但以理书 11 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

但以理书 11:1-45

1玛代大流士元年,我去帮助、护卫米迦勒2现在我要把真相告诉你。波斯将再有三位王兴起,随后的第四位王远比其他王富有。他靠财富强盛后,便会煽动众民去攻打希腊国。 3那时必有一位英勇的王兴起,执掌大权,随心所欲。 4但他兴起后不久,他的国必土崩瓦解,在天下一分为四,既不归他的后代统治,也不如他掌权时强盛。因为他的国必被连根拔除,归给外人。

5“南方王必强盛,他的将领中将有一位比他更强盛,这人执掌王权,势力强大。 6若干年后,南方王将与北方王联盟。南方王的女儿将到北方王那里缔结盟约。但她必保不住自己的势力,王权也无法长久。她和她的随从、父亲和辅佐者必遭杀害。

7“她家族中必有一人继承王位,率军攻打北方王,侵入他们的堡垒,击败他们, 8将他们的神像、铸造的偶像及金银宝器掳到埃及。此后数年,他不再去攻击北方王。 9后来,北方王必侵入南方王的国土,但终必撤回本国。

10“北方王的儿子们必发动战争,召集大军,如洪水席卷而来,直打到南方王的堡垒。 11南方王必大怒,出来迎战北方王的大军,并击败他们。 12南方王获胜后必心高气傲,杀戮成千上万的人,但他的胜利不能持久。 13因为数年后,北方王必召集更庞大的军队,带着大量装备卷土重来。

14“那时,许多人必起来反抗南方王。你同胞中的残暴之徒也必反叛,从而使异象应验,但他们必失败。 15北方王必修筑高台攻取南方王的坚城,南方的军兵必无力抵挡,就是精兵也抵挡不住。 16北方王必为所欲为,所向无敌。他必侵占佳美之地,手握毁灭之权。 17他决意倾全国之力而来,与南方王建立联盟,并将自己的女儿嫁给南方王,旨在推翻他的国。但北方王的计划必然失败,毫无收益。

18“后来,他将转而攻打沿海地区,征服许多地方。但一位将领必制止他的嚣张气焰,使他自取其辱。 19他将返回本国的堡垒,从此一蹶不振,销声匿迹。 20继承他王位的人将派税吏横征暴敛,以维持王国的荣耀。但不久他必灭亡,并非死于民怨,也非死于战争。

21“接着继位的是一个卑鄙的人。他无权继位,却乘人不备用奸计夺取王位。 22他横扫千军,击溃他们,包括盟国的王。 23他与人结盟后,必行欺诈,借不多的人掌握大权。 24他必乘人不备入侵最富庶的地区,行他祖先从未行过的事,将掳掠的财物分给部下,并策划攻打堡垒,但这都是短暂的。 25他集中力量,鼓起勇气,率领大军进攻南方王。南方王也率领强大的军队迎战,却敌不过他,因为有人暗算南方王。 26南方王必遭亲信暗算,全军溃败,许多人被杀。 27两个王心怀叵测,同席而坐,尔虞我诈,但都不成功,因为结局必在所定的时间到来。 28北方王必带着大量财物回国,但他决意反对圣约,在回国的路上任意妄为。

29“到了所定的时间,他必再次攻打南方,但结果与上次不同, 30因为基提的战船必来攻击他,使他丧胆而回。他必向圣约之民发泄愤怒,任意妄为,支持背弃圣约的人。 31他的军队必亵渎圣地,亵渎那堡垒,废除日常献的祭,设立带来毁灭的可憎之物。 32他必花言巧语笼络违背圣约的人,但认识上帝的人必奋起反抗。 33那些智者必教导许多民众,但他们将在一段时间内被刀剑杀戮,或被烧死,或被掳去,或被抢掠。 34他们败亡时必得不到多少援助,许多人并非真心实意地加入他们的行列。 35有些智者将被害,但这是为了熬炼、净化他们,使他们洁白无瑕,一直到末了。因为结局必在所定的时间到来。

36“北方王必任意妄为,自高自大,自以为超越一切神明,肆意诋毁万神之神。他必亨通,一直到上帝发烈怒的日子结束。因为所定的必然成就。 37他不尊崇他祖先的神明,也不尊崇妇女们爱慕的神明或其他任何神明,因为他自认为超越一切。 38他反倒祭拜他祖先不认识的堡垒之神,向它献上金银宝石及贵重的礼物。 39他必靠外族神明的帮助攻打坚固的堡垒,将尊荣赐给顺从他的人,派他们治理民众,分给他们土地作奖赏。

40“到了末后,南方王必与北方王交战。北方王必率领战车、骑兵和大批战船攻击他,又如洪水般横扫列国。 41他必侵入佳美之地,杀死成千上万的人,只有以东摩押亚扪人的首领得以逃脱。 42他必攻击列国,埃及也无法幸免。 43他必掌管埃及的金银财宝,利比亚人和古实人必归顺他。 44但从东方和北方传来的消息必令他震惊,他必大怒,出兵杀戮、毁灭许多人。 45他必在海和荣美的圣山之间搭起他宫殿般的帐幕。但他必灭亡,无人相助。

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 11:1-45

111:1 Dan 5:31Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Daliyo Omumeedi, nayimirira okumugumya era n’okumunyweza.

Bakabaka ab’omu Bukiikaddyo, n’ab’omu Bukiikakkono

211:2 a Dan 10:21 b Dan 10:20“Kaakano nnaakutegeeza eby’amazima: Bakabaka basatu abalala balifuga mu Buperusi, n’owookuna aliba mugagga nnyo okusinga bali bonna; era bw’alimala okwenyweza olw’obugagga bwe, alikubiriza bonna okujeemera obwakabaka obwa Buyonaani. 311:3 Dan 8:4, 21N’oluvannyuma walirabika kabaka ow’amaanyi, alifuga n’obuyinza bungi n’akola nga bw’ayagala. 411:4 Dan 7:2; 8:22N’oluvannyuma obwakabaka bwe bulisasika ne bugabanyizibwa eri embuyaga ennya ez’omu ggulu. Ezzadde lye teriribugabana, era n’obwakabaka obwo tebuliba na buyinza bwe yalina kubanga obwakabaka bwe bulisigulwa ne buweebwa abalala.

5“Kabaka ow’obukiikaddyo aliba w’amaanyi, naye omu ku bakungu be aliba w’amaanyi okumusinga era alifuga obwakabaka bwe n’amaanyi mangi. 6Bwe waliyitawo emyaka, balyegatta wamu n’omuwala wa kabaka ow’obukiikaddyo, aligenda eri kabaka ow’obukiikakkono okumwegattako, naye talisigaza buyinza bwe so ne kabaka newaakubadde ezzadde lye tebaliwangaala. Mu biro ebyo aliweebwayo ye n’abo baayita nabo mu lubiri, awamu ne kitaawe, era n’oyo eyamuwagira.

711:7 nny 6“Ow’omu lulyo lwe, yaalitwala ekifo kye; alirumba eggye lya kabaka ow’obukiikakkono n’ayingira mu lubiri lwe, era alibalwanyisa n’abawangula. 811:8 a Is 37:19; 46:1-2 b Yer 43:12Aliddira bakatonda baabwe n’ebifaananyi byabwe ebisaanuuse n’ebintu byabwe eby’omuwendo ebya ffeeza n’ebya zaabu n’abitwala e Misiri, era alimala ebbanga nga tazzeeyo kulumba kabaka w’obukiikakkono. 9Kabaka w’obukiikakkono alirumba amatwale ga kabaka w’obukiikaddyo naye oluvannyuma aliwalirizibwa okuddayo mu nsi ye. 1011:10 Is 8:8; Yer 46:8; Dan 9:26Batabani be balyeteekateeka ne bakuŋŋaanya eggye eddene era balisaanyaawo ensi eyo ng’amazzi aganjaala n’amaanyi, era balituuka ku lubiri lwe.

1111:11 Dan 8:7-8“Mu busungu obungi, kabaka w’obukiikaddyo alirumba kabaka w’obukiikakkono ow’eggye eddene, n’amuwangula. 12Kabaka w’obukiikaddyo bw’alimala okuwangula eggye eryo eddene, n’aliwamba, alyegulumiza n’atta bangi ku bo, naye taliwangaala. 13Bwe waliyitawo ebbanga kabaka w’obukiikakkono alikuŋŋaanya n’afuna eggye eddene okusinga ery’olubereberye, n’oluvannyuma lw’emyaka emingi, alirumba n’eggye lye ng’alina ebyokulwanyisa ebiwera.

14“Mu biro ebyo bangi balijeemera kabaka w’obukiikaddyo; era n’abasajja ab’effujjo ab’omu ggwanga lyo balitandika okujeema, naye baliremwa, ebigambo bye wayolesebwa bituukirire. 1511:15 Ez 4:2Awo kabaka w’obukiikakkono alijja n’akola ebifunvu era aliwamba ekibuga ekiriko bbugwe. Eggye ery’omu bukiikaddyo teririsobola kumulwanyisa, newaakubadde abaserikale baabwe abatendeke abakugu ennyo okumusobola. 1611:16 a Dan 8:4 b Yos 1:5; Dan 8:7 c Dan 8:9Oyo alibalumba, alikola nga bw’ayagala so tewaliba n’omu alimuziyiza; era alyenyweza mu nsi ennungi, yonna n’ebeera mu buyinza bwe. 1711:17 Zab 20:4Alijja n’ekitiibwa eky’obwakabaka bwe kyonna ng’amaliridde okukola endagaano ne kabaka w’obukiikaddyo. Alimuwa muwala we okumufumbirwa awambe obwakabaka, naye enteekateeka ye terituukirira newaakubadde okumuyamba. 1811:18 a Is 66:19; Yer 25:22 b Kos 12:14N’oluvannyuma alikyuka n’alumba ensi ey’oku mabbali g’ennyanja n’agiwamba; naye walibaawo omuduumizi alikomya okujooga kwe, n’amwesasuza. 1911:19 a Zab 27:2 b Zab 37:36; Ez 26:21Oluvannyuma lw’ebyo alikyuka okwagala okuddayo mu mbiri ez’omu nsi ye, naye alyesittalira mu kkubo n’agwa, n’ataddayo kulabika.

2011:20 Is 60:17“Alimusikira, aliweereza omusolooza w’omusolo alituukiriza eby’obwakabaka, naye mu nnaku ntono alizikirizibwa, si mu lutalo newaakubadde mu busungu.

2111:21 a Dan 4:17 b Dan 8:25“Alidda mu kifo ky’oyo, aliba musajja mubi nnyo naye nga taweereddwa buyinza buva eri kabaka. Alirumba obwakabaka abantu nga batudde ntende, n’abuwamba ng’akozesa enkwe. 2211:22 Dan 8:10-11Oluvannyuma lw’ebyo eggye ery’amaanyi liriwangulwa ne lizikirizibwa mu maaso ge; n’omulangira ow’endagaano naye alizikirizibwa. 2311:23 Dan 8:25Awo bw’alimala okukola endagaano naye, alibeefuulira, n’aba w’amaanyi ng’ayambibwako abantu batono. 2411:24 Nek 9:25Mu biro eby’emirembe, alirumba amasaza amagagga, nga tebamwetegekedde, n’akola bajjajjaabe bye bataakolanga newaakubadde bajjajja ba bajjajjaabe. Aligabula abagoberezi be, ebinyage n’obugagga, ne yeekobaana okuwamba embiri, naye ekyo kirimala akaseera katono.

25“Alikuŋŋaanya eggye ddene mu maanyi ge n’obuvumu bwe n’alumba kabaka w’obukiikaddyo. Kabaka w’obukiikaddyo alyerwanako n’eggye eddene era ery’amaanyi ennyo; naye talimuyinza olw’enkwe ze baamusalira. 26N’abo abanaagabana ku bugagga bwa kabaka baligezaako okumuzikiriza, era eggye lye lirisaanawo, bangi ku bo ne bafiira mu lutalo. 2711:27 a Zab 64:6 b Zab 12:2; Yer 9:5 c Kbk 2:3Bakabaka bombi abaamalirira okukola eby’ekyejo mu mitima gyabwe, balituula ku mmeeza emu, ne bakuusagana naye tewalibaawo kya mazima kiteesebwa kubanga enkomerero erituuka mu biro ebyalagirwa. 28Kabaka w’obukiikakkono aliddayo mu nsi ye n’obugagga bungi, n’omutima gwe gulikyawa endagaano entukuvu. Era alikola kye yateekateeka mu mutima gwe n’oluvannyuma n’addayo mu nsi ye.

29“Mu bbanga eryagerebwa, alirumba obukiikaddyo nate, naye ku luno tekiriba nga bwe kyali mu biro eby’olubereberye. 3011:30 Lub 10:4Emmeeri ez’e Kittimu zirimulwanyisa era aliggwaamu amaanyi, n’oluvannyuma alikyuka okuddayo n’asunguwalira endagaano entukuvu. Bw’aliddayo alikolagana n’abo abakyawa endagaano entukuvu.

3111:31 Dan 8:11-13; 9:27; Mat 24:15*; Mak 13:14*“Amaggye ge galigolokoka okugwagwawaza awatukuvu wa yeekaalu era aliggyawo ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku. N’oluvannyuma balissaawo eby’emizizo ebireeta ennaku n’okubonaabona. 3211:32 Mi 5:7-9Alisendasenda abo abaajeemera endagaano, naye abantu abamanyi Katonda waabwe baliyimirira ne bamuwakanya n’amaanyi.

3311:33 a Mal 2:7 b Mat 24:9; Yk 16:2; Beb 11:32-38“Ab’amagezi baliwabula bangi, newaakubadde nga balittibwa, n’abalala ne bookebwa omuliro, n’abalala ne bawambibwa, n’abalala ne banyagibwa okumala akaseera katono. 3411:34 Mat 7:15; Bar 16:18Bwe baligwa baliyambibwako akatono era bangi abatali ba mazima balibasendasenda ne babeegattako. 3511:35 Zab 78:38; Dan 12:10; Zek 13:9; Yk 15:2Abamu ku b’amagezi balyesittala, balyoke balongoosebwe, batukuzibwe, baleme kuba na bbala mu kiseera eky’enkomerero, kubanga ebiro ebyo byategekebwa era birituukirira.

Kabaka Eyeegulumiza

3611:36 a Kub 13:5-6 b Ma 10:17; Is 14:13-14; Dan 7:25; 8:11-12, 25; 2Bs 2:4 c Is 10:25; 26:20“Kabaka alikola nga bw’ayagala. Alyenyumiriza ne yeegulumiza okusinga katonda yenna, era alyogera ebitawulikikangako ku Katonda wa bakatonda. Aliba mugagga okutuusa ebiro eby’obusungu lwe birituukirira, kubanga ekyasalibwawo kiteekwa okutuukirira. 37Talissa kitiibwa mu bakatonda ba jjajjaabe newaakubadde oyo abakazi gwe beegomba, so talissa kitiibwa mu katonda yenna, naye alyegulumiza okusinga bonna. 38Mu kifo ky’abo, alissa ekitiibwa mu katonda w’embiri, katonda ataamanyibwa bajjajjaabe gwalitonera zaabu ne ffeeza, n’amayinja ag’omuwendo n’ebirabo eby’omuwendo omungi. 39Alirumba embiri ez’amaanyi ennyo ng’ayambibwako katonda omugwira, era abo abalissa ekimu naye, alibawa ekitiibwa kinene, n’abawa n’okufuga abantu bangi, n’ensi n’agigabanyaamu olw’amagoba.

4011:40 a Is 21:1 b Is 5:28 c Ez 38:4“Mu biro eby’enkomerero kabaka w’obukiikaddyo alimulumba, naye kabaka w’obukiikakkono alifubutuka n’ajja okumusisinkana ng’alina amagaali n’abeebagala embalaasi, n’emmeeri nnyingi, era alirumba ensi nnyingi n’aziyitamu ng’embuyaga. 4111:41 a Is 11:14 b Yer 48:47Alirumba Ensi Ennungi n’awamba n’amawanga mangi, naye Edomu ne Mowaabu n’abakulembeze ba Amoni balimuwona. 42Okufuga kwe kulyeyongera mu mawanga mangi, ne Misiri nga mw’omutwalidde. 4311:43 a Ez 30:4 b 2By 12:3; Nak 3:9Alifuga amawanika aga zaabu ne ffeeza, n’eby’obugagga byonna ebya Misiri, n’afuula Abalibiya n’Abaesiyopiya okuba abaddu be. 44Naye amawulire agaliva mu buvanjuba ne mu bukiikakkono galimukanga, olwo n’alyoka agolokoka mu busungu obungi ennyo okugenda okuzikiriza n’okumalawo bangi ku bo. 45Alisimba eweema ze ez’olubiri wakati w’ennyanja n’olusozi olulungi era olutukuvu; era naye alikoma so tewaliba amuyamba.