但以理书 9 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

但以理书 9:1-27

但以理为同胞祷告

1玛代亚哈随鲁的儿子大流士被立为迦勒底国的王元年, 2即他统治的第一年,我但以理从经书上耶和华给耶利米先知的话得知,耶路撒冷必荒凉七十年。

3我便禁食,身披麻衣,头蒙灰尘,向主上帝祷告祈求。 4我向我的上帝耶和华祷告、认罪,说:“主啊,你是伟大而可畏的上帝,你向那些爱你、遵守你诫命的人信守你的慈爱之约。 5我们犯罪作恶,行为邪恶叛逆,偏离你的诫命和典章, 6没有听从你的仆人——众先知奉你的名向我们的君王、首领、先祖及国中百姓所说的话。 7主啊,你是公义的,我们今日满面羞愧,我们犹大人和耶路撒冷的居民,以及因对你不忠而被驱散到远近各地的以色列人都满面羞愧。 8主啊,我们和我们的君王、首领、先祖因得罪了你而满脸羞愧。 9虽然我们背叛了主——我们的上帝,祂却有怜悯和饶恕之心。 10我们没有听从我们的上帝耶和华的话,没有遵行祂借祂的仆人——众先知给我们颁布的律法。 11以色列人都违背你的律法,偏离正道,不听从你的话。你仆人摩西的律法书上所记载的咒诅和审判都落在了我们身上,因为我们得罪了你。 12你把大灾难降在我们身上,应验了你警告我们和我们官长的话。耶路撒冷遭遇的灾祸普天之下从未有过。 13这一切灾祸降在了我们身上,正如摩西律法书的记载。然而,我们的上帝耶和华啊,我们却没有离开罪恶,认识你的真理,以便恳求你施恩。 14所以耶和华决意使灾祸降在我们身上,因为我们的上帝耶和华的一切作为都是公义的,我们却没有听从祂的话。

15“主——我们的上帝啊,你曾用大能的手把你的子民领出埃及,使自己威名远扬直到今日。我们却犯罪作恶。 16主啊,你一向公义,求你不要向你的耶路撒冷城——你的圣山发烈怒。由于我们的罪恶和我们祖先的过犯,耶路撒冷和你的子民成了四围邻人嘲讽的对象。 17我们的上帝啊,求你垂听仆人的祷告祈求,为你自己的缘故,笑颜垂顾你荒凉的圣所。 18我的上帝啊,求你侧耳垂听,睁眼眷顾我们荒凉的土地和属于你名下的城。我们向你祈求,并非因为我们有什么义行,乃是因为你充满怜悯。 19主啊,求你垂听!主啊,求你赦免!主啊,求你应允,立刻行动!我的上帝啊,为你自己的缘故,求你不要耽延,因为这城和这民都属于你的名下。”

加百列解释预言

20我继续祷告,承认我和同胞以色列人的罪,为我上帝耶和华的圣山在祂面前祈求。 21我正祷告的时候,先前在异象中看见的那位加百列奉命疾飞而来。那是献晚祭的时候。 22他向我解释说:“但以理啊,我来是要使你有智慧和悟性。 23你刚开始祈求,就已赐下答复,我是来告诉你的,因为你倍受眷爱。所以你要留意以下的信息,明白异象的意思。

24“已经为你的同胞和圣城定了七十个七,以终结叛逆,除掉罪恶,赎尽过犯,带来永远的公义,封住异象和预言,膏抹至圣所9:24 至圣所”或译“至圣者”。25你要知道,也要明白,从重建耶路撒冷的命令发出,到受膏的君王来临,其间有七个七加六十二个七。耶路撒冷城及其广场和壕沟必得重建,且是在艰难时期。 26六十二个七之后,受膏者必被杀害,一无所有。另有一王要兴起,他的臣民要毁灭这城和圣所。结局必如洪水冲来,战争将持续到末了,到处一片荒凉——这已经注定。 27那王必与许多人缔结一七之久的盟约。一七之半,他必终止祭牲和供物,并且设立带来毁灭的可憎之物,直到所定的结局临到这恶者。”

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 9:1-27

Okusaba kwa Danyeri

19:1 Dan 5:31Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo mutabani wa Akaswero Omumeedi, gwe yaliiramu obwakabaka bwa Bakaludaaya, 29:2 2By 36:21; Yer 29:10; Zek 7:5mu mwaka ogwo ogw’olubereberye, nze Danyeri ne ntegeera amakulu ag’ebyawandiikibwa, ng’ekigambo kya Mukama bwe kiri kye yawa Yeremiya nnabbi, ng’okubonaabona kwa Yerusaalemi kulitwala emyaka nsanvu. 39:3 Nek 1:4; Yer 29:12Awo ne nkyukira Mukama Katonda ne nnoonya okubeerwa okuva gyali nga nsaba era nga neegayirira, nga nsiiba era nga nyambadde ebibukutu nga neesiize evvu.

49:4 a Ma 7:21 b Ma 7:9Ne nsaba Mukama Katonda wange ne mwatulira nti,

“Ayi Mukama omukulu era ow’entiisa, akuuma endagaano ye so n’okwagala kwo tekujjulukuka eri abo bonna abakwagala era abagondera ebiragiro byo, 59:5 a Zab 106:6 b Is 53:6 c nny 11; Kgb 1:20twonoonye era tusobezza, tukoze eby’ekyejo n’eby’obujeemu, era 69:6 2By 36:16; Yer 44:5tetwawuliriza baddu bo bannabbi, abaayogeranga mu linnya lyo eri bakabaka baffe, n’eri abalangira baffe, n’eri bajjajjaffe, n’eri abantu bonna ab’omu nsi.

79:7 a Zab 44:15 b Ma 4:27; Am 9:9 c Yer 3:25Mukama oli mutukuvu, naye olunaku lwa leero tuswadde, abantu ba Yuda, n’abatuuze ba Yerusaalemi, ne Isirayiri yenna, abali okumpi n’abali ewala mu nsi zonna gye wabawaŋŋangusiriza olw’obutaba beesigwa gy’oli. 8Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye. 99:9 a Zab 130:4 b Nek 9:17; Yer 14:7Mukama Katonda waffe ajjudde okusaasira n’okusonyiwa, newaakubadde nga tumujeemedde, 109:10 2Bk 17:13-15; 18:12ne tutawuliriza ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, newaakubadde okukuuma amateeka ge, ge yatuwa ng’ayita mu baddu be bannabbi. 119:11 Is 1:4-6; Yer 8:5-10Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.

“Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go. 129:12 a Is 44:26; Zek 1:6 b Yer 44:2-6; Ez 5:9Otuukirizza ebigambo bye watwogerako, n’eri abakulembeze baffe, bw’otuleeseeko akabi akanene; era wansi w’eggulu tewabangawo kintu kinene bwe kityo ekyakolebwa, ng’ekyo ekituuse ku Yerusaalemi. 139:13 Is 9:13; Yer 2:30Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe bityo ebisobyo byonna bwe byatutuukako, naye ate nga tetunneegayirira kisa kya Mukama Katonda waffe, okulekayo ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu tusseeyo omwoyo okugoberera amazima. 149:14 a Yer 44:27 b Nek 9:33Mukama kyeyava talwa kutuleetako buzibu obwo, kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu buli ky’akola, naye tetugondedde ddoboozi lye.

159:15 a Yer 32:21 b Nek 9:10“Ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe eyaggya abantu bo mu nsi ey’e Misiri n’omukono gwo ogw’amaanyi ne weekolera erinnya, eryayatiikirira ne leero, twayonoona ne tukola ebitali bya butuukirivu. 169:16 a Zab 31:1 b Yer 32:32 c Zek 8:3 d Ez 5:14Ayi Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’ekiruyi kyo obiggye ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu, kubanga olw’ebibi byaffe n’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu ebya bajjajjaffe, tufuuse eky’okusekererwa eri abatwetoolodde bonna.

179:17 Kbl 6:24-26; Zab 80:19“Kaakano, Ayi Katonda waffe, owulire okusaba n’okwegayirira kw’omuddu wo, olw’okusaasira kwo Ayi Mukama otunule eri ekifo kyo ekitukuvu. 189:18 a Zab 80:14 b Is 37:17; Yer 7:10-12; 25:29Ayi Katonda wange, otege okutu kwo owulirize, otunuulire okuzika kw’ekibuga ekyatuumibwa erinnya lyo, kubanga tetuleeta byetaago byaffe eri ggwe olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi. 199:19 Zab 44:23Ayi Mukama otuwulire! Ayi Mukama, otusonyiwe! Ayi Mukama otuwulire era obeeko ne ky’okolawo! Olw’okusaasira kwo, Ayi Katonda wange oleme okulwa, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo n’eggwanga lyo bayitibwa Erinnya lyo.”

Amakulu ga Wiiki Omusanvu

209:20 nny 3; Zab 145:18; Is 58:9Awo bwe nnali nga njogera era nga nsaba, nga njatula ebibi byange n’ebibi by’abantu bange Isirayiri, nga neegayirira Mukama Katonda wange ku lw’olusozi lwe olutukuvu, 219:21 a Dan 8:16; Luk 1:19 b Kuv 29:39awo mu kiseera ekyo nga nkyasaba, omusajja Gabulyeri, gwe nalaba mu kwolesebwa okwasooka, n’ajja gye ndi mu mbuyaga ey’amaanyi mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi. 22N’aŋŋamba nti, “Danyeri, kaakano nzize okukuwa amagezi n’okutegeera. 239:23 a Dan 10:19; Luk 1:28 b Dan 10:11-12; Mat 24:15Amangu nga waakatandika okusaba, okwegayirira kwo kwaddibwamu era nzize okukutegeeza, kubanga oli mwagalwa nnyo. Noolwekyo ssaayo omwoyo eri ekigambo kino, otegeere bye wayolesebwa.

249:24 a Is 53:10 b Is 56:1“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.

259:25 a Ezr 4:24 b Yk 4:25“Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. 269:26 a Is 53:8 b Nak 1:8N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. 279:27 Is 10:22Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”