出埃及记 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 6:1-30

上帝应许拯救以色列人

1耶和华对摩西说:“你就要看见我怎样用大能的手对付法老,那时他会让以色列人走,甚至把他们赶出埃及!” 2上帝又对摩西说:“我是耶和华, 3我曾以全能上帝的身份向亚伯拉罕以撒雅各显现,但没有让他们知道我的名字是耶和华。 4我向他们坚守所立的约,要把他们寄居的迦南赐给他们。 5我已听见以色列人因受埃及人的奴役而发出的呼求,也想起了我的约。 6所以,你要转告以色列人说,‘我是耶和华。我要伸出臂膀重重地惩罚埃及,救赎你们脱离埃及人的辖制,脱离他们的奴役。 7我要接纳你们做我的子民,我要做你们的上帝。这样,你们就知道我是你们的上帝耶和华,曾救你们脱离埃及人的辖制。 8我必带领你们进入我举手起誓要给亚伯拉罕以撒雅各的那片土地,把它赐给你们作产业。我是耶和华。’”

9摩西把这番话转告百姓,可是他们因为残酷的劳役无比沮丧,不肯听他的话。 10耶和华对摩西说: 11“你再去见法老,要他让以色列人离开他的土地。” 12摩西却说:“以色列人都不听我的话,法老又怎么肯听我这拙口笨舌的人呢?” 13耶和华吩咐摩西亚伦回到以色列人和法老那里,要他们领以色列人离开埃及

摩西和亚伦的族谱

14以下是以色列各宗族族长的名字:

以色列长子吕便的儿子是哈诺法路希斯仑迦米。这些是吕便的宗族。

15西缅的儿子是耶姆利雅悯阿辖雅斤琐辖扫罗扫罗的母亲是迦南人。这些是西缅的各宗族。

16利未的儿子依次是革顺哥辖米拉利利未享年一百三十七岁。 17革顺的儿子是立尼示每,二人各成宗族。 18哥辖的儿子是暗兰以斯哈希伯仑乌薛哥辖享年一百三十三岁。 19米拉利的儿子是抹利姆示。这些是利未的各宗族。 20暗兰娶了他父亲的妹妹约基别,生了亚伦摩西暗兰享年一百三十七岁。 21哥辖另一个儿子以斯哈生了可拉尼斐细基利22乌薛的儿子是米沙利以利撒反西提利23亚伦亚米拿达的女儿、拿顺的妹妹以利沙巴结婚,生了拿答亚比户以利亚撒以他玛24可拉的儿子是亚惜以利加拿亚比亚撒,这些是可拉的各宗族。 25亚伦的儿子以利亚撒普铁的一个女儿结婚,生了非尼哈。以上是利未各宗族的族长。

26正是亚伦摩西受耶和华之命,要按以色列人的宗族支派把他们带出埃及27也是这二人要求埃及王法老让他们把以色列人带出埃及28那时,耶和华曾经在埃及摩西说: 29“我是耶和华,你要把我吩咐你的一切话告诉埃及法老。” 30摩西却对耶和华说:“你看,我拙口笨舌,法老怎肯听我的话?”

Luganda Contemporary Bible

Okuva 6:1-30

16:1 a Kuv 3:19 b Kuv 3:20 c Kuv 12:31, 33, 39Awo Mukama n’addamu Musa nti, “Kaakano ojja kulaba kye nnaakola Falaawo. Kubanga alibaleka ne bagenda olw’amaanyi, era olw’amaanyi alibagoba mu nsi ye.”

2Katonda n’agamba Musa nti, “Nze Mukama. 36:3 a Lub 17:1 b Zab 68:4; 83:18; Is 52:6 c Kuv 3:14Nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nga Katonda Ayinzabyonna; kyokka saabategeeza linnya lyange nti Nze Mukama. 46:4 a Lub 15:18 b Lub 28:4, 13Era nabasuubiza mu ndagaano yange okubawa ensi ya Kanani, gye baabeerangamu ng’abagwira abatambuze. 56:5 Kuv 2:23Kaakano mpulidde okusinda kw’abaana ba Isirayiri abatuntuzibwa Abamisiri mu buddu, ne nzijukira endagaano yange.

66:6 a Ma 7:8; 1By 17:21 b Ma 26:8“Noolwekyo tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Nze Mukama. Ndibatikkulako emigugu gy’Abamisiri, era ndibawonya obuddu, ne mbanunula n’omukono gwange ogw’amaanyi nga nsalira Abamisiri omusango. 76:7 a Ma 4:20; 2Sa 7:24 b Kuv 16:12; Is 41:20Ndibafuula abantu bange, era nnaabeeranga Katonda wammwe, era mulitegeera nga nze Mukama Katonda wammwe abawonyezza ebizibu by’Abamisiri. 86:8 a Lub 15:18; 26:3 b Lub 14:22 c Zab 136:21-22Ndibaleeta mu nsi gye nalayira okuwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigibawa n’efuuka yammwe. Nze Mukama.’ ”

9Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri ebigambo ebyo. Naye tebaamuwuliriza, kubanga emitima gyali gibennyise, nga n’okutuntuzibwa kubayitiridde.

10Awo Mukama n’agamba Musa nti, 11“Genda otegeeze Falaawo kabaka w’e Misiri aleke abaana ba Isirayiri bave mu nsi ye.”

126:12 nny 30; Kuv 4:10; Yer 1:6Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Laba, abaana ba Isirayiri bagaanyi okumpuliriza, kale Falaawo anampuliriza atya nze atayogera bulungi?” 13Naye Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni, n’abalagira bategeeze abaana ba Isirayiri ne Falaawo nti, Mukama abalagidde okuggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri.

Obuzaale bwa Musa ne Alooni

146:14 Lub 46:9Gano ge mannya aga bajjajjaabwe ab’omu bika byabwe:

Batabani ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye, be bano:

Kanoki ne Palu, Kezulooni ne Kalumi.

156:15 Lub 46:10; 1By 4:24Batabani ba Simyoni:

Yamweri ne Yamini, ne Okadi, Yakini ne Zokali, Sawuli (omwana w’omukyala Omukanani).

Abo be b’omu mu bika bya Simyoni.

166:16 a Lub 46:11 b Kbl 3:17Gano ge mannya ga batabani ba Leevi ng’emirembe bwe giri:

Gerusoni ne Kokasi ne Merali.

Leevi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

176:17 1By 6:17Batabani ba Gerusoni be bano mu bika byabwe:

Libuni ne Simeeyi.

186:18 1By 6:2, 18Bano be batabani ba Kokasi:

Amulaani ne Izukali, Kebbulooni ne Wuziyeeri.

Kokasi yawangaala emyaka kikumi mu asatu mu esatu.

196:19 Kbl 3:20, 33; 1By 6:19; 23:21Bano be batabani ba Merali:

Makuli ne Musi.

Abo be b’omu bika bya Leevi ng’emirembe gyabwe bwe gyali.

206:20 Kuv 2:1-2; Kbl 26:59Amulaamu n’awasa senga we Yokebedi; n’amuzaalira: Alooni ne Musa.

Amulaamu n’awangaala emyaka kikumi mu asatu mu musanvu.

216:21 1By 6:38Bano be baana ba Izukali:

Koola ne Nefega ne Zikiri.

226:22 Lv 10:4; Kbl 3:30Abaana ba Wuziyeeri be bano:

Misayeri ne Erizafani ne Sisiri.

236:23 a Lus 4:19, 20 b Lv 10:1 c Kbl 3:2, 32 d Kbl 26:60Alooni n’awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu era nga ye mwannyina wa Nakayisoni. Yamuzaalira abaana bano: Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali.

246:24 Kbl 26:11Bano be baana ba Koola:

Asira ne Erukaana, ne Abiyasaafu.

Abo be b’omu kika kya Abakoola.

256:25 Kbl 25:7, 11; Yos 24:33; Zab 106:30Eriyazaali, mutabani wa Alooni, yawasa omu ku bawala ba Putiyeeri, n’amuzaalira Finekaasi.

Ago ge mannya g’abakulu b’ebika by’Abaleevi, n’ennyumba zaabwe mu bika ebyo.

266:26 Kuv 7:4; 12:17, 41, 51Abo ye Alooni ne Musa Mukama be yalagira nti, “Muggyeeyo abaana ba Isirayiri bonna mu nsi y’e Misiri.” 27Be bo abaayogera ne Falaawo, kabaka w’e Misiri, ku by’okuggyayo abaana ba Isirayiri mu Misiri. Ye Musa oyo, ne Alooni oyo.

28Ku lunaku olwo Mukama kwe yayogerera ne Musa mu nsi y’e Misiri, 296:29 nny 11; Kuv 7:2Mukama yagamba Musa nti, “Nze Mukama. Tegeeza Falaawo, kabaka w’e Misiri, buli kimu kyonna kye nkugamba.” 306:30 nny 12; Kuv 4:10Naye Musa n’addamu Mukama nti, “Nze atamanyi kwogera bulungi, Falaawo anampuliriza atya?”