使徒行传 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 3:1-26

彼得医治瘸腿的乞丐

1一天,在下午三点祷告的时间,彼得约翰去圣殿。 2有一个生来瘸腿的人天天被人抬到圣殿美门的外面,向进殿的人乞讨。 3他看见彼得约翰要进殿,就求他们施舍。 4二人定睛看他,彼得说:“看着我们!” 5那人就紧盯着他们,期盼能有所收获。

6彼得说:“金子、银子我都没有,但是我把我有的给你。我奉拿撒勒人耶稣基督的名,命令你起来行走!”

7彼得拉着他的右手扶他起来,那人的脚和踝骨立刻变得强健有力。 8他跳了起来,站稳后开始行走,跟着彼得约翰进入圣殿,走着跳着赞美上帝。 9大家看见他一边走一边赞美上帝, 10认出他就是那个在美门外面的乞丐,都为发生在他身上的事而感到惊奇、诧异。 11那乞丐紧紧拉着彼得约翰的手走到所罗门廊,众人都跑过来,啧啧称奇。

彼得传扬基督

12彼得看见这情形,就对大家说:“以色列人啊,何必惊奇呢?为什么一直盯着我们呢?你们以为我们是凭自己的能力和虔诚叫这人行走吗? 13亚伯拉罕以撒雅各的上帝,就是我们祖先的上帝,已经使祂的仆人耶稣得了荣耀。你们把耶稣交给彼拉多,尽管彼拉多想释放祂,你们却在彼拉多面前弃绝祂! 14你们弃绝了那圣洁公义者,竟然要求彼拉多释放一个凶手。 15你们杀了生命之主,上帝却使祂从死里复活了。我们都是这事的见证人。 16你们认识的这个乞丐因为相信耶稣的名,得到了医治。你们都看见了,他能痊愈是因为他信耶稣。

17“弟兄们,我知道你们的所作所为是出于无知,你们的官长也是一样。 18但是上帝早已借众先知预言基督要受害,这事果然应验了。 19所以你们要悔改,归向上帝,祂将除去你们一切的罪恶, 20赐给你们焕然一新的日子,也将差遣祂预先为你们选立的基督耶稣降临。 21基督必须留在天上,直到万物更新的时候,这是上帝自古以来借圣先知的口说的。 22摩西曾经说,‘主——你们的上帝将要在你们中间兴起一位像我一样的先知。你们要留心听祂的话, 23凡不听的,必将他从民中铲除。’

24“从撒母耳到后来的所有先知都宣告过这些日子。 25你们是先知的子孙,也承受了上帝和你们祖先所立的约。上帝曾对亚伯拉罕说,‘天下万族必因你的后裔而蒙福。’ 26上帝兴起祂的仆人,首先差遣祂到你们中间赐福给你们,使你们脱离罪恶。”

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 3:1-26

Peetero Awonya Omulema

13:1 a Luk 22:8 b Bik 2:46 c Zab 55:17Awo Peetero ne Yokaana bwe baali bagenda mu Yeekaalu mu kusaba okw’essaawa omwenda, 23:2 a Bik 14:8 b Luk 16:20 c Yk 9:8ne wabaawo omusajja eyazaalibwa nga mulema gwe baasitulanga ne bateekanga bulijjo ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi, okusabiriza. 3Awo bwe yalaba Peetero ne Yokaana nga bagenda okuyingira mu yeekaalu n’abasaba ensimbi. 4Ne bamwekaliriza amaaso, Peetero n’alyoka amugamba nti, “Tutunuulire!” 5N’abatunuulira ng’asuubira okuweebwayo akantu.

63:6 nny 16; Bik 4:10Naye Peetero n’agamba nti, “Effeeza ne zaabu sibirina, naye ka nkuwe ekyo kye nnina. Mu linnya lya Yesu Omunnazaaleesi Golokoka, otambule!” 7Awo Peetero n’akwata omulema ku mukono ogwa ddyo n’amuyimusa, amangwago ebigere by’omusajja n’obukongovvule ne bifuna amaanyi, 83:8 Bik 14:10n’abuuka n’ayimirira n’atandika okutambula! N’ayingira nabo mu Yeekaalu ng’atambula era nga bw’abuuka ng’atendereza Katonda. 93:9 Bik 4:16, 21Abantu bonna ne baamulaba ng’atambula, era ng’atendereza Katonda, 103:10 nny 2ne bamutegeera nga ye wuuyo eyatuulanga ku mulyango gwa Yeekaalu oguyitibwa Omulyango Omulungi ng’asabiriza, ne bawuniikirira era ne beewuunya nnyo olw’ekyo ekimutuuseeko.

Okwogera kwa Peetero mu Yeekaalu

113:11 a Luk 22:8 b Yk 10:23; Bik 5:12Awo omusajja eyali omulema bwe yali ng’akyekutte ku Peetero ne Yokaana abantu bonna ne badduka okujja we baali ne bakuŋŋaanira mu kisasi kya Sulemaani, nga basamaaliridde. 12Awo Peetero bwe yabalaba n’agamba abantu nti, “Abasajja Abayisirayiri, kiki ekibeewuunyisa? Era lwaki mututunuulira ng’abagamba nti obulungi bwaffe n’obuyinza bwaffe bye bitambuzza omusajja ono? 133:13 a Bik 5:30 b Mat 27:2 c Luk 23:4Katonda wa Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, era Katonda wa bajjajjaffe ffenna yagulumiza omuweereza we Yesu, gwe mwawaayo ne mu mwegaanira mu maaso ga Piraato newaakubadde nga ye yali amaliridde okumusumulula, 143:14 a Mak 1:24; Bik 4:27 b Bik 7:52 c Mak 15:11; Luk 23:18-25naye mmwe ne mwegaana omutuukirivu era omutukuvu, ne musaba babateere omutemu. 153:15 Bik 2:24Bwe mutyo ne mutta aleeta obulamu; oyo ye Katonda yamuzuukiza mu bafu, era ffe bajulirwa. 16Olw’okukkiriza mu linnya lye, omusajja ono, mwenna gwe mulaba era gwe mumanyi aweereddwa amaanyi mu linnya lye, era okukkiriza mu ye kwe kuwadde omusajja ono obulamu obutuukiridde nga mwenna bwe mulaba.

173:17 a Luk 23:34 b Bik 13:27“Kale kaakano, abooluganda, mmanyi nga kye mwakola mwakikola mu butamanya, era n’abakulembeze bammwe nabo bwe batyo. 183:18 a Bik 2:23 b Luk 24:27 c Bik 17:2, 3; 26:22, 23Kyokka Katonda yali atuukiriza ebyo bannabbi bonna bye baayogera nti Kristo we ateekwa okubonaabona mu ngeri eyo. 193:19 Bik 2:38Noolwekyo mwenenye, mukyuke, mulyoke mugibweko ebibi byammwe, 20mulyoke muwummulire mu maaso ga Mukama, naye abaweereze Yesu, ye Kristo eyalangirirwa gye muli edda, 213:21 a Bik 1:11 b Mat 17:11 c Luk 1:70eyagwanyizibwa okutwalibwa mu ggulu okutuusa ekiseera nga kituuse ebintu byonna ne bizzibwa obuggya Katonda bye yayogerera edda mu bannabbi be abatukuvu. 223:22 Ma 18:15, 18Weewaawo Musa yagamba nti, ‘Mukama Katonda wammwe alibayimusiza nnabbi ali nga nze, gw’aliggya mu baganda bammwe. Muwulirizanga buli ky’alibagamba. 233:23 Ma 18:19Ataliwuliriza nnabbi oyo abantu balimuzikiririza ddala.’

243:24 Luk 24:27“Ne bannabbi bonna okuviira ddala ku Samwiri n’abo abaamuddirira bonna abaayogera nabo baalangirira olunaku luno. 253:25 a Bik 2:39 b Bar 9:4, 5 c Lub 12:3; 22:18Mmwe bazzukulu ba bannabbi abo, era ab’endagaano Katonda gye yalagaana ne bajjajjammwe ng’agamba Ibulayimu nti, ‘Mu zzadde lyo abantu bonna ab’oku nsi mwe baliweerwa omukisa.’ 263:26 a nny 22; Bik 2:24 b Bik 13:46; Bar 1:16Bw’atyo Katonda bwe yalondawo okubatumira Omuweereza we abawe omukisa, buli omu ku mmwe ng’akyuka okuva mu bibi bye.”