使徒行传 26 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 26:1-32

保罗在亚基帕王面前申辩

1亚基帕保罗说:“准你为自己辩护。”于是保罗伸手示意,然后为自己辩护说: 2亚基帕王啊,面对犹太人对我的种种控告,我今天很荣幸可以在你面前申辩, 3尤其是你对犹太习俗和各种争议都十分熟悉。因此,求你耐心听我说。

4“我从小在本族和耶路撒冷为人如何,犹太人都知道。 5他们认识我很久了,如果他们肯作证的话,他们可以证明我从小就属于犹太教中最严格的法利赛派。 6现在我站在这里受审,是因为我盼望上帝给我们祖先的应许。 7我们十二支派日夜虔诚地事奉上帝,盼望这应许能够实现。王啊!就是因为我有这样的盼望,才被犹太人控告。 8上帝叫死人复活,你们为什么认为不可信呢? 9我自己也曾经认为应该尽一切可能反对拿撒勒人耶稣。 10我在耶路撒冷就是这样做的。我得到祭司长的授权,把许多圣徒26:10 保罗在这里指的是信耶稣的基督徒。关进监狱。他们被判死刑,我也表示赞同。 11我多次在各会堂惩罚他们,逼他们说亵渎的话,我对他们深恶痛绝,甚至到国外的城镇去追捕、迫害他们。

保罗信主的经过

12“那时,我带着祭司长的授权和委托去大马士革13王啊!大约中午时分,我在路上看见一道比太阳还亮的光从天上照在我和同行的人周围。 14我们都倒在地上,我听见有声音用希伯来话对我说,‘扫罗扫罗!你为什么迫害我?你很难用脚去踢刺。’ 15我说,‘主啊,你是谁?’主说,‘我就是你所迫害的耶稣。 16你站起来。我向你显现,是要派你做我的仆人和见证人,把你所看见的和以后我将启示给你的事告诉世人。 17我将把你从你的同胞和外族人手中救出来。我差遣你到他们那里, 18去开他们的眼睛,使他们弃暗投明,脱离魔鬼的权势,归向上帝,好叫他们的罪得到赦免,与所有因信我而圣洁的人同得基业。’

保罗放胆传道

19亚基帕王啊!我没有违背这从天上来的异象。 20我先在大马士革,然后到耶路撒冷犹太全境和外族人当中劝人悔改归向上帝,行事为人要与悔改的心相称。 21就因为这些事,犹太人在圣殿中抓住我,打算杀我。 22然而,我靠着上帝的帮助,到今天还能站在这里向所有尊卑老幼做见证。我讲的不外乎众先知和摩西说过要发生的事, 23就是基督必须受害,并首先从死里复活,将光明带给犹太人和外族人。”

24这时,非斯都打断保罗的申辩,大声说:“保罗,你疯了!一定是你的学问太大,使你神经错乱了!”

25保罗说:“非斯都大人,我没有疯。我讲的话真实、合理。 26王了解这些事,所以我才敢在王面前直言。我相信这些事没有一件瞒得过王,因为这些事并非暗地里做的。 27亚基帕王啊,你信先知吗?我知道你信。”

28亚基帕王对保罗说:“难道你想三言两语就说服我成为基督徒吗?”

29保罗说:“不论话多话少,我求上帝不仅使你,也使今天在座的各位都能像我一样,只是不要像我这样带着锁链。”

30亚基帕王、总督、百妮姬及其他在座的人都站起来, 31走到一边商量说:“这人没有做什么该判死刑或监禁的事。” 32亚基帕王对非斯都说:“这人要是没有向凯撒上诉,已经可以获释了。”

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 26:1-32

Empoza ya Pawulo mu maaso ga Agulipa

126:1 Bik 9:15; 25:22Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Okkirizibbwa okuwoza ensonga zo.” Awo Pawulo n’agolola omukono gwe, n’awoza nti, 2“Kabaka Agulipa, nnina omukisa okuwoleza mu maaso go leero, nga nnyanukula byonna Abayudaaya bye banvunaana, 326:3 a nny 7; Bik 6:14 b Bik 25:19kubanga mmanyi ng’empisa z’Ekiyudaaya, zonna ozitegeera bulungi. Kyenva nkusaba ompulirize n’obugumiikiriza.

426:4 Bag 1:13, 14“Nayigirizibwa n’obwegendereza mu mpisa z’Ekiyudaaya okuviira ddala mu buto bwange mu kibuga ky’ewaffe e Taluso ne mu Yerusaalemi, era ne ntambulira mu mpisa ezo obulamu bwange bwonna. Ebyo byonna Abayudaaya bonna babimanyi bulungi. 526:5 a Bik 22:3 b Bik 23:6; Baf 3:5Era bammanyidde ebbanga ddene nnyo, singa babadde baagala bandinjulidde, nga ndi munnakibiina eky’Abafalisaayo, eky’omu ddiini yaffe ekisingira ddala okunonooza mu buli nsonga ey’Ekiyudaaya. 626:6 a Bik 23:6; 24:15 b Bik 13:32; Bar 15:8Kaakano nnyimiridde nga nvunaanibwa, kubanga nnina essuubi mu ebyo Katonda bye yasuubiza bajjajjaffe, 726:7 a Yak 1:1 b 1Bs 3:10; 1Ti 5:5 c nny 2ebika byaffe ekkumi n’ebibiri bye basuubira okutuukako nga banyiikira okusinza emisana n’ekiro; era olw’essuubi eryo, ayi kabaka, Abayudaaya kyebavudde banvunaana. 826:8 Bik 23:6Kiki ekibalowoozesa nti tekiyinzika Katonda okuzuukiza abafu?

926:9 a 1Ti 1:13 b Yk 16:2 c Yk 15:21“Nze ku lwange nalowooza nti kiŋŋwanidde okuyigganya erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi, n’obukambwe bungi. 1026:10 a Bik 9:13 b Bik 8:3; 9:2, 14, 21 c Bik 22:20Bwe ntyo ne mbikola ne mu Yerusaalemi era ne nsiba abatuukirivu bangi mu makomera, era ne mpeebwa n’obuyinza okuva eri bakabona abakulu; abatukuvu ne bwe battibwanga, nga nkiwagira. 1126:11 Mat 10:17Ne mu makuŋŋaaniro gonna wonna ne mbasindiikirizanga nga mbawalirizanga okuvvoola, ne mbasunguwaliranga nnyo, ne mbayigganyanga okutuuka ne mu bibuga eby’ewala.

12“Awo bwe nnali nga ndaga e Damasiko, nga ndagiddwa era nga mpeereddwa obuyinza okuva eri bakabona abakulu, 13nga ndi mu kkubo mu ttuntu, ayi Kabaka, ne ndaba ekitangaala ekyaka okusinga eky’enjuba, ne kinjakira ne bannange be nnali ntambula nabo. 1426:14 Bik 9:7Ffenna bwe twagwa wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki? Weerumya wekka bw’osamba ku nkato.’ 15Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’addamu nti, ‘Nze Yesu, gw’oyigganya. 1626:16 a Ez 2:1; Dan 10:11 b Bik 22:14, 15Naye golokoka. Nkulabikidde, nkulonde obeere omuweereza wange era omujulirwa w’ebyo mw’ondabidde era ow’ebyo mwe nnaakulabikiranga. 1726:17 a Yer 1:8, 19 b Bik 9:15Era ndikuwonya mu bantu bano ne mu baamawanga gye ndikutuma 1826:18 a Is 35:5 b Is 42:7, 16 c Luk 24:47; Bik 2:38 d Bik 20:21, 32okuzibula amaaso gaabwe bakyuke bave mu kizikiza badde eri omusana, n’okuva mu buyinza bwa Setaani, badde eri Katonda balyoke basonyiyibwe ebibi bafunire wamu omugabo gwa Katonda n’abo abatukuzibwa olw’okunzikiriza.’

19“Bwe ntyo, Ayi Kabaka Agulipa, ne sinyooma kwolesebwa okwo okwava mu ggulu, 2026:20 a Bik 9:19-25 b Bik 9:26-29 c Bik 9:15; 13:46 d Bik 3:19 e Mat 3:8; Luk 3:8naye ne nsookera ku b’omu Damasiko, ne nzizaako ab’omu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya mwonna, n’eri Abaamawanga, nga mbategeeza beenenye bakyukire Katonda, era bakolenga ebikolwa eby’okwenenya ebisaanira. 2126:21 a Bik 21:27, 30 b Bik 21:31Eyo y’ensonga Abayudaaya kyebaava bankwata nga ndi mu Yeekaalu ne bagezaako n’okunzita. 2226:22 Luk 24:27, 44Katonda kyavudde ankuuma okutuusa leero ndyoke nyimirire nga ndi mujulirwa eri ab’ekitiibwa era n’aba bulijjo, nga sirina kirala kye njogera, wabula ebyo bannabbi ne Musa bye baategeeza nga bigenda okujja 2326:23 a 1Ko 15:20, 23 b Luk 2:32nti Kristo kimugwanira okubonaabona, era abeere omubereberye mu kuzuukira kw’abafu, alyoke aleetere abantu bano n’Abamawanga omusana.”

2426:24 a Yk 10:20 b Yk 7:15Awo Pawulo bwe yali akyawoza Fesuto n’aleekaana mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Pawulo, olaluse! Okusoma ennyo kukusudde eddalu!”

2526:25 Bik 23:26Pawulo n’addamu nti, “Siraluse, Oweekitiibwa Fesuto. Ebigambo bye njogera bya nsonga era bya mazima. 2626:26 nny 3Era ebintu bino Kabaka Agulipa abitegeera, noolwekyo nnyinza okubimubuulira nga seekomoma. Era nkakasa nga tewali na kimu ku bintu bino ky’ataamanya, kubanga tebyakolerwa mu nkiso! 27Kabaka Agulipa, bannabbi obakkiriza? Mmanyi ng’obakkiriza.”

2826:28 Bik 11:26Agulipa n’agamba Pawulo nti, “Onsendasenda nfuuke Omukristaayo mu kaseera kano akatono bwe kati?” 2926:29 Bik 21:33Pawulo n’addamu nti, “Nsaba Katonda, mu kaseera katono oba mu kiseera kinene, ggwe ne bonna abampuliriza kaakano, bafuuke nga nze, okuggyako enjegere zino ezinsibiddwa.”

3026:30 Bik 25:23Awo Kabaka, ne gavana ne Berenike, n’abalala bwe baali batudde, ne basituka ne bafuluma. 3126:31 Bik 23:9Bwe badda ebbali ne bakkiriziganya ne bagamba nti, “Omusajja ono talina ky’akoze kimusaanyiza kuttibwa wadde okusibwa mu njegere.”

3226:32 a Bik 28:18 b Bik 25:11Agulipa kwe kugamba Fesuto nti, “Omusajja ono yanditeereddwa singa teyajulira wa Kayisaali.”