出埃及记 25 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 25:1-40

奉献的条例

1耶和华对摩西说: 2“你去告诉以色列百姓要献礼物给我。你们要为我收下所有甘愿献上的礼物。 3你们要收的礼物是金,银,铜, 4细麻线,山羊毛,蓝色、紫色和朱红色的线, 5染成红色的公羊皮,海狗皮,皂荚木, 6灯油,制作膏油和香的香料, 7用来镶嵌在以弗得和胸牌上的红玛瑙及其他宝石。 8要为我造一座圣所,我好住在他们中间。 9你们要照我的指示去造圣幕和里面各样的器具。

造约柜的条例

10“要用皂荚木做一个柜,长一点一米,宽六十六厘米,高六十六厘米, 11里外都要包上纯金,要用金子镶柜边。 12再造四个金环,安在柜的四个脚上,每边两个环。 13用皂荚木造两根横杠,外面要包上金, 14然后把横杠穿过柜旁的金环,便于抬柜。 15横杠穿进环以后,不可再抽出来。 16把我将要赐给你的两块约版放在柜里。 17要用纯金造一个施恩25:17 施恩”或译“赎罪”。座,长一点一米,宽六十六厘米。 18用纯金在施恩座的两端打造两个基路伯天使, 19跟施恩座连在一起,一端一个。 20两个基路伯天使要面对面朝向施恩座,向上展开翅膀,遮盖施恩座。 21要把施恩座放在柜上面,把我赐给你的约版放在柜里。 22我就在那里跟你会面,从两个基路伯天使中间的施恩座上,把要传给以色列百姓的一切诫命告诉你。

造供桌的条例

23“要用皂荚木造一张桌子,长八十八厘米,宽四十四厘米,高六十六厘米。 24整张桌子都要包上纯金,四周镶上金边, 25在桌子四周造一个八厘米宽的外框,上面也镶上金边。 26要造四个金环,安在桌子四角的桌腿上, 27金环要靠近外框,以便穿横杠抬桌子。 28两根横杠要用皂荚木制作,外面包金,用来抬桌子。 29你们要用纯金造桌子上的盘、碟和献酒用的杯和瓶。 30桌子上要一直摆着供饼,献在我面前。

造灯台的条例

31“要用纯金造一个灯台,灯台的灯座、灯柱、油杯、花瓣和花苞要用一块纯金打造。 32灯台的两边要各伸出三个分枝,共六个分枝。 33每个分枝要伸出三个杏花形状、有花瓣和花苞的杯,六个分枝都是这样。 34灯台上要有四个杏花形状、有花瓣和花苞的杯。 35灯台上每一对分枝的相连处要有花苞,三对都是这样。 36整座灯台,包括一切装饰,都要用一块纯金打造。 37此外,要为灯台造七个灯盏,放在灯台上面,照亮前面的地方。 38灯台用的灯剪和灯花盘都要用纯金造。 39造整座灯台和灯台的器具要用三十四公斤纯金。 40你务要照着在山上指示你的样式造这些器具。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 25:1-40

Ebiweebwayo mu Weema Entukuvu

1Mukama n’ayogera ne Musa nti, 225:2 Kuv 35:21; 2Ko 8:11-12; 9:7“Gamba abaana ba Isirayiri bandeetere ekiweebwayo. Buli muntu aleete ekiweebwayo ng’okuteesa kw’omutima gwe bwe kuli, okimunzijireko.

3“Bino bye biweebwayo bye banaakukwasa:

“zaabu, ne ffeeza, n’ekikomo;

4n’olugoye olwa bbululu, n’olwa kakobe, n’olumyufu, n’olugoye olwa linena erangiddwa mu wuzi ennungi;

n’obwoya bw’embuzi,

5n’amaliba g’endiga ennume amakunye amannyike mu langi emyufu, n’ekika ky’eddiba ekirala ekiwangaazi;

n’embaawo z’omuti gwa akasiya;

625:6 Kuv 27:20; 30:22-32n’amafuta g’ettaala;

n’ebyakaloosa eby’okukozesa mu mafuta ag’okwawula, ne mu bubaane obw’okunyookeza;

725:7 a Kuv 28:4, 6-14 b Kuv 28:15-30n’amayinja aga onuku n’amayinja amalala ag’omuwendo, ag’okutona ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, era ne ku kyomukifuba.

825:8 a Kuv 36:1-5; Beb 9:1-2 b Kuv 29:45; 1Bk 6:13; 2Ko 6:16; Kub 21:3“Bankolere ekifo ekitukuvu ndyoke mbeerenga wakati mu bo. 925:9 nny 40; Bik 7:44; Beb 8:5Mukole Eweema ya Mukama eyo entukuvu n’ebigibeeramu byonna nga bwe nnaabalagirira.

Essanduuko

1025:10 Ma 10:1-5“Bakole essanduuko mu muti gwa akasiya, obuwanvu mita emu ne sentimita kkumi na ssatu, obugazi sentimita nkaaga mu musanvu n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 11Ogiteekeko zaabu omuka ennyo munda ne kungulu, era ogyetoolooze omuge ogwa zaabu. 12Ogiweeseze empeta nnya eza zaabu ozisibe ku magulu gaayo ana, ng’empeta ebbiri ziri ku ludda olumu, n’endala ebbiri ku ludda lwayo olulala. 13Obajje emisituliro mu muti ogwa akasiya, ogibikkeko zaabu. 14Ogisonseke mu mpeta eziri ku ssanduuko, okusituzanga essanduuko. 1525:15 1Bk 8:8Emisituliro egyo ginaalekebwanga mu mpeta ze ssanduuko, si zaakuggyangamu. 1625:16 Ma 31:26; Beb 9:4Mu ssanduuko omwo mw’onossa Amateeka ge nnaakuwa.

1725:17 Bar 3:25“Okolereko ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, nga kya zaabu omuka ennyo; obuwanvu bwakyo sentimita nkaaga mu musanvu, n’obugazi sentimita nkaaga mu musanvu. 18Era okolereko ebifaananyi bya bakerubi babiri mu zaabu empeese, ku njuyi ebbiri ez’ekisaanikira. 19Oteeke ekifaananyi kya kerubi omu ku ludda lumu olw’ekisaanikira, n’ekifaananyi kya kerubi omulala ku ludda olwokubiri, nga ebifaananyi bya bakerubi byombi byekutte wamu n’ekisaanikira. 2025:20 1Bk 8:7; 1By 28:18; Beb 9:5Ebiwaawaatiro bya bakerubi bibe bibikkule nga bisonze waggulu, era nga bisiikiriza ekisaanikira. Bakerubi batunulagane nga boolekedde ekisaanikira. 2125:21 a Kuv 26:34 b nny 16Ekisaanikira onookissa kungulu ku Ssanduuko; ekiwandiiko eky’Endagaano ey’Amateeka kye nnaakuwa, okisse munda mu Ssanduuko. 2225:22 a Kbl 7:89; 1Sa 4:4; 2Sa 6:2; 2Bk 19:15; Zab 80:1; Is 37:16 b Kuv 29:42-43Awo waggulu w’ekisaanikira, mu bakerubi bombi abali ku Ssanduuko ey’Endagaano, we nzija okukusisinkana ndyoke nkuwe ebiragiro byange byonna bye nkoledde abaana ba Isirayiri.

Emmeeza

2325:23 Beb 9:2“Okole emmeeza mu muti gwa akasiya, obuwanvu bwayo sentimita kyenda, obugazi sentimita amakumi ana mu ttaano, n’obugulumivu sentimita nkaaga mu musanvu. 24Ogibikkeko zaabu omuka ennyo; era ogyetoolooze ne zaabu omuge gwonna. 25Era ogyetoolooze olukugiro oluweza sentimita musanvu ne desimoolo ttaano obugazi, n’omuge ogwa zaabu okwetooloola olukugiro olwo. 26Ogikolere empeta nnya eza zaabu, ozisibe mu nsonda ennya awali amagulu ana. 27Empeta zijja kubeera waggulu okumpi n’omuge, emisituliro gy’emmeeza mwe ginaayisibwa. 28Okole emisituliro mu muti gwa akasiya, ogibikkeko zaabu, egyo emmeeza kw’eneesitulirwanga. 2925:29 Kbl 4:7Era ogikolere essowaani eza zaabu, n’ebijiiko ebya zaabu, n’ensuwa eza zaabu, n’ebibya ebya zaabu eby’okufukanga ebiweebwayo. 3025:30 Lv 24:5-9Era ku mmeeza eno onossaako Emigaati egy’Okulaga, egy’okubeeranga mu maaso gange bulijjo.

Ekikondo ky’Ettaala

3125:31 1Bk 7:49; Zek 4:2; Beb 9:2; Kub 1:12“Okole ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Ekikondo kyonna na bino ebikiriko: entobo yaakyo n’enduli, ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako, byonna byakuweesebwa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 32Kunaabako amatabi mukaaga omutuula emisubbaawa: amatabi asatu nga gali ku ludda lumu, n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 33Ku matabi gonna omukaaga agava ku kikondo ky’ettaala, kubeeko ku buli ttabi, ebikopo bisatu ebikole ng’ebimuli by’alumondi; mu buli kikopo nga mulimu omutunsi n’ekimuli. 34Ku kikondo ky’ettaala kyennnyini kubeeko ebikopo bina ebifaanana ebimuli by’alumondi nga mulimu emitunsi n’ebimuli. 35Omutunsi gumu gujja kuba wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo, n’omutunsi ogwokubiri gubeere wansi w’amatabi abiri amalala, n’omutunsi ogwokusatu gubeere wansi w’amatabi abiri amalala; amatabi gonna omukaaga ne gaggwaayo. 36Emitunsi n’amatabi biweesebwe mu kyuma kya zaabu omwereere, nga kiri bulambalamba n’ekikondo ky’ettaala.

3725:37 Kuv 27:21; Lv 24:3-4; Kbl 8:2“Era ekikondo kikolere ettaala musanvu; ettaala zino nga zaakira mu maaso gaakyo. 38Makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, byonna bikolebwe mu zaabu mwereere. 39Ojja kwetaaga zaabu omwereere aweza obuzito bwa kilo asatu mu nnya, okukola ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako. 4025:40 Kuv 26:30; Kbl 8:4; Bik 7:44; Beb 8:5*Weegendereze, byonna obikole ng’ogoberera ekifaananyi kye nkulaze wano ku lusozi.”