传道书 4 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

传道书 4:1-16

1于是,我又观察日光之下的一切欺压之事。我看见受欺压的泪流满面,无人安慰。因为欺压者有权有势,所以无人安慰他们。 2我为那已死的人庆幸,因为他们比活着的人幸福。 3不过,比以上两种人更幸运的是那从未出生的人,他们从未见过日光之下各样的恶行。 4我又看见人的一切劳碌和成就原是出于争强好胜。这也是虚空,如同捕风。 5愚人游手好闲,最后只能饿死。 6拥有不多,心里安宁,胜过拥有很多,仍劳碌捕风。 7我又看见日光之下一件虚空的事: 8有一个人孤孤单单,没有儿子也没有兄弟,却终身劳碌。他虽然家道丰裕,仍不满足,从未想过“我不停地劳碌,放弃一切享受,究竟是为了谁?”这也是虚空,是一种悲哀。 9两个人总比一个人好,因为二人劳碌同得美好的成果。 10一人跌倒,总有同伴相扶。但孤身一人、跌倒了无人相扶的真悲惨! 11还有,二人同睡会暖和,一人独睡怎能暖和呢? 12遭遇攻击,一人独自不能抵挡,二人并肩就能对付。三股拧成的绳子不容易断。 13贫穷但有智慧的青年,胜过年老、愚昧、不再纳谏的君王。 14虽然这青年在本国出身贫寒,却能从囚犯成为君王。 15我看见所有日光之下的人都起来拥护这位代替老君王的青年。 16拥护他的人不计其数,以后的世代却对他不满。这也是虚空,如同捕风。

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 4:1-16

Amaziga g’Abanyigirizibwa

14:1 a Zab 12:5; Mub 3:16 b Kgb 1:16Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,

era nga tebalina wakugabasangulako!

Ababanyigiriza baalina obuyinza,

kyokka nga tewali asobola kubagambako.

24:2 a Yer 20:17-18; 22:10 b Yob 3:17; 10:18Ne ndowooza ku abo abaafa,

nga baali ba mukisa okusinga

abo abakyali abalamu;

34:3 a Yob 3:16; Mub 6:3 b Yob 3:22naye abasinga abo,

y’oyo atannaba kuzaalibwa,

atannalaba bibi

obukolebwa wansi w’enjuba.

44:4 Mub 1:14Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

54:5 Nge 6:10Omusirusiru awumba emikono gye,

ne yeezikiriza yekka.

64:6 Nge 15:16-17; 16:8Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu

okusinga okujjula okubonaabona

n’okugoberera empewo.

7Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

84:8 Nge 27:20nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,

nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,

ne yeebuuza nti, “Nteganira ani

ne neefiiriza essanyu?

Kino nakyo butaliimu,

era tekiriiko kye kigasa.”

9Ababiri basinga omu,

kubanga bagasibwa nnyo mu kukola kwabwe.

10Kubanga singa omu agwa,

munne amuyimusa.

Naye zimusanze oyo ali obw’omu,

bw’agwa tabaako amuyimusa.

11Ababiri bwe bagalamira bombi awamu babuguma;

naye oyo ali obw’omu, ayinza atya okubuguma?

12Omu awangulwa mangu,

kyokka ababiri bayinza okwerwanako.

Kubanga omuguwa ogw’emiyondo esatu tegukutuka mangu.

13Omuvubuka omwavu nga mugezi, akira kabaka amusinga emyaka nga musirusiru, atafaayo ku kubuulirirwa. 14Omuvubuka ayinza okuba ng’avudde mu kkomera n’alya obwakabaka, oba okulya obwakabaka ng’abadde mwavu. 15Nalaba abalamu bonna abatambula wansi w’enjuba nga bagoberera omuvubuka oyo ow’okulya obwakabaka. 16Abantu be yafuganga baali bangi nnyo. Naye abo abajja oluvannyuma lwe tebaamusiima. Na kino nakyo butaliimu na kugoberera mpewo.