出埃及记 18 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 18:1-27

叶忒罗看望摩西

1摩西的岳父——米甸的祭司叶忒罗,听说上帝为摩西和祂的子民以色列人所做的一切事——如何带领他们离开埃及2就带着女儿西坡拉和两个外孙去见摩西西坡拉摩西的妻子,摩西曾让她回娘家暂时居住。 3摩西的两个儿子一个叫革舜,因为摩西说:“我成了在异乡寄居的人”; 4一个叫以利以谢,因为摩西说:“我父亲的上帝帮助我,从法老的刀下拯救了我。” 5摩西的岳父叶忒罗带着摩西的妻子和两个儿子来到上帝的山,就是摩西在旷野安营的地方。 6叶忒罗事先差人把他带着摩西的妻子和两个儿子要来的消息通知摩西7摩西出去迎接岳父,向他下拜,与他亲吻,彼此问安,然后大家都进了帐篷。 8摩西把耶和华为拯救以色列人而向法老和埃及人所行的事,以及怎样救百姓脱离路上遇见的种种困难,都告诉了叶忒罗9叶忒罗为耶和华恩待以色列人、把他们救出埃及而高兴, 10便说:“耶和华当受称颂,因为祂从埃及人和法老手中拯救了你们,把这百姓从埃及人手中拯救了出来。 11我现在知道,耶和华比一切神明都伟大,因为祂惩治了虐待这些百姓的狂妄之徒。”

12摩西的岳父叶忒罗说完,便向上帝献燔祭及其他祭物。亚伦以色列的长老都来与他一起在上帝面前吃饭。

13第二天,摩西坐着审理百姓的纠纷,百姓从早到晚都站在摩西周围。 14摩西的岳父叶忒罗看见摩西对百姓所行的一切,就对摩西说:“你为什么这样处理百姓的事?为什么你独自坐着,众百姓从早到晚都站在你周围?” 15摩西对岳父说:“他们是来求问上帝的, 16我亲自审理他们中间的是非,教他们认识上帝的律例和法度。” 17摩西的岳父叶忒罗摩西说:“这不是好方法, 18你和这些百姓都会疲惫不堪,你一个人无法担当如此繁重的工作。 19你要听我的劝告,愿上帝与你同在。你要做百姓的代表,把案件奏明上帝, 20又要教导他们律例和法度,指示他们当行的道、当做的事。 21此外,要在百姓当中挑选一些敬畏上帝、有才干、诚实、正直、憎恶不义之财的人,派他们做千夫长、百夫长、五十夫长和十夫长,管理百姓。 22让他们随时为百姓判案,处理小纠纷,遇到大事才由你审理。有他们分担你的责任,你会更轻省。 23如果你这样做,并且上帝也这样吩咐你,你就能承受得住,百姓也可以平安地回家。”

24于是,摩西接纳了岳父的建议,依言而行, 25从百姓中挑选有才干的人,委派他们做千夫长、百夫长、五十夫长和十夫长管理百姓。 26他们负责随时审理百姓的事,遇到难断的案件就呈到摩西那里,自己则审理普通的事。 27之后,摩西送岳父上路,他就返回了家乡。

Luganda Contemporary Bible

Okuva 18:1-27

Yesero Akyalira Musa

118:1 Kuv 2:16; 3:1Yesero, kabona w’e Midiyaani, era kitaawe wa mukyala wa Musa, n’awulira byonna Katonda bye yakolera Musa n’abantu be, Abayisirayiri; era nga Mukama yaggya Isirayiri mu Misiri. 218:2 Kuv 2:21; 4:25Ye yalabiriranga Zipola, mukyala wa Musa; kubanga Musa yali amuzzizza ewaabwe ng’amumulekedde, 318:3 a Kuv 4:20; Bik 7:29 b Kuv 2:22ne batabani be babiri. Mutabani we omu yamutuuma Gerusomu, kubanga Musa yagamba nti, “Mbadde mugwira mu nsi etali yange;” 418:4 1By 23:15n’erinnya ly’omulala lyali Eryeza, kubanga yagamba nti, “Katonda wa kitange ye yali omubeezi wange, era n’amponya ekitala kya Falaawo.”

518:5 Kuv 3:1Yesero, mukoddomi wa Musa, n’ajja ne batabani ba Musa ne mukyala we eri Musa mu ddungu, we yali asiisidde okuliraana olusozi lwa Katonda. 6Yesero yali amutumidde nti, “Nze Yesero mukoddomi wo, nzija okukulabako. Ndi ne mukyala wo ne batabani be bombi.” 718:7 a Lub 43:28 b Lub 29:13Awo Musa n’afuluma n’agenda okwaniriza mukoddomi we; n’akutamako ng’amulamusa, n’amugwa mu kifuba. Ne balamusaganya, n’oluvannyuma ne bayingira mu weema. 818:8 Kuv 15:6, 16; Zab 81:7Musa n’anyumiza mukoddomi we ebyo byonna Mukama bye yakola Falaawo n’Abamisiri ng’abalanga Isirayiri; n’ebizibu ebyabatuukako mu lugendo lwabe, ne Mukama nga bwe yabibawonya.

9Yesero n’asanyuka nnyo okuwulira ebirungi ebyo byonna Mukama bye yakolera Isirayiri, ng’abanunula ku Bamisiri. 1018:10 Lub 14:20; Zab 68:19-20Yesero n’agamba nti, “Mukama atenderezebwe eyabanunula mu mikono gy’Abamisiri ne mu mukono gwa Falaawo, n’aggya abantu be mu mikono gy’Abamisiri. 1118:11 a Kuv 12:12; 15:11; 2By 2:5 b Luk 1:51Kaakano ntegedde nga Mukama mukulu wa kitiibwa okukira bakatonda bonna, kubanga yanunula abantu be mu mikono gyabo abaali babeeragirako.” 1218:12 Ma 12:7Awo Yesero, mukoddomi wa Musa, n’awaayo eri Katonda ekiweebwayo ekyokye ne ssaddaaka endala; Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri bonna ne balya ne mukoddomi wa Musa emmere mu maaso ga Katonda.

Okulonda Abalamuzi

13Awo bwe bwakya enkya, Musa n’atuula ku ntebe ye okulamula abantu. Abantu ne bamwetooloola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 14Mukoddomi we bwe yalaba Musa bye yali akolera abantu, n’amugamba nti, “Kiki kino ky’okola? Lwaki olamula bw’omu, abantu bano bonna ne bayimirira okukwetooloola okuva ku nkya okutuusa akawungeezi?” 1518:15 Kbl 9:6, 8; Ma 17:8-13Musa n’addamu mukoddomi we nti, “Kubanga abantu bajja gye ndi bategeere Katonda by’ayagala. 1618:16 Lv 24:12Buli lwe babeera n’obutakkiriziganya, bajja gye ndi, ne mbasalirawo, era ne mbategeeza amateeka ga Katonda n’ebiragiro bye.”

17Mukoddomi wa Musa n’amugamba nti, “Ky’okola si kirungi. 1818:18 Kbl 11:11, 14, 17Ggwe, n’abantu bano bonna abajja gy’oli, mujja kukoowa nnyo. Kubanga omulimu guno munene nnyo; tosobola kugukola bw’omu. 1918:19 a Kuv 3:12 b Kbl 27:5Nkusaba ompulirize nkusalire ku magezi, ne Katonda ng’ali naawe. Osaana obeere omubaka w’abantu ewa Katonda, era omutuusengako ensonga zaabwe. 2018:20 a Ma 5:1 b Zab 143:8 c Ma 1:18Bayigirize amateeka n’ebiragiro, era obalage nga bwe basaana okweyisanga, awamu n’emirimu gye basaanidde okukola. 2118:21 a Bik 6:3 b Ma 16:19; Zab 15:5; Ez 18:8 c Ma 1:13, 15; 2By 19:5-10Londayo abasajja abalina ebisaanyizo, ng’obaggya mu bantu bonna, abasajja abatya Katonda, ab’amazima era abatalya nguzi; obawe obukulembeze, ng’abamu bavunaanyizibwa abantu enkumi, n’abalala abantu ebikumi, n’abamu ebibiina eby’ataano n’abalala eby’ekkumi kkumi. 2218:22 a Ma 1:17-18 b Kbl 11:17Bawe obuyinza okulamulanga abantu ebbanga lyonna, naye ng’emisango emizibu bagikuleetera, emisango emyangu bo bagisalenga. Ekyo kinaawewulanga ku buzito bw’omugugu gwo, kubanga banaabanga bagukukwatirako. 23Singa okola bw’otyo, nga ne Katonda bw’akulagidde, ojja kusobola okugumira emirimu egyo, era n’abantu bano bonna balyoke baddeyo ewaabwe nga basanyuse.”

24Musa bw’atyo n’awuliriza amagezi gonna mukoddomi we ge yamuwa, n’akolera ku ebyo byonna bye yamubuulirira. 2518:25 Ma 1:13-15Musa n’alonda mu Isirayiri yonna abasajja abasobola, n’abafuula abakulembeze b’abantu; nga bavunaanyizibwa enkumi, n’abalala ebikumi, n’abamu amakumi ataano ataano, n’abalala kkumi kkumi. 2618:26 nny 22Ne balamula abantu ebbanga lyonna. Emisango emizibu nga bagireetera Musa, naye emyangu nga bagisala.

2718:27 Kbl 10:29-30Awo Musa n’asiibula mukoddomi we, mukoddomi we n’akwata ekkubo ne yeddirayo mu nsi y’ewaabwe.