出埃及记 12 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 12:1-51

逾越节

1耶和华在埃及摩西亚伦说: 2“从现在开始,你们要以这个月为一月,为一年之首。 3你要向以色列全体会众宣布,本月的第十日,每家都要预备一只羊羔,一家一只。 4倘若家人太少,吃不了一只,可以跟最近的邻居共享一只,你们要按人数和各人的食量预备羊羔。 5羊羔必须是毫无残疾、一岁的公绵羊或公山羊。 6全体会众要把羊留到本月十四日,在黄昏时分宰杀, 7然后取点血涂在房子的门框和门楣上,全家要在房子里吃羊肉。 8当晚,你们要用火把羊肉烤熟,与无酵饼和苦菜一起吃。 9不可吃生羊肉,也不可煮着吃,要把整只羊,连头带腿和内脏一并烤着吃。 10不可把肉留到早晨,留到早晨的肉要烧掉。 11你们吃的时候,要束腰、穿鞋、手中拿杖,要赶快吃,这是耶和华的逾越节。

12“因为那一夜我要巡遍埃及,把境内所有长子和头生的牲畜全都杀掉,也要严惩埃及所有的神明。我是耶和华。 13涂在你们房屋上的血是一个记号,我见到这血就会越过你们。我击打埃及的时候,那灾祸不会落到你们身上。 14你们要记住这一天,守为耶和华的节期,作为世世代代永远的定例。

除酵节

15“七天之内你们都要吃无酵饼。第一天,要清除家中所有的酵。任何人若在这七天当中吃有酵的饼,要将他从以色列人中铲除。 16在节期的第一天和第七天,你们都要招聚百姓举行圣会。这两天所有人都不得工作,除了预备各人要吃的以外,不可做任何工。 17你们要守这无酵节,因为我在这天把你们大队人马从埃及领了出来。你们要守这节期,作为世世代代永远的定例。 18从一月十四日晚上开始,直到二十一日晚上,你们都要吃无酵饼。 19在这七天内,你们屋里不能有酵。任何人若吃了有酵的东西,不论他是寄居者还是本地人,要将他从以色列会众中铲除。 20无论你们住在哪里都要吃无酵饼,不能吃有酵的食物。”

21于是,摩西召集以色列的众长老,对他们说:“你们家家户户都要挑选羊羔,把这逾越节的羊羔宰了。 22拿一把牛膝草蘸盆里的血,把血涂在门框和门楣上。天亮前,你们不可踏出门外。 23因为耶和华要巡行各地,击杀埃及人,祂看见你们的门框和门楣上有血,就必越过你们的家门,不让灭命者进你们家杀人。 24这是你们世世代代都要遵守的定例。 25你们进入耶和华应许给你们的地方以后,要守这逾越节。 26你们的儿女问你们守这节期的意义时, 27你们就说,‘这是献给耶和华逾越节的祭,因为我们从前在埃及时,祂击杀埃及人,却越过以色列人所住的房子,救了我们各家。’”百姓听了摩西这番话,都低头下拜。 28耶和华怎么吩咐摩西亚伦以色列人就照样遵行。

29到了半夜,耶和华把所有埃及人的长子都杀了,包括坐王位的法老的长子、牢中囚犯的长子和一切头生的牲畜。 30晚上,法老及其臣仆和所有埃及人都惊醒了,到处都是哭号声,因为没有一家不死人的。 31法老连夜召见摩西亚伦,对他们说:“你们和以色列人走吧,离开我的人民。就照你们的要求,去事奉耶和华吧! 32照你们的要求,把所有的牛羊都带走吧!也要为我祝福。” 33埃及人催促以色列人赶快离开埃及,因为他们说:“我们都要死了。” 34于是,以色列百姓就把没有酵的面团放在揉面盆里,用衣服包起来扛在肩上, 35又遵照摩西的吩咐向埃及人索取金器、银器和衣服。 36耶和华使埃及人恩待以色列人,他们要什么,埃及人就给什么。这样,以色列人夺取了埃及人的财富。

37以色列百姓从埃及兰塞启行,前往疏割,妇女孩童不算在内,单是步行的男子就有六十万, 38同行的还有许多外族人和大群的牛羊。 39他们用从埃及带出来的面团烤成无酵饼,面团没有酵,因为他们被催促离开埃及,没有时间准备食物。 40以色列人在埃及共住了四百三十年, 41正好满了四百三十年的那一天,耶和华带领以色列大队人马离开了埃及42那天晚上是耶和华把祂的子民带出埃及之夜,因此以后世世代代的以色列人都要在那日守夜,以尊崇耶和华。

43耶和华对摩西亚伦说:“以下是逾越节的条例。

“所有外族人都不可吃逾越节的羊羔, 44但那些买来的奴隶若接受了割礼,就可以吃。 45寄居的外族人和雇用的工人不可吃。 46你们吃的时候,应当在房子里吃,不得把肉带到外面去,也不可折断羊羔的一根骨头。 47以色列全体会众都要守这节期。 48跟你们住在一起的外族人如果想为耶和华守逾越节,他全家的男子都必须接受割礼,这样才可以像以色列人一样守逾越节,但没有接受割礼的人绝不可吃逾越节的羊羔。 49本地人和在你们中间寄居的外族人都要遵守这规矩。”

50耶和华怎样吩咐摩西亚伦以色列百姓都遵命而行。 51就在那一天,耶和华带领以色列大队人马离开了埃及

Luganda Contemporary Bible

Okuva 12:1-51

Okuyitako

1Awo Mukama n’ayogera ne Musa ne Alooni nga bali mu nsi y’e Misiri, n’abagamba nti, 212:2 Kuv 13:4; Ma 16:1“Okuva leero omwezi12:2 Ekiseera ekyo kiri wakati w’ekitundu ekisembayo eky’omwezi gwa Maaki n’ekitundu ekisooka eky’omwezi gwa Apuli. guno gwe gunaabanga omubereberye mu myezi gyonna mu mwaka gwammwe. 3Mutegeeze abantu bonna aba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno kigwanidde buli mukulu wa nnyumba, addire omwana gw’endiga ogw’okuliibwa mu maka ge, buli maka omwana gw’endiga gumu. 4Singa amaka gabaamu abantu batono nnyo abatamalaawo mwana gwa ndiga, amaka ago geegatte n’ag’omuliraano balye omwana gw’endiga ogwo. Muligeraageranya obungi bw’abantu abamalawo omwana gw’endiga nga musinziira ku ndya ya buli omu mu maka omwo. 512:5 Lv 22:18-21; Beb 9:14Omwana gw’endiga gusaana gube gwa seddume nga gwa mwaka gumu obukulu, era nga teguliiko kamogo. Guyinza okuba omwana gw’endiga oba ogw’embuzi. 612:6 a Lv 23:5; Kbl 9:1-3, 5, 11 b Kuv 16:12; Ma 16:4, 6Ensolo ezo muzirabiriranga okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno; ekibiina kyonna eky’abantu ba Isirayiri ne kiryoka kizitta akawungeezi. 7Baddiranga omusaayi ne bagumansira ku njuyi zombi ne waggulu, ku mwango gw’oluggi lwa buli nnyumba mwe baliriira omwana gw’endiga. 812:8 a Kuv 34:25; Kbl 9:12 b Ma 16:7 c Kbl 9:11 d Ma 16:3-4; 1Ko 5:8Mu kiro ekyo ennyama balyanga njokye ku muliro, era baliirangako n’emigaati egitali mizimbulukuse n’enva ezikaawa. 9Tewabanga ku nnyama eyo gye mulya nga mbisi obanga efumbwa mu mazzi; wabula mugyokyanga ku muliro: omutwe, amagulu n’eby’omunda byonna. 1012:10 Kuv 23:18; 34:25Temugiterekangako kutuusa nkeera; bw’ebalemanga eggulolimu, mugyokyanga bwokya ne mugizikiriza. 1112:11 a Ma 16:3 b nny 13, 21, 27, 43; Ma 16:1Mugiryanga bwe muti: Mwesibanga ekimyu, nga mwambadde n’engatto zammwe12:11 Engatto tezaayambalibwanga waka, era n’enkoba tezaasibwanga. Omuntu bwe yabiteekangako nga kitegeeza nga bw’asuubira okugenda., nga mukutte n’omuggo. Mugiryanga mangu. Kubanga eyo y’Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama.

1212:12 a Kuv 11:4; Am 5:17 b Kbl 33:4 c Kuv 6:2“Kubanga mu kiro ekyo ndiyita mu nsi ya Misiri, nditta buli kibereberye kyonna mu nsi y’e Misiri, abantu era n’ebisolo; era bakatonda bonna ab’omu Misiri ndibasalira omusango. Nze Mukama. 13Omusaayi ke kaliba akabonero akalaga ennyumba mwe muli; era bwe ndiraba omusaayi, nga mbayitako; so n’okuzikirira kwe ndireeta ku Bamisiri mmwe tekulibakwatako.

Okukwata Wiiki y’Okuyitako

1412:14 a Kuv 13:9 b nny 17, 24; Kuv 13:5, 10; 2Bk 23:21“Olunaku luno lunaababeereranga lwa kijjukizo, era munaalukuumanga ne mulukwata nga lwa mbaga ya Mukama mu mirembe gyammwe gyonna egiriddiriŋŋana. Lino lifuuse tteeka ery’emirembe gyonna. 1512:15 a Kuv 13:6-7; 23:15; 34:18; Lv 23:6; Ma 16:3 b Lub 17:14; Kbl 9:13Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse12:15 Okuyitako kyekuva kuyitibwa embaga ey’omugaati ogutali muzimbulukuse. okumala ennaku musanvu; era ku lunaku olusooka, mu nnaku ezo omusanvu, ekizimbulukusa mukiggiranga ddala mu nnyumba zammwe, kubanga alivumbulwa ng’alidde omugaati ogulimu ekizimbulukusa, okuva ku lunaku olusooka okutuusa ku lunaku olw’omusanvu, aligobebwa mu Isirayiri. 16Ku lunaku olusooka wanaabangawo olukuŋŋaana olutukuvu, ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu; ennaku ezo temuzikolerangako mulimu gwa ngeri yonna, okuggyako okufumba emmere abantu bonna gye banaalya, kye kyokka kye mujjanga okukola.

1712:17 nny 41; Kuv 13:3“Mukwatanga Embaga ey’Emigati Egitali mizimbulukuse, kubanga ku lunaku luno lwennyini kwe naggyira ebika bya Isirayiri mu nsi y’e Misiri. Noolwekyo olunaku luno munaalukwatanga n’ab’omu mirembe gyonna egiriddawo. Ekyo kiragiro eky’emirembe n’emirembe. 1812:18 nny 2; Lv 23:5-8; Kbl 28:16-25Mu mwezi ogusooka, munaalyanga omugaati ogutaliimu kizimbulukusa, okuva mu kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi, okutuusa ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu olw’omwezi ogwo. 19Okumala ennaku musanvu mu nnyumba zammwe temulabikangamu ekizimbulukusa; era alivumbulwa ng’alidde ekintu kyonna omuli ekizimbulukusa, agenda kugobwa mu Isirayiri, ne bwaliba omuzaaliranwa oba omugwira. 20Temulyanga kintu kyonna omuli ekizimbulukusa; mu nnyumba zammwe mwe musula yonna, mulyanga emigaati egitali mizimbulukuse.”

Omwana gw’Endiga ogw’Okuyitako Guttibwa

2112:21 nny 11; Mak 14:12-16Awo Musa n’ayita abakulembeze ba Isirayiri bonna, n’abagamba nti, “Mwerondere abaana b’endiga ng’amaka gammwe bwe gali, mutte omwana gw’endiga ogw’Okuyitako. 2212:22 nny 7; Beb 11:28Musibe bulungi akaddo k’akakubansiri, mukannyike mu musaayi gwe mutadde mu bensani, mulyoke mumansire ku mwango gw’oluggi waggulu, ne ku njuyi zombi ez’omwango. Tewabaawo n’omu afuluma ennyumba ye okutuusa ng’obudde bukedde. 2312:23 a Kub 7:3 b nny 13 c 1Ko 10:10; Beb 11:28Kubanga Mukama ajja kuyita awo ng’agenda okutta Abamisiri; kale bw’anaalaba omusaayi ku mwango gw’oluggi waggulu ne ku mwango mu mbiriizi z’oluggi, oluggi olwo Mukama ajja kuluyitako, era tajja kukkiriza oyo azikiriza kuyingira mu nnyumba zammwe n’okubatta.

24“Kibagwanira okugondera ebiragiro bino ng’etteeka, mmwe ne batabani bammwe emirembe gyonna. 25Era bwe muliyingira mu nsi Mukama gy’alibawa nga bwe yasuubiza, temwerabiranga mukolo guno. 2612:26 Kuv 10:2; 13:8, 14-15; Yos 4:6Abaana bammwe bwe balibabuuza nti, ‘Omukolo guno gutegeeza ki?’ 2712:27 a nny 11 b Kuv 4:31Mulibaddamu nti, ‘Kino kye kiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, kubanga yayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, n’awonya amaka gaffe, bwe yatta Abamisiri.’ ” Awo abantu ne bavuunama ne basinza. 28Abaana ba Isirayiri ne bagenda ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola.

Ebibereberye Bittibwa

2912:29 a Kuv 11:4 b Kuv 4:23; Zab 78:51 c Kuv 9:6Awo ekiro mu ttumbi Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri, okuviira ddala ku mubereberye wa Falaawo eyali ow’okumusikira, okutuuka ku mubereberye w’omusibe ali mu kkomera; era n’ente embereberye zonna. 3012:30 Kuv 11:6Falaawo n’azuukuka mu kiro wakati, ye n’abaweereza be bonna, n’Abamisiri bonna; Misiri yonna n’ejjula okukungubaga, kubanga tewaaliwo nnyumba n’emu omutaafa muntu.

3112:31 Kuv 8:8Mu kiro ekyo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni n’abagamba nti, “Musituke! Mutuviire, nze n’abantu bange, mmwe n’abaana ba Isirayiri. Mugende musinze Mukama nga bwe mwansaba. 3212:32 Kuv 10:9, 26Mutwale amagana gammwe n’ebisibo byammwe nga bwe mwansaba, mugende; nange munsabirangayo omukisa!”

3312:33 Zab 105:38Awo Abamisiri ne basindiikiriza abaana ba Isirayiri banguwe okubaviira mu nsi yaabwe; kubanga baagamba nti, “Ffenna tufa tuggwaawo!” 34Abaana ba Isirayiri ne baddira obuwunga bwabwe obw’emigaati obugotte, obutaliimu kizimbulukusa, ne babussa mu bbakuli omufumbirwa emigaati, ne babuzinga mu ngoye zaabwe, ne babutwalira ku bibegabega byabwe. 3512:35 Kuv 3:22Baakola nga Musa bwe yabalagira, ne basaba Abamisiri eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu, awamu n’ebyambalo. 3612:36 Kuv 3:22Mukama yali aleetedde abaana ba Isirayiri okuganja mu Bamisiri, bwe batyo ne baweebwa buli kye baasabanga. Ne baleka nga bakalizza Abamisiri.

Abayisirayiri Basitula Okuva mu Misiri

3712:37 a Kbl 33:3-5 b Kuv 38:26; Kbl 1:46; 11:13, 21Awo abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Lameseesi ne batuuka e Sukkosi. Baali abantu ng’emitwalo nkaaga, ng’abakazi n’abaana tebabaliddwa. 3812:38 Kbl 11:4Waaliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo. Baatwala amagana g’ente mangi, n’ebisibo, bingi nnyo. 3912:39 nny 31-33; Kuv 6:1; 11:1Ne beefumbira emigaati mu buwunga obugotte bwe baggya mu Misiri, naye tegyalimu kizimbulukusa, kubanga baasindiikirizibwa busindiikirizibwa okuva mu Misiri, ne bataba na budde bwa kwefumbira mmere.

4012:40 Lub 15:13; Bik 7:6; Bag 3:17Emyaka abaana ba Isirayiri gye baamala mu Misiri gyawera ebikumi bina mu amakumi asatu. 4112:41 a nny 17; Kuv 6:26 b Kuv 3:10Ku lunaku olwasembayo olwaweza emyaka ebikumi ebina mu asatu, eggye lya Mukama eryo lyonna kwe lyasitulira ne liva mu nsi y’e Misiri. 4212:42 Kuv 13:10; Ma 16:1, 6Mukama yali bulindaala ekiro ky’olunaku olwo, n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi y’e Misiri; noolwekyo abaana ba Isirayiri banajjukiranga Mukama ekiro ky’olunaku olwo emirembe gyabwe gyonna.

Ebiragiro by’Embaga ey’Okuyitako

4312:43 a nny 11 b nny 48; Kbl 9:14Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, “Bino by’ebiragiro by’Okuyitako:

“Omunaggwanga takkirizibwa kugiryako. 4412:44 Lub 17:12-13Omuddu aguliddwa n’ensimbi akkirizibwa okugiryako singa amala okukomolebwa; 4512:45 Lv 22:10naye omugenyi omugwira, n’omupakasi akola awaka, tebakkirizibwa kugiryako.

4612:46 Kbl 9:12; Yk 19:36*“Buli ndiga eneerirwanga mu nnyumba emu; ennyama eyo tekuubengako efulumizibwa bweru wa nju eyo. Temumenyanga ku magumba gaayo n’erimu. 47Abantu bonna aba Isirayiri banaakolanga omukolo guno.

4812:48 Kbl 9:14“Omunaggwanga abeera mu mmwe bw’abanga ayagala okukolera Mukama Katonda omukolo gw’Okuyitako, asaana asooke okukomola abantu be aboobulenzi bonna abali mu maka ge, alyoke asembere gye muli yeegatte mu mukolo ogwo; kubanga olwo anaabanga ng’omuzaaliranwa mu nsi omwo. Naye atali mukomole taagiryengako. 4912:49 Kbl 15:15-16, 29; Bag 3:28Etteeka lye limu lye linaakwatibwanga omuzaaliranwa n’Omunnaggwanga abeera mu mmwe.”

50Bwe batyo abaana ba Isirayiri bonna ne bakola nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa ne Alooni; bwe batyo bonna bwe baakola. 5112:51 nny 41; Kuv 6:26Awo ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’aggya abaana ba Isirayiri mu nsi ey’e Misiri nga bagendera mu bibinja byabwe.