使徒行传 22 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 22:1-30

1“各位父老兄弟,请听我解释!” 2在场的人听见保罗讲的是希伯来话,更加安静了。保罗说: 3“我是犹太人,生于基利迦大数,在耶路撒冷长大,曾在迦玛列门下严格地按着我们祖先的律法接受教育,像你们今日一样热心事奉上帝。 4我曾经把信奉这道的男女信徒抓进监狱,迫害他们,置他们于死地。 5大祭司和众长老都可以为我作证。我还拿着他们写给大马士革犹太人的信去拘捕那里的信徒,押回耶路撒冷受刑。

6“当我快到大马士革的时候,大约中午时分,突然从天上有一道强光四面照着我。 7我就扑倒在地,听见有声音对我说,‘扫罗扫罗!你为什么迫害我?’ 8我回答说,‘主啊,你是谁?’他说,‘我就是你迫害的拿撒勒人耶稣!’ 9我的同伴虽然也看见那道强光,却听不懂那位说话者的声音。 10接着我又问,‘主啊!我该怎么办?’主说,‘起来,到大马士革去,那里会有人将指派给你的事告诉你。’

11“那道耀眼的光照得我双眼失明,于是同行的人拉着我的手,带我进了大马士革12那里有一个严守律法的虔诚人名叫亚拿尼亚,深受当地所有犹太人的尊敬。 13他来探望我,站在我身边说,‘扫罗弟兄,重见光明吧!’就在那一刻,我抬头看见了他。 14他又说,‘我们祖先的上帝拣选了你,要你明白祂的旨意,又让你亲自看见那位公义者、听到祂的声音。 15因为你将做祂的见证人,把所见所闻告诉万民。 16现在你还等什么呢?起来求告祂的名,接受洗礼,洗净你的罪。’

17“后来,我回到耶路撒冷,在圣殿里祷告的时候,进入异象, 18看见主对我说,‘赶快离开耶路撒冷,因为这里的人不会接受你为我做的见证。’ 19我说,‘主啊!他们都知道我从前搜遍各会堂,逮捕、毒打信你的人。 20当你的见证人司提凡为你流血殉道时,我自己也站在旁边赞同杀他的人,还替他们保管衣服。’ 21主却对我说,‘去吧!我要差遣你到遥远的外族人那里。’”

因罗马公民身份而免刑

22众人一听到这里,就高喊:“从世上除掉这样的人!他不配活着!” 23百姓咆哮着脱掉外衣,扬起尘土。 24千夫长下令把保罗押回营房,预备鞭打拷问他,要查出众人向他咆哮的缘由。 25他们把保罗绑起来正要鞭打,保罗问旁边的百夫长:“未经定罪就拷打罗马公民合法吗?”

26百夫长一听,立刻去禀告千夫长说:“你看该怎么办?这人是罗马公民。”

27千夫长就来问保罗:“告诉我,你是罗马公民吗?”

保罗说:“是的。”

28千夫长说:“我花了很多钱才当上罗马公民!”

保罗说:“我生来就是。”

29那些准备拷问保罗的士兵立刻退下了。千夫长也害怕起来,因为发现保罗罗马公民,他却下令捆绑了保罗

保罗在公会申辩

30第二天,千夫长想知道保罗犹太人指控的真相,就为保罗松了绑,并招聚了祭司长和全公会的人,然后将保罗带来,让他站在众人面前。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 22:1-30

122:1 Bik 7:2“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.” 222:2 Bik 21:40Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala. 322:3 a Bik 21:39 b Bik 9:11 c Luk 10:39 d Bik 5:34 e Bik 26:5 f Bik 21:20Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero. 422:4 a Bik 8:3 b nny 19, 20Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera. 522:5 a Luk 22:66 b Bik 13:26 c Bik 9:2Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.

622:6 Bik 9:3“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola. 7Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’

8“Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’

“N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’ 922:9 a Bik 26:13 b Bik 9:7Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.

1022:10 Bik 16:30“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’

“Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’ 1122:11 Bik 9:8Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.

1222:12 a Bik 9:17 b Bik 10:22“Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa, 13n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!

1422:14 a Bik 3:13 b 1Ko 9:1; 15:8 c Bik 7:52“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke. 1522:15 Bik 23:11; 26:16Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde. 1622:16 a Bik 2:38 b Beb 10:22 c Bar 10:13Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’

1722:17 a Bik 9:26 b Bik 10:10“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase, 18ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’

1922:19 a nny 4; Bik 8:3 b Mat 10:17“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera. 2022:20 Bik 7:57-60; 8:1Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’

2122:21 Bik 9:15; 13:46“Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ”

Pawulo Omuruumi

2222:22 a Bik 21:36 b Bik 25:24Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!” 2322:23 a Bik 7:58 b 2Sa 16:13Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga. 2422:24 a Bik 21:34 b nny 29Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. 2522:25 Bik 16:37Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”

26Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”

27Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?”

Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”

28Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.”

Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”

2922:29 nny 24, 25; Bik 16:38Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.

3022:30 a Bik 23:28 b Bik 21:33 c Mat 5:22Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.