传道书 12 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

传道书 12:1-14

1年轻时要记住你的创造主,不要等到衰老的岁月来临时才哀叹:“我的日子毫无乐趣。” 2那时,太阳、月亮、星星都暗淡无光,雨后乌云再现; 3守卫家园的手脚颤抖,强壮的身躯变得弯腰驼背;牙齿稀少,无法咀嚼;视力衰退,看不清楚; 4耳朵发背,听不到推磨声;小鸟一叫,人就起来;歌声沙哑,不再美妙; 5惧怕高处,走路战战兢兢;头发白如银杏,精力枯竭,欲望荡然无存;人都走向永远的归宿,吊丧的人往来于街上; 6银链断裂,金碗摔坏,泉旁的瓶子破碎,井口的轮子朽烂。 7那时尘土必归于尘土,灵也要归回赐灵的上帝。 8传道者说:“虚空的虚空,一切都是虚空。” 9传道者不但有智慧,还把知识传授给众人。他经过细心推敲和研究之后,编写了许多警世的箴言。 10传道者费尽心思寻找金玉良言,所写的都是正直诚实的道理。 11智者的言语好像赶牛的刺棍,他们收集的箴言像钉稳的钉子一样牢靠,都是一位牧者所赐的。 12我亲爱的儿子,还有一件事,你要听我的忠告:著书多,没有穷尽;读书多,身体疲劳。

13以上所说的,总而言之,就是要敬畏上帝,遵守祂的诫命,这是人的本分。 14因为人一切的行为,无论善恶,包括一切隐秘事,上帝都必审问。

Luganda Contemporary Bible

Omubuulizi 12:1-14

Ennaku ze Tumala ku Nsi

112:1 a Mub 11:8 b 2Sa 19:35Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,

ng’ennaku embi tezinnakutuukako

n’emyaka nga teginnasembera,

mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;

2ng’enjuba n’obutangaavu,

omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;

nga n’ebire biweddemu enkuba;

3abakuumi b’enju mwe balikankanira,

n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,

nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,

n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;

412:4 Yer 25:10nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,

n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;

ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,

naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;

512:5 a Yob 17:13; 10:21 b Yer 9:17; Am 5:16nga batya buli kiwanvu

n’akabi akali mu nguudo,

ng’omubira gumulisizza,

ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.

Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu

n’abakungubazi ne babuna enguudo.

6Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka

oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,

ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi

obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,

712:7 a Lub 3:19; Yob 34:15; Zab 146:4 b Mub 3:21 c Yob 20:8; Zek 12:1ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,

n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.

812:8 Mub 1:2Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,

“Buli kintu butaliimu.”

Ebikomererayo

912:9 1Bk 4:32Omubuulizi teyali mugezi kyokka, wabula yayigiriza n’abantu eby’amagezi. Yalowooza n’anoonyereza n’ayiiyaayo engero nnyingi. 1012:10 Nge 22:20-21Omubuulizi yanoonyereza n’afuna ebigambo ebituufu byennyini, ne bye yawandiika byali byesimbu era nga bya mazima.

1112:11 Ezr 9:8Ebigambo by’abantu abagezi biri ng’emiwunda, engero zino ezakuŋŋaanyizibwa omusumba omu ziri ng’emisumaali egyakomererwa ne ginywezebwa ennyo. 1212:12 Mub 1:18Mwana wange weekuume ekintu kyonna ekyongerwako.

Okuwandiika ebitabo ebingi tekukoma, n’okuyiga okungi kukooya omubiri.

1312:13 a Ma 4:2; 10:12 b Mi 6:8Kale byonna biwuliddwa;

eno y’enkomerero yaabyo:

Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,

kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.

1412:14 a Mub 3:17 b Mat 10:26; 1Ko 4:5Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;

ekyo ekyakwekebwa,

nga kirungi oba nga kibi.