使徒行传 24 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 24:1-27

保罗在腓利斯面前受审

1五天后,大祭司亚拿尼亚带着几个长老和一位叫帖土罗的律师下到凯撒利亚,向总督控告保罗2保罗被传来后,帖土罗指控他说:“腓利斯大人深谋远虑,在大人的领导下,国中有许多改革,我们常享太平。 3我们对大人的恩德感激不尽。 4我不敢耽误大人太久,只求大人容我们简单叙述。 5我们发现这个人惹事生非,到处煽动犹太人闹事。他是拿撒勒教派的一个头目, 6企图玷污圣殿,被我们抓住了。我们想按照犹太律法处置他, 7不料吕西亚千夫长却硬把他从我们手中抢走, 8并命令告他的人到大人这里来。24:8 有古卷无“我们想按照犹太律法处置他,不料吕西亚千夫长却硬把他从我们手中抢走,并命令告他的人到大人这里来。”大人亲自审问他,就会知道我们告他的事了。” 9在场的犹太人也随声附和,表示这些事属实。

保罗的申辩

10总督点头示意保罗可以发言,于是保罗说:“我知道大人在犹太执法多年,我很乐意在你面前为自己辩护。 11大人明鉴,从我上耶路撒冷礼拜至今不过十二天。 12这些人根本没有见过我在圣殿、会堂或城里与人争辩,聚众闹事。 13他们对我的指控毫无根据。 14但有一点我必须承认,就是我依循他们称之为异端的道事奉我们祖先的上帝,我也相信律法书和先知书的一切记载, 15并且我与他们在上帝面前有同样的盼望,就是义人和不义的人都要复活。 16因此,我一直尽力在上帝和人面前都做到问心无愧。

17“我离开耶路撒冷已有多年,这次回来是带着捐款要周济同胞,并献上祭物。 18他们看见我的时候,我已行过洁净礼,正在圣殿里献祭,没有聚众,也没有作乱。 19当时只有几个从亚细亚来的犹太人在那里,如果他们有事要告我,应该到你这里告我; 20不然,请这些出庭的人指出他们在公会审问我时发现了什么罪。 21如果有,也无非是当时我站在他们当中喊了一句,‘我今天在你们面前受审与死人复活有关。’”

22腓利斯原本对这道颇有认识,于是下令休庭,说:“等吕西亚千夫长抵达后,我再断你们的案子。” 23他派百夫长看守保罗,给他一定的自由,也允许亲友来供应他的需要。

24几天后,腓利斯和他的妻子犹太土西拉一同来了,召见保罗,听他讲信基督耶稣的事。 25保罗讲到公义、节制和将来的审判时,腓利斯十分恐惧,说:“你先下去吧,改天有机会,我再叫你来。” 26腓利斯希望保罗贿赂他,所以经常召他来谈话。 27过了两年,波求·非斯都接任总督,腓利斯为了讨好犹太人,仍然把保罗留在监里。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 24:1-27

Pawulo Awozesebwa mu maaso ga Ferikisi

124:1 a Bik 23:2 b Bik 23:30, 35 c Bik 23:24Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo. 2Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go. 324:3 Luk 1:3; Bik 23:26; 26:25Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde. 4Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.

524:5 a Bik 16:20; 17:6 b Bik 21:28 c Mak 1:24 d nny 14; Bik 26:5; 28:22“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo. 624:6 Bik 21:28N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira, 7naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi, 8n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”

924:9 1Bs 2:16Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.

1024:10 Bik 23:24Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. 1124:11 Bik 21:27; nny 1Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. 1224:12 a Bik 25:8; 28:17 b nny 18Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. 1324:13 Bik 25:7Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. 1424:14 a Bik 3:13 b Bik 9:2 c nny 5 d Bik 26:6, 22; 28:23Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. 1524:15 a Bik 23:6; 28:20 b Dan 12:2; Yk 5:28, 29Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. 1624:16 Bik 23:1Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.

1724:17 Bik 11:29, 30; Bar 15:25-28, 31; 1Ko 16:1-4, 15; 2Ko 8:1-4; Bag 2:10“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. 1824:18 a Bik 21:26 b nny 12Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. 1924:19 Bik 23:30Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. 20Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. 2124:21 Bik 23:6Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”

22Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” 2324:23 a Bik 23:35 b Bik 28:16 c Bik 23:16; 27:3N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.

2424:24 Bik 20:21Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. 2524:25 a Bag 5:23; 2Pe 1:6 b Bik 10:42Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” 26Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.

2724:27 a Bik 25:1, 4, 9, 14 b Bik 12:3; 25:9 c Bik 23:35; 25:14Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.