,疾风大作,劈山碎石,但耶和华不在风中。疾风过后又有地震,但耶和华不在其中。 12地震之后又有火,但耶和华也不在火中。之后,传来微小的声音。 13以利亚听见后,就用外袍蒙着脸出去站在洞口。那声音问他:“以利亚,你在这里做什么?” 14以利亚回答说:“我一向热心事奉万军之上帝耶和华。但以色列人背弃你的约,拆毁你的祭坛,残杀你的先知。现在只剩下我一个人,他们还要杀我。” 15耶和华吩咐他说:“你原路返回,前往大马士革附近的旷野,到了之后要膏立哈薛亚兰王。 16然后,再膏立宁示的孙子耶户以色列王,还要膏立亚伯·米何拉沙法的儿子以利沙做先知来接替你。 17将来从哈薛刀下逃生的,必被耶户杀死;从耶户刀下逃生的,必被以利沙杀死。 18此外,我在以色列留下七千人,他们未曾跪拜巴力,也未曾亲吻巴力。”

呼召以利沙

19于是,以利亚离开那里,找到沙法的儿子以利沙,他正在耕田。他前面有十二对牛,他正赶着第十二对。以利亚走过以利沙身边时,将自己的外袍搭在他身上。 20以利沙就撇下牛,追上以利亚说:“请你让我先回去与父母亲吻道别,再跟你走吧。”以利亚说:“你回去吧,别忘了我刚才对你做的事。” 21以利沙就回去了。他宰了两头耕牛,用耕具作柴煮肉分给众人,然后去跟随以利亚,服侍他。

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 19:1-21

Eriya Addukira e Kolebu

119:1 1Bk 18:40Awo Akabu n’abuulira Yezeberi byonna Eriya bye yakola, ne bwe yatta bannabbi bonna n’ekitala. 219:2 1Bk 20:10; 2Bk 6:31; Lus 1:17Yezeberi n’atumira Eriya omubaka okumugamba nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, bwe siifuule obulamu bwo okuba ng’obulamu bw’omu ku bo, essaawa nga zino enkya.”

319:3 Lub 31:21Eriya n’atya nnyo, n’adduka okuwonya obulamu bwe. Bwe yatuuka e Beeruseba mu Yuda, n’aleka eyo omuweereza we. 419:4 Kbl 11:15; Yer 20:18; Yon 4:8Naye ye n’atambula olugendo lwa lunaku lumu mu ddungu, n’atuuka awali omwoloola, n’atuula wansi waagwo, n’asaba afe. N’ayogera nti, “Kino kimala, Mukama, kaakano twala obulamu bwange, kubanga sisinga bajjajjange.” 519:5 Lub 28:11N’agalamira wansi w’omwoloola ne yeebaka.

Amangwago malayika n’amukomako, n’amugamba nti, “Golokoka olye.” 6N’agolokoka, laba ng’emitwetwe we waliwo akasumbi k’amazzi n’omugaati omwokye. N’alya n’anywa, n’addamu n’agalamira.

7Malayika wa Mukama n’akomawo omulundi ogwokubiri n’amukomako n’amugamba nti, “Golokoka olye, kubanga olugendo lunene.” 819:8 a Kuv 24:18; 34:28; Ma 9:9-11, 18; Mat 4:2 b Kuv 3:1Awo n’agolokoka n’alya, n’anywa, n’afuna amaanyi, era n’atambula olugendo lwa nnaku amakumi ana emisana n’ekiro, okutuuka e Kolebu, olusozi lwa Katonda.

Mukama Alabikira Eriya

919:9 Kuv 33:22Bwe yatuuka eyo, n’ayingira mu mpuku, n’asula omwo. Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, “Okola ki wano, Eriya?” 1019:10 a Kbl 25:13 b 1Bk 18:4, 22; Bar 11:3*N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye ne nkwatibwa n’obuggya ku lulwe. Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzekka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

1119:11 a Kuv 24:12 b Ez 1:4; 37:7Mukama n’amugamba nti, “Ffuluma, oyimirire ku lusozi mu maaso ga Mukama, kubanga Mukama ali kumpi kuyitawo.”

Kale laba, embuyaga nnyingi ey’amaanyi n’emenya ensozi n’eyasa n’enjazi mu maaso ga Eriya, naye Mukama nga taliimu. Oluvannyuma lw’embuyaga, musisi ow’amaanyi n’ayita naye era Mukama nga taliimu. 1219:12 Yob 4:16; Zek 4:6Oluvannyuma lwa musisi ne wajja omuliro, naye era Mukama teyaliimu mu muliro. Oluvannyuma lw’omuliro, ne wajja eddoboozi ttono nga lya ggonjebwa. 1319:13 nny 9; Kuv 3:6Eriya bwe yaliwulira, n’abikka19:13 Eriya yabikka amaaso ge kubanga tewaali muntu eyatunuuliranga Katonda n’aba mulamu. amaaso ge n’omunagiro gwe n’afuluma n’ayimirira ku mulyango gw’empuku.

Awo Mukama n’amugamba nti, “Okola ki wano Eriya?”

1419:14 nny 10N’addamu nti, “Nyiikidde nnyo okuweereza Mukama Katonda ow’Eggye, naye Abayisirayiri balese endagaano yo, bamenyeemenye ebyoto byo, era ne batta ne bannabbi bo n’ekitala. Nze nsigaddewo nzeka, ne kaakano bannoonya okunzita.”

1519:15 2Bk 8:7-15Mukama n’amugamba nti, “Ddirayo mu kkubo lye wajjiddemu ogende mu ddungu lya Ddamasiko. Bw’onootuuka eyo ofuke amafuta ku Kazayeeri okuba kabaka w’e Busuuli, 1619:16 a 2Bk 9:1-3, 6 b nny 21; 2Bk 2:9, 15ne ku Yeeku mutabani wa Nimusi okuba kabaka wa Isirayiri, ate era ofuke n’amafuta ku Erisa mutabani wa Safati ow’e Aberumekola okudda mu kifo kyo. 1719:17 2Bk 8:12, 29; 9:14; 13:3, 7, 22Era Yeeku anatta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Kazayeeri, ate Erisa ye n’atta oyo yenna anadduka okuwona ekitala kya Yeeku. 1819:18 a Bar 11:4* b Kos 13:2Wabula nesigaliza akasanvu mu Isirayiri, abatavuunamiranga Baali wadde okumunywegera.”

Okuyitibwa kwa Erisa

1919:19 2Bk 2:8, 14Awo Eriya n’ava eyo n’asisinkana Erisa mutabani wa Safati ng’alima n’emigogo gy’ente kkumi n’ebiri, ye ng’alimisa ogw’ekkumi n’ebiri. Eriya n’agenda gy’ali n’amusuulako omunagiro gwe. 2019:20 Mat 8:21-22; Luk 9:61Erisa n’aleka ente ze, n’adduka ng’agoberera Eriya. N’amugamba nti, “Ka nsibule kitange ne mmange, ndyoke ŋŋende naawe.”

Eriya n’amugamba nti, “Ddayo, nkukoze ki?”

2119:21 a 2Sa 24:22 b nny 16Awo Erisa n’amulekako akabanga, n’addayo, n’agenda n’asala omugogo gw’ente, ennyama n’agifumbisa ebiti by’enkumbi, n’agabira abantu ne balya. Awo n’agolokoka n’agoberera Eriya era n’amuweerezanga.