使徒行传 10 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

使徒行传 10:1-48

哥尼流邀请彼得

1凯撒利亚有一位隶属意大利营的百夫长名叫哥尼流2他和全家都是虔诚敬畏上帝的人,他慷慨周济穷人,常常祷告。 3一天,大约下午三点,他在异象中清楚地看见一位上帝的天使进来呼唤他:“哥尼流!”

4哥尼流惊恐地注视着他,问:“主啊,什么事?”

天使回答说:“你的祷告和周济穷人的善行已经在上帝面前蒙悦纳。 5如今你要派人去约帕,请一个叫西门·彼得的人来。 6他住在一个叫西门的皮革匠家里,房子在海边。”

7向他说话的天使离开后,哥尼流叫来两个家仆和自己的一个敬虔侍卫, 8把刚才的事告诉他们,然后差他们去约帕

彼得见异象

9第二天中午,他们快要到达约帕时,彼得上屋顶去祷告。 10他觉得肚子饿了,想吃东西。那家人正在预备午饭的时候,彼得进入异象, 11看见天开了,有一样东西好像一大块布,四角吊着降到地上, 12里面有各种天上的飞禽、地上的爬虫和四足的走兽。 13然后有声音对他说:“彼得,起来,宰了吃!”

14彼得却说:“主啊!这可不行!我从未吃过任何污秽不洁之物。”

15那声音又一次对他说:“上帝已经洁净的,你不可再称之为不洁净。” 16这样一连三次之后,那块布就被收回天上去了。

17彼得不知所措,正在猜测这异象到底是什么意思,哥尼流的仆人们刚好找来了, 18正站在门口大声问西门·彼得是否住在这里。

19彼得还在苦苦思索的时候,圣灵又对他说:“彼得,外面有三个人来找你, 20快下楼跟他们去,不必多虑,他们是我差来的。” 21彼得就下去见他们,说:“我就是你们要找的人,有什么事?”

22他们说:“哥尼流百夫长是个又正直又敬畏上帝的人,连犹太人都称赞他。上帝的天使指示他请你到他家里去,好听你的指教。”

23彼得就留他们住了一夜。第二天,彼得和他们以及几个约帕的弟兄一同出发了。 24又过了一天,他们到达凯撒利亚哥尼流已经请来亲朋好友,在等候他们。 25他一看见彼得,就迎上去俯伏在他脚前拜他。 26彼得连忙把他扶起来,说:“快起来,我只不过是人。”

27彼得和他边走边谈,进屋后,见聚集了许多人, 28就对他们说:“你们都知道,按照犹太人的传统,我们不可以和外族人来往。但上帝已经指示我不可把任何人视为污秽不洁。 29所以,我受到邀请后,毫不犹豫地来了。请问你们为什么请我来?”

30哥尼流说:“四天前,大约也是下午三点这个时候,我在家里祷告,忽然有一个身穿明亮衣服的人站在我面前, 31说,‘哥尼流,上帝已经垂听了你的祷告,也悦纳你周济穷人的善行。 32你派人去约帕把那位叫西门·彼得的人请来,他住在海边一个叫西门的皮革匠家。’ 33于是我立刻派人去请你。你能来,真是荣幸,现在我们都在上帝面前,想聆听主吩咐你传给我们的话。”

福音临到外族人

34彼得说:“现在我深深地明白,上帝不偏待人。 35无论哪一个民族,只要敬畏祂,秉公行义,都会蒙祂接纳。 36上帝借着万物的主宰——耶稣基督把平安的福音传给以色列人。 37你们都知道,自从约翰宣讲洗礼以来,从加利利开始,整个犹太地区发生了什么事。 38你们也知道,拿撒勒人耶稣是上帝用圣灵和大能膏立的。祂周游四方,广行善事,医好被魔鬼压制的人,因为上帝与祂同在。 39我们亲眼目睹了耶稣在犹太全境和耶路撒冷所做的一切。可是,世人却把祂钉死在十字架上。 40但第三天,上帝使祂从死里复活,并且向人显现, 41不是向所有的人显现,而是向被上帝预先拣选为祂做见证的人显现,就是我们这些在祂复活以后与祂一同吃喝过的人。 42祂命令我们向世人传道,见证祂就是上帝指派来审判活人和死人的那位。 43所有先知也都为祂做见证说,‘谁信祂,谁的罪就能借着祂的名得到赦免。’”

44彼得还在说话的时候,圣灵就降临在每一个听道的人身上。 45彼得一起来的那些严守割礼的信徒,看见圣灵的恩赐也浇灌到外族人身上,都很惊奇。 46因为他们听见这些人又说方言又赞美上帝。于是彼得说: 47“既然这些人已经和我们一样领受了圣灵,谁能阻止他们接受洗礼呢?” 48彼得吩咐他们奉耶稣基督的名受洗。之后,他们又请彼得住了几天。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 10:1-48

Koluneeriyo Atumya Peetero

110:1 Bik 8:40Awo mu kibuga Kayisaliya mwalimu omusajja omuserikale, erinnya lye Koluneeriyo, eyakuliranga ekitongole ky’abaserikale ekikumi ekyayitibwanga Ekitaliano. 210:2 nny 22, 35; Bik 13:16, 26Yali ayagala nnyo Katonda era ng’amusaamu nnyo ekitiibwa, ye n’ab’omu maka ge bonna, ng’agabira nnyo abaavu, era ng’asaba Katonda bulijjo. 310:3 a Bik 3:1 b Bik 9:10 c Bik 5:19Lwali lumu ku ssaawa nga mwenda ez’olweggulo, n’ayolesebwa, n’alabira ddala malayika wa Katonda ng’ajja gy’ali, n’amuyita nti, “Koluneeriyo!”

410:4 a Mat 26:13 b Kub 8:4Koluneeriyo n’amutunuulira enkaliriza ng’atidde nnyo. N’amubuuza nti, “Mukama wange, ogamba ki?”

Malayika n’amuddamu nti, “Katonda awulidde okusaba kwo era alabye nga bw’ogabira abaavu bw’atyo n’akujjukira. 510:5 Bik 9:36Kale nno, tuma basajja bo e Yopa bakimeyo omuntu erinnya lye Simooni era ayitibwa Peetero ajje akukyalire. 610:6 Bik 9:43Abeera wa Simooni omuwazi w’amaliba, era enju ye eri ku lubalama lw’ennyanja.”

7Malayika yali yaakagenda, Koluneeriyo n’ayita abaweereza be babiri n’omuserikale atya Katonda, omu ku baweereza, 810:8 Bik 9:36n’abannyonnyola byonna ebibaddewo, n’abatuma e Yopa.

Peetero Alabikirwa

910:9 Mat 24:17Ku lunaku olwaddirira bwe baali basemberera ekibuga, essaawa zaali ziwera nga mukaaga ez’omu ttuntu, Peetero n’alinnya waggulu ku kasolya k’ennyumba akaali akatereevu, okusaba. 1010:10 Bik 22:17Yali ali eyo enjala n’emuluma, naye bwe baali bamuteekerateekera ekyokulya embeera ye n’ewaanyisibwa n’ayolesebwa. 11N’alaba eggulu nga libikkuse, ekintu ekifaanana ng’essuuka ennene ennyo, nga kinywezebbwa ku nsonda zaakyo ennya, nga kikka wansi ku ttaka. 12Kyalimu ebisolo ebirina amagulu ana byonna, n’ebyewalula byonna eby’oku nsi n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga. 13Awo n’awulira eddoboozi nga ligamba nti, “Peetero, situka osale, olye!”

1410:14 a Bik 9:5 b Lv 11:4-8, 13-20; 20:25; Ma 14:3-20; Ez 4:14Peetero n’addamu nti, “Nedda, Mukama wange, kubanga siryanga ku kintu kya muzizo oba ekitali kirongoofu.”

1510:15 Mat 15:11; Bar 14:14, 17, 20; 1Ko 10:25; 1Ti 4:3, 4; Tit 1:15Eddoboozi ne liddamu okwogera naye omulundi ogwokubiri nti, “Ekyo Katonda ky’amaze okulongoosa tokiyitanga ekitali kirongoofu.”

16Ne kiba bwe kityo emirundi esatu, amangwago ekintu ekyo ekiri ng’essuuka ne kizzibwayo mu ggulu.

1710:17 nny 7, 8Peetero n’abeera awo ng’asamaaliridde. Ne yeebuuza amakulu g’okwolesebwa okwo, ne yeebuuza ne ky’asaana okukola, byonna nga bimusobedde. Mu kiseera ekyo ababaka abaatumibwa Koluneeriyo, ennyumba baali baakagizuula era nga bayimiridde wabweru ku luggi 18nga babuuza obanga awo Simooni ayitibwa Peetero we yabeeranga.

1910:19 Bik 8:29Awo Peetero bwe yali ng’akyebuuza eby’okwolesebwa okwo, Mwoyo Mutukuvu n’amugamba nti, “Laba, abasajja basatu bakunoonya. 2010:20 Bik 15:7-9Situka okke wansi ogende nabo awatali kulwa kubanga nze mbatumye.”

21Bw’atyo Peetero n’akka wansi, n’agamba abasajja abaatumibwa nti, “Ye nze gwe munoonya. Kiki ekibaleese?”

2210:22 a nny 2 b Bik 11:14Ne bamuddamu nti, “Koluneeriyo omukulu w’ekitongole y’atutumye. Musajja mwegendereza, atya Katonda era Abayudaaya bonna bamussaamu ekitiibwa. Yalabikirwa malayika wa Katonda n’amugamba akuyite ojje mu nnyumba ye omutegeeze Katonda by’ayagala akole.” 2310:23 a Bik 1:16 b nny 45; Bik 11:12Awo Peetero n’abayingiza mu nnyumba ne basulawo ekiro ekyo. Enkeera n’agenda n’abo ng’awerekerwako abooluganda abamu ab’omu Yopa.

Peetero mu maka ga Koluneeriyo

2410:24 Bik 8:40Ku lunaku olwaddirira Peetero n’atuuka e Kayisaliya. Yasanga Koluneeriyo amulindiridde, ng’ali ne baganda be ne mikwano gye be yayita balabe Peetero. 25Peetero bwe yayingira mu nnyumba, Koluneeriyo n’agwa wansi mu maaso ge n’amusinza. 2610:26 Bik 14:15; Kub 19:10Naye Peetero n’amuyimusa n’amugamba nti, “Golokoka! Nange ndi muntu buntu.”

27N’agolokoka ne boogeramu, ne bayingira munda mu kisenge abalala bangi mwe baali bakuŋŋaanidde. 2810:28 a Yk 4:9; 18:28; Bik 11:3 b Bik 15:8, 9Awo Peetero n’abagamba nti, “Mumanyi nga mu mateeka gaffe ag’Ekiyudaaya, ffe tetuyingira mu maka g’Abamawanga. Naye Katonda yandaze mu kwolesebwa nga sisaanira kuddayo kuyisa muntu yenna ng’atali mulongoofu. 29Noolwekyo olwantumira nange ne nsitukiramu. Kale, ompitidde nsonga ki?”

30Awo Koluneeriyo n’addamu nti, “Ennaku nnya eziyise, nnali mu nnyumba yange nga nsaba mu ssaawa nga bwe ziti omwenda ez’olweggulo. Amangwago omusajja n’ayimirira mu maaso gange ng’ayambadde engoye ezitemagana. 31N’aŋŋamba nti, ‘Koluneeriyo, Katonda awulidde okusaba kwo, era ajjukidde ebirabo byo by’ogabira abaavu. 32Kale nno, tuma e Yopa, oyite Simooni ayitibwa Peetero, eyakyala mu maka ga Simooni omuwazi w’amaliba ali ku lubalama lw’ennyanja.’ 33Bwe ntyo ne nkutumira mangu, era naawe n’okola bulungi n’ojjirawo. Kaakano ffenna tuli wano mu maaso ga Katonda nga tulindirira okuwulira ky’akutumye okutubuulira!”

3410:34 Ma 10:17; 2By 19:7; Yob 34:19; Bar 2:11; Bag 2:6; Bef 6:9; Bak 3:25; 1Pe 1:17Awo Peetero n’agamba nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga Katonda tasosola mu bantu, 3510:35 Bik 15:9wabula ayaniriza abantu bonna ab’omu mawanga gonna kasita baba nga bamutya era nga bakola by’asiima. 3610:36 a Bik 13:32 b Luk 2:14 c Mat 28:18; Bar 10:12Kino kye kigambo kye yaweereza abaana ba Isirayiri ng’ababuulira emirembe mu Yesu Kristo, Mukama wa bonna. 37Mumanyi ebyabaawo mu Buyudaaya mwonna okusookera mu Ggaliraaya oluvannyuma lw’okubatizibwa Yokaana kwe yabuulira. 3810:38 a Bik 4:26 b Mat 4:23 c Yk 3:2Era mumanyi bulungi Yesu Omunnazaaleesi nga Katonda bwe yamufukako amafuta ne Mwoyo Mutukuvu n’amaanyi, eyatambula ng’agenda akola ebirungi, ng’awonya abaanyigirizibwanga Setaani, kubanga Katonda yali naye.

3910:39 a Luk 24:48 b Bik 5:30“Ffe bajulirwa ab’ebyo byonna bye yakola mu nsi y’Abayudaaya ne mu Yerusaalemi, gye yattirwa ku musaalaba. 4010:40 Bik 2:24Oyo Katonda yamuzuukiza ku lunaku olwokusatu era n’amulaga eri abantu. 4110:41 a Yk 14:17, 22 b Luk 24:43; Yk 21:13Teyalabibwa bantu bonna, wabula abajulirwa Katonda be yali amaze okulonda, be baffe abaalya naye, ne tunywa naye ng’amaze okuzuukira mu bafu. 4210:42 a Mat 28:19, 20 b Yk 5:22; Bik 17:31N’atutuma okubuulira abantu Enjiri nga tujulira nti Yesu y’oyo, Katonda gwe yalonda okubeera omulamuzi w’abantu bonna, abalamu n’abafu. 4310:43 a Is 53:11 b Bik 15:9Era ne bannabbi bonna bamuweera obujulirwa nti buli amukkiriza asonyiyibwa ebibi mu linnya lye.”

44Awo Peetero bwe yali akyayogera ebigambo ebyo, Mwoyo Mutukuvu n’akka ku abo bonna abali bawuliriza ekigambo! 4510:45 a Bik 2:33, 38 b Bik 11:18Abakkiriza abakomole bangi abaawerekera ku Peetero ne beewuunya nnyo okulaba ng’ekirabo kya Mwoyo Mutukuvu kifukibbwa ne ku baamawanga. 4610:46 Mak 16:17Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.

Awo Peetero n’agamba nti, 4710:47 a Bik 8:36 b Bik 11:17“Waliwo ayinza okuziyiza abantu bano okubatizibwa n’amazzi abafunye Mwoyo Mutukuvu nga ffe bwe twamufuna?” 4810:48 Bik 2:38; 8:16Bw’atyo n’alagira babatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo. Ne basaba Peetero agira abeera nabo okumala ennaku ntonotono.